Ensinza ya Mwana ne Nnyina.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Enjigiriza ya Tirininti.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Perugamo.

Baberi lye linnya eryasooka okuyitibwa Babulooni. Litegeeza muvuyo. Kuusi ye yakitandikira ddala, omwana wa Kaamu, naye okukulaakulana okufuukamu obwakabaka obw’amaanyi n’ekitiibwa ebyo byabeerawo nga mutabani we Nimuloodi y’akifuga, eyali omuyizzi ow’ekitalo. Okusinziira ku biri mu Lubereberye essuula ey’ekkumi n’emu era okusinziira ku byafaayo by’ensi, Nimuloodi yatandika okutuukiriza ebintu bisatu. Yayagala okuzimba eggwanga ery’amaanyi, era yakikola. Yayagala okusaasaanya eddiini eyiye yennyini, era yakikola. Yayagala okwekolera erinnya, era n’ekyo yakituukiriza. Bye yatuukiriza buli kimu kyali kya kijjukizo obwakabaka bwa Babulooni ne bibuleetera okuyitibwa obukulu (omutwe) bwa zaabu mu gavumenti zonna mu nsi. Eky’okuba nti eddiini ye yatutumuka kikakasibwa mu Byawandiikibwa ebigibalira ddala awamu ne Setaani mu Isaaya essuula ey’ekkumi n’ennya ne mu Kubikkulirwa essuula ey’ekkumi n’omusanvu okutuuka ku y’ekkumi n’omunaana. Era nga tweyambisa ebyafaayo tuyinza okukakasa nga bwe yalumba ensi yonna ere gwe musingi gwa buli nkola yonna ey’okusinza ebifaananyi, era omulamwa gw’enfumo, wadde amannya ga bakatonda gaawukana mu bitundu ebitali bimu mu nsi okusinziira ku nnimi z’abantu.

Eky’okuba nti yeekolera erinnya n’abagoberezi be ne bwe kitayogerwako kyeyoleka kyokka, kubanga kasita omulembe guno guba nti gukyeyongerayo (okutuusa Yesu lw’Alyebikkulira baganda Be) ajja kugenda mu maaso okusinzibwa n’okuweebwa ekitiibwa, wadde ng’akozesa linnya ddala eritali Nimuloodi, era mu Yeekaalu ng’eyawukanako katono okuva ku ngeri eyo gye baasooka okumusinzizaamu.

Bayibuli nga bw’etayogera ku byafaayo by’amawanga malala mu bujjuvu, kijja kwetaagisa okunoonya mu byafaayo eby’ensi okusobola okufuna okumanya engeri Perugamo gye kyafuukamu entebe y’eddiini ya Setaani eya Babulooni. Ensibuko enkulu omw’okuva amawulire ejja kuba byawandiikibwa bya buwangwa bwa Misiri ne Buyonaani. Ensonga eri lwa kuba nti Misiri ssaayansi waayo n’okubala yabijja ku Bakaludaaya ekyavaamu Abayoonani ne babijja ku Bamisiri. Okuva lwe kyali nti bakabona be baali bavunaanyizibwa okusomesa ebya ssaayansi bino, era nga ebya ssaayansi bino byakozesebwa ng’ekitundu ku ddiini, tumanyi ekisumuluzo ekitulaga engeri eddiini y’Ekibabulooni gye yafunamu amaanyi gaayo mu mawanga gano abiri. Era ate kituufu nti buli ggwanga bwe lyasobolanga okuwangula eggwanga eddala, mu kiseera ekituufu eddiini y’abawanguzi ye yafuukanga eddiini y’abawanguddwa. Kimanyiddwa bulungi nti Abayonaani baalina obubonero bwe bumu bwennyini obw’emmunyeenye ng’obwa Ababulooni; era kyasangibwa mu biwandiiko by’Abamisiri eby’edda nti Abamisiri baawa Abayonaani amagezi gaabwe ku bikwata ku kusinza bakatonda abasukka mu omu. N’olwekyo ebyama bya Babulooni byasaasaana okuva mu ggwanga okugenda mu ggwanga okutuusa lwe byatuuka mu Roma, mu China, Buyindi ne mu Amerika ey’omu Mambuka n’eyo mu Maserengeta tusangayo omusingi gwe gumu ogw’ensinza.

