Merukizeddeeki ono y’ani?

<< jjuuzi


  Kigambo Ekiramu series.

Merukizeddeeki ono y’ani?


William Branham.

Soma akawunti mu...
Merukizeddeeki ono y’ani?

Abaebbulaniya 7:1-3,
1 Kubanga Merukizeddeeki oyo, kabaka w’e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, eyasisinkana Ibulayimu ng’akomawo ng’ava okutta bakabaka, namusabira omukisa,
2 Era Ibulayumu gwe yagabira ekitundu eky’ekkumi ekya byonna eky’oluberererye, mu kutegeezebwa, kabaka wa butuukirivu, era eky’okubiri, kabaka w’e Ssaalemi, ye kabaka ow’emirembe;
3 Atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y’obulamu, naye eyafaananyizibwa omwana wa Katonda, abeera kabona ow’olubeerera ennaku zonna.

Lowooza ku Muntu ono omukulu, nga Omuntu ono bwali omukulu! Era kati, ekibuuzo kiri nti, “Omuntu ono y’ani?” Abasoma eby’eddiini babadde n’endowooza ez’enjawulo. Naye okuva Obubonero Omusanvu bwe bwabikkulwa, Ekitabo eky’ebyama ekibadde kyakisibwa gye tuli...Okusinzirira ku Kubikkulirwa 10:1 okutuuka ku 7, ebyama byonna ebwawandiikibwa mu Kitabo kino, ebyali bikwekeddwa okuyita mu mirembe gyonna egy’abaddabuluzi, biteekeddwa okuggibwayo malayika ow’omulembe gw’ekkanisa ogusembayo bimanyibwe. Bameka abamanyi nti ekyo kituufu? (Ekibiina kiddamu, “Amiina.” - Omuwa.) Kituufu, bisanidde okuggibwayo. Ebyama byonna eby’Ekitabo ky’ebyama byakubikkulibwa eri omubaka wa Lawodikiya ow’omulembe ogwo.

Tulaba nga waliwo empaka nnyingi ku muntu ono n’essomo lino, ndowooza kitugwanidde okukiyingira mu, okuzuula Ono y’Ani. Kati, waliwo endowooza nnyingi ku Ye. Emu ku ndowooza ezo, egamba, “Ye lugero bugero. Teyali muntu ddala.” Abalala bagamba, nti, “Bwali bwakabona. Obwo bwali obwakabona bwa Merukizeddeeki.” Ekyo kye kisinga okwefaananyiriza, oludda olwo ekyo kiwulikika bulungi okusinga ku ludda luli, lwa kubanga bagamba nti bwali bwakabona. Tekiyinza kubeera ekyo, kubanga mu lunnyiriri olw’okuna Lugamba nti Yali Muntu. “Omuntu.” Kale, okusobola okubeera omuntu, yalina okubeera n’ekikula ky’obuntu, “Omuntu.” Si okwefanaanyiriza; naye Omuntu. Bwe kityo teyali nkola yabwakabona, newankubadde Ye okubeera olugero obugero. Yali Muntu.

Era Omuntu Ataggwaawo. Bwe wekkaanya, “Atalina kitaawe. Atalina nnyina, Ataliko biseera byeyasookerako, era Atalina biseera byeyakoma” Era kyonna kye yali akyali mulamu leero, kubanga wano Bayibuli yagamba, nti, “Atalina kitaawe, newankubadde nnyina, lunaku lwe yasookerako, newakubadde enkomerero y’obulamu.” Bwe kityo alina okuba Omuntu Ataggwaawo. Kituufu? (Ekibiina kiddamu, “Amiina.” - Omuwa.) Omuntu Ataggwaawo! Kale kirina okuba omuntu omu yekka, ye Katonda, kubanga Ye ye yekka ataggwaawo- Katonda!

