Ennyanjula Eri Emirembe gy'Ekkanisa.


  Series - Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Amakanisa omusanvu mu Asia.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Omulembe Gw’ekkanisa ya Efeso.

Mmwe okusobolera ddala okutegeera mu bulamba obubaka bw'Emirembe gy'Ekkanisa njagala okunnyonnyola ennono ez'enjawulo ezansobozesa okutuuka ku mannya g'ababaka, obuwanvu bw'Emirembe n'ebintu ebirala ebisangibwamu.

Olw'ensonga nti eky'okuyiga kino kye kyali eky'okuba nti kye kisingirayo ddala obukulu mu ebyo byonna bye nnaakayitamu, nnanoonya Katonda okumala ennaku nnyingi nfune okulunngamizibwa kw'Omwoyo Omutukuvu. Olwo ne nsoma busomi Ebyawandiikibwa ebikwata ku Mirembe gy'Ekkanisa n'okugenda mu byafaayo by'ekkanisa ebingi ebyawandiikibwa ab'ebyafaayo abateekubiira ebyo bye nnasobola okuzuula. Katonda Teyalemererwa kuddamu kusaba kwange, kubanga bwe nnasoma Ekigambo wamu n'Ebyafaayo, Omwoyo Omutukuvu, Yansobozesa okulaba enkola nga zeeyanjuluza era nga z'ezo ezaayitira ddala mu byasa n'okutuukira ddala mu olunaku luno olusembayo.

Ekisumuluzo ekyampeebwa Mukama ekyo ekyansobozesa okukakasa omubaka owa buli mulembe ky'ekyo ekyali kisinga okuba nga kigendera ku Byawandiikibwa. Mu butuufu kiyinza okuyitibwa ekisumuluzo Nnantalemwa ekya Bayibuli. Kwe kubikkulirwa nti Katonda Tajjulukuka, era nti n'engeri Ze tezijjulukuka nga Ye bw'Ali. Mu Abaebbulaniya. 13:8 kigamba,

“Yesu Kristo jjo ne leero Aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe.”

Omubuulizi 3:14-15,
“Mmanyi nga buli Katonda ky'Akola kinaabanga kya lubeerera: tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newankubadde okukisalibwako: era Katonda kye Yava Akikola, abantu balyoke batye mu maaso Ge.
Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda Anoonya nate ekyo ekyayitawo.”

Kino bwe kiri. Katonda Atajjulukuka ng'Alina engeri ezitajjulukuka. Ekyo kye Yakola OKUSOOKA Ajja kugenda mu maaso ng'Akikola okutuusa nga kikoleddwa omulundi OGUSEMBAYO. Tewagenda kubaawo kukyuka. Kozesa ekyo ku Mirembe gy'Ekkanisa. Engeri y'omusajja Katonda gwe Yalonda eri omulembe ogusooka, wamu n'engeri Katonda gye Yeeyolekamu mu buweereza bw'omusajja oyo, ye yali egenda okuba ey'okulabirako eri emirembe emirala gyonna. Katonda kye Yakola mu mulembe gw'ekkanisa ogwasooka ekyo ky'Ayagala okukola mu mirembe gyonna emirala.

Kati tumanyidde ddala bulungi okuva mu Kigambo ekyo ekyawandiikibwa Omwoyo Omutukuvu engeri ekkanisa eyasooka, oba nnakabala, gye yatandikibwamu era n'engeri Katonda gye Yagyeyolekerangamu. Ekigambo tekisobola kujjulukuka oba okujjululwa kubanga Ekigambo Ye Katonda. Yokaana 1:1

“Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'Aba awali Katonda Kigambo n'Aba Katonda.”

Okujjulula Ekigambo ekimu ku kyo, nga Kaawa bwe yakola kireeta kibi na kufa, era nga bwe kigamba mu Kubikkulirwa 22:18-19,

“...Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda Alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino:
Era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda Aliggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.”

N'olw'ekyo, ekkanisa kye yali ku Pentekote na kati eryo ly'eddaala. Eyo y'enkola. Tewali nkola ndala. Si nsonga abasomi ba Bayibuli bagamba ki, Katonda TAKYUSANGA nkola eyo. Ekyo Katonda kye Yakola ku Pentekote ekyo ky'Ajja okugenda mu maaso ng'Akola okutuusa emirembe gy'ekkanisa lwe girikomekkerezebwa.