Ebyafaayo eby’edda bikkirizaganya ne Bayibuli nti eddiini eno ey’Ekibabulooni awatali kubuusabuusa si ye yali eddiini y’abantu abaasooka ku nsi. Ye yasooka okuwaba okuva ku kukkiriza okwasooka; naye yo ku bwayo si ye yali embereberye. Abannabyafaayo nga Wilkson ne Mallet oluvannyuma lw’okwekenneenya ebiwandiiko eby’edda bakikakasizza nti lumu abantu bonna ab’omu nsi bakkiririza mu KATONDA OMU, ow’oku ntikko, Ataggwaawo, Atalabika, Oyo Eyayogera Ekigambo ebintu byonna ne bibeerawo, nti era mu mbeera Ye Yalina okwagala nga mulungi era mwenkanya. Naye setaani olubeerera nga bw’ayonoona ekyo ky’asobola, tumusanga nga ayonoona emmeeme n’emitima gy’abantu balyoke bagaane amazima. Nga bulijjo bw’agezezzangako okukkiriza asinzibwe nga gy’obeera nti ye Katonda so si omuweereza obuweereza era ekitonde obutonde ekya Katonda, okusinza yakujja ku Katonda nga ky’agenderera kwe kukwesembereza alyoke agulumizibwe. Ddala ddala yatuukiriza okwegomba kwe okubunya eddiini ye mu nsi yonna. Kino Katonda Akikakasa mu Kitabo ky’Abaruumi nti, "Bwe baamanya Katonda, ne batamusinzanga nga Katonda, okutuusa lwe baafuuka ebitaliimu mu mitima gyabwe, era okuyita mu nzikiza y’emitima gyabwe ne bakkiriza eddiini enkyamu ne batuuka n’okusinza ebitonde so si Omutonzi." Jjukira, Setaani kyali kitonde kya Katonda (Omwana w’Enkya). Kale tusanga nti lumu amazima we gaasaasaanyizibwa mu bantu, era bonna ne beekwata ku mazima agamu ago, olunaku lwajja ekibiina kinene ne kiva ku Katonda ne kisaasaanya ensinza enkyamu mu nsi yonna. Ebyafaayo bikiraga nti abo ab’ekika kya Seemu abaagendera ku mazima agatakyuka baawakanyiza ddala abo aba Kaamu abaakyuka okuva ku mazima ne badda ku bulimba bwa Setaani. Tewali kiseera kuyingira mu kukubaganya birowoozo ku kino; kyanjuddwa bwanjulwa musobole okulaba nti waaliwo amadiini abiri era abiri gokka, era eyo embi n’efuuka ey’ensi yonna.

Ensinza eya Katonda omu mu Babulooni mwe yafuukira eya bakatonda abasukka mu omu. Obulimba bwa Setaani n’ebyama bya setaani byayimuka ne biwakanya amazima ga Katonda n’ebyama bya Katonda mu kibuga ekyo. Setaani yafuukira ddala katonda w’ensi eno era abo be yali asudde mu kitimba n’abawaliriza okumusinza, n’okubakkirizisa n’abakkirizisa nti ddala ye yali Mukama.

