Ebisa by'Okuzaala.
<< jjuuzi
ekiddako >>
Eggulu eppya era n'ensi empya.
William Branham.Soma akawunti mu...
Ebisa by'Okuzaala.Kaakati, njagala okwogera akawungeezi ka leero ku ky'okuyigako kye nalanze: Ebisa Eby'okuzaala. Kaakati ekyo kiwulikika bubi, naye kiri mu Baibuli. Nzikkiriza nti wano Yesu kye yali Ayogerako, nga bwe yagamba nti, “Mulinakuwala, naye ennaku yammwe erifuuka essanyu,” ng'ayogera eri Abayigirizwa Be wano, ng'akimanyi nti okuzaalibwa kw'Obukristaayo kwali kugenda kubeerawo. Era kaakano ekikadde kirina okufa, awo nno ekipya kisobole okuzaalibwa. Okuba n'ekintu kyonna ekizaala, kirina okubeera n'obulumi obw'okunakuwala. Era mu mazima baali balina okuyita mu bulumi obw'okunakuwala era n'ennyiike, okuva mu mateeka okudda mu kisa. Okuzaalibwa, okw'obutonde kifaananyi kya kuzaalibwa okw'omwoyo. Ebintu byonna eby'obutonde kifaananyi by'ebyo eby'omwoyo. Era tukizuula nti, singa tutunuula wano we tuli ku ttaka, era ne tulaba omuti mu ttaka, nga gukula, guba gulwana okuba mulamu. Ekyo ky'ekiraga nti awo waliwo omuti, awantu awamu, ekyo tekifa, kubanga kirina kye kikowoola. Tulaba abantu, sinsonga b'amyaka emeka, oba balwadde nkwenkana wa, mbeera ki, babeera bakaaba, kubeera balamu, kubanga ekyo kiraga nti waliwo obulamu awantu awamu we tulina, okubeera abalamu emirembe gyonna. Weetegereze engeri gye kituukiridde.
Kaakano, mu Yokaana Ekisooka 5:7, nzikkiriza bwe kiri, bwe mba sikozze nsobi, kigamba nti, “Waliyo basatu abawa okujjulira mu Ggulu: Kitaffe, Ekigambo, era n'Omwoyo Omutukuvu; abasatu bano bali omu. Waliwo basatu abawa okujjulira ku nsi, nga ge mazzi, Omusaayi, era n'Omwoyo, era bano bakiriziganya mu kimu.” Kaakano weetegereze, abasatu abasooka bali kimu. Abasatu abaddako baku nsi, nga bakirizaganya mu kimu. Tosobola kubeera na Kitaffe awatali Mwana; tosobola kubeera na Mwana awatali Mwoyo Mutukuvu. Naye ate osobola okuba n'amazzi nga tolina Musaayi, era n'Omusaayi nga tolina Mwoyo. Ndowooza, okuyita mu mirembe gyaffe, akakasiza kino okubeera Amazima; amazzi, Omusaayi, Omwoyo; okuggibwako omusango, okutuukuzibwa, okubatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu. Ekya kifaananyi, oba kikola... ekifaananyi ekikontana, ekijja ku kuzaala okw'obutonde. Laba omukazi oba ekintu kyonna nga kiri mu kulumwa, okuzaala. Ekintu ekisooka okubaawo, kwe kuyiika kw'amazzi, okuzaala okw'obulungi; eky'okubiri gwe musaayi; kaakati awo obulamu ne bujja. Amazzi, omusaayi, omwoyo; kaakati ebyo by'ebibeera mu kuzaala obulungi, mu butonde.
Era bwe kityo bwe kiri n'emu by'omwoyo. Gabeera mazzi; okuggibwako omusango olw'okukkiriza, okukkiririza mu Katonda, okumukkiriza ng'Omulokoozi wo, era n'obatizibwa. Eky'okubiri, kwe kutukuuzibwa n'omwoyo, anti Katonda alongoosa omwoyo okuva mu buli butonde bw'ensi, era n'okuyaayaana ku ensi. Era kati awo Omwoyo Omutukuvu n'ayingira era n'akuwa okuzaalibwa okuggya era n'ajjuzza ekibya ekyo ekitukuuziddwa. Eky'okulabirako, nga kino. Kaakano, nti nnabagambye. Lwaki temutakkiriza, ne mugalamira ku ludda, kaakati okwate oluseke. Weetegereze. Kaakano, giraasi ng'eri awo mu luggya lw'enkoko. Tomala gagiggyawo okugiteeka ku mmeeza yo, ogijjuzze amazzi oba amata. Nedda. Mu kugirondayo, kwe kuggibwako omusango. Okugirongoosa, kwe kutukuzibwa, kubanga Ekigambo ky'Oluyonaani, okutukuza kitegeeza bingi, ekitegeeza “kirongooseddwa, era ne kitekeebwa ku bbali olwokukozesebwa.” Sikukola; olw'okukozesebwa. Awo bw'okijjuza, nga kitandise okukozesebwa.