Newankubadde ng'abayizi bayinza okukugamba nti omulembe gw'Abatume gwaggwaako, tokikkiriza. Enjogera ey'engeri eyo nkyamu lwa nsonga bbiri. Esooka zonna, kikyamu okulowooza nti tekyaliyo nate batume balala, olw'okuba ekkumi n'ababiri abaasooka baafa. Omutume kitegeeza “oyo eyatumibwa”; era waliwo bangi abatumibwa leero, naye nga bayitibwa baminsani. Abantu nga bakyayitibwa era ne batumibwa n'Ekigambo eky'Obulamu waliwo omulembe ogw'abatume ogugenda mu maaso. Ekyokubiri, boogera ku mulembe “Ogw'amaanyi ag'Omwoyo Omutukuvu agaalabisibwa” nti gwaggwaako kubanga Bayibuli yamalirizibwa. Ekyo si kituufu. Tewali wadde ekyawandiikibwa ekimu ekyogera bwe kityo, naye bingi ebirala ebitukakasa mu ngeri ekontana n'eyo. Obukakafu bwaffe buubuno obulaga endowooza ezo zombi nga bwe ziri ez'obulimba.

Biko1wa 2:38-39,
“Peetero n'abagamba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu Linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.
Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kwa baana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.”

Ekisuubizo ky'amaanyi ago agajjuzibwa abatume ku Pentekote “kyammwe (Abayudaaya), n'abaana bammwe (Abayudaaya), era n'abo bonna abali ewala (Ab'amawanga), n'abo bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe (Abayudaaya wamu n'Abaamawanga).” Okutuusa ng'Alekedde awo okuyita, obubaka bwa Pentekote awamu n'Amaanyi TEBIGENDA KUGGWAAWO.

Ekkanisa kye yalina ku Pentekote ly'eddembe lyayo eritayinza kugiggyibwako. Mu kusooka, ekkanisa yalina Ekigambo kya Katonda ekitaali kitabulemu. Ekkanisa yalina amaanyi ag'Omwoyo agaalagibwamu bubonero n'ebyamagero eby'enjawulo wamu n'ebirabo by'Omwoyo Omutukuvu.

Abaebbulaniya 2:1-4,
“Kye kivudde kitugwanira okusinga ennyo okulowooleza ddala ebyawulirwa, kabekasinge ne tubivaako.
Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira (eri Ekigambo) byaweebwanga empeera ey'ensonga;
ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obwenkana awo; Obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;
era Katonda ng'Ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu byamagero, era ne mu by'amaanyi ebitali bimu, era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, nga bwe Yayagalanga yekka?”

Ekkanisa eyo eyasooka teyategekebwa bantu. Yakulemberwa Omwoyo Omutukuvu. Teyali nnene nnyo. Yakyayibwa era n'enyoomebwa. Yanyigirizibwa. Yayigganyizibwa okutuuka mu kufa. Naye yali ya mazima eri Katonda. Yasigala ng'erina enkola eyasooka ey' Ekigambo.

Kati wano temubuzaabuzibwa. Bwe nnagambye nti Katonda n'engeri Ze tebakyukakyuka, ssaagambye nti ekkanisa n'ababaka baayo baali tebayinza kukyuka. Ekkanisa si ye Katonda. Kale ekkanisa esobola okukyuka. Naye kye nnagambye kye kino nti olwa Katonda Atajjulukuka wamu n'enkola Ze ezitajjulukuka tusobola okuddayo ku ntandikwa ne tulaba enkola eyasooka era entuufu eya Katonda olwo nno ne tusalawo okusinziira ku ddaala eryo. Bwe kityo bwe kikolebwa. Ekkanisa Entuufu bulijjo ejja kufubanga okufaanana ng'eri eyasooka ku Pentekoote. Ekkanisa ey'amazima ey'ennaku zino ejja kugezaako okwenkanankana n'eyo ey'edda eyasooka. Era n'ababaka b'ekkanisa nga balina Omwoyo wa Katonda y'Omu mu bo, bajja kugezaako okwenkanankana ne Pawulo Omutume. Tebajja kubeerera ddala nga ye; naye ababaka abatuufu be bajja okuba abo abeefaanaanyirizaako Pawulo, ataali musibe wa muntu yenna, nga yatunda obulamu bwe eri Katonda, era ng'afulumya Kigambo kya Katonda kyokka, ng'ayolesa Omwoyo mu maanyi. Tewali kirala ky'olina kukola. Olina kukola ng'osinziira ku ekyo ekyasookawo. Ng'ekintu kyonna bwe kizaala ekyo ekikifaanana, Ekkanisa ey'Amazima bulijjo ejja kuba nga y'eyo egezaako okutambulira mu bigere by'abo abaagitandikawo ku Pentekoote era ababaka baayo bajja kugobereranga omutume Pawulo, omubaka eyasooka eri omulembe gw'ekkanisa eyasooka. Kyangu bwe kityo era kya kitalo bwe kityo.

