Emitendera esatu kya Katonda.
<< jjuuzi
ekiddako >>
Kristo kye kyama kya Katonda ekibikkuliddwa.
William Branham.Soma akawunti mu...
Kristo kye kyama kya Katonda ekibikkuliddwa.Weetegereze, Katonda abaddenga n’ekigendererwa nga kirimu emitendera esatu mu kyama kino eky’ekitalo. Katonda, mu kyama kye ekikulu kye yalina ensi nga tennatandika, Akirinamu ekigendererwa kya mitendera esatu. Era kati kye twagala okugendako, enkya ya leero, kye, kigendererwa ki ekyo ek’emirundi esatu? Mukkiraba? Kaakati, nzikiriza, Katonda ng’A... ng’Annyambye, oyo Ali wano kaakano, era A-Ajja kukitulaga. Kati oba Yalina ekigendererwa ki kino eky’emitendera esatu.
Ekintu ekisooka kyali, nti, Katonda yayagala okwebikkula eri abantu. Yali tayinza kukikola nga Katonda Yakuwa ow’ekitalo Oyo eyajjula ebbanga lyonna, ebiseera, n’Obutaggwaawo. Yali tayinza. Muyitirivu nnyo mu bukulu ne kiba nti Tayinza kubikkulwa eri abantu, kubanga kiba kya kyama ekisusse. Ekintu ekikulu ennyo ekyenkana awo ekitabangako ntandikwa... ng’osusse ebikumi by’obuwumbi ng’osusse enkulungo y’ebikumi by’obuwumbi bw’obwesedde n’obwesedde bw’enta z’akamyanso, n’otuuka mu butabalika, mu Butaggwawo, era Ekiramu eky’ekitalo ekyali kyenkana awo, ate nga kikyali ekyo.
Naye kye Yayagala okukola, Yayagala obwa taata, kubanga yali Kitaffe. Era engeri yokka gye Yali ayinza okukiraga kwali kubeera Mwana wa muntu. Yesu kye yava nga agamba, “Omwana w’omuntu.” Laba bangi ku bo tebamanya, kiki kye Yali ayogerako. Naye kati mukitegeera? Olaba? Yayagala okweyoleka. Ekyo, kye kimu ku bigendererwa Bye eb’emitendera esatu; kwali kweyoleka, kweraga n’abantu, okwebikkula mu Kristo.
Eky’okubiri, kubeera omubereberye mu mubiri Gwe ogw’abakkiriza, oyo ye, Mugole We, alyoke abeere omulamu mu bantu.
Kati, ekyo Yandikikoze mu Adamu ne Kaawa, naye ekibi kyabaawula, kale waalina okubaawo engeri y’okukizaawula. Oh, abange! Oh, kati, ku lwange, kino, kino kiyitirivu, n’okukirowoozaako obulowooza. Mukiraba? Mulaba ekigendererwa kya Katonda kye kyali? Kati lwaki Adamu ne Kaawa teyabaleka bulesi bw’atyo? Olwo teyandisobodde kwoleka bulamba Bwe, obujjuvu bw’okulowooza Kwe. Kubanga, awo Yandibadde Kitaffe, ekyo kituufu, naye ate n’ekirala Mulokozi. Ogamba, “Omanyi otya nti Yali?” Ali Ekyo, kubanga nkirinamu obumanyirivu. Mulaba? Mulaba? Mulokozi, era Yalina ekyo okukyoleka. Era Yandibadde atya Omwana? Okuyita mu Kristo kwokka. Yandibadde atya Omuwonya? Kuyita mu Kristo kwokka. Laba, ebintu byonna bizingirwa mu Muntu oyo Omu, Yesu Kristo. Oh, owange!
Bwe nkirowoozako ndaba nga ebibiina by’amaddiini mbi-mbiraba nga bibulawo bubuzi, na buli kintu nga kimala gagenda, mulaba, bwe ndaba ekigendererwa kya Katonda ekikulu, nga Yeebikkula. Era ng’Alina, okusooka, Yeeyolekere mu Kristo, “okutuukirira kw’Obwa Katonda ng’omubiri bwe guli.” Era, olwo, okuleeta “okutuukirira kwonna okw’Obwa Katonda ng’omubira bwe guli” mu bantu, asobole okubeera ow’olubereberye, omulabirizi, omukulembeze.
