Okukwakkulibwa.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Okukwakkulibwa.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okukwakkulibwa.

Zabbuli 27:4-5,
4 Ekigambo kimu nkinsabye MUKAMA, kye nnaanoonyanga; okutuulanga mu nnyumba ya MUKAMA n 'okubuuzanga mu Yeekaalu ye.
5 Kubanga ku lunaku olw 'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: awakwekerwa mu weema ye w'alinkisiza; alinzimba... ku Iwazi.

Kati, Katonda alina engeri y’okukolamu ebintu, Era takyusa nkola ze. Takyusa nko... Ye Katonda atakyuka. Mu Amosi 3:7 Yagamba nti taliiko ky’alikola ku nsi okutuusa ng’akibikkulidde abaddu be ba nnabbi. Ng’akakasiza ddala nga bwe yakisuubiza, Alikikola.

Kati, tuyise mu mirembe gy’ ekkanisa naye twasuubizibwa okusinziira mu Malaki 4 nti wabeerawo okukomawo nate okwa nnabbi mu nsi. Bwe kiri! Weetegereze ekikula kye n’engeri gy’alibeeramu. Omwoyo ogwo Katonda agukozesa emirundi etaano: gwaliko mu Eriya, mu Erisa, ne mu Yokaana omubatiza, ng’ayita ekkanisa, n’abaasigalawo ku Bayudaaya; emirundi etaano, kisa, J-e-s-u-s (Yesu), f-a-i-t-h (okukkiriza), era gwe muwendo gw’okukkiriza. Mulaba? Ky’ekyo.

Kati jjukira, obubaka bwasuubizibwa. Kati ebyama bino byonna nga bimaze okuvuyagibwa abasomesa b’ eddiini, butereevu kiryataagisa nnabi okuva eri Katonda okukibikkula. Era ddala ekyo kye yasuubiza okukola. Mulaba? Kati jjukira, Ekigambo kya Mukama kijja eri bannabbi, si abaasomerera eby’eddini, bannabbi. Ye kimyanso ky’Ekigambo kya Katonda. Taliiko ky’ayinza kwogera: tasobola kwogera birowoozo bye ye; asobola kwogera ekyo kyokka Katonda ky’abikkudde. Ne nnabbi Balamu bwe yagezaako okutunda obusika bwe; yagamba, “Nnabbi yenna ayinza atya okwogera ekintu kyonna wabula nga Katonda akitadde mu kamwa ke?” Ky’ekintu Katonda ky’akola gwe ky’otasobola kwongerako. Era wazaalibwa bw’otyo. Toyinza okusukka ku ky’osobola.... Bw’oba ng’osobola okugamba, “Sisobola kuzibula maaso gange,” naye ng’otunula. Olaba? Osobola. Tosobola kuba mbwa bw’ oba ng’ oli muntu. Mulaba? Wakolebwa bw’otyo, era lubeerera Katonda bw’ab... mu mirembe okuyita mu Isaaya, Yeremiya, n’abalala bonna ba... Eriya, n’emirembe gyonna bwe gibadde gigenda, ekibiina ky’abannaddiini bwe kyatabulatabulanga ebintu byonna, Yatumanga nnabbi, okumuggya gy’amujja. Nga taliiko ngeri zaabwe n’akamu. N’ayogera Ekigambo kye, n’abulawo n’agenda, abasajja enjasabiggu ab’amazima ga Katonda.

Era lubeerera kibaddenga.... Engeri gy’oyinza okumugambamu, Yagamba, “Omuntu yenna mu mmwe bweyeerowoozanga okuba w’Omwoyo oba nnabbi...” Kati nnabbi.... Waliwo ekintu bwe kityo ng’ekirabo ky’obunnabbi mu kkanisa, naye nnabbi yategekebwa era n’ayawulibwa olw’ekiseera. Mulaba? Yee, ssebo. Kati, obunnabbi bwe bujja, babiri oba basatu balina okutuula ne basalawo oba ekyo kituufu oba nedda ng’ekkanisa tennaba kukifuna.Naye tewaabanga ateredde nga nnabbi tannajja, kuba ye yali eky’enkomeredde ky’ekigambo kya Katonda. Ye yali Ekigambo ekyo mu mulembe ogwo. Yalaba Katonda ng’amy ansa....

