Kigambo Ekiramu series.

  Kigambo Ekiramu.

Omugole, mukazi w'Omwana gw'endiga.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Ebisa by'Okuzaala.

Baibuli yagamba nti, “Mukyala we yeeteeseteese.” Ku nkomerero y'omulembe. Yeteekateeka atya? Okufuuka Mukyala We. Era kiki ky'akola? Lugoye kika ki lwe yali ayambadde? Kigambo kye kyenyini. Yali ayambadde obutuukirivu Bwe. Ekyo kye yali. Ekyo kituufu. Mukiraba? Okwolesebwa! Mwetegereze, ndi mukumaliriza kaakati. Njagala okwogera ekintu kino kimu nga sinnaba kumaliriza. Ekyo kye kyannuŋŋamiza okwogera kino. Kaakano, kiri BW'ATYI BW'AYOGERA MUKAMA. Singa omusajja agamba nti, awatali, kukiteeka mu ndowooza ye, abeera munnanfuusi era ng'alina kugenda mu ggeyeena olw'ekyo. Ekyo kituufu. Singa agezaako okufuna entuumu y'abantu, abantu abalungi bw'ati n'abalimba, lwaki, abeera Setaani ayambadde omubiri gw'omuntu. Katonda talimussaamu kitiibwa. Olowooza Katonda ayinza okussa ekitiibwa mu Setaani oba obulimba? Talikikola. Mukiraba? Kiyita waggulu ku mitwe gyabwe, era ne batakifuna. Asikayo abalonde n'abafulumya.

Tunuulira bannabbi bonna okuyita mu mirembe, engeri gye Yafunangamu abalonde. Tunuulira, okukka wansi, n'okutuuka ku kuddaabululwa. Ng'ekkanisa ya Ruumi Enkatolika ya yokya Joan owe Ark ku muti, olw'okubeera omulogo. Ekyo kituufu. Oluvannyuma ne bakizuula nti teyali. Yali mutukuvu. Mu mazima, ne bamubonereza, basimayo omulambo gw'akabona era ne bagukasuka mu mugga. Naye, mumanyi, ekyo tekyakisangulawo mu bitabo bya Katonda. nedda. Baamuyita omutukuvu Patrick omu, naye, okiraba, era naye alinga nange bwe ndi omu. N'olwekyo, tukiraba, tunuulira abaana be. Tunuulira ekifo kye, waggulu, tunuulira bameka abattibwa. Tunuulira ku by'abajulizi era olabe bameka abattibwa eyo. Okiraba, si bwe kiri. Naye okubanja kw'abantu, ekyo tekikikola bwe kityo. Kiri ku ekyo Katonda ky'Ayogedde era n'Akikakasa, anti ge Mazima. “Kakasa ebintu byonna. Nywerera ku ebyo ebirungi.”

Kaakano tukizuula nti,, wano emyezi mitono egiyise, lumu ku makya, nnali nfuluma mu nnyumba, era okwolesebwa ne kujja. Era nsoomooza buli muntu yenna wano, amanyi emyaka gino gyonna, okwogera mu ssaawa eno oba Mukama yali Andeseeko ne njogera nti “BW'ATYI BW'AYOGERA MUKAMA” okuggyako nga kimaze kutuukawo. Bameka abakimanyi nti ge Mazima, muwanike emikono gyammwe. [Ekibiina kigamba nti, “Amiina.” -Omuk.] Kituufu. Omuntu yenna ayinza okwogera ekikontana? [ow'Oluganda Branham n'ayimirizaamu. Ekibiina kisirifu.] ge Mazima. Temuteeka ssira lyonna ku mubaka. Mutunuulire Obubaka kye buli. [Ekibiina kigamba nti, “Amiina.” - Omuk.] bwe kityo bwe kiri. Okiraba? Si ky'ekyo. Teweetegereza ono omutono [Ebbanga ejjereere ku katambi.] Omuntu ow'ekiwalaata, gwe mumanyi, kubanga ono naye muntu buntu, kyokka ate era fenna tufaanana. Naye tunuulira ekigenda mu maaso. Ekyo kye kikirangirira. Natwalibwa. . . Kaakano, nkimanyi nti abantu boogera buli kika kya kintu, era tukimanyi nti bingi ku ebyo tebibeera bituufu. Sisobola kwanukula ku lw'abalala, omusajja yenna ky'ayogera. Nnina kwanukula ku kye njogedde. Nsobola kwogera oba nga ge mazima, oba nedda. Nze mbeera nvunaanyizibwa ku ekyo. Si muntu mulala ky'ayogedde. Siyinza kusalira musango muntu yenna. Ssaatumibwa kusala musango, wabula kubuulira Bubaka. Mukitegeere.

