Okufa. Leka ntunule okusukka olutimbe lw'ebiseera.
<< jjuuzi
ekiddako >>
Kwagala okutuukiridde.
William Branham.Soma akawunti mu...
Kabaka Eyagaanibwa.Ssande ewedde kumakya, nnali, nnali nzuukuse bukyali... Bulijjo nneeraliikiriddenga, ndowoozezzanga ku ky'okufa. Kkyo, eky'okubeera nga nze nnina emyaka ataano, kiri, obudde bwange tebu... ssaalowooza nti bwali buwanvu nnyo. Ne nneebuuza kiki kye nnabeera mu mubiri ogwo ogw'omwoyo, omubiri. “Kinaabeera nti nnaalaba mikwano gyange abaagalwa era, gamba, olufu nga luyitawo, ne amba nti, 'Ow'oluganda Neville wuuli agenda, oba, taasobole kugamba nti, 'Halo, Ow'oluganda Branham'? Yesu bw'Anajja, awo nja kubeera musajja nate.” Bulijjo ekyo nkirowoozezzanga.
Nnali ndoota nti nnali wabweru e Bugwanjuba. Nga nzikirira wansi okuyita mu kifo ky'omuddo ogumu, ne mukyala wange yali nange, era twali mu kuvuba. Ne nnyimirira ne-ne nzigulawo wankaaki. N'obwengula bwali bulungi nnyo. Tebwalabika nga bwe buli wano mu kiwonvu. Bwali bwa bbululu, n'ebire ebirugi ebyeru. Ne amba mukyala wange, nnagamba nti, “Ow'omukwano, twali tuteekeddwa okubeera wano, ekiseera kiwanvu emabega.” Yagamba nti, “Ku lw'abaana, twandibadde, Billy.” Nnagamba nti, “Ekyo...”
Ne ngolokoka. Ne ndowooza nti, “Ndootaloota nnyo! Nneewuunya lwaki.” Ne ntunula wansi, era ye mukyala wange yali agalamidde kumpi nange. Ne nnyimukira ku katto kange akazizika omutwe, nga bangi ku bantu mmwe bwe mukikoze, ne nteeka omutwe gwange awo awazizikibwa omutwe ku kitanda n'emikono gyange ne ngiteeka emabega wange. Era nnali ngalamidde awo bwenti. Ne amba nti, “Kale, nneebuuza bwe buuza kiriba kitya, emitala eri. Mmaze okuweza emyaka amakumi ataano, ate nga sirina kye nnaabadde kukola. Simba mbaako kye nkola okuyamba Mukama, mmanyi sijja kubeera oyo atafa. Waakiri ekitundu ku budde bwange kigenze, oba ekisinga ne ku kitundu. Bwe mpangaala ng'abantu bange, era kisigala nti ekitundu ku budde bwange kigenze.” Ne ntunulatunula okwetoolooza amaaso. Nga nnali ngalamidde awo, nga ntekaateeka okuyimuka. Zaali essaawa ng'emu. Nnagamba nti, “Nzikiriza nja kuserengeta okugenda ku kkanisa, enkya ya leero. Bwe mbeera nsaakadde obulago, nnandiyagadde okuwulira ow'Oluganda Neville ng'abuulira.” Kale ne amba nti, “Ow'omukwano, ozuukuse?” Era yali yeebase nnyo nnyini ddala. Era ssaagala kino mukisubwe. Kinkyusizza. Sisobola kubeera ow'Oluganda Branham y'omu gwe nnali.
Ne ntunula. Ne mbaako kye nnawulira, nga kyeyongera kugamba nti, “Otandika butandisi. Nyiga eppeesa. Weeyongere okukwatirirako.” Nnanyeenyaamu kko omutwe gwange okumala akadakiika. Ne ndowooza nti, “Kale, oboolyawo ndowooza bulowooza bwenti.” Mumanyi, omuntu asobola okubaako okufumiitiriza okumu kw'afuna. Ne amba nti, “Oboolyawo ekyo mmaze ga kifumiitiriza.” Ne kigamba nti, “Nyigiriza olutalo. Weeyongere okugenda mu maaso. Weeyongere okugenda mu maaso.” Ne amba nti, “Oboolyawo nnakyogedde.” Ne mbunira, omukono gwange ne nguteeka ku mimwa gyange.
Ne kikomawo nate, nga kigamba nti, “Weeyongere okukwatirirako. Kale singa obadde omanyi kiki ekiri ku nkomerero y'olugendo!” Ne kirabika ng'asobola okuwulira Graham Snelling, oba omuntu omu, eyayimba akayimba ako bwe kati (Bakayimba wano, Anna Mae nammwe mwenna.): Nnina ekiyongobero ky'okuba eka era nnina ennaku, era njagala kulaba Yesu Nnandiyagadde okuwulira ebide ebyo ebiwoomu nga bivuga Kiyinza okumulisa ekkubo lyange n'okuggyawo okutya kwange kwonna. Mukama, leka ntunule okusukka olutimbe lw'ebiseera. Muwulidde nga kayimbibwa wano ku kkanisa.
