Kano ke kabonero k’enkomerero, ssebo?
<< jjuuzi
ekiddako >>
Bamalayika mu ngeri ya piramidi.
William Branham.Soma akawunti mu...
Kano ke kabonero k’enkomerero, ssebo?Okubikkulirwa 10:7,
7 Naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika omusanvu, bw’aliba ng’agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng’enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.Kati, wonna okuyita mu lugendo, waliwo ebintu ebibaddewo byesisobola kutegeera. Era ebimu ku bintu bye nnali ssisobola kutegeera kyali bwe nnali omulenzi omuto okwolesebwa okwo nga kujja gye ndi. Era nga okulaba ne mbuulira bazadde bange ebintu ebigenda okubaawo. Balowooza nti nnali mweraliikirivu. Naye ekintu eky’enjawulo, nga kituukirira ddala nga bwe kyagambye. Ogamba, “Ekyo kyaliwo nga tonakyusibwa?” Yee. “Ebirabo n’okuyitibwa tebyejusibwa,” Bayibuli yagamba. Wazaalibwa mu nsi muno olw’ekigendererwa. Era to... okwenenya kwo tekuleeta birabo; byateekebwateebwa dda ku lulwo. Kati, okuyita mu lugendo... Era bwe nnali omulenzi omuto okuyaayaana kwange kwali... ssamatizibwa na nsi gye nnali mbeeramu. Nayaayaana okugenda ebugwanjuba.
-----
Kiyinza okuba nga zaali ssaawa nnya emisana mukyala wange bwe yali agezaako okuyingira mu kisenge. Awo ne kibaawo. Nagenda mu kwoleseebwa ku makya ago, era nnali nga... Kati, jjukira tekyali kirooto. Waliwo enjawulo wakati w’ebirooto n’okwolesebwa. Ebirooto weewo nga ogenze okwebaka; okwolesebwa nga togenze kwebaka. Tuzaalibwa bwetutyo. Omuntu owa bulijjo bwaloota, abeera mu kutegeera kwe okulala. Era okutegeera kwe okulala kumuli wala. Obusimu bwe buba bukola, kasita nabeera nga akyali mu kuteegera kwe okusooka. Mu kutegeera kuno, obeera - obeera mulamu; olaba, olegako, owulira okwatwakwo, okuwunyiriza, okuwulira. Naye bw’oba mu kutegeera kwo okulala, nga weebase, tosobola yadde okulaba, okulega, okuwulira okwatwakwo, okuwunyiriza, oba okuwulira. Naye waliwo ekintu nti bwoloota okomawo mu kutegeera kwo kuno. Waliwo ekijjukiza n’okutuusa nti ojjukira ekintu kye waloota emyaka edda. Omuntu wa bulijjo ali bwatyo. Naye Katonda bwateekateeka ekintu, okutegeera kuno okulala tekuba wala na mulabi, naye okutegeera kwombi kubeera butereevu wamu. N’omulabi mu kwolesebwa tagenda kwebaka, aba akyaali akyawulira, era n’akiraba.-----
Kati, mu kwolesebwa kuno, oba nga bwe mbadde njogera, natunula, era ne ndaba ekintu ekitali kya bulijjo. Kati, kyalabikanga nti Yusufu mutabani wange yali ku ludda lwange. Nnali njogera gy’ali. Kati, singa onetegereza okwolesebwa nnyo ddala, ojja kulaba lwaki Yusufu yali ayimiridde awo. Ne ntunula, nga waliwo ensiko enene. Era ku nsiko eno mu-mu kibinja ky’ebinnyonyi, obunnyonyi obutono, nga kitundu kya yinki obulamba na kitundu kya yinki obuwanvu, bwaali obwazirwanako. Ebyoya byabwo byali byamanyuukako. Era bwaali nga bubiri oba bussatu ku ttabi lya waggulu, mukaaga oba munaana ku ttabi eriddako, era kkumi na bitaano oba abiri ku ttabi eriddako, nga bukka wansi mu kikula kya piramidi. Era obunnyonyi obwo obutono, ababaka abatono... Era ddala bwali bukooye. Bwaali butunuudde ebuvanjuba, era nnali Tucson, Arizona, mu kwolesebwa. Yakikola ddala nti nneme okulemererwa okulaba wa we nnali, nnali negyako sere okuva mu ddungu. Era ne nngamba, “Kati, mmanyi kuno kwolesebwa, era mmanyi nti ndi Tucson. Era mmanyi nti obunnyonyi obwo obutono bulina kye butegeeza.” Era bwaali butunudde buvanjuba. Era awo mbagiraawo ne busalawo okubuuka, era bwebutyo ne bugenda ebuvanjuba.Era mangu nnyo nga bwakavaawo, ekibinja ky’ebinnyonyi ebinene kyajja. Byafanaana nga amayiba, n’ebiwaawaatiro ebisongonvu, nga byalangi nga eya kakobe, langi ekuute okusingako ku y’ababaka abasooka bwe yali. Era byali bijja mu bwangu nnyo ebuvanjuba. Era ddala nga bwa kava mu maaso gange, nakyuka nate okutunula ebugwanjuba, era eyo gye kyabeererawo. Waaliwo okubwatuuka okwanyeenya ensi yonna. Kati, tokisubwa kino. Nammwe abali ku lutambi, mukakase nga mukifuna bulungi. Okusooka kubwatuuka. Era nalowooza kyawulikikanga ennyonyi ewaguza okuva ku ddoboozi lya yo, oba kyonna- kye mukiyita ennyonyi bwewaguza okuva ku ddoboozi lyayo, era eddoboozi likomawo ku nsi: kyanyeenya nga okuwuluguma, buli kimu. Kati olwo kiyinza okuba kyali-okubwatuuka okunene nga engeri y’okumyansa. Saalaba kumyansa. Nawulira buwulizi kubwatuuka okwo okunene okwabaawo okwabwatuuka nga okwali ebukiika ddyo okuva ku nze, nga ogenda e Mexico.