Nnali nnina okusooka okulaba Ekkanisa. Era ne ntwalibwa omuntu omu gwe nnali sisobola kulaba, era ne banteeka nga, ku kituuti. Era nnawulira ennyimba ezisingayo obuwoomu ku ze nnali mpulidde. Era ne ntunula, abajja, abawala abato nga bangi, nga, bafaanananga, oh, abemyaka ng'abiri, oba, kumi na munaana, abiri. Era bonna baalina enviiri empanvu, era nga bambadde ebiteeteeyi eby'enjawulo, ebikka wansi, ebiteeteeyi. Era nga bakumba bonna bulungi okugoberera ennyimba, nga bwe kirina okuba. Era ne bava ku kkono wange, nga bwe beetooloola oluuyi luno. Era ne mbatunuulira. Era awo ne ntunula ndabe ani abadde ayogera nange, naye nga sirabawo muntu yenna. Kati awo ne mpulira bandi ya looko ne loolo (Omuziki oguliko ennaku zino) ng'ejja era bwe nnatunula ku ludda lwange olwa ddyo, okuva ku luuyi lw'eno, n'okukomawo, wano ne wajja amakanisa g'ensi. Era abamu ku bo... buli omu ng'asitudde bbendera, okuva eyo gye baali bava. Ebimu ku bintu ebisinga okulababika obukyafu bye nnali ndabye mubulamu bwange! Era ekkanisa ya America bwe yavaayo, ye yali esinga okubeera ey'entiisa gye nnali ndabye. Kitange ow'omug Gulu ye mulamuzi wange. Baali bambadde sikaati za langi yakikuusikuusi, ng'obumu ku buwala buno obw'omu mabbaala, nga tebulinaako kye bubisse ku migongo, waggulu wano; nga bukutte ng'ekitundu ky'olupapula lwa kikuusikuusi; era nga buleekaana bwe buzina; langi; empale, enviri ensale; nga bufuweeta ttaaba; nga bwe bwenyigootola, nga bwe butambulira ku rooko ne roolo. Era ne ŋŋamba nti, “Eyo y'ekkanisa ya United States?” Eddoboozi ne ligamba nti, “Yee, y'eyo.”

Era bwe baayitawo, baali bakikutte bwe bati, era ne beteekako olupapula emabega bwe baayitawo. Ne ntandika okukaaba. Ne ndowooza nti, “Okufuba kwange kwonna, era n'ebyo byonna bye nkoze.” Era n'ebirala byonna abaweereza bye tukoledde awamu... era, ab'oluganda simanyi kyenkaniddewa kye muyinza kukkiriza ku kwolesebwa kuno; naye ge Mazima, gye ndi. Bulijjo kikakasizza nti ge Mazima. Bwe nnalaba ekyo, era nga mmanyi ekyali kigenda mu maaso, omutima gwange ne gwagala okumenyeka mu nze. “Kiki kye nkoze? Nkisubiddwa ntya? Mukama, nsigadde butereevu n'Ekigambo ekyo. Era nandibadde ntekeddwa kukikola ntya?” Ne ndowooza, “Lwaki ompadde okwolesebwa, emabegako, era ne ndaba munda eyo? Era ne ŋŋamba nti, 'Kale, bajja kusalirwa omusango?' n'agamba nti, ekibinja kya Pawulo, nakyo.' Ne ŋŋamba nti, 'nange mbuulidde Ekigambo ky'ekimu kye yabuulira'” aba Christian business men baakiwandiikako. Era ne ŋŋamba nti, “Lwaki? Lwaki kyandibadde bwe kiti?” Ndabye eyo entuumu y'abamalaaya nga beeyisa bwe batyo, nga bonna bambadde bwe batyo, era nga bayitibwa, “ekkanisa ya mukyala U.S.A.” nnazirise buzirisi.

