Kiseera eky’Enkomerero.

  Kiseera eky’Enkomerero.

Abaafukibwako amafuta mu kiseera eky’Enkomerero.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Abaafukibwako amafuta mu kiseera eky’Enkomerero.

Matayo 24:23-24,
23 Mu biro ebyo omuntu bw’abagamba, nti Laba, Kristo ali wano, oba anti wano; temukkirizanga.
24 Kubanga walijja bakristo ab’obulimba, ne bannabbi ab’obulimba, nabo balikola obubonero obukulu n’eby’amagero; n’okukyamya bakyamye n’abalonde, oba nga kiyinzika.

Njagala wano mwetegereze mu Matayo 24, Yesu yakozesa ekigambo “bakristo,” b-a-k-r-i-s-t-o, “bakristo.” Si Kristo, naye “bakristo,” bangi, si omu. “bakristo.” N’olwekyo, ekigambo Kristo kitegeeza “oyo afukiddwaako amafuta.” Era bw’aba nga “afukiddwaako amafuta” tajja kuba omu yekka, naye bangi, abafukiddwaako amafuta, “abo abafukiddwaako amafuta.” Mulaba? Kubanga, singa Yayagala kukinnyonnyola kusingawo mu ngeri emu oba endala tukitegeere okusingawo, Yandigambye, “Munnaku ez’oluvannyuma walijja abafukiddwaako amafuta, ab’obulimba.” Kati, ekyo kirabika ng’ekitayinzika oba oli awo, Mulaba, mu makulu ga “okufukibwako amafuta.” Naye weetegereze ebigambo byennyini ebiddirira, “era ne bannabbi ab’obulimba,” b-a-n-n-a-b-b-i, mu bungi.

Kati, afukiddwaako amafuta, ye, “oyo alina obubaka.” Era engeri yokka obubaka gye buyinza okuleetebwa kwe kuyita mu muntu oyo afukiddwaako amafuta, era oyo yandibadde nnabbi, afukiddwaako amafuta. “Waliyimuka abayigiriza ab’obulimba abaafukibwako amafuta.” Nnabbi ayigiriza obubaka bwe kye bugamba. Abayigiriza abaafukibwako amafuta, naye bantu abafukiddwaako amafuta nga balina enjigiriza enkyamu. Abafukiddwaako amafuta, “bakristo,” mu bungi; “bannabbi,” mu bungi. Era oba eriyo ekintu ekyo nga - Kristo, omu, kale bano balina kuba “abafukiddwaako amafuta,” nti obunnabbi bwabwe bwe bayigiriza yejja okuba enjawulo, kubanga beebo abaafukibwako amafuta, abaafukibwako amafuta.

Kati, kino kya kuyigako kya Ssande sukulu, twagala oku - okugezaako okukiwakanyiza ddala, na Byawandiikibwa, sina gundi kye yagamba, naye nga tusoma busomi Byawandiikibwa. Oba oli awo ogamba, “Kino kiyinzika kitya? Abafukiddwaako amafuta bayinza …” Baali baani? “Bakristo,” b-a-k-r-i-s-t-o, abafukeko amafuta. “Bakristo, era bannabbi ab’obulimba.” Abafukiddwaako amafuta, naye bannabbi ba bulimba! Yesu yagamba, nti, “Enkuba ettonya ku balungi n’ababi.” Kati, oli ayinza okungamba, “Ggwe okkiriza nti okwo okufukibwako amafuta okuli ku bantu abo kutegeeza nti kwe kufukibwako amafuta okw’Omwoyo Omutukuvu?” Yee, ssebo, okufukibwako kwennyini okw’Omwoyo Omutukuvu ku muntu, ate nga bakyamu. Kaakati muwulirize nnyo mulabe ekyo kye Yagamba. “Era balikola obubonero n’eby’amagero, n’okukyamya bakyamye n’abalonde singa kiyinzika.” Era nga bafukiddwwako amafuta ag’Omwoyo Omutukuvu yennyini. Kino nkimanyi nti kiwulikika nga kya busiru nnyo, naye tujja kumala akaseera nga tukitangaaza nga tuyita mu Kigambo, nti kyo ddala, kiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, ge Mazima.

-----
Matayo 5:45,
45 Olwo mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.
(Enkuba etonnyera ababi mu ngeri y’emu ng’abalungi.)

Abaebbulaniya 6:7-8,
7 Kubanga, ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n’ebala enva ezibasaanira abo beerimirwa, efuna omugabo gw’emikisa okuva eri Katonda.
8 Naye bw’ebala amaggwa ne ssere tesiimibwa, era eri kumpi n’okukolimirwa; enkomerero yaayo kwookebwa.

