Empologoma ky'Yuda.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Ani asaanidde?


William Branham.

Soma akawunti mu...
Ebbanga Wakati W’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa N’Obubonero Omusanvu.

Okubikkulirwa 5:2-4,
2 Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu?
3 Ne watabaawo mu ggulu, newankubadde ku nsi, newankubadde wansi - newankubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newankubaddeokukitunuulira.
4 Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newankubadde okukitunuulira.

Kati, “Malayika ow'amaanyi...” Kati, olunyiriri olwokubiri.... Malayika ow'amaanyi, ng'abuulira, n'eddoboozi eddene, Ani asaanidde... (Okusaanira okukola ki?) Aniasaanidde okutoola Ekitabo,... Kati, tugenda kukizuula.Kaakati ekitabo kiri ludda wa? Kiri ne Nnyinikyo eyasooka, kubanga kyava kumwana, omwana wa Katonda eyasooka mu lubulw'abantu. Era bwe yafiirwa eddembe lye,olw'okuwuliriza Setaani, yafiirwa... Kiki kye yakola? Yakkiriza amagezi ga setaani mu kifo ky'Ekigambo kya Katonda.

-----
Okukowoola kwa Malayika kwali kukoowoolaOmununuzi ow'omu Lulyo okulabika. Katonda Yagamba,“Nnina etteeka; Omununuzi ow'omu Lulyo y'asobola — y'asobola okukola mukifo ekyo. “Omununuzi oyo ali ludda wa? Aniasobola okukitoola?” Kyava ku Adamu, ne kijjira ddala okuyitamu batume, ne bannabbi, na buli kintu ekirala kyonna,era tewali yalabikayo. Kati, olwo kitegeeza ki? “Tewaaliwo mu Ggulu, tewaaliwo ku nsi, tewaaliwo muntu yenna eyali abaddewo.” Eriya yaliayimiridde awo. Musa yali ayimiridde awo.Abatume bonna baali bali awo, oba — oba abobonna abaali baafa; abantu bonna abatukuvu, ne Yobu, ne ba kagezimunnyo. Bonna baali bayimiridde awo,era tewaali eyali asaanidde wadde okutunuuliraEkitabo, n'okusingira ddala okukitoolan'okubembula Obubonero. Kaakati, olwoppaapa ali ludda wa ne bano bonna abaliwo? Omulabirizi wo ali ludda wa? Okusaanirakwaffe kuli ludda wa? Tetuliimu kantu, ky'ekyo.

-----
Yokaana “yakaaba.” Kiikino wanondowooza ekyamukaabya... kubanga oba tewaliyasangibwa nga asaanidde era eyali asobolaokubikkula Ekitabo kino eky'Okununulibwa, obutonde bwonna bwali bugudde. Kino kye Kitabo, kino ky'ekyapa eky'obwannannyini, era nga kya kuweebwa Omununuzi w'omu Lulyo OyoAlina ebisaanyizo. Eryo ly'Etteeka lya Katonda Mwene, era Tayinza kwonoonaTteeka Lye, manyanga, Tayinza kuziimuula TteekaLye. Olaba? Katonda Yali Yeetaaga Omununuziow'omu Lulyo eyali asaanidde, eyali asobolaokukikola, eyalina mu ye ekyali kimusobozesa okukikola. Malayika n'agamba, “Kaakati lekaOmununuzi ow'omu Lulyo Aveeyo.” Yokaana n'atunula. N'atunula mu nsi wonna. Yatunula wansi w'ensi. Era tewaaliyo muntu yenna. Ebitonde byabwe byonna na buli kintu byalibibuze. Kwo okuba, Yokaana yakaaba. Buli kintu kyali kigudde. Wadde yakaaba, naye okukaaba kwe kwatwalaakaseera katono. Olwo ne wayimirira omu kubakadde, n'agamba, “Yokaana, tokaaba.” Oh,abange! Okukaaba kwe kwali kwa kaseera katono. Yokaana yalowooza,“Oh, abange, omusajja ali ludda wa? Baabo awo bannabbi bayimiridde; naye ngabaazaalibwa nga nze bwe nnazaalibwa. Baabo awobakagezimunnyo. Baabo awo... Oh, tewaliiwo muntu yenna wano?”