Kati awo, mu butuufu, ne nziramu okuwulira ennyimba ezo empoomu nga zijja nate, era n'Omugole omuto ono naye ng'ajja nate. N'agamba nti, “Kino ky'ekivaamu, okuyitamu.” Era bwe yayitawo, yali afaananira ddala oli eyasoose okuyitawo, ng'atambulira ku madaala g'ennyimba ez'Ekigambo kya Katonda, nga bakumba bwe bagenda. Era bwe nnakiraba, nnayimirira awo n'emikono gyange gyombi nga giri waggulu, nga nkaaba, bw'entyo. Bwe nnakomawo, nnali nyimiridde mu lujja lwange wabweru awo, nga ntunuulidde butereevu mu nnimiro. Kiki? Alina okubeera Omugole y'omu, ekika ky'ekimu, ng'azimbiddwa mu bintu by'ebimu bye yalimu mu kifo ekyasooka. Kaakati soma Malaki 4 era olabe oba tetulina kubeera na bubaka mu nnaku za luvannyuma, obujja “okukyuusa emitima gy'abaana okudda eri ba kitaabwe,” okudda ku Bubaka nnakabala obwa Pentekoote, kigambo ku kigambo. Ab'oluganda tuli wano. Kaakati, ekkanisa eno eggwanidde okufuna akabonero, era ke kabonero akasembayo. Tukizula wano, mu Byawandiikibwa, olaba kaakano, olaba, ebisa eby'okuzaala eby'amaanyi ebiri mu mulembe gwa Lawodikiya guno. Teguliimu kinyuma. Ekkanisa yaabwe erimu kuzaalibwa mulundi gwakubiri. Si...

Tewajja kubeerawo kibiina kirala. Buli muntu akimimanyi nti buli mulundi Obubaka bwe bwabuulirwanga... buuzako bano Ab'ebyafaayo. Oluvannyuma lw'Obubaka okubuulirwa, waliwo ekibiina ekyabuvaamu; oh, Alexander Campbell, ebirala byonna, Martin Luther, era n'ebirala. Babukolangamu ekibiina. Era emirundi egisinga Obubaka bwatambulanga okumala emyaka esatu, okudda obugya. Kino kibadde kitambula okumala emyaka kumi n'etaano, era tewannaba kubeerawo kibiina kibuvaamu. Lwaki? Ekisusunku kye kyasembayo. Tuli ku nkomerero. Mulaba ebisa eby'okuzaala? Mulaba ensonga? Oyo yekka eyasigalira y'ajja okuggibwayo. Oyo yekka eyasigalira y'ajja okuggibwayo, era eyo y'ensonga lwaki nkaaba, era nfuba, era nsindiikiriza, era nteeka wansi okusaasirwa kw'abantu ku nsi, nsobobole okufuna okuganja mu maaso ga Katonda, era nga nneeyongerayo mu Kigambo Kye. Ali mubulumi. Eyo y'ensonga. Agenda kuzaala. Alina okukola okusalaawo kwe. okuwandiika kuli ku kisenge. Ensi tugiraba eri kumpi kugenda. Ekyo kituufu. Era tulaba ekkanisa, evvunze nnyo, yetegesse okugenda. Era ebisa by'okuzaala bigijjudde yonna, ku njuyi z'ombi ensi era n'ekkanisa. Era kaakati waliwo ensi empya enaatera okuzaalibwa, era n'ekkanisa empya okuzaalibwa, egende gy'eri, olw'okufugga okw'emyaka olukumi. Ekyo tukimanyi.

Laba, Katonda Amuwa... Era wuliriza kino n'obwegendereza, kati awo mmalirize. Akabonero ke akasemba; obubaka bwe obusemba, akabonero ke akasemba. Akabonero ke akasemba, kali nti, alina okutuuka mu mbeera nga gye yalimu ku lubereberye; ensi, n'ekkanisa. Laba engeri gye yalimu ku lubereberye, emyaka egyo gyonna, nga tewali nfaanana, okuva mu Malaki okutuusa ku Yesu. Kitunuulire, emyaka gino gyonna kaakati. Kitunuulire, emabega yonna eyo, enguzi gye bagireteddemu. Tunuulira, engeri gyebaddengamu buli mulundi, nga mu biro bya Nuuwa, era n'ebirala. Kirina okuba mu kifaanaanyi ky'ekimu, era tukiraba ekyo. Anti “Nga bwe kyali mu biro bya Nuuwa.” Tulaba ng'ebintu bino byonna bikwatagana wamu.

Soma akawunti mu...
Ebisa by'Okuzaala.


  Bayibuli egamba...

Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu.

Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.

Yokaana 16:20-21



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Okufumbiriganwa
N’okwawukana.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereza)

As the Eagle
Stireth her nest.

(PDF Olungereza)
 

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)
Ekitala gye kyalabika.

Mu kusooka...

Oluvannyuma...