Luusi, Omumowaabu.
<< jjuuzi
ekiddako >>
Omununuzi Ow'omu Lulyo.
William Branham.Soma akawunti mu...
Omununuzi Ow'omu Lulyo.Okwogera kuno okutono njagala okukuwa omutwe enkya ya leero, nga bwe nkiyigirizaako, nga ngezaako okuleeta okukkiriza gye muli, okw'obununuzi, na kiki kye kiri, na ngeri ki ey'okukifunamu. Njagala okukiwa omutwe: Omununuzi Ow'omu Lulyo.
Kaakati, okununula ekintu kyonna, kwe “kukikomyawo.” Ekintu ekibadde kibuze, nga bwe bakiteeka mu dduuka ly'ebintu eby'okununulibwa. N'ogenda ekyo n'okinunula, kinunulibwa na muwendo. Awo ne kibeerera ddala ekintu kyo eky'obwannanyini, oluvannyuma ng'omaze okukinunula. Wabula etteeka ly'obununuzi, mu Israeri, yalinanga kubeera wa mu lulyo, okununula ekintu eky'obwannannyini oba ekintu kyonna ekyabanga kibuze.Emboozi yaffe etandikira mu kiseera ky'abakulembeze ba Isiraeri, abo abaali abalamuzi, oluvannyuma lw'okufa kwa Yoswa. N'okuzuula ekifaananyi ekirungi ddala ekya kino, soma essuula ettaano oba omukaaga ezisooka eza Samwiri Ekisooka, era awo ojja-ojja kufuna emboozi yaakyo eyannamaddala.
-----
Kaakati, abantu bangi batunuulira Ekitabo kino ekya Luusi, nga bagamba nti, “Mboozi ya kwagala eya Baibuli.” Baibuli mboozi ya kwagala. Baibuli yonna mboozi ya kwagala. Tekiri ku kubeera mboozi ya kwagala kyokka, wabula ye nnabbi. Si nnabbi kyokka, wabula era byafaayo. Si kyo kubeera mboozi ya kwagala kyokka, ebyafaayo, nnabbi, Ye Katonda Mwene. Kubanga, “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, era Kigambo yali Katonda.” Kale nno, Kigambo ye Katonda ng'Akubiddwa mu kyapa on. Ekyo kiteekeddwa okukimaliriza, ow'oluganda; Katonda ng'Akubiddwa mu kyapa. Yakuwa, ng'Akubiddwa mu kyapa mu Kitabo. Era tewali kyonna ku kyo ekiringa olugero olujingirire, wabula byonna Mazima ddala. Buli lunyiriri lw'akyo, lukwatiririra emmeeme yo. Weekiri. Ge Mazima, ne Katonda Ekigambo Kye Ajja kukibeera emabega.N'emboozi eno yawandiikibwa, n'ebiwandiiko eby'edda byonna ebyawandiikibwa n'engalo nga tebinateekebwa mu kyapa. Bwe baali balondobamu Baibuli, abasajja abatukuvu, bwe baali bagezaako okugigattagatta awamu mu Ndagaano Enkadde, Ekitabo kino ekya Luusi kye kyali ekimu ku Bitabo ebikulu bye bakkiriza. Lwaki? Bwe kiba nga lugero lwa kwagala kyokka, lwaki abawandiisi abagezigezi ab'edda bakkiriza Ekitabo kino ekiruamiziddwa? Kubanga, waliwo okubikkulibwa okukwekeddwa mu kyo. Era mu kubikkulibwa kuno okukwekeddwa, ofuna amakulu gaakyo agaddala. Kijja kukusembereza ddala okumpi ne Katonda. Era nsaba, emmeeme yange yonna, amakya ga leero, nti Katonda Ajja kukwata buli mutima, gutwalirizibwe ddala, okutuusa lw'Aneebikkula Ye Mwene, ekyo ky'Ali, mu mboozi eno; Kiki ky'Ali gy'oli; engeri y'okumukkirizaamu Ye. Era kasita omala n'okiraba, kyangu nnyo, weewuunya engeri gye wagendamu ku ntikko yaakyo. Wabula kisobola kubikkulibwa na Mwoyo Mutukuvu Yekka.
