Okufumbiriganwa n’okwawukana.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Okutambula kw’Ekikristaayo series.

Ku lubereberye tekyali bwe kityo.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okufumbiriganwa n’okwawukana.

Matayo 19:8,
8 N'abagamba nti, Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kye yava akkiriza mugobenga bakazi bammwe: naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo.

Ekyawandiikibwa kino, ekibuuzo kino, Yesu baakimusimba ku ntandikwa yennyini ey'obuweereza Bwe. Musa naye baakimwolekeza ku ntandikwa yennyini ey'obuweereza bwe. Ky'ekibuuzo ekisingayo okuba ku mwanjo mu mitima gy'abakkiriza. Ye omwonoonyi teyeefiirayo. Wabula kiri ku bakkiriza, kubanga omukkiriza y'agezaako okukola kyonna ky'amanyi okulaba ng'atambula bulungi mu maaso ga Katonda. N'olwekyo, bwe wabaawo ekibuuzo kyonna nga kikwata ku bya ddiini, awo ekikwata ku Kufumbiriganwa n'Okwawukana we kijjira, (lwaki?) kubanga kye kyavaako ekibi ekyasooka. Awo okwonoona we kwatandikira. Era eyo y'ensonga lwaki buli kaseera kikoonwako, kubanga y'entandikwa yennyini ey'okwonoona.

Kati ssijja kuba na budde kunnyonnyola bintu bino byonna, naye nja kusanyuka okwanukula ebbaluwa yo oba ekintu kyonna kye nsobola. Oba, tulina ebitabo ebyawandiikibwa ku kyo, n'ebibuuzo bingi, n'okunokola okwasalibwa mu mpapula z'amawulire n'ebintu ebirala wano, okukakasa kino, tumanyi nti yali Kaawa. Ekibala ekya Apo ekigambibwa mbu kye yalya, tekiri na mu Byawandiikibwa, ate kati bagamba mbu kyali kibala kirala ekiyitibwa Apricot; ku ebyo byombi tekuli kituufu. Yayenda bwenzi, ekyo ky'ekyavaako okuzaalibwa kw'omwana eyasooka, eyali Kayini, omwana wa Setaani yennyini, kubanga mu ye mwe mwali obubi. Tebwajja nga buyita mu Abiri. Omwana wa Setaani yali Kayini.

----
Kiringa bwe nnagambye, nti enkya ya leero ssinga mba njagala okugenda ebuvanjuba ; nga nze kye mmanyi ekisinga kye kino, mba nnina okufunayo ekintu ekikakafu mu kisaawe, nga kisonze butereevu ebuvanjuba, ne ndyoka enda ebuvanjuba. Waliwo omu eyagamba nti, “Ow'oluganda Branham, eno ye buvanjuba.” Ye buvanjuba, weewaawo, naye nga tennafuukira ddala, wabula bukiikakkono bwa buvanjuba, ne enda ebuvanjuba. Nnandiyitidde ddala ku kintu kyennyini kye mbadde nnoonya; era nnandikomyewo, nga nze mmanyi nti kibadde kikyamu. Naye ssinga waliwo omuntu agamba nti, “Ow'oluganda Branham, kwata lino, ku mukono gwo ogwa ddyo.” Kati, weewaawo eyo eba buvanjuba, naye ng'eba tennafuukira ddala, era, naye buba bukiikaddyo bwa buvanjuba. Nnandibuliddwa ekintu kye nnoonya, kubanga nsusse ku nsalo z'ekkubo lyennyini ettuufu era ettereevu.

Kati, olwo ekyo bwe kiba bwe kityo, tulina endowooza za bika bibiri ku Kufumbiriganwa n'Okwawukana. Era ze zino nti, emu egamba, nti, “Omusajja asobola okuwasa omulundi gumu gwokka, okuggyako nga mukazi we afudde.” Era ekyo ky'ekimu ku bibuuzo, naye, bw'ogenda ng'ogoberera ekyo, osukka w'oba osaanye okukoma. Ate ey'okubiri yo egamba nti, “Ha, omukazi oba omusajja, omu ku babiri, ssinga aba ayenze, omu ku babiri asobola okugobwa oba okunoba n'addamu n'afumbirwa oba n'awasa omulala.” Ekyo nakyo weesanga ng'osusse w'oteekwa okukoma.

