Ebidiba Ebyasimwa.
<< jjuuzi
ekiddako >>
Ensulo ey'Amazzi Amalamu.
William Branham.Soma akawunti mu...
Ebidiba Ebyasimwa.Njagala okwogera olwa leero ku mutwe, okumala akaseera akampi ku: Bidiba Ebyawummuka. Isiraeri yali ekoze ebibi bibiri ebinene. Katonda Yagamba nti baali bamuvuddeko, Ye Oluzzi olw'amazzi Amalamu, era nga beesimidde ebidiba okunywamu amazzi. Kaakano, ekyo kye kinyusi. Ensonga eyandowoozesezza okusoma ku kitundu kino yabadde nti kijja kufaanagana n'ekyo kye mbadde njogerako enkya ya leero, ku ssaawa gye tulimu, era y'ensonga ey'okulafuubana kwaffe.
Era tutunuulira Isiraeri ng'eky'okulabirako, anti, ekyo Katonda kye Yali, era Alina okusigala ng'Ali ekyo ky'ekimu. Era waliwo ekintu kimu Katonda kye Yali asizzaamu ekitiibwa, era eyo y'engeri Ye gye Yateekerawo abantu Be. Era bwe baava mu kkubo eryo, olwo Katonda yali Ayisiddwaamu amaaso, era Katonda Yaleetera abantu okubonaabona olw'okuva ku kye Yali abagambye okukola, sinsonga kyali ki. Yabawa n'etteeka, “Temukikwaatangako, temukikomangako, temukiregangako, temukombangako.” Nga si lwa kibi kiri mu ku kikola, wabula obubi obuli mu kujeemera ekyo kye Yali abagambye okukola. Era bulijjo tewasobola kubeerawo tteeka nga tewali kibonerezo ku tteeka eryo. Kubanga, bwe waba nga tewali kibonerezo, olwo etteeka liba teririna makulu okuggyako nga lirina ekibonerezo. Etteeka!
Kaakano, tukizuula nti, kye baakola mu nnaku ezo kifaananira ddala n'ekyo kye tukola olwa leero, abantu b'ekkanisa kye bali mu kukola. Kaakano tulaba ekintu ekyewuunyisa wano. Kiyinza okuba nga kipya eri abantu abamu, bwe Yagamba nti, “Mwesimidde, beesimidde, ebidiba, ebidiba ebya wummuka.” Oba olyawo abamu kumwe temumanyi ekiyitibwa ekidiba. Bameka ku mmwe abamanyi ekiyitibwa ekidiba? Kale, abasing ku mmwe. Bw'oba wali okuliddeko ku faamu, omanyi ekidiba kye kiri. Nzijukira nyweddeko n'ebiwuka bingi okuva mu byo, okusobola okutegeera amazzi g'ekidiba kye gali.
Nnabuulirako eyo mu ggwanga, ng'oli mukisikirize ky'omuti, ng'oyinza okuba n'ensuwa y'amazzi g'ekidiba amangi nga gali awo, nga gava mu nkuba, okimanyi, nga galinga agakadiye. Kati awo ebiwuka ekiro, ne biyingiramu. N'olwekyo mmanyi amazzi g'ekidiba kye gali. E - ekidiba kibeera kifo oba ekintu ekisimiddwa wansi, okuba ng'oluzzi. Abantu bwe bataba na luzzi, kaakati olwo, basima ekidiba. Ekitegeeza, ekidiba ebeera ttanka ng'ekoleddwa abantu oba oluzzi lw'omuttaka olusimiddwa abantu, abantu lwe beesimidde, okufuna amazzi, oku - okulukozesa. Abamu ku bo bagakozesa okwoza, abamu bagakozesa okunywa, n'engeri ez'enjawulo, oba oli awo. Amazzi gonna ebiseera ebisinga, ge twafunanga, gaavanga mu kidiba. Wabeerangawo ekintu ekikadde kye walinanga okwetoolooza, ne weetoolooza, ne weetooloza, n'okyetooloza, okukuŋŋaanya amazzi waggulu; kyalinangako obulobo, okukusena amazzi okuva mu kidiba. Kale, tulaba ekyenjawulo wakati w'ekidiba n'oluzzi emu. Kaakano, ekidiba kisobola okukalira. E- e - ekidiba tekisobola kwejjuzza mazzi. Te- te- tekyesigika. Tosobola kwesigama ku kidiba. Kirina okwesigama ku kubeerawo kw'enkuba etonnya mu biseera byayo oba mu biseera by'obunnyogovu, kyonna kye kiri. . . ebiseera ebisinga, mu bunnyogovu, omuzira n'enkuba bwe bijja, olwo amazzi ne gakulukuta okugenda mu bidiba. Era bwe kitafuna mazzi, olwo muba temulina mazzi yadde. Kyonna kyonna kikalira. Era tekisobola kwejjuzza mazzi. Ekidiba ekikadde tekisobola kwejjuzza kyokka. Kifuna okujjuzzibwa okuva mu nkuba etonnya.