Olulala, ekiro, bw’oba olutambi tewalufuna, lwe nnabuulira wano ekiro, ku Omusibe wa Yesu Kristo. Pawulo, omusibe! Olaba? Katonda bw’akufuula omusibe We, toyinza kukola kintu kirala kyonna okuggyako ekyo Omwoyo ky’Akugamba okukola. Pawulo, n’obuyivu bwe bwonna, yayigiriza…yayigirizibwa Gamalyeri lumu, okubeera kabona ow’ekitalo oba labbi. Era yalina okuyaayaana kungi. Mu buyivu, yali muntu wakitalo, wa buyinza bungi, omusajja ow’ekitalo mu ggwanga. Naye byonna yalina okubireka, mulaba, okufuuka ekitundu ku Kigambo, okwoleka Yesu Kristo. Yamanya kye kyali kitegeeza okugamba...
Waliwo we yali alowooza okugenda, waliwo ab’oluganda abaali bamuyise, naye Omwoyo n’amugaana okukola ebibye by’ayagala. Oh, abantu si-singa babeerako ab’omwoyo ekyo okukiraba! Mulaba! Mulaba? Yagaanibwa okukola ekikye ky’ayagala. Kye yakolanga kyokka... “Omwoyo Yanziyiza.” Olaba? Yali musibe wa Kristo.
Olwo, lwali lumu akalaguzi kano, kye yali amanyi, Pawulo yamanya nti yalina amaanyi okugoba omuzimu ogwo, naye yalinanga kukikola nga Katonda bwe yayagala. Buli lunaku omuwala yamugobereranga, ng’amukaabirira, naye lwali lumu Omwoyo n’amuganya. Awo n’agubogolera, omwoyo ogwo ogwali mu muwala oyo. Mukiraba? Yamanya kye kyali kitegeeza okuba omusibe.
Musa, obuyivu bwe, yalina okubufiirwa okusobola okufuna Kristo, okuba omusibe. Awo Katonda bwe yamumalamu ensi yonna, n’amaanyi ge gonna ge yalina, n’ayimirira awo mu Kubeerawo kw’Empagi ey’Omuliro ku lunaku olwo, yeesanga n’okwogera tasobola. Yagamba, n’okwogera, teyasobola kwogera. Katonda olwo yalina omusibe. Mukira? Tojja kugenderera ku kunoonyereza kwo. Olwo Katonda omusajja ono yalina okumuteekamu, okumuteekamu amaanyi agamala asobole okuserengeta eyo.
Kale n’agamba, “Mukama, Faalawo namugambye kye Wagambye, n’agaana okukikola.”
N’agamba, “Kale ddira omuggo gwo guno,” Katonda ng’Ayogera, ekyo Kigambo kya Katonda, “genda eyo ogusonge Ebugwanjuba, oyite ensowera.” Era ensowera zaatondebwa, kubanga Katonda yalina omusibe Falaawo gwe yali tasobola kusasula kintu kyonna. Tewali n’omu yali ayinza kumukyusa n’akatono. Yali musibire ddala mu njegere z’Ekigambo kya Katonda, nga yasibibwa ku BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.Oh, singa Katonda yeefunira abasibe ng’oyo! Kati, labayo, awo w’ayinza okulagira enkizo. Ye, Yafuna omusajja, oba omuntu n’aba nga talina ky’amanyi okuggyako Kristo. Mutegeera kye nngamba? Kale ekyo kye ky’okubiri. Ekisooka, kweragira ddala mu bujjuvu, Katonda mu Kristo. Eky’okubiri, Abeere ow’olubereberye, na kino, mu Kkanisa Ye, ng’ogwo gwe Mubiri Gwe, Omugole, Atuuke n’okuba Asukulumye okubeeyolekeramu. Kale.
Era eky’okusatu, okuzzaawo Obwakabaka mu kifo kyabwo ekituufu, obwo obw’agwa n’ekibi ne Adamu eyasooka, edda bwe Yatambulanga mu mpeewo ey’akawungeezi, n’abantu Be, n’Ayogera nabo, n’Assa ekimu nabo. Era kaakano ekibi n’okufa byali bibaawudde okuva mu Kubeerawo Kwe n’okweyoleka Kwe kwonna. Mukisoma? Ng’ensi tennaba kutondebwa, okwoleka byonna ebikwata ku okulowooza Kwe kwonna, ki kye Yali.
