Kristo Ebweru w’Ekkanisa.
Kristo Ebweru w’Ekkanisa.
William Branham.Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Lowodikiya.Okubikkulirwa 3:20-22,
"Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.
Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa."Kati waliwo omuvuyo mungi nnyo ku lunyiriri luno kubanga abakozi bangi nnyo kinnoomu abalukozesa nga buli omu abuulira nga kiringa ekitegeeza nti Yesu Yali ku luggi lwa buli mwonoonyi nga Akonkona Aggulirwewo. Olwo kyandigambiddwa nti singa omwonoonyi aggulawo oluggi, Mukama Yandiyingidde. Naye olunyiriri luno terwogera ku mwonoonyi kinnoomu. Obubaka buno mu bulamba bulina obufunze nga obubaka bwonna mu buli mulembe. Mu lunyiriri 22 kigamba nti, "Alina okutu awulire Omwoyo ky’Agamba eri AMAKANISA," Kale buno bwe bubaka eri ekkanisa ey’omulembe ogusembayo. Eno ye mbeera y’ekkanisa ya Lawodikiya gy’erimu nga enkomerero yaayo esembera. Si bubaka eri omuntu kinnoomu; Omwoyo y’Atubuulira wa Yesu w’Ali. KRISTO EKKANISA AGIVUDDEMU. Kino si kye kirina okuddirira oba okuvaamu Ekigambo bwe kiteekebwa ku bbali ne wazzibwawo ebikwate, Omwoyo Omutukuvu n’Amaamulwako ne wazzibwawo bapapa, abalabirizi, bapulezidenti, abawi b’amagezi, n’ebirala, n’Omulokozi n’Ateekebwa ku bbali olw’entegeka z’emirimu, oba okwegatta ku makanisa, oba okwekkiriranya okw’engeri yonna n’enkola y’ekkanisa? Kiki ekirala ekiyinza okumulwanyisa? Kuno kwe kugwa okuva ku mazima! Kuno kwe kugwa okuva ku mazima! Luno lwe luggi oluggule eri omulabe wa Kristo, kubanga bwe wabaawo Ajja mu Linnya lya Kitaffe (Yesu) n’Atasembezebwa, wabula n’Agaanibwa, olwo waba wajjawo omulala n’erinnya erirye ku bubwe (omulimba, munnanfuusi) oyo balimusembeza, Yokaana 5:43. Omuntu ow’ekibi, omwana oyo ow’okubula agenda kufuga.
Mat. 24, kyogera ku bubonero mu ggulu obukwata ku nnaku ezisembayo nga Yesu Tannajja. Siamanyi oba mwalaba akabonero nga ako gye buvuddeko akaatuukirira okulaga ekifaananyi eky’amazima gennyini ge tubadde twogerako. Amazima ago gali nti Yesu Abadde Asindiikirizibwanga ebbali okutuusa mu mulembe ogusembayo lw’Afulumiziddwa mu kkanisa. Mujjukire nti mu mulembe ogwasooka kumpi ekkanisa yonna yali yeetooloddwa amazima. So nga mwalimu ensobi entono eyitibwa ebikolwa by’Abanikolayiti ebyalemesa enkulungo okuba ennamba. Olwo mu mulembe ogwaddirira enzikiza ne yeeyongera okuyingira okutuuka ekitangaala lwe kyakendeera enzikiza ne yeeyongera mu nkulungo. Mu mulembe ogw’okusatu enzikiza yeeyongera okukwata, ne mu mulembe ogw’okuna (Omulembe gw’Enzikiza), ekitangaala kumpi kyonna kyali kiweddemu. Kati kino mukirowoozeeko. Ekkanisa eyaka olw’ekitangaala ekiva ku Kristo. Ye Y’ENJUBA. Ekkanisa gwe MWEZI. Kale enkulungo eno ey’ekitangaala gwe mwezi. Gwali gukendeeredde ddala nga tegukyali mwezi mulamba mu mulembe ogwasooka, ne gusigala kibajjo bubajjo mu mulembe ogw’okuna. Naye mu gw’okutaano ne gutandika okukula. Mu gw’omukaaga keeyongerako eddaala ddene okukula. Mu kitundu eky’omulembe ogw’omusanvu kaali kakyakula, amangu ddala ne kalekera awo, ne kakendeerera ddala kumpi kuggwaawo, kale mu kifo ky’ekitangaala kyali kizikiza kya kugwa, era ku nkomerero y’omulembe gwali guzikidde kubanga ekizikiza kyali kibuutikidde. Mu kiseera kino Kristo Yali bweru wa kkanisa. Akabonero kaakano mu bire. Ekizikiza ky’omwezi kyali kijjuvu. Gwazikirira ddala mu mitendera musanvu.