-----
Era Empologoma eno ey'omu kika kya Yuda Yawangula. Yagamba, “Yokaana, tokaaba. KubangaEmpologoma y'omu kika kya Yuda, Ekikolo kyaDawudi, Awangudde. Amaze okuwangula. Akikoze.Kiwedde, Yokaana.” Whew! Oh, oh, Abange! Yaleeta ekisaanuusa amabala okugaggyawo ekizzaayo ekibi mu mikonoegiriko ebifutafuta nti e... n'amagezi ge, agaakyonoona, omuntu. Ddala.

Naye Yokaana bweyakyuka okutunula, yalaba Omwana gw'Endiga. So enjawulo nga nnene okuva kuMpologoma! Yagamba, “Empologoma Awangudde.”Laba, nate, ekyo nsobola okukikozesa awo, Katonda nga Yeekwese mu Binyoomebwa. Yagamba, “Oyo ye Mpologoma.” oyo ye kabaka w'ensolo. “Empologoma Ewangudde.” Ekintu ekisingayo okuba n'amaanyi y'empologoma. Mbaddeko mu nsikomu Africa, ne mpulira e — entugga nga zikaaba. Ate — n'enjovu, kirimaanyiey'ekitalo, ng'ewuuba ekikono kyayo mu bbanga, “Whee, whee, whee.” Ne mpulira e — e — ensoloenkambwe ez'omu malungu nga zikaaba ziwuuwuula. Era na — n'amavuuvuumira, ne ga... Nze nga tuli neBilly Paul nga tugalamidde mu kafo nga katimbiddwakoobusansosanso. Ne tuwulira, mu kabangakawanvuko, empologoma ng'ewuluguma, buli kintu kyonna mu ddungu ne kisirika. N'amavuuvuumira nago gaalekera awo okuvuuvuuma.Kabaka ayogera. Oh, oh, oh, oh, abange! Leka mbabuulire,awo amadiini n'okubuusabuusa we bigwira ku ttaka. Buli kintu kisirika Kabakang'ayogera. Era ono ye Kabaka. Ekyo ky'Ekigambo Kye.

-----
Kati Yagamba, “Empologoma ey'omu kika kya Yuda.” Lwaki kuva mu Yuda? Ai Yuda, “Omuggo gw'oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye, okutuusaSiiro lw'alijja. Wabula alijja ng'ayita muYuda.” “Era Empologoma (akabonero k'ekika kyaYuda) Alwanye n'Awangula. Awangudde.” Bwe yeetoolooza amaaso okulaba waEmpologoma eyo we yali, yalaba Omwana gw'Endiga. Kyewuùnyisa, okunoonya empologoma ate n'alabaOmwana gw'Endiga. Omukadde yamuyita Mpologoma. Naye Yokaana bwe yatunula, yalabaMwana gwa Ndiga, “Omwana gw'Endiga ogwattibwa okuva kuntandikwa y'ensi.” Omwana gw'Endiga, nga gwattibwa. Kyali ki? Omwana gw'Endiga ogwo kyali ki? Gwali guliko omusaayi, nga gufumutiddwa ekiwundu. “Omwana gw'Endigaogwali guttibwa, naye nga mulamu nate.” Era ngagubunye omusaayi. Oh, abange! Ekyo oyinza otya okukitunuulira, bannange, n'osigalang'oli mwonoonyi?

Omwana gw'Endiga gwavaayo. Omukadde n'agamba, “Empologoma ewangudde, Empologoma ey'omukika kya Yuda. Yokaana n'Atunula okulabaEmpologoma, ne wajjawo Mwana gwa Ndiga, ngagukankana, guliko omusaayi, n'ebiwundu. Yali Awangudde. Wali osobola okumutegeera nti yali Ava mu lutalo. Yali Attiddwa, naye n'Aba mulamu nate.

