Okubatiza mu mazzi.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Okutambula kw’Ekikristaayo series.

Mwenenye, mubatizibwe.

Isaaya 55:6-7,
6 Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi:
7 omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.

Kubanga bonna baayonoona...

Abaruumi 3:23,
kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;

Abaruumi 3:10,
nga bwe kyawandiikibwa nti Tewali mutuukirivu n'omu;

Mwenenye...

Lukka 13:3
Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe mutyo.

Ebikolwa 3:19,
Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby'okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke;

Okubikkulirwa 2:1,5,
1 Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti...
5 Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya.

Okubikkulirwa 3:19,
Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye.

Akkiriza n'abatizibwa...

Makko 16:16,
Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.

1 Peetero 3:21,
era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,

Yokaana 3:23,
Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi: ne bajjanga, ne babatizibwanga.

Ebikolwa 8:36-39,
36 Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?
37 (Firipo n'agamba nti Oba ng'okkirizza n'omutima gwo gwonna, kirungi. N'addamu n'agamba nti Nzikirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.)
38 N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi. Firipo n'omulaawe; n'amubatiza.
39 Bwe baava mu mazzi, Omwoyo gwa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'atamulaba nate: kubanga yagenda ng'asanyuka.

1 Samwiri 15:22,
...Laba okugonda kusinga ssaaddaaka obulungi n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume.

Lukka 24:45-49,
45 N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa;
46 n'abagamba nti Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olw'okusatu;
47 era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggibwako ebibi mu linnya lye, okusooketa ku Yerusaalemi.
48 Mmwe bajulirwa b'ebyo.
49 Era laba, mbaweereza mmwe okusuubiza kwa Kitange: naye mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava waggulu.

Ebikolwa 2:36-39,
36 Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.
37 Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya?
38 Peetero n'abagamba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.
39 Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kwa baana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.

N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo...

Ebikolwa 8:14-17,
14 Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nga e Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.
15 Nabo bwe baatuuka ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu:
16 kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
17 Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu.

Ebikolwa 19:1-6,
1 Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso, Pawulo bwe yayitira mu njuyi eziri waggulu n'atuuka mu Efeso n'asanga abayigirizwa abamu:
2 n'abagamba nti Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu bwe mwakkiriza? Ne bamugamba nti Nedda, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu.
3 N'agamba nti Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki? Ne bagamba nti Mu kubatizibwa kwa Yokaana.
4 Pawulo n'ayogera nti Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja ennyuma we, ye Yesu.
5 Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
6 Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi ne balagula.

Ebikolwa 10:48,
N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo...

Yokaana 3:3,
Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.

Abaggalatiya 1:8,
Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga.

1 Abakkolinso 14:37,
Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe.

Munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.

Ebikolwa 1:4-5,
4 Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira gy'ali:
5 kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.

Ebikolwa 5:32,
naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera.

Yokaana 16:7-14,
7 Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.
8 Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango;
9 olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze;
10 olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate;
11 olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango.
12 Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano.
13 Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja.
14 Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.

Ebikolwa 1:8,
Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.

Abaruumi 8:9-11,
9 Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe.
10 Era oba nga Kristo ali mu mmwe, omubiri nga gufudde olw'ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw'obutuukirivu.
11 Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.

Ebikolwa 10:44-48,
44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo.
45 Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa.
46 Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'addamu nti
47 Omuntu ayinza okugaana amazzi bano obutabatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe?
48 N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo...

Naye bwe tutambulira mu musana.

1 Yokaana 1:5-7,
5 Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye ekizikiza temuli n'akatono.
6 Bwe twogera nga tussa kimu naye ne tutambuliranga mu kizikiza, tulimba ne tutakola mazima;
7 naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana; tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.

Weeteeketeeke okusisinkana ne Katonda wo...
Amosi 4:12

From the tract... This is the way, Walk ye in it.
by S.E. Johnson.


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Chapter 8
Angel Appears

(PDF Olungereza)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.

Ebikolwa 4:12