-----
Kaakati, emboozi eno erina ky'etandikirako ku nneeyisa eyo, ng'omukazi omulungi ayagalika. Erinnya lye yali Nawomi. Nawomi kitegeeza nti, “Ekisanyusa.” Erimeleki ye yali bba, ekitegeeza “okusinza.” “Okusinga okusanyusa” Ye yali famire ye. Baalina abatabani, Maloni, eryo eritegeeza “obulwadde.” Ne Kiriyooni, omulala, ekitegeeza “obukoowu, okutuggubala, okunakuwala.” Famire yali awo.
Ne wagwa enjala mu nsi ya Israeri. N'ensobi esooka Omuyudaaya gy'ayinza okukola kwe kuva mu nsi eyo. Katonda Yabawa ensi eyo. Ibulayimu bwe yaweebwa ensi eyo, Katonda Yamugamba obutava mu nsi eyo. N'akola ensobi n'aserengeta wansi mu Gerali, n'agwa mu buzibu. Omuyudaaya talina kuva mu Palestine. Ekyo kifo kye mw'ateekeddwa okubeera. Era bagobeddwa, mu nsi yonna. Ne kaakati bali mu kuddayo nate. Oh, nga kika kya mboozi eyo ennungi gye tulina wano, enkya ya leero. Bali mu kuddayo.-----
Kaakati, njagala enkya ya leero, okufaananya, Nawomi, omukyala nnamukadde, eri ekkanisa y'Abasoddokisi, ekkanisa y'Abayudaaya ey'Abasoddokisi. Luusi, Omumowaabu, Omunnagwanga, olw'okuba Ekkanisa Enkristaayo, Ekkanisa Empya. Era njagala okukikwatako, okuva mu mitendera ena egy'enjawulo, Luusi. Nnakiwandiise wano. Luusi, ng'asalawo, ng'akola okusalawo kwe; Luusi, ng'aweereza; Luusi, ng'awummula; Luusi, ng'aweebwa empeera. Nga bwe tukomawo: Luusi, ng'akola okusalawo; Luusi, oluvannyuma ng'amaze okusalawo kwe, awo Luusi aweereza; awo Luusi awummula; awo Luusi aweebwa empeera.-----
Luusi, ng'akola okusalawo. Kaakati, Luusi, ng'aweereza wansi w'okusalawo kwe. Kaakati weetegerezeemu kko akadakiika. Kaakano agenda mu nnimiro, okulonderera. Kale, nnyanzaala we n'amugamba; nga y'Endagaano Enkadde ng'egamba Empya, nga bwe mumanyi. “Nnyazaala we yamugamba nti tulina omununuzi w'omu lulyo, n'erinnya lye ye Bowaazi. Musajja mugagga. Era munuzi wa mu lulyo ow'okumumwanjo. Olina okugenda mu nnimiro ye. Era oboolyawo... Togenda mu nnimiro ndala; genda mu nnimiro ye.”Engeri Omwoyo Omutukuvu gy'Atugamba obutawabira mu kiringa ekitabo ky'ekkanisa, ekiringa katikisimu, wabula okugenda mu Nnimiro ya Katonda, Endagaano Enkadde, Baibuli. Togamba nti, “Kale, tujja kwogera kino. Ne kino nga tusaba. Tujja kuba na kino.” Sigala butereevu mu Nnimiro. Genda butereevu mu yo, kubanga Ye Mununuzi owomu lulyo ow'oku mwanjo.