Kati, bw’aba nga Katonda yasuubiza ekyo okukitusindikira nate mu nnaku ez’enkomerero okuggyayo omugole mu mivuyo gy’abasomesa b’eddiini, era nga y’engeri yokka gye kiyinza okukolebwamu. Tekigenda kukolebwa... Ekkanisa tesobola kulaba Kristo. Abapentekoote, mu mbeera ekkanisa gy’erimu leero tetusobola kugenda mu maaso na bubaka buno. Tugenda kutambuza tutya ekiseera eky’enkomerero mu mbeera gye tulimu leero, bwe kiba nga buli omu mulabe wa munne, mu ngeri ng’eyo, ate nga bikolebwa mu linnya lya ddiini? Oh, tusaasire. Muvuyo. Kikoleddwa kigenze mu bibiina by’amadiini. Era bulijjo, mbaddenga njagalayo munnabyafaayo akiwakanya. Buli mulundi obubaka obwo bwe bwagendanga mu nsi ne babukolamu ekibiina, awo wennyini we bwafiiranga. Ne Pentekoote yakola ekintu kye kimu ng’ abalala bonna bwe baakola — Pentekoote eyali yafuluma.

Mmwe aba Assemblies of God, bakitammwe ne bannyammwe ab’edda bwe baafuluma okuva mu bibiina ebyo mu lukiiko ttabamiruka edda eyo, baalekaana nga batendereza Katonda ne boogera ku bintu ebyo; kati ne mukyuka ng’embwa bw’eddira ebisesemye byayo n’embizzi mu bitosi byayo ne mukola ekintu kye kimu kye baakola; era kati nga mu ngeri ey’ekinnaddiini ennyo muggalira omutima ogulumirirwa, ne mufuna ne musooka okusaba kkaada z’obwammemba ne kizibuwaliza omuntu okukolagana nammwe. Nammwe aba oneness, obubaka ng’obwo Katonda bwe yabawa, kyokka mu kifo ky’ okugenda mu maaso ne musigala nga muli bawombeefu nga mugenda mu maaso, mwasalawo kulegeza ne mwekolamu ekibiina. Kati mwenna muli ludda wa? Bunnya bwe bumu. Ekyo ddala bwe kiri! Era Omwoyo wa Katonda agenda mu maaso. “Nze Mukama ndisimba; naalufukiriranga amazzie misana n’ekiro ekintu kyonna kireme...

Ebintu bino yabiteekateeka okubaawo, era kino ateekwa okukikola. Ekintu ekisooka kijja bw’atandika okukka okuva mu ggulu, waliwo okwogerera waggulu! Kye ki? Bubaka okukunngaanya abantu awamu. Obubaka bwe busooka okujja. Kati, “Kiseera kya kuzigula ttabaaza. Mugolokoke muzigule ettabaaza zammwe.” Ekyo kyali kisisimuka ki? Oky’omusanvu, si kya mukaaga, oky’omusanvu. “Laba anaawasa omugole ajja. Mugolokoke muzigule ettabaaza zammwe.” Ne bakikola. Abamu ku bo beesanga nga tebalinaamu wadde otufuta mu ttabaaza zaabwe. Mulaba? Naye kiseera kya kuzigula ttabaaza. Kiseera kya Malaki 4, Kyeya.... Lukka 17. Isaaya.... Obunnabbi obwo bwonna obwasobola okuteekebwateekebwa obulungi mu ntegeka olw’ekiseera kino mu byawandiikibwa, tubiraba butereevu wano nga weebiri. Tewali....