Naye kyanyeenya ensi, era bwe kyakikola, nnali nkyatunudde bugwanjuba. Era eyo mu butagwaawo waliwo ekibinja kye nnalengera nga kijja. Kyalabika nga obwaali obutonyeze obutono. Tebwaali wansi wa butaano, era nga tebusukka musanvu. Naye bwaali mu ngeri ya piramidi, nga ababaka bano nga bajja. Era bwe kyabaawo, amaanyi ga Katonda Omuyinza w’ebintu byonna gaansitula okubasisinkana. Nga nsobola okubalaba. Na... Tekinvaangako. Ennaku munaana ziyiseewo, naye era sisobola kukyerabira. Sibangako na kintu kintawanya nga kino bwekikoze. Ab’ennyumba yange bajja kubabuulira.
Nnali nsobola okulaba Bamalayika abo, ebiwawaatiro ebyo ebyesulise emabega nga badduka okusinga eddoboozi bwe litambula. Baava mu butagwaawo mangu ago nga kutemya kikowe, nga tonnaba nakutemya liiso lyo, mu kutemya obutemi. Nga batuuse. Saaba na budde kubala. Saalina budde, nga kiri nga okutemya ekikowe. Ab’amaanyi, Bamalayika Ab’ekitalo Ab’amaanyi, nga beeru ng’omuzira, ebiwawaatiro nga biyiseemu mu maaso, era baali “weeyu, weeeyu,” (Ow’oluganda Branham ekigezaamu- Omuwa.) era bwekyabaaawo, natwalibwa mu kibinja kino ekya piramidi. Ne ndowooza, “Kati, kye kino.” Zenna ne nsanyalala, era ne ngamba, “Oh, abange. Kino kitegeeza nti wajja kubaawo okubwatuuka okulinzita. Ntuuse ku nkomerero y’olugendo lwange kati. Sitekeddwa kubuulira bantu bange okwolesebwa kuno nga kuvuddewo. Saagala bakimanyeko, naye Kitange ow’omu ggulu andetedde okutegeera nti ekiseera kyange kiweddeko. Sijja kubuulira ba nju yange baleme okuneeraliikirira, kubanga Ateekateeka okugenda era Bamalayika bano bankimye, era nngenda kuttibwa mangu ddala mu ngeri nga ey’okubwatuuka.”
Awo ne kijja gye ndi, nga nkyali mu kibinja kya bamalayika kino, “Nedda, si kye kyo. Singa kikusse kyandibadde kitta ne Yusufu, era nnali mpulira Yusufu nga ampita.” Kati, awo ne nkyuka nate, era ne ndowooza , “Mukama Katonda, okwolesebwa kuno kutegeeza ki?” Era ne neewuunya, awo ne kijja gye ndi, si eddoboozi, kyajja buuzi gyendi. Oh, abo Bamalayika ba Mukama bajja gye ndi okumpa okutumibwa kwange okupya. Era bwe nnalowooza ekyo, nawanika emikono gyange, ne nngamba, “Ayi Mukama Yesu, kiki kyoyagala nkole?” Okwolesebwa ne kunvaako. Okumala kumpi ssaawa, nnali seewulira.
Kati, bantu mmwe mumanyi emikisa gya Mukama bwe giri. Naye amaayi ga Mukama ganjawulo nnyo. Amaanyi ga Mukama mu bifo nga ebyo, nagawulira emirundi mingi, mingi nnyo nga okwolesebwa tekunnaba, naye si nga ku luno. Kyalinganga okutya okwo okutukuvu. Natya nnyo okutuusa bwenasanyalala mu maaso ga Bamalayika bano. Njogera mazima. Nga Pawulo bwe yagamba, “Sirimba.” Mwali munkuteko nga njogera ekintu kyonna ekikyamu ku kintu nga ekyo? Waliwo ekintu ekigenda okubaawo. Awo oluvannyuma nagamba, “Mukama Yesu, bwemba nga nngenda kuttibwa, leka nkitegeere nneme okubuulira abantu bange ku kino: naye bwe kiba kintu kirala, leka mmanye.” Te-tewaaliwo kyaddamu.