Ne mbaako kye mpulira nga kigamba nti, “Wandiyagadde okulaba okusukka olutimbe?” Ne amba nti, “Kiyinza okunnyamba ennyo.” Ne ntunula. Mu kaseera buseera, nze... mu lussa lumu nnali nzize mu Kifo ekitono ekyesulika. Ne ntunula emabega, era nga ndi awo, nga ngalamidde ku buliri. Ne amba nti, “Kino kintu si kya bulijjo.”
Kaakati, ssandiyagadde mmwe kino mukiddemu. Kino kiri mu maaso g'ekkanisa yange oba endiga zange ezo ze nsumba. Oba kyali, nga nnali mu mubiri guno oba wabweru, oba kwali kukyusibwa, tekwali nga okwolesebwa kwonna kwe nnali nfunye. Nnasobola okutunulayo Eyo, era nga nsobola okutunula wano.
Bwe nnatunula mu Kifo ekyo ekitono, nnali sirabangako bantu bangi nga bajja badduka, nga baleekaana nti, “Oh, muganda waffe omwagalwa!” Ne ntunula. Era abakazi abato, oboolyawo mu myaka gyabwe emito egy'abiri, kkumi na munaana ku makumi abiri, baali basuula emikono gyabwe okuginneetoolooza, nga bwe baleekaana nti, “Muganda waffe omwagalwa!”
Baabano wano abavubuka abato ne bajja, mu kutemagana kwabwe okw'omu buvubuka. N'amaaso gaabwe nga gaakaayakana era nga bafaanana nga emmunyeenye mu kiro eky'ekizikiza. Amannyo gaabwe nga meeru nga luulu. Era baali baleekaana, nga bansika, nga bwe baleekaana nti, “Oh, muganda waffe omwagalwa.
Ne nnyimirira, ne ntunula. Nnali muto. Ne ntunula emabega ku mubiri gwange omukadde nga gugalamidde awo, n'emikono gyange nga giri mabega wa mutwe gwange. Ne amba nti, “Kino sikitegeera.” N'abakazi bano abato nga basuula emikono gyabwe okuginneetoolooza.
Kaakati, nkizuula nti kino kibiina ekitabuletabule, era kino nkyogera n'obuwoomerevu obw'Omwoyo. Abasajja temusobola kwetoolooza bakazi mikono gyammwe awatali kwaka kwa mubiri; Wabula ekyo tekyaliyo Eyo. Tewaaliwo jjo oba nkya. Tebaakoowa. Baali... Ssirabanga bakazi balinga bwe batyo mu bulamu bwange bwonna. Baalina enviiri zaabwe nga zikkirira wansi mu kiwato kyabwe, nga sikaati mpanvu okutuuka ku bigere byabwe. Era baali bangwa bugwi mu kifuba. Tekwali kugwa mu kifuba nga okwamwannyinaze atudde awo, bw'ayinza okungwa mu kifuba. Baali tebannywegera, era nange nnali sibanywegera. Kyali kintu kye sinnaba kusanga mu bigambo ebikozesebwa mu kwogera, sinnaba kufuna bigambo kukyogera. “Okutuukirira” tekuyinza kukituuka. “Ekisuffu” nga nakyo tekisobola kukinnyonnyola awantu wonna. Kyali kintu kye nnali si... Olina kubeera Eyo.
Ne ntunula eno, n'eri. Era baali bajja, nga bali nkumi na nkumi. Nze amba nti, “Kino sikitegeera.” Nnagamba nti, “Kale, ba...” Era wano Hope n'ajja. Oyo ye yali mukyala wange eyasooka. Yadduka, kale teyaambako nti, “Mwami wange.” Yagamba nti, “Muganda wange omwagalwa,” ne bwe yannywegera. Waaliwo omukazi omulala ayimiridde awo, eyannywegera, awo Hope n'anywegera omukazi ono; na buli omu kubo. Ne ndowooza nti, “Oh, kino kirina okubeera ekintu eky'enjawulo. Tekisobola kubeera... Waliwo ekintu...” Nnalowooza nti, “Oh, nnyinza okwetaaga okuddayo mu mubiri omukadde omufu nate?” Olwo ne ntunulatunula okwetooloola. Ne ndowooza nti, “Kino kiki?” Ne ntunula ddala bulungi. Ne amba nti, “Kino sikitegeera.” Naye Hope yalabikanga, oh, omugenyi omukulu. Teyali wanjawulo, wabula nga omugenyi omukulu.