Baganda bange abalungi, bannyinaze, mulaba ebintu bino nga bibaawo, Katonda mu ggulu bw’aba amanyi nti nngenda kufiira wano butereevu ku kituuti, kiba kibeetaagisa kwewuluntamu katono. Kiri nti... Kya kitalo, bwe mulaba Katonda ng’akka okuva mu ggulu, n’ayimirira mu maaso g’ebibiina by’abantu, n’ayimirira awo, n’alangirira era nga bulijjo bw’abadde akola. Kati ago ge mazima, nga ne Bayibuli eno mbikkule. Mulaba? Ky’ekyo! Kati enkola ey’ebibiina by’amadiini efudde. Egenze. Tegenda kugolokoka nate. Egenda kuziikibwa. Ekyo kye mukola ebisusunku mu nnimiro. Mubidduke. Yingira mu Kristo. Togamba, “Ndi wa Methodist!”; “Ndi wa Baptist!”; “Ndi wa Pentekoote!” Ggwe yingira mu Kristo. Era bw’oba ng’oli mu Kristo, tewaliiwo kigambo kyawandiikibwa wano wabula kye wakkiriza. Sifaayo ku mulala ki ky’agamba. Kati olwo Katonda n’aleetera ekintu ekyo okulabisibwa, kuba ggwe.... Bw’Afuka Omwoyo ku Kigambo, kiki ekibaawo? Kiringa kufuka mazzi ku nsigo. endala yonna. Ejja kuba nnamu, era ejja kwoleka ekikula kyayo. Ogamba, “Nafuna okubatizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu.” Ekyo tekitegeeza nti walokoka, si kutambula nngendo mpanvu. Tunula eno, oli kitonde kya nnabansatwe. Oli.... Bambi munda mu muntu ono mulimu emmeeme; ekiddako gwe mwoyo; n’ekiddako gwe mubiri. Kati, olina obusimu butaano mu mubiri guno okukwatagana n’amaka go ag’oku nsi. Tebulina kirala kye bukwatagana nakyo. Olina wano obusimu butaano obw’omubiri, okwagala n’okumanya ekirungi n’ekibi n’ebirala bwe bityo. Naye munda muno mw’obeera. Ekyo ky’oli.

Yesu teyagamba nti enkuba etonnyera abalungi n’ ababi? Teeka wano ssere, n’enngaano wali, obifukirire, obiteekeko ebigimusa n’ebiri bwe bityo, Byonna tebiikule n’amazzi ge gamu? Mazima! Kale, kye ki ekyo? Ekimu ku byo kijja kubala ssere, kuba ekyo kye kiri. Ssere ajja kuwanika emikono gye era aleekaane mu ngeri y’emu ng’enngaano. Bayibuli tegamba nti mu nnaku ez’oluvannyuma walijja ba Kristo ab’obulimba, kati si ba Yesu ba bulimba, ba Kristo ab’obulimba, abaafukibwako amafuta, abaafukibwako amafuta ag’obulimba eri Ekigambo. Abaafukibwako amafuta ag’ekinnaddiini naye si eri Ekigambo, kuba Ekigambo kyeyimiririra. Tekirina kirala kye kyetaaga; kigenda kweyimiririra. Kati walijja abaafukibwako amafuta ag’obulimba. Mulina olutambi lwange ku ekyo. Era abo be baaafuki.... Oh, singa osobola okuyitayo omu n’ogamba, “Oh ggwe Yesu?”, “Oh, mazima ddala nedda!” Tebaasobola kukiyimiririra. Naye bwe kituuka ku, “Oh kitiibwa, nnafukibwako amafuta...” Era mafuta ga nnamaddala.

Jjukira, Kayaafa naye yagalina era n’alagula. Bw’atyo ne Balamu yagalina era n’alagula, naye ekyo tekirina kye kiyinza kukola ku kino ekiri munda. Okuggyako nga wali nsigo ya Katonda, akaweke ke ak’obulamu okuva ku lubereberye, eyalondebwa, oba owedde. Sifaayo oleekaana kyenlcana ki, okwogera mu nnimi, kudduka, kuleekaana; ekyo tekirina kye kikikolako. Ssere asobola okuleekaana ennyo n’okusinga ebirala. Ndabye abakaafiri nga bagolokoka, ne baleekaana, ne boogera mu nnimi, ne balumika ebiwanga by’ abantu, ne bayita emuzimu. Mulaba? Kale temulina kye mwetaaga ku ebyo eby’okyamuukirira n’ebirala; mubyerabire. Guba mutima gwo mu Kigambo ekyo, era ng’oyo ye Kristo. Kireete wano, era okyekkaanye nga kyemanyisa bwe kiba nga kyebikkula ng’ensigo endala yonna n’okwelangirira kyokka eri omulembe gwe kibeeramu.