Ekigambo kya Katonda, Endagaano Enkadde, ye Mununuzi womu lulyo ow'oku mwanjo eri Endagaano Empya. Ekkanisa Enkadde ye maama eri Ekkanisa Empya, mulaba, Omukristaayo, omukkiriza. “Togenda mu nnimiro ndala. Sigala butereevu mu nnimiro ye. Era oboolyawo, olumu, oyinza okulaba ekisa okuva gy'ali.” N'olumu, bwe yali mu nnimiro, omusajja omuto ono nnaggagga, erinnya lye nga ye Bowaazi, omukulembeze, omusajja omugagga, yajja, n'amulaba. Oh, bwe yamulaba, n'agwa mu mukwano naye. Yalowooza nti yali mukazi wakitalo. N'ayagala empisa ze. Mujjukira, n'agamba nti, “Mmanyi, era abantu bakimanyi, nti oli mukazi mulongoofu.” Luusi n'akola okusalawo kwe, nga kulungi ddala. N'akomerawo ddala, n'abeerera ddala ekyo kye yagamba ky'ajja okukola.
Mu ngeri endala, leero, bagamba nti, “Tukimanyi nti oli Mukristaayo. Tukimanyi nti oli musajja wa Katonda, kubanga tewali muntu asobola kukola byamagero bino okuggyako nga Katonda Ali naye.” Ky'ekyo Nikodemo kye yayogera eri Yesu nti, “Omuyigiriza, tukimanyi nti Oli musomesa Eyava ewa Katonda. Tewali muntu asobola kukola bintu bino by'Okola okuggyako nga Katonda Ali naye.” Awo, ng'amulaba Ye ng'atudde awo n'Akebera ebirowoozo byennyini eby'emitima gyabwe. Omukazi yamukwatako ku kyambalo Kye. N'Akyuka, n'Agamba nti, “Ani Ankutteko?” Bonna ne bakyegaana. N'Atunula emabega mu kibiina n'Agamba nti, “Ggwe, alina ekizibu ky'omusaayi awo, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
N'agamba nti, “Tewali muntu asobola kukikola ekyo okuggyako Katonda ng'Ali naye. Tukimanyi Ova eri Katonda. Tetusobola kukukkiriza kubanga tujja kugobebwa okuva mu kkanisa.” Mulaba? Ogwo omuzabbibu ogwayungibwako, Ow'oluganda West, nga bwe twabadde twogera ekiro ekyayise, bajja kukugobera ebweru. “Naye, wansi mu mitima gyaffe, tukimanyi ova ku Muzabbibu Nnakabala.” Kristo ye Muzabbibu; ffe tuli matabi. “Tukimanyi, kubanga tulaba Obulamu bwe bumu obuli mu Katonda, bwe buli mu Ggwe.” Ky'ekyo Bowaazi kye yali alabye mu Luusi, okwo okusalawo okulungi ddala, omukazi omulongoofu ayimiridde awo. Bowaazi n'agwa mu mukwano naye.
Kaakano, njagala mwetegereze. Nawomi, ekkanisa enkadde, yatandika okunnyonnyola Luusi amateeka gonna agakwata ku ddiini ye, nga Endagaano Enkadde bw'eri ekisiikirize ky'Empya. Kaakano, njagala emboozi eno wano mugifune bulungi.
Kaakati, njagala kulaga bisiikirize. Endagaano Enkadde ennyonnyola Empya, singa onookisoma busomi, ky'ekisiikirize ky'Endagaano Empya. Kaakano, singa mbadde njolekera ekisenge ekyo, nga mbadde sseerabanga nze mwennyini, ne ndaba ekisiikirize kyange, nnanditegedde, nnandibaddeko kyenfuna ku kiki kyenfaanana. Era bw'obeera (ggwe) nga tomanyi kiki Endagaano Empya ky'eri, soma Endagaano Enkadde awo ojja kulaba ekisiikirize kyayo. Mulaba? Era awo nno Endagaano Empya bw'eyingirawo, mugamba nti, “Lwaki, mazima, ky'ekino.” Ekitabo ky'Abaebbulaniya, nga kiddayo, Pawulo ng'akinnyonnyola.Kaakati, weetegereze bulungi. Luusi bwe yagamba, oba... Nawomi yagamba Luusi, nti, “Kaakati, ye mununuzi waffe owomu lulyo. Era singa osobola okulaba ekisa gy'ali, ojja kuzuula ekiwummulo.” Oh, abange! “Bw'onaalaba ekisa, ojja kuzuula ekiwmmulo.” Bowaazi yakiikirira Kristo, omusajja Nnaggagga, omusika w'ebintu byonna, Mukama w'amakungula. Oh, abange! Engeri, awo Bowaazi bwe yajja ng'avuga eyo, mu kigaali ekyo, ng'atunulatunula mu malimiro, n'amaaso ge ne gagwa ku Luusi. Ye yali Nnannyini nnimiro. Ye yali mukama w'amakungula. Era Luusi n'alaba ekisa mu maaso ge.