Musonyiwe mu mu kino kaakano, sikulumya. Waliyo mmwe aba Pilgrim Holiness, aba Nazarene mwalemererwa okutambula okutuuka ku Penteekote. Mwalongoosebwa olw'okutukuzibwa; naye bwe mwatuka okukozesebwa, olw'ekirabo ky'okwogera mu nnimi n'ebintu ebirala, ne mukigaana, ate ne muddayo mu kiyumba ky'embizzi nate. Mukiraba? Kaakano, ekyo ky'ekitukawo. Bulijjo kikola ekyo. Kaakati, si kubakolokota kaakano, naye kino njagala kuketikkula mu mutima gwange. Era ekyo kibadde kinjokya nnakabeerera wano, n'olwekyo era nnyinza. Oku, singa Carl's grace, ne Demos era n'abalala, era na mwenna, njakugeezako nga bwe nsobola okutaasa emmeeme yange okuva gye kiri, mukiraba, kati awo kiri gye muli. Eky'obuntu nga kifaanaanyi kya bya mwoyo. Olwo ne kizaaliddwa mu bujjuvu. Omwana, bulijjo... awo nno amazzi bwe gayiika, obeera tolina ky'amaanyi ky'oyinza kukikolera. Era omusaayi bwe gujja, obeera tolina ky'amaanyi ky'oyinza kukikolera. Naye, okusobola okufuna obulamu mu mwana, olina okumukuba mu kifuba, asobole okussa. Kati awo nga si bya buyigirize, nga baganda bange wano bwe bali abatendekke ennyo mu ebyo, byabwe, naye nnina okutwala eky'obutonde okukifaananya. Era awo we muli. Ekyo kyekyatuukawo. Kyatwala kikonde kya ddala, okubatuusaako kino.
Kaakati, gwe mukange mu katono. Oba oli awo, tekyetaagisa kumukuba, naye mukangemu katono, ekirowooza kyennyini eky'okuba ng'agenda kuzaalibwa, ebiseera ebimu, kijja kukikola, mukwate, mumunyenyemu. Bw'atataandika okussa, awo mumukubemu katono, kati awo ajja kukaaba, mu nnimi ezitategeerekeka, gy'ali, bwe nsuubira. Naye, ye mu buli ngeri, ajja kuleekaana. Era ndowooza omwana bw'abeera ng'azaaliddwa nga mufu, nga tewali ddoboozi, tewali kukyamuka, oyo abeera mwana mufu. Obwo bwe buzibu bw'ekkanisa ya leero, enkola; tufuna nnyo abaana abazaalibwa nga bafu. Ekyo kituufu. Beetaaga Enjri okubakubamu, mulaba, era esobole okubazuukusa, batereere, awo nno Katonda asobole okubasizza mu omukka ogw'Obulamu. Era kaakano tukiraba ng'ekyo kituufu nnyo. Enjigiriza y'amadiini njaabulule, ago ge Mazima, mu ngeri yonna.
-----
Tugambiddwa bannabbi ba Katonda nti tujja kubeera n'ensi empya, eggulu eppya era n'ensi empya. Bwe muba nga mwagala Ebyawandiikibwa by'ekyo, kiri mu Kubikkulirwa 21 nandikibanokoledde, nkirina wano. Yokaana yagamba nti,
“Ne ndaba Eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi ey'olubereberye nga tebikyaliwo.”