-----
Kati ekyo kigeraageranye ne Matayo 5:24 nate. Labayo, Yesu yagamba nti enkuba n’omusana bijja ku nsi, era Katonda abituma kuteekateeka mmere n’ebintu olw’abantu abali ku nsi. Era enkuba etumibwa lwa mmere, n’enva. Naye enngaano ey’omu nsiko, omuddo, olw’okubeera mu nnimiro, bifuna ekintu kye kimu. Enkuba eyo y’emu ereetera enngaano okukula enkuba y’emu eyo y’ereetera omuddo okukula.

-----
Kati, n’olwekyo, enkuba etonnya ku bimera eby’obutonde eby’ensi, kifaananyi kya nkuba ey’Omwoyo ewa Obulamu Obutaggwaawo, ng’egwa ku Kkanisa, kubanga naffe tugiyita nkuba eya ttoggo ne ddumbi. Era eba nkuba, efukirira Omwoyo wa Katonda, ku Kkanisa Ye.

Weetegereze, kino kintu kyewuunyisiza ddala wano. Mulaba? Ng’ensigo ezo bwe zaagwa mu ttaka, si nsonga zaagwamu zitya, n’okusookera ddala zaali maggwa. Naye omwo ez’enngaano ezaagwamu, n’ez’enva, nazo zaali nva ku lubereberye. Era buli muddo nga gugenda gwezaala, nga guddingana, kiraga nti bwe gwali ku ntandikwa ey’olubereberye. “N’okukyamya balikyamya Abalonde oba nga kiyinzika,” kubanga baba bafuna enkuba y’emu, omukisa gwe gumu, nga balaga obubonero bwe bumu n’eby’amagero bye bumu. Mukiraba? “Balirimba, era bandikyamizza n’Abalonde oba nga kiyinzika.” Kati, eriggwa teriyinza kubeera kintu kirala naye lisigala nga liggwa, era n’enngaano teyinza kwefuula kitali nngaano; ekyo Omutonzi wa buli kimu kye yategeka okuva ku ntandikwa. Abo be Balonde. Enkuba y’emu!

-----
Kati enjuba bw’evaayo eyengeza ensigo. Kaakati, teyengeza mulundi gumu. Egenda, ekkakata, buli kaseera egenda yeeyongera okwengera okutuuka lw’ekala. Bwe kityo nakati bwe kiri, ennaku zino, n’Ekkanisa. Yatandikirawo ku ntandikwa yaayo, emabega eyo mu mirembe gy’ekizikiza, mu kiseera we yabeerera mu ttaka. Kaakati ekuze emaze okukakata. Era tuyinza okugiraba, nga bw’eri ddala, nga Katonda bulijjo bw’Ayita mu buttoned... Toyinza kutabula butonde. Ogwo gwe mutawaana gwe tulina ennaku zino. Tukasuka bbomu, ewala eyo mu gayanja, ne bagisiikuula era bagitabangula yonna ne zi bbomu nnamuzisa. Muba mwongera bwongezi kumenyaamenyako ttaka buli bbanga, nga mulisuulamu. Ggwe bw’otema emiti; kibuyaga ajja kukujjira. Zizika omugga; gujja kwalaala. Oteekwa okuzuula engeri Katonda gy’Akolamu ebintu era oginyweereremu. Tufuze abantu mu makanisa ne mu bibiina; laba kye tufunye! Ggwe nyweerera mu kkubo Katonda lye yategeka.

Naye, mulaba, “Aweereza enkuba,” okuddayo ku ky’okuyiga kwaffe, “ku balungi n’ababi.” Yesu kati wano akugamba, mu Matayo 24, kaliba kabonero ka kiseera kya nkomerero. Kati, oba akabonero kano ka kumanyibwa mu kiseera kya nkomerero, olwo kiriteekwa kubaawo luvannyuma lwa kubembulwa kwa Bubonero obwo. Mulaba? Kabonero ka nkomerero. Ako akalibeerawo, ng’ebintu bino bibaawo, kiriba kiseera kya nkomerero. Era kaliba kabonero, bwe katyo, nti Abalonde ebintu bino bireme okubatabula. Mukiraba ekyo? Olwo, kiteekwa okubikkulwa, okulabisibwa. Weetegereze, byombi enngaano n’omuddo bibeera biramu na mafuta ge gamu agava mu Ggulu. Byombi bigasanyukira.

