Okutambula
kw’Ekikristaayo.<< jjuuzi
ekiddako >>
Okubatiza mu mazzi. Okufumbiriganwa n’okwawukana. Okweroboza Omugole. Olutalo olukyasinzeeyo mu zaali zirwaniddwa. Akasengejja k'omuntu alowooza. Okumufuukira
abaana series.<< jjuuzi
ekiddako >>
Omwoyo Omutukuvu Kye ki?. Lwaki Omwoyo Omutukuvu yaweebwa?.
Akasengejja k'omuntu alowooza.
2 Peetero 1:1-101 Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafuna okukkiriza okw'omuwendo omungi nga ffe bwe twafuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
2 ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe;
3 kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye;
4 ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba.
5 Naye era olw'ekyo kyennyini bwe muleeta ku lwammwe okufuba kwonna, ku kukkiriza kwammwe mwongerengako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe okutegeera;
6 era ne ku kutegeera kwammwe okwegendereza; era ne ku kwegendereza kwammwe okugumiikiriza; era ne ku kugumiikiriza kwammwe okutya Katonda;
7 era ne ku kutya Katonda kwammwe okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe okwagala.
8 Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.
9 Kubanga ataba n'ebyo ye muzibe w'amaaso awunawuna, bwe yeerabira okunaazibwako ebibi bye eby'edda.
10 Kale, ab'oluganda, kyemunaavanga mweyongera obweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa: kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n'akatono:
Empisa bw'Omukristaayo.Download... Ekigera ky'Omuntu Atuukiridde.
David Shearer.Obulamu bw'Omukristaayo bulina okutandika n'omusingi gw'Okukkiriza. Eri omusingi guno, tukubirizibwa Ebyawandiikibwa, okwongerako ebintu ebinaaleetera obulamu bwaffe okubala ebibala Katonda by’ayagala tubeere nabyo.
Ffenna twetaaga ekigendererwa ky’obulamu bwaffe. Era empisa zaffe ez’obuntu, ze zituleetera okukola okutuuka ku biruubirirwa bye twagala okutuukako.
Ensi erina empisa eziteekawo ebiruubirirwa bye baagala okutuukako. Wadde ng’ebimu ku bintu ebyo tekitegeeza nti bikyamu, bisobola okudda mu kifo ky’empisa Katonda z’ayagala tubeere nazo.
Mu bugazi, bino bye bino:
1. Okwegomba ebintu. Okwagala obugagga obusingako. Omuntu ayinza okunoonya okutuukiriza kino ng’asoma, okukuzibwa ku mulimu.
2. Ettuttumu/Obukulu. Okwagala okubeera omuganzi, oba omulungi mu mizannyo etc.
3. Eby’amasanyu. Okunoonya essanyu erya buli ngeri.Omukristaayo alina enkola y’emiwendo ey’enjawulo, kubanga awuliriza ebigambo bya Mukama ebiri mu Matayo essuula 6:20-21.
20 naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira; so gye batabbira:
21 kubanga ebintu byo we bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera.
William Branham.Download...
Ekigera ky'Omuntu Atuukiridde. Nyinza Ntya Okuwangula? Olutalo Olukyasinzeeyo mu Zaali Zirwaniddwa. (PDF Olungereeza) Is your life worthy of the Gospel. A hidden life in Christ.
Okutambula kw’Ekikristaayo series.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Okubatiza mu mazzi.)
Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.
Ali Nze ndi. |
Kristo. Mu kikondo kya zaabu eky’ettaala. |
Obwakabaka 3 obw’omuntu. |
Ebipimo omusanvu. |
Ekigera ky'Omuntu Atuukiridde (PDF) |
Empagi y’omuliro. - Amabegaabega. |