Enjigiriza ya Banikolayiti.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Enjigiriza ya Banikolayiti.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Perugamo.

Okubikkulirwa 2:15,
"Era bw’otyo olina abakwata okuyigiriza kwa Banikolayiti, ekintu kye Nkyawa."

Munajjukira nti mu Mulembe gwa Efeso najjayo ekigambo, Nikolayiti, ekiva mu bigambo ebibiri eby’Oluyonaani: Nikao ekitegeeza okuwangula ne Lao ekitegeeza abagoberezi. Banikolayiti kitegeeza, "Okuwangula abagoberezi." Kati lwaki waliwo ekintu kino kyennyamiza ennyo? Kyennyamiza kubanga Katonda Tateekangako kkanisa Ye mu mikono gya bukulembeze bulonde butambulira ku ndowooza za byabufuzi. Ekkanisa Ye Agitadde mu kulabirirwa kw’abantu abaayawulibwa Katonda, abajjuzibwa- Omwoyo, abatambulira mu Kigambo ne bakulembera abantu nga bayita mu kubaliisa Ekigambo. Abantu Tabayawuddeemu bibiina olwo abo abangi ennyo balyoke bakulemberwe obwakabona obutukuvu. Kituufu obukulembeze buteekwa okuba obutukuvu, naye ate n’ekibiina Kyonna awamu. Ekirala, mu Kigambo temuli kifo bakabona oba abaweereza oba abalinga abo mwe babeerera batabaganya wakati w’abantu ne Katonda, oba ekifo we baba nga tebali mu kifo kye kimu nga basinza Mukama. Katonda Ayagala bonna bamwagale era bamuweerereze wamu. Obwanikolayiti busaanyaawo amateeka ago ne bwawula abaweereza ku bantu abakulembeze ne bubafuula bassenkaggale mu kifo ky’okubeera abaweereza. Enjigiriza eno ddala yatandika nga ebikolwa mu mulembe ogwasooka. Kirabika nti obuzibu bwali mu bigambo bibiri: “abakadde” (presbytets) ne “abalabirizi” (babisopu). Newakubadde Ebyawandiikibwa biraga nti mulimu abakadde abawerako mu buli kkanisa, abamu baatandika (omu kubo Ignatius) okuyigiriza nti obulabirizi kyali kitegeeza kuba waggulu wa bonna oba kuba na buyinza n’obufuzi ku bakadde. Kati amazima agakwata ku kino gali nti ekigambo “omukadde” kiraga muntu ye ani ayitibwa omukadde, ate ekigambo `omulabirizi’ kiraga obuweereza bw’omuntu ye omu oyo. Omukdadde ye muntu. Omulabirizi bwe buweereza (ye woofiisi) bw’omuntu oyo. `Omukadde’ bulijjo kitegeeza era kijjanga kutegeeza ebbanga omuntu ly’amaze ne by’azze ayitamu mu Mukama. Mukadde si lwa kubanga alondeddwa ayawuliddwa n’ebirala, wabula lwa kuba ASINGAKO OBUKULU. Amanyi okusingako, mutendeke, si mupya mu kukkiriza, yeesigika olw’obumanyirivu n’obukakafu obungi obubaawo obw’obumanyirivu bwe mu Bukristaayo. Naye nedda, abalabirizi tebaanyweerera ku mabaluwa ga Pawulo, wabula baagenda ku bye yawandiika ku kiseera we yayitira abakadde okuva mu Efeso okujja e Mireto mu Bikol. 20. Mu lunyiriri 17 obuwandiike bugamba nti, "abakadde" baayitibwa ate mu lw’abiri mu omunaana bayitibwa balabirizi. Era abalabirizi bano, (tewali kubuusabuusa baali balowooleza mu bya bufuzi era nga bayaayaanira obuyinza) baakiggumiza nti Pawulo kye yali ategeezezza kyali nti “abalabïrizi” baali basingako ku mukadde ow’omu kitundu eyalina obuyinza obutongole mu kkanisa ye yokka. Bo baali bakitwala nti omulabirizi ye oyo eyalina obuyinza obweyongerayo ku bakadde abangi mu bitundu eby’enjawulo. Endowooza efaanana bw’etyo teyali mu Byawandiikibwa era tebangawo mu byafaayo, naye ate omusajja eyali ku ddaala nga erya Polycarp yeesigama ku bibiina. Kale, ekyo ekyatandika nga ekikolwa mu mulembe ogwasooka kyafuulibwa enjigiriza eya nnamaddala era bwe kityo bwe kiri ennaku zino. Abalabirizi bakyagamba mbu balina obuyinza okufuga abantu era babakoleko nga bwe baagala, babateeke wonna we baagala mu buweereza. Kino kisambajja obukulembeze bw’Omwoyo Omutukuvu Eyagamba nti, "Munnondere Balunnabba ne Sawulo bakole omulimu gwe Mbayitidde." Kino kiwakanya Ekigambo era mulabe wa Kristo. Mat. 20:25- 28 "Naye Yesu n’Abayita n’Agamba nti Mumanyi nga abaami B’amawanga babafuga, n’abakulu baabwe babatwala n’amaanyi. Tekiibenga bwe kityo mu mmwe: naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe: na buli ayagala okuba ow’olubereberye mummwe anaabanga muddu wammwe: nga Omwana w’omuntu bw’atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu Bwe ekinunulo eky’abangi." Mat. 23:8-9, "Naye mmwe temuyitibwanga Labi kubanga omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe Ali mu ggulu."