Omanyi, wano, mukusooka Yokaana yali tannaba kutegeera Mwana gwa Ndiga ono. Yali okusookatannayogerwako. Tewali wantu wonna, we yaliAyogeddwako. Yokaana teyagulaba, wonna mu ggulu,bwe yali ng'atunulatunutala. Naye wano ne Guvaayo. Weetegereze wagwava. Gwava wa? Gwava ku Nnamulondo ya Kitaffe, we Yali Atudde okuva lwe YaliYattibwa n'Azuukira nate. Yazuukira n' Atuula kumukono gwa ddyo ogwa Katonda, n' Abeera omulamuemirembe gyonna okuwolerezanga. Amiina. Awo Azuukidde, leero, ng'Omuwolereza, n'Omusaayi Gwegwennyini, okuwolereza abantu abatamanyi. Kati, Oyo nzegwe nneesigamyeko. Yali Akyabikkiddwakon'ekisaanuusa amabala, ekiggyawo amabalaeky'okusonyiwa ebyonoono.

-----
Kati, jjukira, kibeerawo mu Mulembegw'Ekkanisa eyoomusanvu, n'ebyama bya Katonda webibikkulirwa. Kati mwekkaanye nnyo. Kino kyekintu kye muteekwa okutegeera. Kati, Abaddenga Akola omulimu Gwe ogw'okutabaganya, ng'awolereza omukkiriza. Okumala emyaka enkumibbiri emabega eri, Mwana gwa Ndiga. Kati, Avaayookuva mu Butaggwaawo, okutwala Ekitabo eky'ekyapa eky'obwannannyini, era n'okubembulaobubonero, n'okubikkula ebyama. Ekyo kibeerawo ddi? Mukiseera eky'enkomererero. Mukitegeera? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.” — Omuk.] Kale, ka tugendemu maaso. Kati, Abembula Obubonero n'okusumululaebyama byonna gye bali, eri Malayika Owoomusanvu, alinaObubaka obw'okubikkula ebyama bya Katondabyonna. Ebyama bya Katonda byonna biri mu Bubonero buno Omusanvu. Mukiraba? Ekyo kye Yayogerawano. Ebyama byonna biri mu Bubonero buno Omusanvu.

Era Omwanagw'Endiga kaakati ava mu kuba Omutabaganya, wakati waKatonda n'abantu. Afuuka Empologoma. Era bw'Afuuka Empologoma, Atwala ekitabo. Eryo ddembe Lye. Katonda Akikutte, ekyama, naye kaakano Omwana gw'Endiga Ajja. Tewali yali asobola kutwala Kitabo. Kikyali mu mikono gya Katonda. Tewali ppaapa, kabona,k'abeere ani, tebasobala kutwala (n'akatono) Ekitabo. Obubonero Omusanvu tebunnaba kubikkulwa. Mukiraba? Naye kati, Omutabaganya, Omulimu Gwe ng'Omuwolereza nga gukoleddwa, Avaayo. Era Yokaana... Omukadde yagamba, “Oyo y'Empologoma.” EraAvaayo. Mumwekkaanye. Oh, abange! Olaba? Avaayookujja okutwala Ekitabo, kati mwekkaanye, okubikkulaebyama bya Katonda, abalala bye bateeberezzanga obuteebereza, mu mirembe gino gyonna ebibiina by'amadiini.

Olwo, laba, Malayika Owoomusanvu. Singa Ekitabo kino, eky'ebyama, kye Kigambo kya Katonda, Malayika Owoomusanvu alina kuba nnabbi, kubanga Ekigambokya Katonda oyo gwe kijjira. Si bakabona,bappaapa, oba ekintu ekirala kyonna, tekiyinzakukifuna; Ekigambo tekijja eri balinga abo. Olubeerera, Ekigambo kya Katonda kijja eri nnabbi yekka. Malaki 4 ekyokye yasuubiza. Era ng'Azze, wa kuddira ebyama byaKatonda, ekkanisa we yali ebuzaabuziddwa yonnamu madiini gano gonna, “Azzeeyo okukkiriza kw'abaana eri bakitaabwe.” Olwoensi eramulwe, eyokebwe. Oluvannyuma abatukuvubatambulire ku vvu ly'ababi, mu bufuziobw'Emyaka Olukumi. Mukitegeera kaakati? [Ekibiina, “Amiina.” —Omuk.] Kale.