N'olwekyo, labayo, si bukiikaddyo bwa buvanjuba oba bukiikakkono bwa buvanjuba; twagala buvanjuba obutereevu bwennyini. Bw'odda eno ofuluma Ebyawandiikibwa, bw'odda eri ofuluma Ebyawandiikibwa. Twagala okumanya wa Ekyawandiikibwa we kikwataganira n'Ekyawandiikibwa, era tusobole okumanya Amazima gaakyo gennyini. Buli omu akwata ekkubo lya njawulo, n'alemwa okuggyayo eky'okuddamu ekituufu, naye ate wateekwa okubaawo eky'okuddamu.

Kiri nga, ennaku zino, waliwo endowooza bbiri ez'amaanyi ku by'enjigiriza mu kkanisa; emu ye y'Ekikalvin, n'endala ye Armn-... y'Ekiarminian. Emu egendera ku mateeka ate endala yo egendera ku kisa. Era twagenda okukizuula ng'abantu abakkiririza mu kisa, Abakalvin, bo bagamba mbu, “Katonda yeebazibwe, nze okunywa ssigala tekirina kabi ke kinkolako. Tekinkola bubi okunywa omwenge. Nsobola okukola ebintu bino, nnina Obukuumi obw'emirembe egitaggwaawo.” Ate ne tusanga oludda luli olulala, olugendera ku mateeka, nga lwo lugamba nti, “Ha, njagala mmugugumbule, njagala mmulangire, wabula, lwa kuba ndi Mukristaayo, nnina okwefuga.” Labayo, weesanga ng'oli mu makubo abiri ag'enjawulo, ate ku gombi nga tekuli ttuufu. Kati, ekyo kizibu okwogera, naye nga ge mazima. Naye twesanga nga tuli mu nguudo bbiri ez'enjawulo; ng'olumu lulina gye lugenda, n'olulala lugenda walala. Kaakati leka tulabe Amazima ge galuwa.

----
Bwe kityo era tulina endowooza bbiri ku kuno Okufumbiriganwa n'Okwawukana. Kaakati, Mukama waffe abikkudde ekyama ky'Ekigambo Kye eky'Envumbo Omusanvu gye tuli, mu nnaku zino ez'oluvannyuma. Kaakati, bangi ku mmwe, kino kiyinza okubawulikikira nga Oluyonaani, naye yo ekkanisa yange ekitegeera. Etegeerera ku ki? Era mubaddenga muwulira okwolesebwa n'ebizze bibaawo. Kale nno ekibuuzo kiva mu Baibuli, era tuyitibwa wano okukkiriza nti wateekwa okubaawo okwanukulwa okutuufu ku kyama kyonna ekikusike ekibadde kyakwekebwa okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi. N'obunnabbi bw'omu Baibuli bugamba nti ebyama bino byali byakumanyibwa mu nnaku zino ezisembayo. Okubikkulirwa 10, “Malayika ow'omusanvu bw'alifuuwa, omubaka eri Lawodikiya, ebyama bya Katonda biribikkulwa ne bimanyika.” Kale guno gwe mulembe ogusembayo, ng'ogwo gwe gwa Lawodikiya.

----
Yesu, mu ky'okuyigako kyaffe, atuyita okuddayo ku lubereberye, olw'ekyokuddamu ekituufu ekiri mu Byawandiikibwa. Kaakati, bwe Yalumbibwa na kino, waaliwo ebintu bibiri ebyalabika. Bakabona baamubuuza nti, “Omusajja asobola okugoba mukazi we, n'awasa omulala, olw'ensonga yonna?” Yesu n'addamu nti, “Tekyali bwe kityo okuva ku lubereberye.”