Okwongera okutangaaza kino okusingawo, Obwanikolayiti ka mbunnyonnyoleko bwe nti. Mujjukira nti mu Kubik. 13:3 kigamba nti, "Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa: n’ekiwundu eky’okufa; ne kiwona: n’ensi zonna ne zeewunya ennyuma w’ensolo." Kati tumanyi nti omutwe ogwafumitibwa bwe bwali Obufuzi bwa Roma obukaafiiri, amaanyi ago ag’ebyobufuzi ag’ekitalo mu nsi yonna. Omutwe guno gwalama nate "nga obwakabaka bw’e Kkanisa ye Roma Enkatulika obw’omwoyo." Kati mutunuulire kino n’obwegendereza. Kiki Roma ey’ebyobufuzi enkafiiri kye yakola kwe yasinziira eryoke ekulaakulane? "Yayawulamu n’ewangula". Amannyo gaayo ag’ekyuma gaayuzaayuza ne gavaabira. Oyo gwe yayuzaayuza n’emuvaabira teyaddamu kusituka nate nga bwe yazikiriza Carthage ne bakisiga mu munnyo. Ensigo y’emu ey’ekyuma yamusigalamu bwe yayimuka nga ekkanisa y’obulimba n’enkola ye n’etakyuka - yawulamu owangule. Obwo bwe Bwanikolayiti era Katonda Abukyawa.

Kali ekyafaayo kino kimanyiddwa bulungi nti ensobi eno bwe yasensera mu kkanisa, abantu baatandika okuvuganya okufuna ekifo ky’obulabirizi nga ebiva mu kuvuganya ekifo kino kyaweebwanga abo abaali basingako obuyigirize, abatutumufu mu bintu ebiggwaawo era abaalinanga endowooza z’ebyobufuzi. Amagezi ag’obuntu n’entegeka byatandika okudda mu kifo ky’amagezi agava ewa Katonda Omwoyo Omutukuvu n’Aba nga Takyafuga. Ddala kino kyali kyonoono eky’ennyamiza, kubanga abalabirizi baatandika okukyogera olubeerera nti kyali tekikyetaagisa mpisa ntangaavu za Kikristaayo omuntu okubuulira Ekigambo oba okukola emikolo mu kkanisa kubanga ebyalinga mu kkanisa n’emikolo bye byalinga ebikulu. Kino aboonoonyi (abasendasenda) kyabawa ekkubo okuyuzaamu ekisibo.

Nga bali n’enjigiriza eyakolebwa abantu ey’okuteeka abalabirizi ku ddaala eritaabaweebwa mu Byawandiikibwa, eddaala eryaddirira kwali kugaba bitiibwa eby’amadaala agaakola enfuga y’eddiini; kubanga waayita ebbanga ttono ne wabaawo bassaabalabirizi waggulu w’abalabirizi ne ba kaliddinaali waggulu wa bassaabalabirizi era bino ebya Boniface ow’okusatu we byatuukira waggulu waabwe bonna waaliyo Papa ayitibwa Pontiff.

Ebyava mu njigiriza ya Banikolayiti n’okugatta Obukristaayo n’Ebyekibabulooni byalina kuba ebyo Ezekyeri bye yalaba mu ssuula 8:10, "Awo ne nnyingira ne ndaba; era laba buli ngeri ey’ebyewalula n’ensolo ez’emizizo n’ebifaananyi byonna eby’ennyumba ya Isiraeri nga bitoneddwa ku kisenge enjuuyi zonna." Kubik. 18:2. "N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi ng’ayogera nti Kigudde, Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni n’ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa. Kubanga amawanga gonna ganywedde ku mwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe."

Kati enjigiriza eno eya Nikolayiti, enkola eno eyasimbibwa mu kkanisa abantu bangi teyabagendera bulungi kubanga baali basobola okusoma ebbaluwa ey’enjawulo oba ebiwandiiko ebyawandiikibwa omuntu atya Katonda. Kale kiki ekkanisa kye yakola? Yagoba abayigiriza abatuukirivu n’eyokya emizingo. Baagamba, "Kyetaagisa obuyigirize obw’enjawulo okusoma n’okutegeera Ekigambo. Lwaki nga ne Peetero yagamba mi ebintu bingi Pawulo bye yawandiika byali bizibu okutegeera." Abantu bwe bajjibwako Ekigambo, waayitayo ebbanga ttono abantu ne bawulirizanga ebyo byokka kabona bye yayogeranga, era ne bakolanga ebyo byokka bye yabagambanga. Ekyo kye baayita Katonda n’Ekigambo Kye Ekitukuvu. Baawamba emitima n’obulamu bw’abantu ne babafuula abaddu b’obwakabona obw’obumbula.