Luther yali talina ky’ayinza kuleeta okuggyako endokwa. Bano abalala ne basobola okuleeta ebintu bino ebirala. Kati tuli mu mulembe guno ogw’enngaano. Omuluther, Abaluther abannamaddala baali balina okubala Obuluther abannamaddala. Pentekoote eya nnamaddala yali erina okubala Obupentekoote obwannamaddala. Bwe kiri. Naye ogwo omulembe tuguyiseeko era tweyongerayo. Mumanyi nga Ekereziya katolika ye yatandikawo Obupentekoote? Kati singa ekkanisa ya Pentekoote yali esobola okuyimirira emyaka ng’enkumi bbiri, yandibadde mu kikula kibi nnyo okusinga Obukatoliki kye bulimu kaakati. Ekyo ddala bwe kiri! Kati, ekyo nkigamba baganda bange ne bannyinaze benjagala, be nngenda okusisinkana mu bbanga ku kulamulwa. Era ekyo tekigenda kulwawo nnyo. Nteekwa okujulira amazima kye gali.

Bwe nnagenda mu maaso awamu nammwe mu lukunngaana nga nsabira abalwadde, kyali kirungi, naye bwe najja n’obubaka.... Bwe wabaawo obubaka bwonna obuba buzze, bwe buba nga bubaka butuufu, bwe biba nga byamagero ebyannamaddala, eby’amazima ga Katonda, ne birabibwa butereevu mu kibiina ekyo, mumanya nti ebyo si Katonda, kuba ekintu ekyo kyamala okulangirirwa. Yesu yagendanga awonya abalwadde okusobola okusembeza abantu, oluvannyuma n’awa obubaka bwe. Bwe kiri! Bulina okuba n’ekintu Katonda ky’agenda okwanjula. Okuwonya okw’Obwakatonda kye. . .ebyamagero ng’ebyo bisembeza busembeza abantu. Omulamwa gwakyo omukulu bwe bubaka. Ekyo ekyaliwo. Ky’ekyo ekiva munda wano. Yali agezaako okuganja mu maaso g’abantu olwo basobole okukkakkana bamuwulirize. Mulaba? Kubanga mubo mulimu abaategekerwa obulamu. Kati enngaano emu yagwa ku ttaka, ennyonyi ne zigirya. Endala n’egwa mu maggwa, olwo endala n’egwa ku ttaka eddungi, eryali lyategekerwawo, bw’etyo n’ebala.

Kati, ekintu ekisooka kwogera—manyanga ekintu ekisooka ly’ekkondeere manya eddoboozi—okwogerera waggulu, ne kuddako eddoboozi, kati olwo n’ekkondeere. Okwogerera waggulu, obubaka okuteekateeka abantu. Eky’okubiri ly’eddoboozi ery’okuzuukira. Eddoboozi lye limu, eddoboozi ery’omwanguka mu Mut. Yokaana 11:38 ne 44 eryayita Lazaalo okuva mu ntaana. Nga likunngaanya wamu omugole, kati olwo n’okuzuukira kw’abafu (mulaba?), n’okusisinkana nalyo mu bbanga. Kati, mwetegereze ebintu ebisatu ebibaawo.

Ekiddako ki? Lyali kkondeere. Eddoboozi—okwogerera waggulu, eddoboozi, ekkondeere. Kati, ekintu oky’okusatu ly’ekkondeere, lubeerera eribeera ku mbaga z’amakondere nga liyita abantu okujja ku mbaga; era ekyo kye kigenda okuba ekyeggulo ky’omugole, ekyeggulo ky’Omwana gw’endiga n’omugole mu bbanga. Mulaba, ekintu ekisooka ekuvaayo bwe bubaka bwe nga buyita omugole. okukunngaana. Ekintu ekiddako kwe kuzuukira kw’omugole eyeebaka, abo abaafa edda mu mirembe giri. Bakunngaanyizibwa wamu, kati ekkondeere, embaga mu ggulu—mu bbanga. Kale, mikwano, ekyo ky’ ekintu ekigenda okubaawo. Awo we tutuukidde ddala kati. Ekintu kyokka, ky’eky’okulaba ng’ ekkanisa efulumye eyanikirwa ddala mu kasana okwengera. Mu kaseera katono ekyuma ekikungula kiri eky’ekitalo kigenda kujja. Enngaano… obukongoliro, bwa kwokebwa, naye empeke zigenda kukunngaanyizibwa ziteekebwe mu tterekero lyazo. Mulaba?

Soma akawunti mu...
Okukwakkulibwa.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira:

naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.

1 Abasessaloniika 4:16-18


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Amazzi mu lwazi.

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Pearry Green personal
testimony.

(PDF Olungereeza)

Okufumbiriganwa
N’okwawukana.

(PDF)