Awo ne bagamba nti, “Musa yatukkiriza okuwandiika ebbaluwa ey'okwawukana n'omukazi, ng'agobebwa olw'ensonga yonna gye baabanga baagadde okumugobera.” N'agamba nti, “Ekyo, Musa yakikola lwa kubanga,” akaguwa ako nkyaakasumuludde okumala akaseera, “lwa bukakanyavu bwa mitima gyammwe; naye okuva, manyanga ku lubereberye bwe kityo si bwe kyali.” Ekibuuzo!...

Bw'aba Yesu Yagamba nti, “Muddeeyo ku lubereberye,” buli kintu kyonna ku nsi kyali mu mugogo gumu gumu. Waaliwo Adamu omu, Kaawa omu, era Katonda yennyini ye Yabeegattira. Embalaasi emu enkazi, n'ennume emu; enkusu enkazi emu, n'empanga emu. “Ku lubereberye,” nga bwe Yatugamba okuddayo, buli kintu kyonna kyalinga mugogo gumu gumu. Si bwe kiri? [Ekibiina kiddamu nti. “Amiina.” -Omuk.] Awo nno, kati tulaba nti ebintu byonna, “ku lubereberye” byali bitambulira ddala bulungi ne Katonda, nga tewali na kimu kigootaanye. Mu bwengula ebintu byonna bikyali bitebenkevu buli kimu mu kifo kyakyo; emmunyeenye zonna, enkola zonna ez'ebibinja by'emmunyeenye, ensengeka y'obwengula, buli kimu kyonna kitebenkevu. Ssinga ekimu ku byo kimala ne kiseeseetuka, awo kiba kigootaanya entegeka yonna.

Kati wuliriza. Olaba? Ekimu bwe kitaataaganyizibwa entegeka yonna kigyonoona! Kati, olubu lw'abantu bwe baali bakyagendera wamu ne Katonda ng'omusajja ali omu n'omukazi nga ali omu, omukazi ono yayonoona ekyo ne kitabangula entegeka y'ensi yonna n'etaddamu kutambulira ku ntegeka eya Katonda. N'olwekyo, ekigambo ekimu bwe kigattibwa ku Kitabo kino, oba Ekigambo ekimu bwe kitoolebwako, ekyo ekkanisa kigitabangula n'eba nga tekyatambulira mu ntegeka ya Katonda, amaka kigatabangula ne gaba nga tegakyatambulira ku ntegeka ya Katonda. Omukkiriza yenna ayinza okusuulibwa ebweru, olw'obutakkiriza Kigambo kya Katonda kyonna.

----
Kati, awo omusajja we yafulibwa okufugira omukazi, okuyita mu Kigambo kya Katonda. Omukazi yali takyenkanankana na musajja. Mu butonde, yali amwenkana, mukimanyi; naye, bwe yamenya Ekigambo kya Katonda, Katonda n'addira omusajja n'aba nga y'afuga omukazi. Kiri mu Lubereberye 3;16, bw'oba oyagala okukiwandiika. Omukazi awo yali takyenkanankana na musajja. Omukazi ye yali omumenyi w'Ekigambo kya Katonda. Temulaba, “omukazi,” omukazi, ye kkanisa emmanga wano? Omumenyi w'Ekigambo kya Katonda, ekyo kye kyamusuula n'aba nga takyeyongerayo. Era ekyo ekkanisa ky'ekoze, n'esuula okufa okw'omwoyo mu kintu kyonna. Kaakati mujja kutegeera lwaki nzisa nnyo nnyo essira ku bintu bwe ntyo. Ge Mazima! Gano mazima ga Baibuli.

Weetegereze, lwaki yakola ekintu ekifaanana bwe kityo; omukyala oyo omwagalwa, omulungi eyenkanidde awo, ataliiko kamogo akikola atya? Lumu nnalaba ekifaananyi, nkakasa kyali mu Buyonaani, kyali kya musiizi wa bifaananyi eyasiiga ekifaananyi kya Kaawa. Ekifaananyi ekyo nga kye kikyasingayo okulabika obubi mu bye wali olabye. Ekyo kiraga endowooza y'omubiri engeri gy'erabamu ebintu. Naye, omukazi si bwe yali; yali mulungi, era yali mukazi ataliiko kamogo, nga mukazi ddala.

