Mwaniriziddwa mu Minisitule za BNL.
Kwoti...
Kaakati, eky'okuyigako kyange, okumenyaamenya essomo lye njagala okukwatako awo, ebigambo ebina. Leka tunnyonnyole, “awo.” “Awo,” ekibuga ekisingayo obutukuvu mu nsi yonna, Yerusaalemi. “Awo,” ekibuga ekisingayo mu nsi yonna okuba ekitukuvu. Awo,“abo,” abantu abasingayo mu nsi yonna okuba abanaddiini, ku mbaga ey'eddiini, embaga ey'Okuyitako. “Awo,” awantu wennyini awasingayo okuba aw'eddiini, ekibuga ekisingayo okuba eky'eddiini, mu bibiina byonna mu nsi kye kisingayo okuba ekikulu, kye kikulira byonna. Awo, “abo,” mu nsi yonna abantu abasingayo okuba abanaddiini, baali bakuŋŋaanye okuva wonna mu nsi. Ne “bakomerera,” okufa okusingirayo ddala okuba okw'ensonyi, okutta, omuntu yenna kwe yali ayiseemu; ng'ali bwereere, ayambuddwaamu engoye Ze. “Ya-yanyooma ekivume ekyo.” Baa…Omusaalaba ogwaleero guliko aka-aka-akagoye akamuzingiriddwaako; wabula baamwambulako engoye Ze zonna. Ekisingayo okuba eky'ensonyi! “Awo,” ekibuga ekisingayo okuba ekinnaddiini, “bo,” abantu abasingayo okuba abannadiini, “baamukomerera,” okufa okusingayo okuba okw'ensonyi, “Oyo,” Omuntu Asingayo okuba ow'omuwendo.
William Branham - Okuvunaana 63-0707M P33
Okuva... Akasengejja K'omuntu Alowooza.