Oluvannyuma Omwoyo nga amaze okundekawo okumala nga kitundu kya ssaawa ndowooza oba okusingawo ne nngamba, “Mukama, bwe kiba nga nngenda kuttibwa, era nga omaliriiza nange ku nsi, era-era nga nngenda kutwalibwa eka kati, era bwe kiba nga kye kyo, ekyo tekirina buzibu. Ekyo kirungi.” Kale ne nngamba, “Bwe kiba nga kye kyo, leka mmanye. Nsindikira nate amaanyi Go. Awo nnamanya engeri y’obutakibuulirako bantu bange, oba omuntu yenna, kubanga oteekateeka okujja okutwala.” Era nze... Era tewaali kyabaawo. Era nenindirirako akaseera. Awo ne nngamba, “Mukama Yesu, bwe kiba nga tekitegeezezza ekyo, era nga kitegeeza nti Olina ekintu kyoyagala nkole era nga kijja kumbikkulirwa oluvannyuma, kale sindika amaanyi Go. Era kumpi kata ganziggye mu kisenge.
Nesanga nga ndi mu nsonda. Nnali mpulira mukyala wange nga agezaako okunyeenya oluggi. Oluggi lw’omu kisenge lwali lusibe. Bayibuli yali mbikkule, era waali wasoma... Simanyi, naye kyali mu, nzikiriza, Baruumi essuula 9, olunnyiriri olusembayo: “Laba nteeka mu Sayuuni ejjinja ery’oku nsonda, ejjinja ery’okwesittalwako, ejjinja enkulu ery’oku nsonda, era buli amukiriza talikwasibwa nsonyi.” Ne ndowooza, “Kyewuunyisa okuba nga nsoma ekyo.” (Omwoyo ng’ampanise akyantabuza mu kisenge.)
Nabikka ku Bayibuli ne nnyimirira awo. Nagenda ku ddirisa (Zaali essaawa nga nnya ez’emisana oba okusingawo.), era ne mpanika emikono gyange, ne nngamba, “Mukama Katonda, sitegeera. Luno olunaku lwa njawulo gye ndi. Era kumpi nkyamuse.” Ne nngamba, “Mukama, ekyo kitegeeza ki? Ka nsome nate, bwe kiba ye Ggwe.” Kati, kino kiwulikika nga eky’ekito. Ne nkwata Bayibuli, ne ngibikkula. Era ne kijja awo wennyini mu kifo kyekimu: Pawulo nga agamba Abayudaaya nti bagezaako-nga agamba Abaruumi nti Abayudaaya bagezaako okukkiriza n’ebikolwa, naye kiri nti tukikkiriza lwa kukkiriza.
-----
Nzikiriza nti malayika ow’omusanvu owa Kubikkulirwa 10 ye mubaka ow’ekkanisa ey’omusanvu eya Kubikkulirwa 3:14. Jjukira... Kati, ka nsome...laba... we nngenda okusoma... Kati, ono ye yali malayika ow’omusanvu. 200 Naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu... (olunnyiriri olw’omusanvu)... bw’aliba ng’agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukira, ng’enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu be bannabbi. 201 Kati, weetegereze, ono yali malayika; era ye malayika w’omulembe gw’ekkanisa ey’omusanvu, kubanga kigamba wano, ye malayika ow’omusanvu ow’ekkanisa ey’omulembe ogw’omusanvu. Okiraba nti... bw’oba oyagala okukiraba ani-malayika aliruddawa, Kubikkulirwa 3:14, ye malayika w’ekkanisa ya Lawodikiya.-----
Wetegereze, malayika ow’omusanvu yali wakunenya ekkanisa engagga eya Lawodikiya. “Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga.” Yagamba, “Muli banaku abasaasirwa, abaavu, abazibe b’amaaso era abali obwereere, naye nga temukimanyi.” Obwo bwe bwali obubaka bwe. 230 Ayi, Katonda, tusindikire nnabbi atalimutitiizi ne BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, nti Ekigambo kya Katonda ekikakasiddwa kijja kukiyitamu, era kikakasibwe nti atumiddwa okuva eri Katonda. Era bwajja, ajja kuginenya emirembe egyo. Mazima ajja kukikola. Ajja kuleetera ekkanisa eyo eya Lawodikiya okumukyawa. Mazima ajja kukikola. Baakikola mu buli mulembe. Tekijja kukyuka mu mulembe guno. Kiteekwa okuba kyekimu.Soma akawunti mu...
Kano ke kabonero k’enkomerero, ssebo?Laba ebisingawo... Bire eby'eggulu.
awo lwe kalirabika akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: n'ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene.
Matayo 24:30