Byali bigenze. Kaakano, bwe tuba ab'okubeera n'ensi empya kitegeeza nti ensi enkadde n'empya tebisobola kubeerawo mu kiseera kye kimu. Ensi empya n'ensi enkadde tebisobola kubeerawo mu kiseera kye kimu. oba enkola enkadde n'empya tebisobola kubeerawo mu kiseera ky'ekimu. Tewasobola kubeerawo nkola za nsi zamirundi ebiri mu kiseera ky'ekimu. Kaakano, okuba n'ensi empya, enkadde erina okusooka okufa. Olwo enkadde bw'eba erina okufa, eyita mu bulumi okuzaala empya.Era kati singa omusawo akebera omuntu alumwa okuzaala kaakano, ekimu ku bintu omusawo kye yandikoze. Ekyo, nkyogerera mu maaso g'abantu babiri oba basatu, be manyi ku basawo abatandeke abali wano, abasawo Abakristaayo. Era kambabuuze kino. ekimu ku kintu ekisooka omusawo ky'akola, bw'aba abadde yeetegerezza omulwadde, kwe kugera ebisa, ebisa eby'okuzaala. Ateega ebisa, engeri gye byesembereddemu awamu, era na ngeri ki buli kimu gye kijjamu n'amaanyi. Ekimu kibeera kizibu okufuna okusinga ekirala. Ekiddako, nakyo kizibu, kisemberera kinnewaakyo. Eyo y'engeri gye bakeberamu ensonga eyo, okuyita mu bisa eby'okuzaala. Kale, ensi bw'eba yaakuleka ensi empya ezaalibwe, leka tugezeeko okwekkaanya ebimu ku bisa eby'okuzaala bye tulina ku nsi, era kaakati tujja kulaba lunaku ki era obulumi butuuse wa bw'alina obw'okuzaala.
Sematalo eyasooka yalaga ebisa eby'okuzaala eby'amaanyi. byalaga ekimu ku bisa eby'okuzaala ebyasooka eby'okugenda kwayo mu kuzaala. Olw'akaseera ako eri ensi, twali tuleese bbomu, era twalina emmundu ez'amaanyi, era n'omukka ogw'obutwa. Era mujjukira. Oba oli awo bangi ku mmwe temusobola. Nali mulenzi muto wamyakka nga munaana egy'obukulu, naye nzijjukira mu biseera ebyo nga boogera ku mukka guno ogwobutwa ogwa Mustard era ne Chlorine, n'ebirala. “nga kyalabika ng'ekyakatandika,” Baagamba nti, “Kijja kwokya ensi yonna. Kijja kutta buli muntu yenna. Kale, kiyinza okubeera eky'okumenya okwo, ng'empewo zifuuye okwetooloola ensi.” Era ng'abantu batya nnyo kata bafe eky'okulwanyisa ekyo eky'amannyi eky'omukka ogw'obutwa! Ensi kye yayitamu, yafuna ebisa byayo eby'okuzaala ebyasooka. Era tukizuula kaakano, tubadde ne Ssematalo ow'okubiri, olutalo olw'ensi yonna, era obulumi bwe bwali obw'amaanyi ennyo. Buli mulundi gwonna kibeera kibi nnyo okusingawo, ebisa eby'okuzaala eby'ensi. Kaabula kata ebeeko kyewaayo, mu biseera bya zi bbomu namuzisa, kubanga nga zisobola okusaanyawo ekibuga kyonna. Obulumi bwali bw'amaanyi nnyo n'okusinga obwa Ssematalo eyasooka, obw'okusaanyawo eri ensi.
Kaakati, ensi ekimanyi nti akaseera kaayo ok'okusumululwa kasembedde. Eyo y'ensonga lwaki etidde nnyo, etabuddwatabuddwa, nga bw'eri, kubanga anti waliwo bbomu ez'omukka, n'emizinga egy'omu bbanga egisobola okusaanyawo ensi yonna. Eggwanga erimu litya linnaalyo, sinsonga ttono kwenkana wa. Bagamba nti balina emizinga egyo gye bagamba nti gijja... erimu ku go. Basobola okuziragirira nga bakozesa emmunnyeenye era bazisule awantu wonna mu nsi we baagala. Russia, nga bwe nnawulira ku mawulire, olunaku lwa luli, egamba nti esobola okuzikiriza eggwanga lino, era n'ekuuma obutundutundu oba ebintu obutamenya gwanga lyaayo. Tetumanyi kya kukikolera. Buli muntu agamba nti alina ebintu bino, era kiri bwe kityo. Sayansi w'abantu ayingidde mu kkolero lya Katonda ery'amaanyi, okutuusa nti bagenda kwesaanyaawo bo bennyini. Katonda bulijjo aleka amagezi ne geesaanyawo. Katonda tasanyaawo kintu kyonna. Omuntu yeesanyaawo okuyita mu magezi ge, nga bwe yakola ku lubereberye, okutwala amagezi ga Setaani mu kifo ky'okutwala Ekigambo kya Katonda. Kaakano, ekimanyi nti erina okuwaayo. Tesobola ku kyebeera.