Ne mpulira Eddoboozi awo eryayogera nange, eryali mu kisenge, nga ligamba nti, “Kye kino kye wabuulira ekyali Omwoyo Omutukuvu. Kuno kwe Kwagala okutuukiridde. Era tewali kiyinza kuyingira wano nga tekikulina.” Mmaliridde n'okukirawo, okusinga bwe nnali mbadde mu bulamu bwange, nti kitwala Kwagala kutuukiridde, okuyingirayo Eyo. Tewaaliyo buggya. Tewaaliyo bukoowu. Tewaaliyo kufa. Bulwadde nga tebuyingirayo Eyo. Obulamu obw'okufa; nga tebusobola kukufuula mukadde. Ne ba... Nga tebasobola kukaaba. Lyali essanyu limu.
“Oh, muganda wange omwagalwa!” Ne bantwala waggulu, ne bantuuza waggulu mu kifo eky'amaanyi ekinene ekya waggulu. Ne ndowooza nti, “Siri mu kuloota. Ndi mu kutunuulira mabega eri omubiri gwange nga gugalamidde wansi wano ku buliri.” Ne bantuuza waggulu awo. Ne amba nti, “Oh, Sirina kutuula waggulo wano.” Era wano abasajja n'abakazi ne bajja, okuva ku njuuyi zombiriri, nga bali mu buvubuka bwabwe ddala, nga baleekaana. N'omukazi omu yali ayimiridde awo, n'aleekaana nti, “Oh, muganda wange omwagalwa! Oh, tuli basanyufu nnyo okukulaba Wano.” Ne amba nti, “Kino sikitegeera.” Awo nno Eddoboozi eryo eryali lyogera, okuva waggulu wange, ne ligamba nti, “Omanyi, Kyawandiikibwa mu Baibuli nti bannabbi baakuaanyibwa n'abantu baabwe.” Ne amba nti, “Yee. Ekyo nkijjukira mu Byawandiikibwa.” Lyagamba nti, “Kale bw'oti bw'olikuaana n'abantu bo.” Ne ŋŋamba nti, “Awo bajja kubeera bannamaddala, era nsobola okubawulira.” “Oh, yee.”
Ne amba nti, “Naye, waliwo bukadde na bukadde. Ba Branham si bangi.” Eddoboozi ne ligamba nti, “Si ba Branham. B'ebo be wakyusa okuva mu kibi. B'ebo be wakulembera okujja eri Mukama.” Ne amba nti, “Abamu ku bakyala abo awo, b'olowooza nti balungi nnyo, baali ba myaka ga kyenda egy'obukulu bwe wabakulemberera okubaleeta eri Mukama. Tekyewuunyisa lwaki baleekaana nti, ”Muganda waffe omwagalwa!'“ Ne baleekaana, bonna omulundi gumu, ne bagamba nti, “Singa tewagenda, tetwandibadde Wano.”
Ne ntunulatunula wonna amaaso, Ne ndowooza nti, “Kale, sikifuna.” Ne amba nti, “Oh, Yesu Ali wa? Njagala okumulaba Ye, nnyo ddala.” Ne bagamba nti, “Kaakati, Ye Aliko wagguluko, waggulu eri eyo.” Ne bagamba nti, “Olunaku olumu Ajja kujja gy'oli.” Mulaba? Baagamba nti, “Watumibwa okuba omukulembeze. Ne Katonda Ajja kujja. Era bw'Anajja, ekisooka Ajja kukusalira omusango okusinziira ku kiki kye wabayigiriza, ekisooka oba nga bayingira oba nga tebaayingire. Tujja kuyingirayo okusinziira ku kuyigiriza kwo.” Ne amba nti, “Oh, ndi musanyufu nnyo. Ne Pawulo, alina okuyimirira bw'ati? Ne Peetero alina okuyimirira bw'ati?” “Yee.”
Ne amba nti, “Awo nno nnabuulira buli Kigambo kye baabuulira. Sikivangako, okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala. We baabatiriza mu Linnya lya Yesu Kristo, nange nnakikola. We baayigiriza okubatizibwa kw'Omwoyo Omutukuvu, nange nnakikola. Kyonna kye baasomesa, nange nnakikola.” Abantu abo ne baleekaana, ne bagamba nti, “Ekyo tukimanyi. Era tukimanyi nti tugenda naawe, olunaku olumu, okudda ku nsi.” Baagamba nti, “Yesu Ajja kujja, era ojja kusalirwa omusango okusinziira ku Kigambo kye watubuulira. Era bw'olibeera nga okkiriziddwa mu kiseera ekyo, ate nga ojja kukkirizibwa,” ne bagamba nti, “awo ojja kutwanjula gy'Ali ng'ebirabo by'obuweereza bwo.” N'agamba nti “Ojja kutukulembera okugenda gy'Ali, era ffenna wamu, tujja kuddayo ku nsi, okubeerayo olubeerera.” Ne mbuuza nti, “Nnina okuddayo kaakati?” “Yee. Wabula weeyogere okunyigiriza.”