-----
Mu nnaku ntono, ng'oleka amazzi ago, okwesengejja. Ng'ogaleka okusigala mu kidiba, nga bwe gesengejja. Era nga gajjula ebikere, eminya, awamu n'emisota. Era twalinga tubiyita “Kiwugira mu mazzi ow'omukira,” ebitono. Simanyi oba... si mbuukizi, ebyo bye... sisobola, simanyi bwoyinza kubiyita. Wabula ekintu ekitono kayingira mu mazzi, ako ke twayise kiwuggira mu mazzi ow'omukira. Mumanyi nga ky'ekyo. Bameka abamanyi ekyo kye njogerako? Oo, lwaki? Mazima, mmwe mwenna ab'omu kyalo mu kimanyi kyonna okuleggama, era olwo bino ebinyumirwa agalegamye ne biggiramu, amazima bijja buzzi, kubanga gaba galegamye anti tegatambula. Era kubanga gaba galegamye, gasikiriiza ebiwuka ebyagala ebintu ebiregamye.Bwe kityo kyonna bwe kiri ng'amakanisa gaffe leero. Ndowooza nti twaleka... ekimu ku bibi eby'amaanyi ekkanisa by'ekoze olwa leeo, nga Isiraeri ku luli, yamuleka, Oyo Ensulo y'Amazzi Amalamu, era kaakati beesimidde ebidiba ebisimiddwa abantu. Era efuuse nju ya buli kintu kyonna ekyagala amazzi ag'ekika ekyo. Eminya, ebikere, era na buli kika kya biwuuka ebitali birongoofu, bibeera omwo, kubanga ttanka eyakolebwa omuntu. Era mu ttanka eno ebintu bino mwe bibeera, ekifaananyi kya kulabirako eky'ebibiina by'amadiini gaffe leero. “Kale,” mugamba nti, “Ow'oluganda Branham, lwaki abantu abo obassaako nnyo akazito?” Kibagwanidde okukubibwa. Balina okukubibwa. Baidduke, kubanga kijja kumaliririza kikoze akabonero k'ensolo. Mujjukire, ago ge mazima! Ky'ekijja okubeera akabonero k'ensolo. Ebibiina by'eddiini bijja kukitwala mu ekyo. Bali mu kkubo lyakyo boolekedde eyo kakaano, okukikaka, okuyita mu buyinza. Tunuula mu Bwakabaka bwa Ruumi ey'edda. Ekyo kyennyini kye kyabatwala ku kabonero k'okujeemera eddiini. Twakizuula nti tewali muntu yali asobola okugula yadde okutunda nga talina kabonero k'ensolo. Yali alina okubeera nako.
-----
Okuleka oluzzi lw'Ensulo, olw'enkola eyateekebwawo bantu oba ebidiba, osobola okuteeberezaamu omuntu okukola ekintu ng'ekyo? Osobola okulowoozaamu obwongo bw'omuntu asobola okunywa ku mazzi amasu ag'oluzzi olw'ensulo, ate n'agaleka n'asalawo okunywa mu bidiba ebikoleddwa abantu ebirimu ebikere, n'eminya, era ne bikiwugira mu mazzi eby'emikira, n'ebirala byonna mu kyo? Mu kutegeera, tekirabika na kuba kituufu, naye ky'ekyo kyennyini abantu kye bakola. Balesse Ekigambo, Ensulo ey'Amazima ey'ensibuko n'Amaanyi ga Katonda okunywa okuva mu bidiba, era ne beekolera ebidiba. Mu ngeri y'emu nga bwe baakikola ku luli bwe bakikozze ne kaakano. Bagamba nti... Yagamba nti, “Bandesseewo.” Wano bwe Yagamba, wano mu Yeremiya 2:13. Wabula. Yagamba nti, “Banvuddeko nze, Ensulo ey'Amazzi Amalamu.”Kakaati, tulaba ebidiba kye ki. Tulaba ne kye bikwata. Tulaba engeri gye kikolebwamu. Kintu ekikoleddwa abantu ekiva ku baati eriddugala. Amazzi agatonnya wansi, gagwa ku baati eriddugala, era ganaaza ku baati, era ne gayitira mu mukutu ogukoleddwa abantu, okuyita mu mudumu ogukoleddwa abantu, ne gayiwa mu ttanka ekoleddwa abantu. Era ebikyafu byonna bikuŋŋaanira omwo, era n'ebiwuka, n'eminya, n'ebikere, era n'ebintu byonna eby'omu ttaka, bwe bityo. Era, weetegereze, ezo ze nsolo ezitali nnongoofu; bkiiwugira mu mazzi eby'obukira,awali agalegamye agatatambula. Bi kiwugira mu mazzi eby'obukira tebisobola kubeera mu mazzi gatukula. Bwe bigabeeramu, bifa. Birina kubeera mu mazzi agalegamye.
