Ebyafaayo gy'Ekkanisa.
<< jjuuzi
ekiddako >>
William Branham.Mmwe okusobolera ddala okutegeera mu bulamba obubaka bw'Emirembe gy'Ekkanisa njagala okunnyonnyola ennono ez'enjawulo ezansobozesa okutuuka ku mannya g'ababaka, obuwanvu bw'Emirembe n'ebintu ebirala ebisangibwamu.
Ekisumuluzo ekyampeebwa Mukama ekyo ekyansobozesa okukakasa omubaka owa buli mulembe ky'ekyo ekyali kisinga okuba nga kigendera ku Byawandiikibwa. Mu butuufu kiyinza okuyitibwa ekisumuluzo Nnantalemwa ekya Bayibuli. Kwe kubikkulirwa nti Katonda Tajjulukuka, era nti n'engeri Ze tezijjulukuka nga Ye bw'Ali. Mu Abaebbulaniya. 13:8 kigamba, “Yesu Kristo jjo ne leero Aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe.”
Kino bwe kiri. Katonda Atajjulukuka ng'Alina engeri ezitajjulukuka. Ekyo kye Yakola OKUSOOKA Ajja kugenda mu maaso ng'Akikola okutuusa nga kikoleddwa omulundi OGUSEMBAYO. Tewagenda kubaawo kukyuka.
Kati tumanyidde ddala bulungi okuva mu Kigambo ekyo ekyawandiikibwa Omwoyo Omutukuvu engeri ekkanisa eyasooka, oba nnakabala, gye yatandikibwamu era n'engeri Katonda gye Yagyeyolekerangamu.
Ekigambo tekisobola kujjulukuka oba okujjululwa kubanga Ekigambo Ye Katonda. Yokaana 1:1, “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'Aba awali Katonda Kigambo n'Aba Katonda.”
N'olw'ekyo, ekkanisa kye yali ku Pentekote na kati eryo ly'eddaala. Eyo y'enkola. Tewali nkola ndala. Si nsonga abasomi ba Bayibuli bagamba ki, Katonda TAKYUSANGA nkola eyo. Ekyo Katonda kye Yakola ku Pentekote ekyo ky'Ajja okugenda mu maaso ng'Akola okutuusa emirembe gy'ekkanisa lwe girikomekkerezebwa.
Ebiggiddwa mu... Omulembe Gw’ekkanisa ya Efeso.
Amakanisa omusanvu mu Asia.
Efeso.
Ekibuga kya Efeso kyali ekimu ku bibuga ebisatu ebyali bisinga obunene mu Asiya. Bulijjo kyayitibwanga ekibuga ekyokusatu mu nzikiriza y'Obukulisitaayo nga Yerusaalemi kye kisooka ne kiddirirwa Antiyokiya. Kyali kibuga kigagga nnyo. Obufuzi bwali bwa Rooma naye olulimi olwakozesebwanga lwali Luyonaani.
Ebiggiddwa mu... Omulembe Gw’ekkanisa ya Efeso.
Sumuna.
Ekibuga Sumuna kyaliko katono mu mambuka ga Efeso ku nkomerero y'Ekyondo kya Sumuna (Smyrna Gulf). Olw'omwalo gwakyo omulungi ennyo kyali masannganzira ga bya busuubuzi ne kyatiikirira olw'ebyamaguzi ebyakivangamu. Ate era kyayatiikirira olw'amatendekero g'aboogezi ag'ebifirosoofa, eddagala, ssaayansi, n'ebizimbe ebirungi.
Ekigambo Sumuna kitegeeza, “kukaawa”, nga kiva mu kigambo obubaane. Obubaane bwakozesebwanga mu kuziraga emirambo gireme okuvunda. Kale tulina amakulu ga mirundi ebiri agasangibwa mu linnya ly'omulembe guno.
Ebiggiddwa mu... Omulembe Gw’ekkanisa ya Sumuna.
Perugamo.
Perugamo (erinnya ery'edda) kyasangibwanga mu Mysia, mu District efukirirwa emigga esatu, ng'ogumu ku gyo gwe baakozesanga okugenda n'okuva ku nnyanja ennene. Kyayogerwako ng'ekibuga mu Asiya ekyali kisingayo obututumufu. Kyali kibuga ekyakulaakulana nga kirimu ekifo awaterekebwa era awasomerwa ebitabo. Mu byali bisingayo obunene kye kyali kiddirira ekyo ekyasangibwanga mu Alexandria. So ng'ate kyali kibuga eky'ekitalo mu kwonoona, ekyaweebwayo mu bulumbolombo bw'okusinza Aesculapius, gwe baasinzanga ng'ali mu kifaananyi ky'omusota omulamu ogwasulanga era nga guliira mu yeekaalu.
Nnamulondo ya Setaani era Ekifo kye mw'abeera. Perugamo okusooka si kye kyali ekifo Setaani mwe yabeeranga (ku bikwata ku nsonga z'obuntu). Olubeerera Babulooni kye kibaddenga ekitebe kyennyininnyini ekya Setaani era nga n'ebikirimu bikiraga nti bwe kyali. Mu kibuga Babulooni ensinza ya Setaani mwe yasibuka.