Kino nkijjukira, nga njuliza ekintu ekyo engulu eyo ku lunaku olwo ku Green Mill, nze - nze nnalaba okwolesebwa okwo nga kubaawo. Era waaliwo ensi ennene, era yonna ekabaliddwa bulungi. Era ne wafuluma Omusizi, okusooka. Ekyo njagala mukirabe bulungi. Mwetegereze ekyasooka okugenda mu maaso, ate n’ekyaddirira. Era Omusajja ono eyali ayambadde ebyeru yavaayo nga yeetooloola ensi, ng’asiga ensigo, ate emabega We n’ejja omusajja, ng’ayambadde ebiddugavu, ng’alabika agenda yebbirira, agenda amulondoola emabega We, ng’asiga ensigo z’omuddo. Era kino bwe kyabaawo, olwo ne ndaba ebimera eby’engeri zombi nga bitutunuka. Era bwe byatutunuka ebimu byali nngaano ate ebirala byali muddo. Era ekyeya ne kijja, kale olwo, byombi ne birabika nga biwunzise emitwe gyabyo nga bikaabira enkuba. Olwo ekire ekinene ne kijja ne kisaanikira ensi, era ekuba n’efukumuka. Kale enngaano n’eyimuka n’egamba, “Atenderezebwe Mukama! Atenderezebwe Mukama!” n’emiddo ne gisituka ne gireekaana, “Atenderezebwe Mukama! Atenderezebwe Mukama!” Ebyavaamu bye bimu. Byombi nga bizikirira, byombi nga bifa. Era olwo enngaano n’emeruka n’efuna enyonta. Kubanga yali mu nnimiro y’emu, olusuku lwe lumu, ekifo kye kimu, mu kufukirira kwe kumu, enngaano yavaayo era n’enngaano ey’omunsiko n’evaayo n’ekintu kye kimu ddala. Weetegereze, okufukibwako amazzi kwe kumu kwe kumeza enngaano, kwe kumeza omuddo.

Omwoyo Omutukuvu omu oyo afuka amafuta ku Kkanisa, oyo abawa okuyaayaana okulokola emyoyo, oyo Abawa amaanyi okukola eby’amagero, agwa ku babi n’abalungi. Omwoyo oyo y’omu ddala! Kati, tosobola kukikwata bulala n’otegeera Matayo 24:25. Yagamba, “Walijja bakristo ab’obulimba,” ab’obulimba, abo abafikiddwaako amafuta. Abafukiddwaako amafuta n’Ekintu ekya nnamaddala, naye ne baba bannabbi ab’obulimba ku kyo, abasomesa baakyo ab’obulimba. Kiki ekyandireetedde omuntu okwagala okuba omuyigiriza ow’obulimba ku kintu eky’Amazima? Kati, mu kaseera katono tujja kutuuka ku kabonero k’ensolo, era mujja kulaba nti bye bibiina by’amaddiini. Mukiraba? Abayigiriza ab’obulimba; ab’obulimba, abafukiddwaako amafuta. Bakristo abafukiddwaako amafuta, naye nga bayigiriza ba bulimba. Eyo ye ngeri yokka gy’oyinza okukirabamu.

-----
Genderera, naye ekyo ekibavaamu kye kikuwa enjawulo, “Ku bibala byabwe,” Yesu yagamba, “Kwe mulibalabira.” “Omuntu tanoga zzabbibu ku mwennyango,” newakubadde omwennyango gubeera ddala mu muzabbibu. Ekyo kyandisobose, naye ekibala kye kikiraga. Ekibala kye ki? Kye Kigambo, kye kibala eky’ekiseera ekyo. Ekyo kye kitegeeza, ye njigiriza yaabwe. Enjigiriza ku ki? Ye njigiriza y’ekiseera, kiseera ki kye kiri. Enjigiriza z’abantu, enjigiriza z’amadiini, naye, oba Kigambo kya Katonda eky’ekiseera? Kati, obudde budduka nnyo, tebutusobozesa kino kukirwako nnyo. Naye nkakasa nti mmwe abali wano kati, era nkakasa nti mmwe abali eyo mu ggwanga lyonna, muyinza okulaba ekyo kye ngezaako okubabuulira, kubanga tetulina kiseera kisingawo kukyongerako.

Naye oyinza okulaba nti okufukibwako amafuta kuyinza okuba ku babi, abo abayigiriza ab’obulimba, era ne kubaleetera okukolera ddala ekyo Katonda kye yagamba obutakola; naye mu ngeri yonna balina kukikola. Lwaki? Tebalina kya kukola. Omwennyango guyinza gutya okuba ekintu ekirala okuggyako omwennyango? Si nsonga enkuba nnyingi yenkana wa egutonnyako, gulina kuba mwennyango. Eyo ye nsonga Yesu kye yava agamba, “Biribeera bifaanaganaa nnyo bikyamye n’Abolonde,” abo abali mu mirandira, “oba nga kiyinzika,” naye tekiyinzika. Enngaano teyinza kukola kintu kirala kyonna okuggyako okubala enngaano; kye kyokka ky’eyinza okubala.

Soma akawunti mu...
Abaafukibwako amafuta mu kiseera eky’Enkomerero.


  Bayibuli egamba...

Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n'emirembe.

Okubikkulirwa 11:15



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Abaafukibwako
amafuta mu kiseera
eky’Enkomerero.
(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

As the Eagle
Stireth her nest.

(PDF Olungereeza)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...