Era bwe kityo bwe kiri na bano bonna abanyuunyuusi aba leero. Tosobola kubeera mu mazzi amalamu ag'Omwoyo Omutukuvu. Eyo y'ensonga lwaki balwanyisa nnyo Ekigambo kya Katonda n'obumanyirivu, era bagamba nti, “Kikontana kyokka na kyokka. Teriiyo kintu kyonna ku kyo.” Kiri nti kubanga baba balina okuba n'ekidiba ky'amazzi agalegamye okuwugiramu. Kituufu. Eyo y'engeri y'emu n'ebikere, era n'eminya, era n'obukulwe, n'ebiringa ebyo. Biba birina okugenda mu ntobazzi oba mu bidiba by'amazzi agalegamye, okusobola okuba ebiramu, kubanga bwe butonde bwabyo okubeera omwo. Era tosobola kukyusa nsolo okutuusa ng'okyuusiza obutonde bwayo. Era tosobola kuleetera muntu kulaba Kigambo kya Katonda okutuusa ng'obutonde bwe bukyuse; era obutonde bwe bwe bukyuka okuva mu ekyo kyali, n'afuka omwana wa Katonda, era Omwoyo Omutukuvu n'Amujjamu. Omwoyo Omutukuvu Yeyawandiika Ekigambo kya Katonda!
-----
Okwemulugunya Kwe kwali nti, “Banvuddeko, Ekigambo; era ne bakkiriza ekidiba ekiwummuse, mu kifo. Ky'okukkiriza... bandesseewo Nze, Ensulo y'Obulamu, Ensulo ey'Amazzi ag'Obulamu; era baayaayaana era waakiri banywe okuva mu bidiba ebyalegama.” Ekyo Osobola okukiteebereza? Osobola okuteebereza omuntu kakaati, nga wano waliwo oluzzi olw'ensulo nga luyiwa amazzi amalungi agalimu ebiriisa, nga gava wansi mu mutima gw'enjazi, wansi eyo awasibuka omusenyu, n'ebirala, nga mannyogovu nga malungi nga bwe kisoboka; waakiri anywa okuva mu kidiba ekiri awo, ekirimu agakulukuse okuva ku bbaati ly'ekiyumba ky'ensolo, ne ku mbalaza, era n'okuva ku bizimbe ebyetooloodde ekifo? Ne bigakunganyizza mu kidiba ekyo, eyo amazzi gye kakulukutira okugenda, okuva ku nnyumba y'ensolo, eby'eŋŋaira, ensolo wezuwummulira, n'ebirala byonna ebiyiwa amazzi mu kidiba, era kaakati twagala... ng'asobola okunywa okuva mu ekyo nga tannaba kugenda ku luzzi olw'ensulo? Waba walina okubeerawo ekikyamu ku bwongo bw'omuntu oyo. Ekyo kituufu.Era omusajja oba omukazi bw'atwala ekibiina ky'eddini mu kusalawo kwe, ekyo ekikkiriza okusalako enviiri ze, okwambala empale, okwesiiga ebirangi, na bino ebintu ebirala byonna, era n'ebintu ng'enteekateeka, ne byonna eby'okusigala mu bulamu bwabwe, era ne bagenda gye bazannyira omuzanyo gw'obupiira bw'entomi (cricket), era-era gasiya oyo yenna ebweru eyo, ne basobola okubigumira ebyo; era ne baagala ebyo okusinga enkola enkadde ey'EKigambo kya Katonda ekisala era ekisima, era ne kifuula abakyala okuva mu bakazi, era ne kitwala ne kibaleteera okwambala obulungi era n'okweyisa obulungi, ne kibaggyamu ttaaba, n'okulayira n'okukolima, wamu n'okulimba n'okubba, okubikuggyamu, era n'ensi yonna neekuvaamu, era neekuwa okumatira okutuukiridde. Lwaki omukazi oba omusajja agenda mu kintu ekifanana ng'ekyo okunyumirwa? Osobola otya okunyumirwa mu kintu ng'ekyo?