Ebiggiddwa mu... Omulembe Gw’ekkanisa ya Perugamo.
Suwatira.
Mu byafaayo, ekibuga Suwatira kye kyali kisingayo okuba ekya wansi mu bibuga byonna omusanvu ebiri mu Kubikkulirwa. Kyali kisangibwa ku nsalo za Mysia ne Ionia. Kyali kyetooloddwa emigga mingi, naye nga gijjudde ebinoso. Ebintu ebyasinga okumanyisa ekibuga kino bwali bugagga bwakyo olw'abeegassi, ababumbi, abawazi b'amaliba, abalusi b'engoye, abafumbi b'engoye mu langi, abakozi b'amaganduula n'ebirala. Ky'ekibuga, Ludiya eyatundanga engoye ez'effulungu mwe yava. Ye yali omuntu Pawulo gwe yasooka okukyusa mu Bulaaya.
Ensonga lwaki Omwoyo Yalonda ekibuga kino ng'ate kye kyalimu ebintu eby'omwoyo ebyetaagisa okuba mu mulembe ogwokuna yava ku ddiini yaakyo. Eddiini eyali esinga okuba enkulu mu Suwatira ye y'okusinza Apolo Tyrimnaios eyali egatiddwa ku kibiina ekyasinzanga kabaka. Apolo ye yali katonda njuba era ye yali addirira kitaawe Zewu mu buyinza.
Kisaanye kimanyibwe nti erinnya lyennyini Suwatira litegeeza “Ekikazi ekifuga.”
Ebiggiddwa mu... Omulembe Gw’ekkanisa ya Suwatira.
Saadi.
Saadi edda kyali kibuga mu Ludiya. Kyava mu mikono gy'abalangira b'omu Ludiya ne kidda mu gy'Abaperusi ate ne kiva mu gy'Abeperusi ne kidda mu gya Alexander ow'ekitalo. Kyawambibwa Antiyokasi ow'ekitalo. Bassekabaka ba Perugamo be baddako okukifuga okutuusa ate Abaruumi bwe baakiwamba. Mu biro bya Tiberius musisi ne kawumpuli byakifuula amatongo. Na kati kikyali ntuumu ya biyinjayinja era matongo.
Eddiini y'omu kibuga kino kwali kusamirira katonda omukazi eyayitibwanga Cybele. Entuumu y'amayinja n'omusenyu ebya yeekaalu bikyasoboka okulabika.
Ebiggiddwa mu... Omulembe Gw’ekkanisa ya Saadi.
Firaderufiya.
Firaderufiya kyali mmayiro 75 mu bukiika obwa ddyo obw'ekibuga Saadi. Ky'ekibuga ekyali kiddirira obunene mu Ludiya. Kyazimbibwa ku nsozi eziwerako mu ssaza eryali ettutumufu mu kulima ebibala omusogolwa omwenge. Ku ssente zaalyo kwalingako omutwe gwa Bacchus n'ekifaananyi kya Baccante (kabona omukazi owa Bacchus).
Ekibuga kyatawaanyizibwa musisi emirundi mingi, ate nga kye kyasinga okuwangaala ku bibuga omusanvu ebiri mu Okubikkulirwa. Ddala ekibuga kikyaliwo nga kiyitibwa erinnya mu lulimi lwa Turkey Alasehir, oba Ekibuga kya Katonda.
Ebiggiddwa mu...
Omulembe Gw’ekkanisa ya Firaderufiya.Lawodikiya.
Erinnya, Lawodikiya, ekitegeeza, “eddembe ly'abantu” lyali likyase nnyo era nga liweereddwa ebibuga ebiwerako ng'ekyo kikolebwa okuteeka ekitiibwa mu bakyala abambejja nga bituumibwa (ebibuga) amannya gaabwe. Ekibuga kino kye kimu ku bibuga ebyali bisingira ddala okuba ebikulu mu nsonga z'eby'obufuzi era ebigagga mu Asia Minor. Ebintu bingi abatuuze abatutumufu mu kibuga kino bye baakiraamira.
Kye kyali ekitebe ky'essomero ettutumufu ery'eby'eddagala. Abatuuze baamu baali baatiikirivu nnyo mu by'amagezi n'ebyekikugu. Emirundi mingi baakiyitanga 'ekibuga ekikulu' nga bwe kyali ekitebe eky'essaza omwali ebibuga ebirala abiri mu bitaano. Katonda ow'ekikaafiiri eyasinzibwanga mu kibuga omwo yayitibwanga Zewu. Ddala ekibuga kino kyali kyatuumibwako Diopolis (ekibuga kya Zewu) mu ngeri ey'okussaamu katonda waabwe ekitiibwa. Mu kyasa ekyokuna olukiiko olukulu ennyo olw'ekkanisa lwakituulamu. Musisi owa buli lukya oluvannyuma yakiviirako okusigala amatongo.
Ebiggiddwa mu...
Omulembe Gw’ekkanisa Ya Lawodikiya.
Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.
Ebikolwa bya Nabbi. (PDFs) |
Katonda Yeekweka Yennyini Mu Binyoomebwa... (PDF) |
William Branham Life Story. (PDF Olungereeza) |
How the Angel came to me. (PDF Olungereeza) |