Omulembe gw’Ekkanisa ya Lowodikiya.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Omulembe gw’Ekkanisa ya Lowodikiya.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Lowodikiya.

Okubikkulirwa 3:15-19,
"Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.
Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma, ndikusesema mu kamwa kange.
Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere:
nkuweerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.
Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye."

Nga bwe tukisomedde awamu ffenna nkakasa nga mulabye nti Omwoyo Tayogedde kirungi kyonna ku mulembe guno. Alumiriza ebintu bibiri era n’Alangirira omusango Gwe ku byo.

(1) Okubikkulirwa 3:15,16 "Nti Mmanyi ebikalwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe nga onnyogoga oba obuguma. Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma Ndikusesema mu kamwa Kange."

Kino tugenda kukyekaliriza n’obwegendereza. Kigamba nti ekibiina ky’ekkanisa y’omulembe guno ogwa Lawodikiya kya kibuguumirize. Ekibuguumirize kino kisaanidde okubonerezebwa Katonda. Ekibonerezo kiri nti bajja kusesemwa okuva mu kamwa Ke. Mu butamanya bagamba nti Katonda Ayinza okukusesema okuva mu kamwa Ke era nti ekyo kikakasa nti tewali mazima bwe gatyo mu njigiriza egamba nti Abatukuvu bagumiikiririza mu bizibu. Wano wennyini njagala okugolola endowooza yammwe. Olunyiriri luno teruweereddwa muntu omu. Luweereddwa kkanisa. Ayogera eri kkanisa. N’ekirala, bwe muteerabire Ekigambo mujja kujjukira nti tewali we kigambira nti tuli mu KAMWA ka Katonda. Twawandiikibwa mu bibatu Bye.

Tusituliddwa mu kifuba Kye. Edda ennyo mu biro ebitamanyiddwa nga n’ebiseera tebinnabaawo twali mu birowoozo Bye. Tuli mu kisibo Kye, era mu ddundiro Lye, naye tetubangako mu kamwa Ke. Naye kiki ekiri mu kamwa ka Mukama? Ekigambo kiri mu kamwa Ke. Mat. 4:4 "Naye n’Addamu n’Agamba nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’’ Naffe, Ekigambo kiteekwa okuba mu kamwa kaffe. Kati tumanyi nti ekkanisa gwe mubiri Gwe. Eri wano mu kifo Kye. Kiki ekinaabeera mu kamwa k’ekkanisa? KIGAMBO.

1 Pet. 4:11 "Omuntu yenna bw’ayogeranga (ayogerenga) nga ebiragiro (Ekigambo) bya Katonda bwe biri." 2 Pet. 1:21 "Kubanga tewali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw’abantu; naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu." Kale kati kiki ekikyamu ku bantu bano ab’ennaku ezisembayo? BAVUDDE KU KIGAMBO. TEBAKYAKIYAAYAANIRA. BA KIBUGUUMIRIZE KU KYO. Kati ekyo ŋŋenda kukikakasa.

Ababaptist balina ebikwate byabwe n’ebiragiro byabwe bye beesigamizza ku Kigambo era toyinza kubanyeenya. Bagamba mbu nno ennaku z’abatume ez’ebyamagero zaggwaako era tewali kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu, nga omuntu amaze okukkiriza. Abamethodist bagamba (nga beesigamya ku Kigambo) mbu tewali kubatizibwa na mazzi (okumansira si kubatizibwa) nti era okutukuzibwa kwe kubatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu. Ab’enzikiriza eyitibwa Church of Christ bo essira balissa ku kubatizibwa kw’okuzaalibwa okw’okubiri era emirundi egisinga obungi bakkamu nga boonoonyi abakalu ne bavaamu nga boonoonyi abatobye. So nga bagamba mbu enjigiriza yaabwe yeesigamye ku Kigambo. Ku lukalala kkira ddala wansi otuuke ku Bapentekote. Balina Ekigambo? Bagezese nga okozesa Ekigambo olabe. Bajja kuwaanyisa Ekigambo n’okukyamuukirira kumpi buli kiseera. Bw’oba osobola okubaako ky’oyoleka nga amafuta n’omusaayi n’ennimi n’obubonero obulala, oba mu Kigambo oba nedda, oba kivvuunuddwa mu butuufu okusinziira ku Kigambo, abasinga obungi bajja kukikkiriza. Naye kiki ekituuse ku Kigambo? Ekigambo kiteekeddwa ku bbali, Katonda ky’Ava Agamba nti, "Mbawakanya mwenna. Nja kubasesema mu kamwa Kange. Eno ye nkomerero. Kubanga mu mirembe gyonna omusanvu, Ssirina kye Ndabye okujjako abantu okugulumiza ekigambo kyabwe okusinga Ekyange. Kale ku nkomerero y’omulembe guno Nja kukuwandula okuva mu kamwa Kange. Byonna biwedde. Kale ŋŋenda kwogera. Yee, Ndi wano wakati mu kkanisa.