N’olwekyo, ow’Obusatu yenna wano singa yesumululako eddakkiika, oyinza n’okulaba nti Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu si bakatonda basatu. Biti bisatu nga bikwata ku Katonda y’Omu. Mulaba, kwe kweyoleka. Kitaffe, yali, Yayagala okuba Taata! Yali Taata, Yali Mwana, ate Ye Mwoyo Omutukuvu. Era Kitaffe n’Omwoyo Omutukuvu mwoyo gwe gumu. Temukiraba? Mukitegeera? si bakatonda basatu. Amasetaani ge gaabagamba ebintu ebyo, okubafuula abasinza ebifaananyi. Mukiraba? Katonda Ali omu ng’Alagiddwa mu biti bisatu. Okubeera Kitaffe, okubeera Omulokozi, okubeera Omwana, okubeera Omuwonya, mulaba, ebyo kwe kweyoyoleka Kwe.
Njagala kubongerayoko mu buziba katono abantu abawuliriza entambi nabo bakitegeere, basobole okulaba. Kintwalira, essaawa nnamba, buli kimu ku by’okuyigako ebyo. Naye nsuubira nkitangaazizza ekimala ne musobola okulaba kye nngendako. Mulaba? Katonda ng’alagiddwa mu Yesu Kristo, eyali byombi Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu, “okutuukirira kw’Obwakatonda ng’omubiri bwe guli.”
Kati “okutuukirira kwonna okw’Obwa Katonda ng’omubiri bwe guli” kutuula mu Kkanisa Ye, enkizo. Kyonna ekyo Katonda kye yali, yakifuka mu Kristo; era ekyo kyonna Kristo kye yali, yakifuka mu Kkanisa, abakkiriza. Si bibiina by’amaddiini! Ekyo tujja kukituukako mu ddakiika ntono, era kijja kukiggya mu birowoozo byammwe olubeerera, mulaba; kibalage kiki ekyo kwe kiva, Katonda ng’atuyambye, bw’anaakikkiriza eri ffe.
Kaakati, ekigendererwa Kye ki? Kweyoleka Ye Yennyini ng’Omwana, mulaba, era kati, mu Ye mulyoke mubeeemu “okutuukirira okw’Obwakatonda ng’omubiri bwe guli.” Nnina, nninawo Abakkolosaayi wano, wennyini mu maaso gange. Mukiraba? Ekyo, mu Byawandiikibwa byonna, ekyo kye kyali ekigendererwa kya Katonda. Olwo, okuyita mu Bulamu buno obw’Omwana ono, omusalaba Gwe, “Omusaayi,” wano kigamba, “ogw’omusalaba Gwe,” Alyoke atabaganye naye Yennyini Omubiri, Omugole; ng’oyo ye Kaawa, Kaawa ow’okubiri. Era Katonda Yakireteera mu kifaananyi, nga bwe Yakola ku Musa n’abalala bonna. Ekintu kye kimu kye Yakola ku Adamu ne Kaawa, ng’Alaga ekifaananyi, nti baali Kristo n’Omugole. Ye Adamu ow’okubiri; ekkanisa ye Kaawa ow’okubiri.
Era kasita Kaawa ow’okubiri yekkiriranya n’Ekigambo, aba takola kintu kye kimu Kaawa eyasooka kye yakola? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.”- Omuwa.] Ng’agezzaako okugamba, “Kale kya mulembe mulala.” Era ekyo tujja kukituukako mu ddakiika ntono, we yagambira nti ekyo kyali kya mulembe mulala. Guyinza gutya okuba omulembe omulala, ate nga “Aba bumu jjo, leero, n’emirembe gyonna.”? Naye ekyo Katonda kye yaganderera era “n’akikweka okuva ku bagezigezi n’abakalabakalaba, ate n’Akibikkulira abaana abaayawulibwa” abo abaayawulibwa okukisembeza.
Soma akawunti mu...
Kristo kye kyama kya Katonda ekibikkuliddwa.
Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo.
Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.
1 Abakkolinso 12:12-13