Kati, mu Timoseewo ekisooka 6:15 ne 16, bw’oba oyagala okukisoma gye bujja , nandyagadde mukisome. Kati, ekintu kyempakanira ennyo, nti Oyo yali Katonda, kubanga ye Muntu yekka atafa. Era kati, Katonda bweyakyuka n’afuuka Omuntu; ekyo kye Yali, “Atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina kusooka kw’abulamu, atalina nkomerero.” Kati tulaba mu Byawandiikibwa nti abantu bangi bakiyigiriza, “abantu basatu ab’engeri ez’enjawulo mu bulamba bwa Katonda.” Bwe kityo, tosobola kubeera na ngeri ya muntu nga toli muntu. Kitwalira omuntu okukola ngeri y’omuntu. Omuweereza Omubaputisiti, wiiki ntono eziyise, yajja mu nju yange, n’agamba, “Nandyagande okukugolola ku bulamba bwa Katonda bw’on’ofuna obudde!” Nedda .Mmanyanga- yankubira ssiimu.

Ne nngamba, “Kati nnina ebiseera, kubanga njagala okuba omugolokofu, tuteeke kubbali buli kintu kyonna, tukikole.” Era najja, n’agamba, “Ow’oluganda Branham, oyigiriza nti waliwo Katonda omu.” Ne nngamba, “Yee, ssebo.” N’agamba, “Kale” n’agamba, “Nzikiriza waliwo Katonda omu, naye Katonda omu mu basatu.” Ne nngamba, “Ssebo, ekyo kiddemu.” N’agamba, “Katonda omu, mu basatu.” Ne nngamba, “Wasomera wa?” Mulaba? N’agamba - mu tendekero lya Baibuli. Ne nngamba, “Ekyo nandikikkiriza. Tosobola kubeera muntu nga tolina ngeri ya muntu. Era bw’obeera omuntu, obeera muntu omu ku bubwo. Oba mwawufu, omuntu ku bubwo.” N’agamba, “Kale, abannaddiini tebasobola nakukinyonyola ekyo.” Ne nngamba, “Kitwala kubikkulirwa.” N’agamba, “Sisobola kukkiriza kubikkulirwa.”

Ne nngamba, “Olwo no teriyo ngeri Katonda gy’ayinza kukutukirira, kubanga, “Byakisibwa eri amaaso g’abamagezigezi n’abakalabakalaba, n’obibikkulira abaana abato, n’obibikkulira, okubikkulirwa, ‘n’obibikkulira abaana abato abasobola okubikkiriza, okuyiga.’’ Ne nngamba, “Tewandibaddewo ngeri yonna Katonda gy’ayinza kukutukirira; weggaliza ebweru okumuziyiza. Bayibuli yonna kwe kubikkulirwa kwa Katonda. Ekkanisa yonna ezimbiddwa ku kubikkulirwa kwa Katonda. So tewali ngeri ndala yonna okutegeera Katonda, wabula okubikkulirwa. “Eri oyo Omwana gw’alibikkulira’- Kubikkulirwa, buli kimu kubikkulirwa. Bwe kityo, oku... bw’otokkiriza kubikkulirwa, olw’oba munnaddiini omunyogovu, era tewakyali suubi ku lulwo.

Kati, Kati, tulaba nti Omuntu ono “atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina lunaku lwe yasookerako newankubadde enkomerero y’obulamu.” Yali Katonda, en morphe (eyeefuula). Kati, ensi, ekigambo kiva, ekigambo ky’Oluyonaani, amakulu gaakyo, “okwe,” kyakozesebwa. Mwene nga yeefuula, en morphe, okuva mu kikula ekimu okudda ...kikula Ekimu; ekigambo ky’Oluyonaani, en morphe, amakulu gaakyo ... kyaggibwa mu kikolwa ky’omuzannyo, omuntu y’omu akyuusa ekyambalo kye, okumufuula omuzannyi omulala. Nga mu - mussomero, gy’ebuvuddeko, nzikiriza Lebbeeka, nga tanatikiirwa misomo gye, baalina ogumu ku mizannyo gya Shakespeare. N’omulenzi omu yalina okukyuusa engoye ze emirundi mingi, kubanga yazannya ebitundu eby’enjawulo bibiri oba bisatu; wabula nga muntu y’omu. Lumu, yafuluma, yali omuntu omubi; bwe yafuluma omulundi ogw’okubiri, yali omuzannyi w’ekitundu ekirala.