Okusiikirizibwa kw’omwezi mu kiseera papa we yakyalira Yerusaalemi. Ekifaananyi kitunuulire ng’okigalamizza.
Mu mutendera ogw’omusanvu, ekizikiza ekijjuvu kyabeerawo Papa w’e Roma (Pawulo ow’omukaaga) bwe yagenda mu Nsi Entukuvu okulamaga mu Yerusalemi. Ye papa eyasooka okugenda e Yerusaalemi. Papa oyo ayitibwa (Pawulo ow’omukaaga). Pawulo ye mubaka eyasooka ate n’omuntu ono ayitibwa linnya eryo. Mulabe nga bw’ali ow’omukaaga, oba omuwendo gw’omuntu. Eno si ntaanya. Era bwe yagenda e Yerusaalemi, omwezi oba ekkanisa yayingira mu kizikiza kyennyini. Ye eno. Eno y’enkomerero. Omulembe guno teguliggwaawo okutuusa nga byonna bituukiridde. Kale Mukama Yesu, jjangu mangu!
Tusobola okulaba kati lwaki waaliwo emizabbibu ebiri, ogw’obulimba nga ate omulala gwa mazima. Kati tusobola okulaba Ibulayimu lwaki yalina abaana babiri, nga omu wa mubiri (eyayigganya Isaaka) ate nga omulala yali wa kisuubizo. Kati tusobola okulaba kyajja kitya abaana ababiri nga balongo okuzaalibwa abazzadde be bamu, nga omu amanyi era nga ayagala ebintu bya Katonda, ate nga omulala amanyi bingi ku mazima ge gamu, naye nga Omwoyo si gwe gumu, n’olwekyo n’ayigganya omwana oyo eyali omulonde. Katonda obutasiima Teyamala gabukola. Teyasiima nga kino Yakikola ku lwa bulungi bwa mulonde. OMULONDE TAYINZA kuyigganya mulonde.
OMULONDE TAYINZA kulumya mulonde. Abatasiimibwa be bayigganya era be bazikiriza abalonde. Ha, abatasiimibwa abo bannaddiini. Bagezigezi. Bali mu lunyiriri lwa Kayini, ezzadde ly’omusota. Bazimba Baberi zaabwe, bazimba ebibuga byabwe, bazimba obwakabaka bwabwe mu kiseera kye kimu nga basaba Katonda. Bakyawa ensigo (ezzadde) ey’amazima, era bajja kukola kyonna kye basobola, (ne mu Linnya lya Mukama) okuzikiriza abalonde ba Katonda. Naye beetaagibwa. "Ebisusunku birina mugaso ki ku ŋŋaano?" Awatali bisusunku, tewali ŋŋaano. Naye ku nkomerero, ebisusunku bikolebwa bitya? Byokebwa n’omuliro ogutazikira. Ate yo eŋŋaano? Eri ludda wa? Ekuŋŋaanyizibwa mu materekero Ge. Eri awo w’Ali.
Ha abalonde ba Katonda, mwerinde. Mwekenneenye muyige. Mwegendereze. Mutuukirizenga obilukozi bwammwe mu kutya ne mu kukankana. Mwesigame ku Katonda mube bagumu mu maanyi Ge. Omulabe wammwe, setaani, kaakano ayitayita nga empologoma ewuluguma nga enoonya gw’enaalya. Mwekuume mu kusaba mube bagumu. Kino kye kiseera eky’oluvannyuma. Emizabbibu gyombi ogw’amazima n’ogwobulimba ginaatera okukulira ddala, naye nga eŋŋaano tennakulira ddala eyo ey’omunsiko eyengedde eteekwa okusibibwa olw’okwokebwa. Mulabe, bonna beegatta ku Kibiina Ekigatta Amakanisa Gonna mu Nsi (World Council Of Churches). Okwo kwe kusiba. Mangu ddala eŋŋaano ennungi okuteekebwa mu materekero kujja kutuuka. Naye mu kiseera kino kyennyini emyoyo gyombi gikolera mu mizabbibu gyombi. Muvveemu mu ŋŋaano ey’omu nsiko. Mutandike okuwangula mulyoke mube abasaanidde okusiimibwa ku lwa Mukama wammwe, era abasaanidde okufugira awamu naye mu Bwakabaka Bwe.
Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Lowodikiya.
Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; Nange nnaabeeranga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi:
Abaebbulaniya 8:10
Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Obubonero omusanvu.)
Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.
Ebikolwa bya Nabbi. (PDFs) |
The Two Babylons by Rev Alexander Hislop. (PDF Olungereeza) |
Olusozi n’ekisaka kya rosebush mu muzira mu China. |
Ebimuli by’omuliro. |
Mpagi y'omuliro. - Houston 1950. |
Ekitangaala ku lwazi olwa piramidi. |