-----
Abantu ab'omu nnaku zino bamuvuddeko, Ekigambo eky'Amazima, Amazzi ag'Obulamu; era ne beesimira ebidiba mu bibiina by'amaddini; era, nate, beesimidde, baasima! Era kaakano tukizuula nti, babadde n'ebidiba ebyawummuka. Era ebidiba bino bijjuddemu obuwuka obutakkiriza, obutakkiriza nga bwenyumiriza mu nteekateeka z'ebyenjigiriza, era n'ebirala bwebityo, ng'ate ebyo bikontana n'ebisuubizo bya Katonda. Abo babuusabuusa Ekigambo kya Katonda.Kaakano, ebidiba bino bye balina, Baibuli yagamba nti, “Byawummuka.” Ebidiba ebyawummuka biba bidiba “Eitonnya”, era biba bitiiriisa wabweru. Biba bikola ki? Biba biyiwa mu bidiba bya kazambi eby'amadiini ebiyitibwa akakiiko k'ensi yonna ak'amakanisa. Era eyo ebidiba ebyawummuka gye biri mu kubakulembera bonna okugenda, kubanga baamuvaako, era Oyo Ensulo y'Amazzi amalamu; ne bakola ebidiba bino. Baasimayo enkola ya seminaaliyo ennene ey'okuyiga, n'okusomesa, era n'ebirala. Ebyo by'ebika by'ebidiba bye bali mu kusima ne leero, anti omuntu alina okuba ng'alina Ph.D., oba ng'alina LL.D., oba ng'alina ddiguli esooka, oba ekintu ng'ekyo, nga tannaba na kugenda kubuulira. Ebidiba ebijjuddemu enjigiriza y'amadiini eyateekebwawo abantu. Babatwala mu masomero gano ag'amaanyi ag'okutendekebwa, era eyo ne babateekamu enjigiriza yaabwe ey'amadiini eyakolebwa abantu, era ne babasindika ebweru n'ekyo. Nnaku ki zino zetuli mu, ebidiba ebikoleddwa abantu! Tekyewuunyisa... tekyeewuunyisa ekintu kyonna kifuuse kivundu ekiwunya, oo, abange, kiri nti kubanga abantu banywa okuva mu ekyo.
Era abantu bwe baagala essannyu leero, kiki kye bakola? Abantu, mu kifo ky'okukkiriza essannyu lya Mukama, bakyukira eri kibi okufuna essannyu. Abantu abagenda mu kkanisa ne beeyita abaweereza ba Kristo, ate bwe batuuka mu kaseera ak'okutya ennyo ne bakoleeza ttaaba. Era bwe baagala okufuna essannyu bambala engoye zaabwe ezobukaba era ne beemaanyula ng'abasajja babalaba era nga tebeefiirayo, mbu basobole okubasiiya. Bakola kyonna okusobola okubeera abamanyifu. Baagala okufaanana abazanyi ba ffirimu ab'amaanyi. Eryo lye ssannyu lyabwe. Ng'ate, Yesu Yagamba nti, “Nze kumalibwa kwabwe.” Ensonga lwaki bagenda mu ebyo kubanga tebaagala kunywa kuva mu Nsulo. Bagyeggyako. Tebaagala kunywa kuva gy'Eri. Bo beegatta ku kika ky'enkola eyateekebwawo abantu, ekika ky'ekidiba nga kijjudde buli kika ky'ebintu ebiregamye, bo basobole okutambula bwe batyo.
-----
Kakaano nga nzigalawo, nnyinza okwogera kino. Ekyintu kyonna eky'enjawulo ku kino ekyo kidiba ekyawummuka, era ku nkomerero kijja ku tonnya kiyiwe ebyo by'okitaddemu; bw'oba ng'otadde essuubi lyo lyonna, obudde bwo bwonna, era n'ebirala byonna, mu kimu ku ebyo ebidiba ebyalegama. Yesu yagamba nti byali bidiba ebyawummuka. Katonda yagamba nti, “Byawummuka, era byonna bijja kutonnya biyiwe byonna by'otaddemu.” Tosobola kugenda wala nabyo, 'Kubanga bijja kutonnya biyiwe. Kubanga ye yekka ly'ekkubo eri amazima, era n'eri essannyu ery'olubeerera, era n'emirembe egy'olubeerera, era emirembe egy'olubeerera. Ye yekka era ekkubo lyokka erikutwala gye kiri. Oh, abange! Ensulo ey'Obulamu etakalira ye Yesu Kristo. Lwaki? Era ye y'ani? Kigambo, y'omu; Ekigambo, Obulamu, Ensulo, y'omu jjo, leero, n'emirembe gyonna.“ Omukkiriza omutuufu, lino ly'essannyu ery'okuntikko, Obulamu bwe obw'okuntikko. Era okumatizibwa kwe okw'okuntikko kuli mu Kristo. Tewali kusunda, tewali kusika, tewali kwegatta, tewali kusasuzibwa nsimbi; wabula kukkiriza bukkiriza n'okuwummula. Ekyo Ye ky'Ali eri abakkiriza.Soma akawunti mu...
Ebidiba Ebyasimwa.