Kati ekigambo ky’Oluyonaani, en morphe, amakulu gaakyo nti “yakyusa ekyambalo kye.” Era Katonda kye yakola. Ye Katonda y’omu buli kiseera. Katonda mu kikula kya Kitaffe, Omwoyo, Empagi y’Omuliro. Katonda y’omu oyo eyafuuka omubiri n’abeerako gye tuli, en morphe (eyeefuula), yeggyayo asobole okulabibwa Ne kaakano, Katonda y’omu oyo ye Mwoyo Omutukuvu. Kitaffe, Omwana, Mutukuvu... si bakatonda basatu; woofiisi ssatu, okola kwa ngeri ssatu eza Katonda omu. Baibuli egamba, “Waliwo Katonda omu,” si basatu. Naye bwe batyo bwe batasobola... Toyinza kugolola kino n’obeera ne Bakatonda basatu. Tosobola kukiguza Muyudaaya. Ka nkibabuulire. Oyo amanyi okusingawo, amanyi nti waliwo Katonda omu yekka.

Weetegereze, nga ekifaananyi ekyole, akikweka, akibiikako olugoye. Ekyo Katonda ky’akoze eri omulembe guno. Byakwekebwa. Ebintu bino byonna byakwekebwa, era biteekwa okubikkulwa mu mulembe guno. Kati Baibuli egamba bijja kubikkulwa mu biseera eby’oluvannyuma. Nga omukozi w’ebifaananyi ebyole bw’akuuma ekyo ky’aba akoze nga kyonna kibikkiddwaako okutuusa ekiseera bw’akiggyako olugoye bwe kityo ne kirabibwa. Ne Baibuli bw’etyo bw’ebadde . Gubadde omulimu gwa Katonda ogubikkiddwaako. Era gubadde gwakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi, kyama ky’emizingo egy’emirundi omusanvu. Era Katonda yasuubiza mu lunaku luno, ku mulembe guno ogw’ekkanisa ya Lawodikiya, Aliggyako ekibikkako kyonna era tusobole okukiraba.

Nga kintu kya kitiibwa! Katonda, en morphe (okwefuula), nga yeetaddeko akakookolo mu Mpagi y’Omuliro. Katonda, yayambala Omuntu ayitibwa Yesu. Katonda, yayambala Ekkanisa Ye. Katonda waggulu waffe, Katonda ali naffe, Katonda mu ffe; okwefunza kwa Katonda. Eyo Waggulu, mutukuvu, nga tewali n’omu ayinza okumukomako, Yakka ku lusozi; n’ensolo eyakomanga ku lusozi, ng’erina okufa. N’oluvannyuma Katonda akka wansi nakyusa olusiisira Lwe, era n’akka wansi n’abeera naffe, n’afuuka omu ku ffe. “Era twamukwatako,” Baibuli bw’egamba. 1 Timoseewo 3:16, “Era awatali kubuusabuusa ekyama eky’okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, naakwatibwako n’emikono.” Katonda yalya emmere. Katonda yanywa amazzi. Katonda yeebaka. Katonda yakaaba. Yali omu ku ffe. Kirungi, kyalagibwa mu Bayibuli! Oyo yali Katonda waggulu waffe; Katonda ali naffe; kati ye Katonda ali mu ffe, Omwoyo Omutukuvu. So si Muntu wa kusatu; Omuntu y’omu!