N'ekisumuluzo kino, ekyangu ennyo, so nga kya kitalo, nnasobola, nga nnyambibwako Omwoyo Omutukuvu, okusoma Ekitabo ky'Okubikkulirwa wamu n'Ebyafaayo ne nkisanga mu buli mulembe, buli mubaka, ebbanga erya buli mulembe, n'ekitundu buli omu kye yatuukiriza mu ntegeka ya Katonda okuva ku Pentekoote okutuuka ku ntikko y'emirembe egyo.

Kati nga bwe mutegeera engeri gye tusalawo ekkanisa ey'amazima engeri gye yali efaananamu (ki kye yali ku Pentekoote, kye yali ku mulembe gw'Abatume nga bwe kyateekebwa mu Kigambo mu kitabo ky'Ebikolwa by'Abatume) tuyinza okweyambisa enkola y'emu okulaga engeri ekkanisa gye yagwamu. Ensobi esooka, oba ensobi ezo ezaayingira mu kkanisa eyasooka era ne zibikkulwa mu Bitabo eky'Ebikolwa n'eky'Okubikkulirwa era ne mu bbaluwa zijja kugenda nga zeeyolekera ddala mu mirembe nga bwe gigenda giddirinngana, okutuusa lwe tunaatuukira ddala amazima we gaabuutikirwa ekizikiza mu mulembe ogusembayo, oba ogwa Lawodikiya.

Kati okuva mu kisumuluzo kino ekisooka kye tufunye okuva eri Mukama wajjawo amazima amalala agatali ga kitalo nnyo. Nnagambye nti ekkanisa ey'amazima bulijjo ejja kugezaako okuba nga bwe yali mu kitabo ky'Ebikolwa. Ekyo ddala kituufu. Naye tukivumbudde nti Ekigambo nakyo kiyigiriza okulumbibwa kw'ensobi okutuusiza ddala amazima bwe gabuutikirwa ekizikiza mu nnaku ez'oluvannyuma nga Mukama waffe Anaatera okulabika. Kati ekibuuzo kijja mu mitima gyaffe; Katonda Ava ku babe n'Abaleka okugwa mu mbeera y'okulimbibwa kwennyini? Tewali ngeri yonna, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba butereevu mu Matayo 24:24, nti “Omulonde” TAYINZA kulimbibwa.

“Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, nabo balikola obubonero obukulu n'ebyamagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, OBA NGA KIYINZIKA.”

Olwo ate kiki? Eky'okuddamu kitegeerekeka bulungi mu maaso gaffe. Waliwo ekkanisa ey'amazima n'Ekkanisa ey'obulimba. Waliwo omuzabbibu ogw'amazima n'omuzabbibu ogw'obulimba. Naye mu butuufu ekkanisa ey'obulimba, omubiri gw'omuzabbibu ogw'obulimba, bulijjo gujjanga kugezaako okutwala ekifo eky'Ekkanisa ey'Amazima era guwakane n'okuwakana nti ggwo, so si omulonde, gwe gwannamaddala era gwe gwakakasibwa. Ogw'obulimba gujja kugezaako okutta ogw'Amazima. Bwe kityo bwe kyali mu Kitabo ky'Ebikolwa by'Abatume, era bwe kityo bwe kiragibwa mu mirembe omusanvu, era bwe kityo bwe kirangirirwa mu Bbaluwa ezitali zimu. Bwe kityo bwe kibadde. Bwe kityo bwe kiri kaakano. Bwe kityo bwe kijja okuba. Tekiyinza kukyuka.

----
Amakanisa gano omusanvu agasangibwa mu Asia Minor gaalina mu go empisa, edda ennyo, ng'empisa ezo mu mirembe egy'oluvannyuma ze zaakula ne zifuuka ebibala mu mirembe egyaddirira. Ezaali ensigo obusigo ezaasimbibwa edda oluvannyuma zaakula okutuuka okukungulibwa nga Yesu bwe Yagamba, “Kubanga bwe bakola bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?” Lukka 23:31.

Soma akawunti mu...
Omulembe Gw’ekkanisa ya Efeso.



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.)



 

Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

   Bayibuli egamba...

Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza,

naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro: naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana.

Zekkaliya 14:6-7


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Katonda Yeekweka
Yennyini Mu
Binyoomebwa...
(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.