Amiina owa Katonda, omwesigwa era ow’amazima Ajja kweyoleka era kijja KUYITA MU NNABBI WANGE.’’ Ha ddala, bwe kiri. Kubik. 10:7, "Naye mu nnaku z’eddoboozi lya malaika ow’omusanvu, bw’aliba nga agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, nge enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu Be bannabbi." Kiikyo awo. Atuma nnabbi akakasiddwa. Atuma nnabbi nga waakayita emyaka kumpi enkumi-bbiri. Atuma omuntu omwawufu ennyo ku bibiina ebigunje, obuyigirize, n’ensi ey’eddiini nti okufaanana nga Yokaana Omubatiza ne Eriya ow’edda, Ajja kuwulira kuva eri Katonda Yekka era ajja kuba ne “bw’Atyo bw’Ayogera Mukama” era ayogere ku lwa Katonda. Ajja kuba muzindaalo gwa Katonda era, OYO NGA BWE KYALANGIRIRWA MU MAL. 4:6ALIKYUSA EMITIMA GY’ABAANA ERI BAKITAABWE. Alikomyawo abalonde ab’ennaku ezisembayo era baliwulira nnabbi omukakase nga awa amazima gennyini nga Pawulo bwe yakola. Agenda kuzzaawo amazima nga bwe baagalina. Era abalonde abo wamu naye mu nnaku ezo be balyolekera ddala Mukama era babeere Omubiri Gwe era babeere eddoboozi Lye era bakole emirimu Gye. Aleruuya! Mukiraba?

Okulowoozaako ku byafaayo by’ekkanisa akaseera kijja kukakasa obutuufu bw’ekirowoozo kino. Mu mirembe gy’Enzikiza Ekigambo kumpi kyali kibuze ku bantu. Naye Katonda Yatuma Luther n’EKIGAMBO. Abagoberezi ba Luther baayogera ku lwa Katonda mu kiseera ekyo. Naye beegunjirawo entegeka ezaabwe, ate era Ekigambo ekitali kitabulemu kyabula kubanga ebibiina byekubira ku biragiro n’ebikwate so si ku Kigambo ekyangu. Baali tebakyasobola kwogera ku lwa Katonda. Olwo Katonda n’Atuma Wesley, era oyo ye yali eddoboozi n’Ekigambo mu nnaku ze.

Abantu abakkiriza okubikkulirwa kwe okwava eri Katonda be baafuuka ebbaluwa ennamu ezaasomebwa era ne zimanyibwa abantu bonna ab’omulembe ogwo. Abamethodist bwe baalemwa, Katonda n’Ayimusa abalala era bwe kityo bwe kibadde mu myaka gyonna okutuusa mu nnaku zino ezisembayo waliyo abantu abalala nate mu nsi, nga abo bakulemberwa omubaka waabwe baliba eddoboozi erisembayo eri omulembe ogusembayo. Yee ssebo. Ekkanisa tekyali “muzindaalo” gwa Katonda. Yeeyogerera ku lwayo. Kale Katonda Agikyukira. Ajja kugiswaza ng’Ayita mu nnabbi n’omugole, kubanga eddoboozi lya Katonda liribeera mu ye. Yee bwe kiri, kubanga mu ssuula esembayo mu Kubikkulirwa olunyiriri 17 kigamba nti, “Omwoyo n’omugole boogera nti Jjangu.’’ Nate omulundi omulala ensi ejja kuwulira butereevu okuva eri Katonda nga bwe kyali ku Pentekote; naye kkwo okuba oyo Omugole w’Ekigambo alisambajjibwa nga mu mulembe ogwasooka.