Eddiini y’omulabe ey’ensinza ya bakatonda abasukka mu omu yatandika n’enjigiriza ya tirininti. Endowooza eya "Katonda omu mu baperesona abasatu" yatandika mu biro eby’edda ennyo. Nga kyewuunyisa okuba nti abantu baffe abasomerera eby’eddiini mu mulembe guno kino tebakizuulanga; naye kyeragira ddala nti okufaanana nga bajjajjaabwe bwe baalimbibwa setaani, bakyakkiririza mu baperesona abasatu mu Bulamba bwa Katonda. Leka batulageyo ekifo kimu kyokka mu Byawandiikibwa awali ekiwagita enjigiriza eyo. Tekyewuunyisa nti bazzukulu ba Kaamu bwe baali bagenda mu kusinza kwabwe okwa Setaani okwalimu endowooza enkulu eya bakatonda abasatu nti tewali wadde akalandira akamu ku bazzukulu ba Seemu okukkiriza ekintu nga ekyo oba okuba n’ensinza y’omukolo eyalimu ekintu ekifaanana bwe kityo? Tekyewuunyisa nti Abaebulaniya bakkiriza nti, "Wulira, ggwe Isiraeri, Mukama Katonda wo ye Katonda OMU," singa waaliwo abaperesona basatu mu Bulamba bwa Katonda? Ibulayimu, muzzukulu wa Seemu, mu Lub. 18 Yalaba Katonda OMU Yekka nga Ali ne bamalayika babiri.

Kati tirininti eno yannyonnyolwa etya? Yalagibwa mu kifaananyi kya nsonda ssatu nga emisittale gyakyo gyonna gyenkanankana okufaanana nga bw’eragibwa e Roma ennaku zino. Kyewuunyisa, Abaebulaniya tebaalina ndowooza efaanana bw’etyo. Kati baani abatuufu? Abaebulaniya be batuufu oba Abababulooni? Mu Asiya endowooza ya bakatonda abasatu nga bali mu omu yalabikira mu kifaananyi ekyalina emitwe esatu n’omubiri ogumu. Yalagibwa nga yali wa bwongo bwa mirundi esatu. Mu Buyindi, beesanga mu mitima gyabwe nga bamulaga nga ali omu mu ngeri za mirundi esatu. Kati ddala okwo kusomerera bya ddiini kulungi okw’ennaku zino. Mu Japan waliyo ekya Buddha ow’ekitalo nga alina emitwe esatu okufaanana nga oyo gwe twakamala okunnyonnyolako. Naye asingayo okubikkula ye oyo ajjayo endowooza ya tirininti ku Katonda mu basatu 1. Omutwe gw’omusajja omukadde nga gwe gulaga ekifaananyi kya Katonda Kitaffe, 2. Enkulungo mu byama eyalina amakulu nti "Ensigo" ate oluvannyuma nga etegeeza Mwana. 3. Ebiwaawaatiro n’ekyensuti ky’ekinyonyi (ejjuba). Wano we waali enjigiriza ku Kitaffe, Omwana n’Omwoyo omutukuvu, abantu basatu mu Bulamba bwa Katonda, ekifaananyi ddala ekya tirininti. Osobola okulaba ekintu kye kimu mu Roma. Leka ate nziremu mbuuze, tekyewuunyisa nti setaani n’abamusinza ddala baalina amazima mangi agaababikkulirwa okusinga jjajja w’okukkiriza, (Ibulayimu) n’abazzukulu be? Tekyewuunyisa nti abasinza Setaani, baamanya ku Katonda okusinga abaana ba Katonda? Kati abasomerera eby’eddiini ab’ennaku zino ekyo kye bagezaako okutugamba bwe boogera ku tirininti. Mujjukire kino kimu kyokka okuva kati: obuwandiike buno bintu bya nnamaddala era kino ddala weekiri. Setaani mulimba era ye kitaawe w’obulimba era buli lw’ajja n’omusana gwonna buba bulimba. Mutemu. Era enjigiriza ye eya tirininti ezikirizza nnamungi w’abantu era ejja kwongera okuzikiriza okutuusa Yesu lw’Alijja.