Ne ntunula. Ne ndaba abantu, nga bwe nnasobola okulaba, nga bakyajja, nga baagala okungwa mu kifuba, nga baleekaana nti, “Muganda waffe omwagalwa!” Awo nno Eddoboozi ne ligamba nti, “Byonna bye wali oyagadde, ne byonna ebyali bikwagadde, Katonda Abikuwadde Wano.” Nde ntunula. Kale yiino embwa yange enkadde ng'ejja, ng'ejja etambulatambula. Yiino endogoyi yange n'ejja, n'eteeka omutwe gwayo ku kibegaabega kyange, n'essa olussa olw'eddembe. Ne ligamba nti ebyo byonna bye wali oyagadde, n'ebyali bikwagadde, Katonda abikuwadde mu mikono gyo, okuyita mu buweereza bwo.“ Ne nneewulira nga nva mu Kifo ekyo ekirungi.
Ne ntunulatunula okwetoolooza amaaso. Ne amba nti, “Mukwano, ozuukuse?” Yali akyebase. Ne ndowooza nti, “Ayi Katonda! Oh, nnyamba, Ayi Katonda. Tonganya okwekkiriranya yadde n'Ekigambo ekimu. Leka nsigalire ddala butereevu ku Kigambo ekyo, era nkibuulire. Sifaayo kiki ekijja oba ekigenda, kiki omuntu yenna ky'akola; mmeeme mmeka eza... batabani ba Kiisi ezigolokoka, bino bimeka, ebyo oba biri. Mukama leka, nkwatirireko okutuuka mu Kifo ekyo.”
Okutya kwonna okw'okufa... Enkya ya leero, kino nkyogera, ne Baibuli yange ng'eri mu maaso gange. Nnina omulenzi omuto awo, wa myaka ena egy'obukulu, ow'okukuza. Nnina omuwala ow'emyaka omwenda; nga era mutiini, ekyo nkyebaliza, abo abakutte ekkubo lya Mukama. Katonda, anya mbeere mulamu, okusobola okubakuliza mu kutya Katonda. Era waggulu w'ekyo, ensi yonna erabika okundeekaanira, abasajja n'abakazi ab'emyaka ekyenda, n'abeebika byonna nti, “Singa tewagenda, tetwandibadde Wano.”
Kati, Katonda, leka kwatirireko kko ku lutalo. Wabula bwe kituuka ku kufa, siryennyamira. Liyinza okubeera essanyu, kiyinza okubeera akayisanyo, okuyingira, okuva mu kuvunda kuno n'okuswazibwa. Bwe mba nsobola okutuuka, emitala eyo waggulu, mmayiro nga obuwumbi kikumi waggulu, mu kuteebereza, era okwo kwe Kwagala okutuukiridde, buli ddaala eno, lifunda okutuusa bwe nga tutuuse wansi we tuli kaakati. Kiyinza okubeera ekisiikirize ky'okuvunda, ekyo ekintu ekitono kye tusobola okutegeera n'okuwulira nti waliwo ekintu ekimu awantu awamu. Tetumanyi kiki kye kiri.
Oh, mikwano gyange ab'omuwendo, abaagalwa, ab'emikwano bange eb'Enjiri, abaana bange be nnazaala eri Katonda, mumpulirize, musumba wammwe. Mmwe, amba nti kale singa waliwo engeri emu gye nnyinza okukibannyonnyolamu. Tewaliiwo bigambo; Siyinza kubizuula; tekirina we kisaangibwa wonna. Naye okusukka olussa luno olusemba, we wali ekintu ekisinga okuba eky'ekitiibwa kye wali... Tewaliiwo ngeri ya kukinnyonnyolamu. Tewaliiwo ngeri. Sisobola kukikola. Naye kyonna ky'okola, mukwano, ssa ku bbali kyonna ekirala okutuusa ng'ofunye Okwagala okutuukiridde. Tuuka awantu nga osobola okwagala buli buntu, buli mulabe, na buli kimu ekirala.
Olukyala lumu Eyo, gyendi, lunfudde omuntu ow'enjawulo. Sisobolera ddala kuba Ow'oluganda Branham y'omu gwe nnali.
Soma akawunti mu... Kabaka Eyagaanibwa.
Also: Beyond the Curtain of Time. (PDF English)
Kye kino kye
wabuulira ekyali
Omwoyo Omutukuvu.
Kuno kwe
Kwagala
okutuukiridde.