Ky'ekyo Ekkanisa ky'ekola, leero. Nga Mukama w'amakungula Ayitaayita, Ye Tatunuulira bizimbe binene, obusolya obunene, zi kkwaya ezitendekeddwa obulungi. Atunuulira bantu ssekinnoomu, abasajja n'abakazi abeewaddeyo era abasazeewo ku lwa Kristo, abeeyawudde bo bennyini okumuweereza Ye. “Katonda, nkikkiriza, buli Kigambo. Ekigambo Kyo bwe kyogera ekintu kyonna, nsigalira ddala nakyo. Ekyo ky'Ekigambo Kyo. Nkikkiriza, buli Kigambo.” Ky'ekyo ky'Atunuulidde; Mukama ow'Amakungula. Ekyo ky'Ayagala okuwa, Omwoyo Omutukuvu, eri abo abalumwa enjala era abalumwa ennyonta. “Baweereddwa omukisa abo abalumwa enjala n'ennyonta, kubanga balikkusibwa.” Agezaako kuzuula Ekkanisa eyo, leero.
Kaakati, awo, Luusi yasabibwa okubaako ky'akola ekyali kikwasa ensonyi, wabula yali mumalirivu kubanga yali akoze okusalawo kwe. Nga kifaananyi kyamukkiriza! Nga kifaananyi kirungi! Nawomi, ekkanisa enkadde, yagamba nti, “Serengeta, ekiro kya leero. Biro bya ssayiri.” Oh, nga kirowoozo kirungi kye tuyinza okwesigamako awo!
Nawomi ne Luusi bajja mu biro bya ssayiri. Ebiro bya ssayiri by'ebiro by'omugaati, ebiro awo omugaati ogwakakolebwa mwe gwagabibwanga. N'Ekkanisa, mu nnaku ez'oluvannyuma zino, okuyita mu mwaka enkumi bbiri egy'enjigiriza ezeekikaafiiri n'ebintu, ng'ezze mu biro bya ssayiri, obuggya obw'Obulamu, Omugaati omupya, omubisi gw'enjuki okuva mu Ggulu. (Russell, yogera ku mubisi- ogusiigiddwa ku ngulu ku mugaati!) Ky'ekino, Omugaati, Omugaati oguva mu Ggulu. “Nze Mugaati gw'Obulamu. Ba kitammwe baalya emmaanu, ne bafa. Wabula Nze Mugaati ogw'Obulamu oguva ewa Katonda, mu Ggulu. Omuntu yenna bw'alya Omugaati guno talifa.” N'Ekkanisa mu nnaku zino ez'oluvannyuma, ereeteddwa munda, kaakati, mu biro bya ssayiri. Luusi, ow'Amawanga, eyagobebwa, n'adduka, aleeteddwa munda, okukkirizibwa ng'Omugole. Kristo Ajjira, mu biro bya ssayiri.Yagamba nti, “Kaakati yambala ebyambalo byo.” (Si, “Weeyambule ebyambalo byo.”) Nga kikontana leero! “Yambala ebyambalo byo, ng'ogenda okumusisinkana. Agenda kuwewa ssayiri, ekiro kya leero. Serengeta wansi oyambale ebyambalo byo. Weebikkeko, okumusisinkana.”