Okusinziira ku byafaayo tekyatwala bbanga ggwanvu enkyukakyuka okujjawo mu ndowooza eno ku Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu. Setaani buli kiseera yabatwalanga eddaala limu okuva ku mazima. Kati endowooza eyajja enkyukakyuka ku bya Katonda kati yali bw’eti: 1. Kitaffe Ataggwaawo, 2. Nnakazadde OMUNTU nga ayambadde Omwoyo wa Katonda. (Ekyo kikuteera okulowooza?) 3. Omwana Omutukuvu, ekibala ky’okwambala omuntu, (ezzadde ly’omukazi).

Naye setaani si mumativu.Ye yennyini okusinzibwa ekyo tannakituukiriza, okujjako mu ngeri etali ntereevu. Kale abantu akyabajja ku mazima okubongerayo. Nga ayita mu byama bye abikkulira abantu nti Katonda Kitaffe ow’ekitalo Atalabika okuva lw’Atafaayo ku nsonga z’abantu, wabula n’Asirika busirisi n’atazinyega, n’olwekyo kitegeeza asinzibwe mu kasirise. Mu butuufu kitegeeza butamufaako si na kindi kumuviirako ddala. Enjigiriza eno nayo yabuna mu nsi yonna, era n’okutuusa leero mu Buyindi osobola okulaba nti zi yeekaalu ezikwata ku mutonzi omukulu, katonda omusirise, omuwendo gwazo mutono nnyo ekyewuunyisa.

Okuva lwe kyali kitetaagisa kusinza kitaffe-omutonzi, kyali kyekola kyokka nti okusinza kwadda eri "Mwana ne Nnyina" nga ebintu ebirina okusinzibwa. Mu Misiri waaliwo ekintu kye kimu okugatta omwana ne nnyina nga bayitibwa Osiris ne Isis. Mu Buyindi baali Iswara ne Isi. (Genderera n’enfaanana y’amannya.) Mu Asiya yali Deoius ne Cybele. Mu Roma ne mu Buyonaani nabo baagoberera ekintu kye kimu. Ne mu China. Kale, muli kuba akafaananyi Abakatuliki b’e Roma abaminsani engeri gye beewuunyaamu nga bayingira China ne basangayo Madona n’Omwana ng’avaako (Omwana) ebimyanso ku mutwe. Ekifaananyi kiyinza n’okuba nti kyawaanyisibwamu n’ekyo eky’omu Vatican okujjako olw’enjawulo ey’ebintu ebimu ebiri mu maaso.

Kati kitugwanira okuzuula nnakazzadde n’omwana abaasooka. Katondannakazadde wa Babulooni eyasooka yali Semiramis eyali ayitibwa Rhea mu mawanga g’omu buvanjuba. Mu mikono gye yali nga asitudde omwana ow’obulenzi, nga oyo wadde yali mwana muwere, yayogerwako nti yali muwanvu, wa maanyi, omulungi era nga ddala asikiriza abakazi. Mu Ezek. 8:14 yayitibwa Tamuz. Abawandiisi abatutumufu baamuyita Bacchus. Abababulooni baamuyita Ninus. Ekiraga nti waaliwo ekifaananyi ekimulaga nga omwana mu mikolo ate nga ayogerwako nga omusajja ow’amaanyi kiri nti amanyiddwa nga "Omusajja omufumbo era nga Mwana wa bulenzi". Ekimu ku bitiibwa bye yali ayitibwa "Bba wa Nnakazadde" - era mu Buyindi ababiri gye bamanyiddwa nga Iswara ne Isi, ye alabibwa (Bba) mu kifaananyi ky’omwana omuwere nga ali ku bbeere lya mukazi we yennyini.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Perugamo.


   Bayibuli egamba...

Kuusi n'azaala Nimuloodi; n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi.

Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama: kyekiva kyogerwa nti Nga Nimuloodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso ga Mukama.

N'okusooka kw'obwakabaka bwe kwali Baberi, ne Ereki, ne Akudi, ne Kalune, mu nsi Sinali.

Olubereberye 10:8-10



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF Olungereeza)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...

William Branham Life Story.

(PDF Olungereeza)

Pearry Green personal
testimony.

(PDF Olungereeza)