-----
N'olwekyo ekimanyi nti tesobola kukigumiikiriza, abantu bakimanyi nti tesobola ku kyebeera. Era n'ensi emanyi ky'egendako, kigenda kutuukawo. Kubanga, Katonda Yagamba nti bwe kyali. “Eggulu lyonna era n'ensi bigenda kuggya omuliro.” Kugenda kubeera kuddaabiriza kintu kyonna, awo nno ensi empya esobole okuzaalibwa. Katonda yakiragula. Evunze, mu nkola zaayo zonna, era erina okukikola ekyo, okuvunda eggweewo. Eyo y'ensonga lwaki, nnagambye nti, eri mukutya kungi nnyo era n'amaaso gagimyuse era etabuddwatabuddwa. N'ebikankano, buli wamu, waggulu ne wansi w'embalama z'enyanja. Olw'ebikankano era n'ebintu. N'abantu bawandiika, “Tunaabeerawo? Tunabeerawo?” Mukiraba? Tebamanyi kya kukola. Tewaliwo kifo kyonna kya bukuumi okuggyako wamu, mu Kristo, Omwana wa Katonda omulamu. Era waliwo ekifo kimu kyokka ekirina obukuumi wabula mu Ye. Eyo yonna wabweru wajja kuzikirira, mu ngeri yennyini nga Katonda bwe Yakyogera.Kaakano leka tutunuulire ekitabo ky'omusawo, bw'aba ng'ali mu mbeera ey'ekika kino, era laba nga kino kiteekeddwa okubaawo ng'ensi empya ya kuzaalibwa. Mataayo 24, mu Kitabo ky'omusawo, nga ye Baibuli, era tulabe kiki ekyalagulwa, obubonero bwe bunaabeera butya. Kaakano omusawo bw'aba ng'amanyi obubonero bw'okuzaala omwana... nga wabulayo kaseeera katono omwana ajje, ategeka buli kintu, kubanga abeera amanyi nti ekyo ky'ekiseera omwana w'agenda okuzaalibwamu. Kubanga, obubonero bwonna bulaze; amazzi gayiise, omusaayi. Era kaakati ky'ekiseera. Omwana yeetadde, era saawa ya mwana kuzaalibwa. Kati awo amutegekera buli kintu kyonna. Kale, Yesu yatugambira ddala ekintu kyennyini ekijja okutuukawo mu kiseera kino. Yatugamba, mu Matayo 24, nti Ekkanisa, Ekkanisa ey'amazima, era n'ekkanisa endala, zijja kuba... ekkanisa ey'omubiri, n'ekkanisa ey'omwoyo, “zijja kuba zifaanaganirara ddala, abakopperezi, okutuusa nti kisobola n'okulimba n'abalonde, oba nga kisoboka.” Nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, “Bwe baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bagawayira mu bufumbo,” era na buno obukaba bwonna bwe tulaba mu nsi olwa leero. Baibuli, Ekitabo ky'Omusawo kyagamba nti kijja kubaawo. N'olwekyo, bwe tulaba kino nga kigenda mu maaso, tukimanya nti okuzaala kusembedde. Kirina okuba. Yee, ssebo.
-----
Ekkanisa eno eyita mu bisa bya kuzaala. Tokole kusalawokwo kaakano mu Kubeerawo Kwe? Mbalaze Ekigambo kyennyini, ekyo kye Yagamba nti ky'Ajja okukola. Okuyita mu kizimbe kino kyonna, buuza omuntu yenna eyali akubiddwa, oba n'ayogera gy'ali, oba kyonna kye kyali, olabe oba nnali mbalabyeko, oba mbamanyi, oba ekintu kyonna ekibakwatako. Olowooza omusajja ayinza okukola ekyo? Ekyo tekisobokera ddala kutuukawo. Kale, kye ki? Omwana w'omuntu. “Ekigambo kya Katonda kisala okusinga ekitala eky'obwogi obubiri, kyawula omwoyo, ebyama by'omutima.” Kyennyini nga bwe kyali ku luli bwe kyafuuka omubiri wano ku nsi, mu Mwana wa Katonda, era kaakano kiri mu kulaisibwa kw'Omwana wa Katonda nga bw'azze okuyita Omugole okufuluma enkola eyo. “Mukifulumemu. Weeyawule, bw'Ayogera Katonda. tokwata ku bintu byabwe ebitali birongoofu, era Katonda Ajja kukwaniriza.” Oli mwetegeefu okuwaayo obulamu bwo bwonna eri Katomda? Bw'oba nga bw'oli, yimirira ku bigere byo, ogambe nti, “Olw'ekisa kya Katonda, nkikkiriza essaawa eno, kubanga ekyo kyonna ekiri mu nze.Soma akawunti mu...
Ebisa by'Okuzaala.