Weetegereze, lwaki yakola ekintu ekifaanana bwe kityo, ng'ate yali wa waggulu bw'atyo? Ye n'omusajja baali wamu, nga bombi benkanankana. Naye kaakati ffenna tukimanyi nti kati okwenkanankana kwe n'omusajja yakusuula, bwe yayonoona, Katonda n'Agamba nti, “Omusajja y'anaakufuganga okuva kati okweyongerayo.” Kati, ebyo bye Byawandiikibwa. Bw'oba oyagala, tuyinza okubisoma. Ebyawandiikibwa mbibawa, okukekkereza obudde olw'abayungiddwa ku mukutu mu ggwanga lyonna, mmwe muyinza okubyesomera. Genderera ensonga lwaki ekyo yakikola. Setaani yasobola atya okumutuukako?

Obadde okimanyi nti lumu Setaani yali yenkanankanako ne Katonda? Ddala yali, mu byonna ng'oggyeeko eky'okuba omutonzi; yali byonna, yayimiriranga ku mukono gwa ddyo ogwa Katonda, mu Ggulu, Kerubi omukulembeze ow'ekitalo. Genderera omukazi tekyali kitonde nnakabala, y'ensonga eyamukozesa kino. Omukazi tali mu butonde bwa Katonda obwasooka; yaggibwa mu kitonde kirala. N'olwekyo, “ku lubereberye,” nga Yesu bwe yajulizaayo, teyali kitonde kya Katonda nnakabala. Yaggibwa buggibwa mu musajja, Yesu bw'atyo bwe Yajuliza “ku lubereberye.”

-----
Kati ku Kufumbiriganwa n'Okwawukana, labayo, kirina kubikkulwa. Tokimanyi okutuusa nga kibikkuddwa. Naye Yasuubiza mu nnaku zino ezisembayo, mu mulembe guno, nti buli kyama kyonna ekyakwekebwa mu Baibuli kiribikkulwa. Bameka abakimanyi ekyo? Okubikkulirwa, essuula ey'e 10! Yesu Yakisuubiza, nti ebyama ebirala ebyo byonna ebyakwekebwa ku Kufumbiriganwa n'Okwawukana, ebyama ebirala bino byonna ebikweke ebibadde, biribikkulwa mu biseera eby'enkomerero. Kati mujjukira, Eddoboozi lyagamba nti, “Genda e Tucson.” Mujjukire Ekitangaala ekitategeerekeka mu bbanga; Malayika ow'omusanvu ng'ayimiridde awo; okukomawo, n'okubembula Envumbo Omusanvu? Weetegereze ebibaddewo. Ekyo kituufu.

-----
Kino kintu kikalubo nnyo, mbadde ssimanyi na ngeri ya kukiggyayo. Nnaakola ntya, nga nnina abasajja n'abakazi abatudde mu kibiina kyange, ng'abamu ku bo baakafumbiriganwa emirundi ebiri oba esatu? Abasajja abalungi n'abakazi abalungi, bonna bali mu mivuyo! Kiki ekyakireeta? Njigiriza nkyamu, ky'ekyo kyennyini, butalindirira Mukama.

“Katonda kye Yagatta awamu, omuntu yenna takigattululanga.” So si omuntu kye yagatta awamu, “Katonda” kye Yagatta awamu! Ng'ofunye okubikkulirwa butereevu okuva eri Katonda, nti oyo ye mukyala wo, era ekintu ky'ekimu, nti oyo ye wuwo, kiba bwe kityo obulamu bwo bwonna obusigaddewo. Olaba? Naye omuntu ky'agatta, omuntu yenna asobola okukigattulula. Naye “Katonda ky'Agatta awamu,” omuntu yenna tageza n'akikwatako. “Katonda kyonna ky'Aba Agasse awamu,” Yagamba nti, “tewabanga omuntu yenna akigattulula.” So si omulamuzi anywedde ku mwenge oba ekintu ekirala kyonna kikigattulule, oba omubuulizi eyagwa n'okugwa olw'ebikwate mu kitabo, abaleka n'okubaleka bo ne bakola ekintu kyonna mu nsi. Ate nga Ekigambo kya Katonda kiri awo wennyini. Mulaba? Njogera ku ekyo Katonda kye Yagatta.