Olwa leero, baagala kweyambula. Weebikkekko. “Serengeta wansi, kubanga ali mu kuwewa ssayiri. Era olambe ekifo w'anaagalamira.” Mwakikola? E Gologoosa. Emyaka mingi egiyise, nnalamba mu mutima gwange awo we yagalamiza obulamu Bwe, Asobole okuntwala. Lamba ekifo w'Agalamira. Weetegereze wa we Yeebaka. Ekyo buli mukkiriza ky'ateekeddwa okukola. Lamba kye Yakukolera. Bwe Bubaka bwa Ssande ewedde, ku Olukyala e Kalivaaliyo, lamba kye Yakukolera.Nawomi yagamba nti, “Lamba w'anaagalamira. Awo bw'anaagalamira okwebaka, okuwummula, genda weebake ku bigere bye.” Si ku mutwe; ku bigere bye, atasaanidde. “Ofune bulangiti” “eyo gy'abadde yeebisse, ogisike okukutuukako.” Oh! Mukiraba? Oh, abange! Mmanyi muyinza okulowooza nti ndi muzoole. Wabula ekyo kinkolera bulungi, oyo Omwoyo wa Katonda. Lamba we Yagalamira, Kalivaaliyo; we Yagalamira mu ntaana; mu Gesesumaane. Lamba, era weewalule okutuuka ku Bigere Bye. Galamira awo ofe, gwe kennyini, eri... Kiikyo awo. Weebikke, awo, n'ekyambalo Kye. N'agamba nti, “Ekyambalo kye,” bwe yagiyita. Luusi n'agamba nti, “Ky'oyogera, nja kukikola.” Oh, nga kusalawo kulungi eri omukkiriza! “Baibuli ky'egamba, ekyo nja kukikola. Egamba nti, 'Mwenenye mubatizibwe, Erinnya lya Yesu Kristo,' Nja kukikola. Bw'egamba nti, 'Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri,' Nja kukikola. Bw'egamba, kyonna kyeyayogera nti, 'Yesu Kristo y'omu jjo, leero, n'emirembe.' Ky'eŋŋamba okukola, nja kukikola.” Mulaba, Ekkanisa etwala ebiragiro byayo okuva ku Kigambo. N'agalamira wansi.
Kaakati, mujjukire, ekyo kyali kyansonyi omukazi oyo nnamwandu okubeera ng'agalamidde ku luuyi lw'omusajja ono, ku bigere bye. Eky'ensonyi, eri ensi ey'ebweru. Oh, osobola okukigumira? Kiikino wano. Mulabe. Mulabeeyo. Kiikino. Ekkanisa, omukazi omuto, omuvubuka omuto, omukadde oba omuto, asabibwa okweyawula okuva eri ensi, ajje mu kifo kino, Obwa Kabaka bw'Omwoyo Omutukuvu, ekyo nga kya nsonyi eri ensi. Mu mitima gyabwe bo bakimanyi kye kikwatako. Wabula, eri ensi, bafuuka bazoole. Bafuuka bamutukuvu yeevulunga oba ekintu ekimu ku kirowoozo ekyo, erinnya erimu ery'ensonyi. Wabula Ekkanisa esabibwa okukikola. Oli mwetegefu okulamba ekifo, era ogalamire wansi? Ensi k'ekuyite ekintu kyonna kye baagala okukuyita.
Oluyimba olukadde, lwateranga okuyimbibwa:
Ntandise okutambula ne Yesu Yekka, (mulaba),
Eky'okwezazika, nga Yakobo, libe ejjinja;
Era nja kukwata ekkubo n'aba Mukama abatono abanyoomebwa;
Ntandikidde mu Yesu. Era ŋŋenda kuyitamu.-----
Lamba ekifo awo we Yagalamira, ogalamire awo Naye. Weetegese okugenda e Kalivaaliyo, enkya ya leero, nga bwe nnagambye Ssande ewedde? Olambye ekifo mu bulamu bwo? Weereese mu kifo ekyo awo Yesu we Yakomererwa?Soma akawunti mu...
Omununuzi Ow'omu Lulyo.