Katonda yakka wansi n’afuuka omubiri, era n’afa okufa, mu Kristo; Asobole okutukuza Kkanisa, asobole okugiyingiramu, olw’okukunngaana. Katonda ayagala okukunngaana. Eyo y’ensonga lwaki yakola omuntu eyasooka, lw’akukunngaana; Katonda abeera yekka, awamu ne Bakerubbi. 45 Era kati weetegereze, Yakola omuntu, omuntu naaggwa. Bwe kityo Yakka wansi nanunula omuntu, kubanga Katonda ayagala okusinzibwa. Ekigambo kyennyini Katonda kitegeeza “ekintu ekisinzibwa.” Era kino ekijja mu makati gaffe, nga Empagi y’Omuliro, nga ekintu ekikyusa emitima gyaffe, Katonda y’omu eyagamba, “Wabeewo obutangaavu.” Ne wabaawo obutangaanvu. Y’omu jjo, leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.

Kati, ku lubereberye, Katonda yabeerawo yekka, awamu n’ebitundu Bye, nga bwe nakyogeddeko ku makya. Ebyo bye birowoozo Bye. Tewaali kirala, wabula Katonda yekka. Naye Yalina ebirowoozo. Nga omuzimbi omukulu bwatuula wansi, mu ndowooza ye, n’akuba ekifaananyi kyalowooza nga ky’agenda okuzimba. Okutonda, kati, tasobola kutonda. Ayinza okuddira ekyatondebwa nakikyusa mu ngeri endala; kubanga Katonda Yekka lye kkubo... Omu yekka yasobola okutonda. Wabula mu ndowooza ye afuna ky’agenda okukola, ebyo bye birowoozo bye, kwe kwegomba kwe.

Kati, kirowoozo, oluvannyuma akyogera, olwo n’ekiba ekigambo. Era e - ekigambo kye...Ekirowoozo, nga kyogeddwa, kiba kigambo. Ekirowoozo eky’ogeddwa kye kigambo, naye kirina okuba ekiroowozo okusooka. Bwe kityo, bye bitundu bya Katonda; n’oluvannyuma ne bifuuka ebirowoozo, oluvannyuma ekigambo. Weetegereze. Abo abalina, leero, Obulamu Obutaggwaawo, baali wamu Naye era mu Ye, mu kulowooza Kwe, nga tewanabeerawo Malayika, emmunyeenye, Kerubi, oba ekirala kyonna. Olwo lwe Lubeerera. Era bw’obeera n’Obulamu Obutaggwaawo, lubeerera waliwo. Si okubeerawo kwo wano, wabula ekikula n’ekifaananyi Katonda ataggwaawo...Era bw’aba Akoma, tabeera Katonda.

Katonda alina okuba atakoma. Ffe tukoma; Ye takoma. Era Yali abeera wonna, amanyi byonna, era ayinza byonna. Bwatabeera ebyo, olwo tabeera Katonda. Amanyi byonna, ebifo byonna, kubanga abeera wonna. Okumanya byonna kimufuula okubeera wonna. Muntu; atali nga empewo. Katonda Muntu; abeera mu nnyumba. Kubanga amanyi byonna, ategeera buli kimu, Kimufuula okubeera wonna, kubanga Amanyi byonna ebigenda mu maaso Tewasobola kubeerawo nkukunyi etemya ekikowe kyayo wabula ng’Akimanyi. Era Yakimanya nga n’ensi tenabeerawo, emirundi emeka gy’etemya amaaso gaayo, era n’amasavu agali mu yo, nga n’ensi tennabaawo. Obwo bwe butakoma. Tetuyinza kukitegeera mu birowoozo byaffe, naye oyo ye Katonda- Katonda, atakoma!

Soma akawunti mu...
Merukizeddeeki ono y’ani?


  Bayibuli egamba...

Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe.

Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire Mukama bye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti,

Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe.

Matayo 1:21-23



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Amazzi mu lwazi.

Mu kusooka...

Oluvannyuma...

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Pearry Green personal
testimony.

(PDF Olungereeza)

Okufumbiriganwa
N’okwawukana.

(PDF)