-----
Jjuuzi, nga mmanyi nti bwe mbaako ekintu kyonna kye mbabuulira, kiteekwa okujja nga kiri BW'ATI BW'AYOGERA MUKAMA, olwo ne nfuna Ebyawandiikibwa nga bwe Yakimbikkulira. Naye, Mukama Katonda, ekibiina ekyo nkigambe biki? Ebinaddirira bantu kwawukana. Abantu bagenda kuba nga batudde ku kifugi n'eyo ebweru mu lujja, na buli wamu wonna, “Omukazi njawukane naye?” Abakazi, “Baze njawukane naye?' 'Nkole ntya?'” Ne mbuuza nti, “Mukama, nkole ntya?” Ne wabaawo ekiamba nti, “Yambuka engulu eyo ku lusozi, nja kwogera naawe.”

Kale nno nnali ndi eyo ku lusozi, nga ssimanyi nti emmanga mu Tucson ekintu baali bakiraba. Naye abasomesa ne bayita n'abaana okuva mu... kawala kange n'abalala, ne babaggya mu bibiina, ne babagamba nti, “Mulengere emitala ku lusozi luli! Waliwo Ekire ekyakaayakana kigira ne kyambuka waggulu mu bbanga ate ne kikka wansi.”

Mukyala Evans, wooli wano? Ronie, wooli? Nnakomawo wano ku ssundiro ly'amafuta, essundiro ly'amafuta erya ba Evans awo. Nnali ssinnaba na kumanya mulenzi biki by'agenda kwogera, n'anneerippa ku kugulu, n'agamba nti, “Ow'oluganda Branham, wabadde ngulu eri emitala ku lusozi, si gye wabadde?” Ne mmuddamu nti, “Ronnie, Kiki ky'otegeeza? Nedda,” okulaba, okulaba kiki kye yabadde agenda okukola. Emirundi mingi nnyo ebintu bigenda ne bibeerawo, ssi, n'otabibuulira bantu. Ne kifuuka...Kiri nti, ojja n'olaba ebintu bingi nnyo nga bibeerawo, ne kikufuukira kya bulijjo. Olaba? Ssimala gabuulira bantu. Ne mbuuza nti, “Ronnie, gwe wabadde okola ki...”

N'agamba nti, “Nsobola n'okukulaga wa wennyini we wabadde.” N'agamba nti, “Nnayise maama, ne tuyimirira awo ne twelorera Ekire ekyo. Era nnagambye nti Oyo ateekwa kuba Waluganda Branham eyo alina w'atudde erudda eyo. Oyo Katonda y'Ayogera naye.” Ekibuga kyonna, abantu, ne bakitunuulira. Ng'olunaku lutangaavu bulungi nga teriiyo bire n'akatono, ng'Ekire kino kyokka ekinene ekyakaayakana kyetimbye eyo; nga bwe kigira ne kikka wansi mu ngeri y'akazindaalo, ate ne kyambuka waggulu nga bwe kigaziwa.

