Okuzuukira series
<< jjuuzi
ekiddako >>
Okuzuukira - Ebyawandiikibwa. Okufa.
Leka ntunule okusukka olutimbe lw'ebiseera.Olunaku Olwo Ku Kalivaaliyo.
Olunaku olusinga obukulu mu byafaayo.
Okuzuukira - Ebyawandiikibwa.
David Shearer.Obunnabbi bw’okuzuukira.
Ebikolwa 2:25-27.
25 Kubanga Dawudi amwogerako nti Nnalaba Mukama ennaku zonna mu maaso gange, Kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo, nneme okusagaasagana.
26 Omutima gwange kyegwava gwesiima, olulimi lwange ne lusanyuka; Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi:
27 Kubanga tolindeka bulamu bwange mu Magombe, So toliwaayo Mutukuvu wo kuvunda.Ebikolwa 2:31.
bwe yalaba olubereberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavunda.Yesu alagula okuzuukira kwe kennyini.
Matayo 16:21
Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.Matayo 17:22-23
22 Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu;
23 balimutta, ne ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala nnyo.Lukka 9:22
ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, era ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.Makko 9:9
Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako omuntu bye balabye, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu.Abatakkiriza babuusabuusa Yesu...
Matayo 22:23,28.
23 Ku lunaku olwo ne bajja gy'ali Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira: ne bamubuuza,...
28 Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo omusanvu? kubanga bonna baabuna okumufumbirwa.Yesu abaddamu...
Matayo 22:30-32.
30 Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.
31 Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasoma Katonda kye yabagamba nti
32 Nze ndi Katonda wa Ibulaimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? Si Katonda wa bafu, naye wa balamu.Lukka 20:37.
Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.Ebyava mu Butakkiriza.
Lukka 16:31.
N'amugamba nti Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.Abayigirizwa be bajulirwa b’okuzuukira.
Ebikolwa 1:22.
okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.Ebikolwa 2:30-33.
30 Kale, bwe yali nnabbi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu b'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye; 31 bwe yalaba olubereberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavunda. 32 Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, fenna ffe bajulirwa. 33 Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano kye muwulidde.Ebikolwa 17:32.
Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋoola; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.Pawulo yali akkiririza mu Kuzuukira.
Ebikolwa 23:6.
Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo n'eky'okubiri kya Bafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti Abasajja ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.Ebikolwa 23:8.
Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newakubadde malayika, newakubadde omuzimu: naye Abafalisaayo baatula byombi.Obujulizi bwa Pawulo eri Ferikisi.
Ebikolwa 24:21.
wabula olw'eddoboozi lino erimu lye nnayogerera waggulu, nga nnyimiridde mu bo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno.Kitundu kya Njiri.
Lukka 7:15.
Oyo eyali afudde n'agolokoka, n'atuula n'atanula okwogera. N'amuwa nnyina.Matayo 11:5.
abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b’amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.Lukka 7:22.
Yesu n'addamu n'abagamba nti Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b'amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukira, abaavu babuulirwa enjiri.Ebikolwa 4:2.
nga banakuwadde nnyo kubanga baayigiriza ekibiina era baabuulira ku bwa Yesu okuzuukira mu bafu.Ebikolwa 4:33.
N'amaanyi mangi abatume ne boogeranga okutegeeza kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. N'ekisa kingi ne kibeeranga ku bo bonna.Ebikolwa 17:18-19.
18 Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono? Abamu ne bagamba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya: kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
19 Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bagamba nti Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?Bukakafu bw’Obwakatonda bwa Yesu.
Abaruumi 1:4.
eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waffe,Ebikolwa 2:24.
Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza.Lwe ssuubi lyaffe...
Abaruumi 6:5.
Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kweEbikolwa 24:15.
nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.1 Peetero 1:3.
Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu,1 Abasessaloniika 4:13-14.
13 Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.
14 Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.Bwe waba tewali kuzuukira olwo okukkiriza kuba kwa bwereere.
1 Abakkolinso 15:12-13.
12 Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu?
13 Naye oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa;1 Abakkolinso 15:16-19.
16 Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa:
17 era oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe.
18 Kale era n'abo abeebaka mu Kristo baabula.
19 Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.Ekibi eky’olubereberye y’ensonga lwaki Kristo yazuukizibwa.
1 Abakkolinso 15:21.
Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu.1 Abakkolinso 15:42-43.
42 Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda:
43 gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi:Obwagazi bwa Pawulo...
Abafiripi 3:10-11.
10 ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe n'okussa ekimu okw'ebibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe;
11 bwe ndiyinza mu byonna byonna okutuuka ku kuzuukira kwe okuva mu bafu.Enjigiriza enkulu ey’okukkiriza.
Abaebbulaniya 6:1-3.
1 Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda, 2 okuyigiriza okw'okubatiza, n'okuteekako emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutaggwaawo. 3 Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw'anaayagala.Okuzuukira kwaliwo mu biseera eby’emabega.
Abaebbulaniya 11:35.
Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi:Matayo 27:52-53.
52 entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa;
53 ne bava mu ntaana bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, bangi ne babalaba.Maliza yali akkiririza mu Mazuukira.
Yokaana 11:24-27.
24 Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero.
25 Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
26 Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
27 N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.Lazaalo yazuukuse mu maaso g'abajulizi...
Yokaana 12:1.
Awo bwe zaali nga zisigaddeyo ennaku omukaaga okutuuka ku Kuyitako, Yesu n'ajja e Bessaniya, eyali Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza mu bafu.Yokaana 12:9.
Awo abakopi ab'omu Bayudaaya ne bategeera nti gyali: ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu.Yokaana 12:17.
Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne kitegeeza.Okubatizibwa kukiikirira Okuzuukira.
1 Peetero 3:21.
era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,Okuzuukira - eekintu ekibaawo mu biseera eby’omu maaso.
2 Timoseewo 2:18.
kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe.Empeera ku Mazuukira.
Lukka 14:14.
era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: kubanga olisasulirwa mu kuzuukira kw'abatuukirivu.Lukka 20:35-36.
35 naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbizibwa:
36 kubanga n'okufa tebayinza kufa nate: kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.Yokaana 5:29.
ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.2 Okuzuukira mu bulambalamba.
Okubikkulirwa 20:5-6.
5 Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.
6 Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.