Kati Ayogeredde waggulu eri omulembe guno ogusembayo nti, “Mulina Ekigambo. Mulina Bayibuli nnyingi okusinga ze mwali mubadde nazo, naye temulina kye mukola ku Kigambo okujjako okukikutulakutulamu obutundutundu, nga mutwalako bye mwagala ne mulekawo bye mutayagala. Temunyumirwa KUKITAMBULIRAMU, wabula okukiwakanya. Njagala mangu mube nga munnyogoga oba mwokya. Bwe muba abannyogovu ne mukigaana, ekyo nnandikigumidde. Bwe mwengerera ne mumanya amazima gaakyo ne mukitambuliramu Nnandibawaanye olw’ekyo. Naye bwe muddira Ekigambo Kyange ne mutakissaamu kitiibwa, Nange bwe Ntyo Nteekwa okugaana okubafaako. Nja kubawandula kubanga munsinduukiriza emmeeme.”

Kati omuntu yenna amanyi nti amazzi ag’ekibugumirize gakulwaza olubuto. Bw’oba oyagala ekintu eky’okukusesemya, amazzi ag’ekibuguumirize kumpi ge gasinga okukola. Ekkanisa ey’ekibuguumirize erwazizza Katonda era Alangiridde nti Ajja kugiwandula. Kitujjukiza engeri gye Yawuliramu amataba nga ganaatera okubeerawo, si bwe kiri?

Ha, nga Katonda Yandyagadde ekkanisa ebeere nnyinyogovu oba eyokya. Ekyandisingidde ddala obulungi, ekkanisa yandibadde eyokya (nga eyengeredde). Naye si bw’eri. Omusango gusaliddwa. Tekyali ddoboozi lya Katonda eri ensi. Ejja kugenda mu maaso nga egamba nti bw’etyo bw’eri, wabula Katonda Agamba nti si bw’eri.

Ha, Katonda Akyalina ky’Ayogera eri abantu b’ensi, era nga bw’Ayogedde eri omugole. Eddoboozi eryo liri mu mugole nga bwe tugambye era ekyo tujja kwongera okukyogerako oluvannyuma.

(2) Okubikkulirwa 3:17-18, "Kubanga oyogera nti ndi mugagga, era ngaggawadde, ssiriiko kye nneetaaga; so tomanyi nga oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w’amaaso era ali obwereere. Nkuweerera amagezi okugula gye Ndi ezzaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n’engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez’obwereere bwo zireme okulabika; n’eddagala ery’okusiiga ku maaso go, olyoke olabe."

Kati laba enjogera y’olunyiriri luno esooka, "Kubanga oyogera nti." Labayo, baali bagamba. Baali boogera nga eddoboozi lya Katonda. Kino kikakasiza ddala ekyo kye nnagambye ennyiriri 16-17 kye zitegeeza. Naye newakubadde bakyogera, ekyo tekikifuula kituufu. Eklezia Enkatulika egamba nti eyogerera Katonda, nga egamba mbu yo lye ddoboozi lya Mukama ekkakafu. Kisukkiridde ku kumanya kwe nina nti omuntu yenna asobola okuba omwonoonyi mu mwoyo okwenkana awo, naye babala ebibala okusinziira ku nsigo ebalimu, era tumanyi wa ensigo eyo we yava, si bwe kiri?

Ekkanisa ya Lawodikiya egamba nti, “Ndi mugagga era ngaggawadde, ssiriiko kye nneetaaga.” Bw’etyo yo bwe yali yeemanyi. Yeetunuulira era ekyo yo kye yalaba. Yagamba nti, “Ndi mugagga,” ekitegeeza nti alina bingi nnyo eby’ensi eno. Yeenyumiriza bw’okigeraageranya ne Yakobo 2:5-7, “Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda Teyalonda abalina obwavu bw’omu nsi okubeeranga n’obugagga obw’okukkiriza, n’okusikira obwakabaka bwe Yasuubiza abamwagala? Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bemyini awasalirwa emisango? Singa bavuma Erinnya eddungi lye muyitibwa?” Sigamba nti nno omuntu omugagga TAYINZA kuba wa Mwoyo, naye ffenna tukimanyi nti Ekigambo kigamba nti batono nnyo. Abaavu be basinga obungi mu mubiri gw’ekkanisa entuufu. Kati nno, ekkanisa bw’ejjula obugagga, tumanyi ekintu kimu kyokka; “Ikabodi” kiwandiikiddwa ku miryango gye! Ekyo toyinza kukyegaana, kubanga ekyo kye Kigambo.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Lowodikiya.


  Bayibuli egamba...

Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.

Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.

Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.

Okubikkulirwa 3:20-22



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Kristo Ebweru w’Ekkanisa.)


Tumanyi nti guno
gwe mulembe
ogusembayo
kubanga Isiraeri
ezzeeyo mu
Nsi Entukuvu.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF Olungereeza)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Ebimuli by’omuliro.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950.

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.