Kati oba mwagala obukakafu bw’ekyo nti Eklezia Enkatulika ebanja obulamu n’emitima gy’abantu, muwulire buwulizi ekirangiriro kya Theodosius ow’ekkumi. Ekirangiriro Kya Theodosius Ekyasooka.

Theodosius’s First Edict
Ekirangiriro kino kyafulumizibwa amangu ddala nga yaakabatizibwa Eklezia ya Roma Embereberye. "Ffe bakabaka abasatu twagala abakkiriza baffe bagondere mu butasagaasagana eddiini Omutukuvu Peetero gye yayigiriza Abaruumi, mu bwesigwa ekuumiddwa obuwangwa nga eyo y’eyatulwa papa, Damasus ow’e Roma, ne Peetero, omulabirizi w’omu Alexandria, omusajja omutukuvu ng’Abatume okusinziira ku byateekebwawo Abatume, n’enjigiriza y’Enjiri; ka tukkiririze mu Bulamba bwa Katonda obumu obwa Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu, obw’ekitiibwa ekyenkanankana mu Tirininti Entukuvu. Tulagira nti abagoberezi b’enzikiriza eno bayitibwenga Bakiristu Abakatuliki; abagoberezi B’amadiini amalala bonna abatalina magezi tubapaatiikako erinnya abakyamu eriswaza era tuwera enkuŋŋaana zaabwe ezimenya amateeka ze bayita erinnya ly’ekkanisa. Nga ojjeeko okugugumbula obwenkanya abatukuvu, bateekwa okusuubira ekibonerezo ekizito mu buyinza bwaffe, nga tukulemberwa amagezi ag’omu ggulu kye tunalowooza nga kye kisaanidde..."

Amateeka 15 agaliko ebibonerezo ebizito kabaka ono ge yafulumya mu myaka 15 ababuulizi b’enjiri ey’ebweru gaabajjako eddembe lyonna okuteeka mu nkola eddiini yaabwe, ne gabaziyiza okukola emirimu gya gavumenti egya bulijjo, ne batiisibwatiisibwa okutanzibwa, okubowa ebintu byabwe, okubawaŋŋangusa n’oluusi, okuttibwa.

Mumanyi? Ennaku zino eryo lye kkubo lyennyini lye tulimu. Eklezia y’e Roma Enkatulika yeeyita Nnyina w’eklezia. Yeeyita eklezia eyasooka oba embereberye. Ekyo ddala kituufu. Y’Ekkanisa ya Roma Embereberye eyagwa n’eyingira mu kibi. Ye yasooka okutegeka ekibiina ekigunje. Mu yo mwe mwasangibwa ebikolwa n’enjigiriza y’Obwanikolayiti. Tewali ajja kukiwakanya nti yo nnakazadde. Nnakazadde era ezadde abaana ab’obuwala. Kati omwana ow’obuwala ava mu mukazi. Omukazi ayambadde ekyambalo ekimyufu era nga atudde ku busozi omusanvu obw’e Roma. Ye malaaya era azadde abaana ab’obuwala. Abawala abo ge makanisa g’Abapulotestanti agaamuvaamu ne gaddirayo ddala mu bibiina ebitegeke n’obwanikolayiti. Nnakazadde w’abawala - amakanisa ono ayitibwa mwenzi. Oyo ye Mukazi ataali mwesigwa mu birayiro bye eby’obufumbo. Yafumbirwa Katonda n’ava awo n’agenda ayenda ne setaani era mu bwenzi bwe azaddeyo abaana ab’obuwala abamufaananira ddala. Oluganda luno oluli wakati w’omuwala ne nnyina mulabe wa Kigambo, mulabe wa Mwoyo n’ekiva mu ekyo mulabe wa Kristo. Ddala, MULABE WA KRISTO.

Kati nga ssinnagenda wala nnyo njagala okwogera kino nti abalabirizi bano abaasooka baalowooza nti baali waggulu wa Kigambo. Baagamba abantu nti baali basobola okubasonyiwa ebibi byabwe nga babyatudde. Ago tegabangako mazima. Baatandika okubatiza abaana abawere mu kyasa eky’okubiri. Ddala baateeka mu nkola okubatiza okw’okukyusibwa. Eyo ye ensonga lwaki ennaku zino abantu batabuddwatabuddwa. Oba baali mu biseera ebyo batabuddwa nga bali kumpi nnyo ne Pentekote, kati embeera ebasobedde, nga bwe bali emyaka nga 2000 okuva ku mazima agaasooka.

Ha, Kkanisa ya Katonda, waliwo essuubi limu lyokka. Muddeeyo ku Kigambo era musigale nakyo.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Perugamo.



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Enjigiriza ya Balamu.)


Katonda Alina emitwe
(ebitiibwa) mingi:...
naye Alina erinnya
ery'obuntu limu
lyokka era
erinnya eryo
ye Yesu.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF Olungereeza)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Ebimuli by’omuliro.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950.

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.

   Bayibuli egamba...

Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; Nange nnaabeeranga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi:

Abaebbulaniya 8:10