-----
Kaakati tusangiddwa nga tuli mu by'eddiini bino ebyataputibwa mu ngeri enkyamu. Si bwe kiri? Eyo y'ensonga lwaki mmwe abakazi mwafumbirwa omulundi ogw'okubiri, nammwe abasajja, lwa bya ddiini ebyataputibwa obubi. Kaakati njagala okubabuulira bye Yaambye. Kale oba Katonda, Omutonzi waffe, Yabuuzibwa ekibuuzo bwe Yali wano ku nsi, Yesu Kristo; era nnabbi We omununuzi bwe yajja, Musa, emmanga eri mu Misiri, okuggyayo abaana mu -mu Misiri, okubayingiza mu nsi ensuubize; era Yesu wano Yagamba nti Musa yalaba abantu mu mbeera bwe ziti, n'abawa ebbaluwa ey'okwawukana mu bufumbo, kubanga embeera yali nga bwe yali. Musa yasanga ekintu bwe kityo, nti, “Leka mmukkirize...” Katonda Yakkiriza Musa, nnabbi oyo eyatumibwa eri abantu, okubawa ebbaluwa eno ey'okwawukana mu bufumbo.

Era mu Bakkolinso Ekisooka, e-essuula ey'o 7, olunyiriri olw'e 12 okutuuka ku lw'e 15, mu nnabbi w'Endagaano Empya, Pawulo, eyasanga ekintu ky'ekimu mu kkanisa, n'agamba bw'ati nti, “Kino nze nkyogera, nze so si Mukama.” Si bwe kiri? Lwa mbeera ya kwawukana mu bufumbo. “Ku lubereberye si bwe kyali.” Naye Musa kyamukkirizibwa, era Katonda n'Akitongoza ng'obutuukirivu. Pawulo naye yalina obuyinza bwe yasanga ekkanisa ye ng'eri mu mbeera eyo.

Kati Kino mukikkirize nti kituufu, era mukikkirize okuba nti kyavudde wa Katonda! Era olw'obukakafu bw'Ekire Kye n'Obubaka Bwe obuntuusizza eno gye ndi, ku lusozi Katonda teyandinzikirizza kukola kintu ky'ekimu, okubaleka okugenda mu maaso nga bwe muli, naye ne mutaddamu kukikola! Mugende ne bakazi bammwe mubeere mu mirembe, kubanga obudde buyise. Okujja kwa Mukama kutuuse. Tetulina budde kukutula bintu bino. Temugezanga okuddamu okukikola! Njogera eri kibiina kyange kyokka. Naye bw'oba oli mufumbo... Era ku ekyo Katonda Yabadde mujulizi wange, eyo ku lusozi, ndyoke nsobole okwogera Ekintu kino, okubikkulirwa okusukkako ku butonde, olw'okubembula Envumbo Omusanvu, ate kino kye kibuuzo ekiri mu Kigambo kya Katonda. “Baleke bagende mu maaso nga bwe bali, wabula baleme kuddamu kwonoona!”

“Ku lubereberye si bwe byali.” Ky'ekyo, si bwe bityo bwe byali, era si bwe bigenda okuba ku nkomerero. Naye mu mbeera eziriwo, ng'omuweereza wa Katonda... Ssijja kweyita nnabbi we; naye nzikiriza ob'olyawo, bwe kiba nga ssaatumibwa lw'ekyo, mmuteerawo omusingi ye bw'alijja. N'olwekyo mu mbeera ez'omulembe oguliwo, mbalagira okuddayo mu maka gammwe, ggwe ne mukyala wo kati. Bw'oba oli musanyufu naye, beera naye, abaana bammwe mubakulize mu kutya Katonda. Wabula Akusaasire bw'oligeza n'oddamu ekyo okukikola! Muyigirize abaana bammwe baleme kukola kintu kifaanana bwe kityo, mubakulize mu kutya Katonda. Era kati nga muli nga bwe muli, tweyongereyo, mu ssaawa eno egenze ey'akawungeezi gye tulimu, kale “tufube nga twolekera akabonero k'okuyitibwa okwa Kristo okwa waggulu,” eyo byonna gye bisobokera.

Soma akawunti mu...
Okufumbiriganwa n’okwawukana.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

N'agamba nti, Omuntu ky'anaavanga aleka kitaawe...nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi bannabanga omubiri gumu?

N'olwekyo tebakyali babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.

Matayo 19:5-6


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Kano ke kabonero
k’enkomerero, ssebo?

(PDF)
Olusozi Enjuba Egwa.
Ekire gye kyalabika.

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.