Abalala bateeberezzanga buteebereza, mumirembe gy'ebibiina by'amadiini. Naye, mulabe, ateekwa kubamuntu ono, Malayika Owoomusanvu owa... Kubikkulirwa 10:1-4 ye... Malayika Owoomusanvu alina ebyama bya Katonda ebyamuweebwa, eraamalirize ebyama byonna ebyalekebwa, okuyita mu mirembegy'ebibiina by'amadiini. Kati musobolaokulaba ensonga lwaki sikoona baganda bange mu bibiina by'amadiini. Enkola yabibiina by'amadiini gye mpakanya! Tebafaayo, tekibeetagisakugezaako kukimanya, kubanga kyali tekisoboka kubikkulwa. Ky'ekyookusinziira ku Kigambo. Baamala gakitwala bwebatyo, ne bakkiriza nti weekiri, eraolw'okukkiriza ne bakitambuliramu, naye kaakano obukakafubwakyo bwolekeddwa. Amiina! Oh, abange, nga — so Ekyawandiikibwa!

-----
Amateeka ga Katonda gaaligeetaaga ebisaanyizo. Ye Yabirina. Etteeka lyaKatonda lyabanja Omununuzi ow'omu Lulyo. Kati Omwana gw'Endiga n'avaayo, ng'alirina. “Nze ow'omululyo lwabwe. Nze ow'omu lulyo lwabwe. Nze kati... mbeegayiriridde, era kati nzize okubanja eddembelyabwe ku lwabwe.” Amiina. Waaliwo omu yekka. “Nzize okubanja eddembe lyabwe. Basobole okuba n'eddembe ku ebyo byonna byebaafiirwa mu kugwa, era omuwendo ngusasudde.” Oh, ow'oluganda! Whew! Ekyo mundaayo tekikwongera okukkiriza? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.”— Omuk.] “Si lwa bikolwa birungi bye nkoze, nayelwa kusaasira Kwe.” Oh, lindako katono! Olwo abakadde na bulikintu ne batandika okuggyako engule, ab'ebitiibwa nebatandika okweyala, mulaba.

Tewali, tewali n'omuyali asobola kukikola. Era Atambuliraddala okugenda ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. N'Amuggyako Ekitabo mu mukono Gwe, n'Abanja ebibye. “Mbafiiriridde. Nze Mununuzi waabwe ow'omu Lulyo. Ndi. Ndi Mutabaganya. Omusaayi Gwange gwayiika. Nfuusemuntu. Era kino Nnakikola okusobola okuzzaayo ekkanisa eyo nate, eyo gye Nalaba eddang'emisingi gy'ensi teginnabaawo. Nnagitegeka. Ne njoogera, nti eribeerawo. Era tewaali yasobolakugitwala, naye Nnakka Nze Mwennyini ne Nkikola. Ndi wa mu lulyo lwabwe. Nafuuka muganda waabwe. “N'Atoola Ekitabo. Amiina! Oh, olwaleero ani annindiridde awo? Ani Oyo, Kkanisa, annindiridde awo? Kiki ekiralaekyandikulindiridde? Omununuzi oyo ow'omu Lulyo! Oh, abange! Ekikolwa ekyo oba ekigambo ekyo nga kikulu.

Kati Alina Ekyapaku kununula. Akirina mu mukono Gwe. Okutabaganya kukolebwa kaakati. Akirinamu mukono Gwe. Jjukira, ekiseera kyonnakibaddenga mu mukono gwa Katonda, naye kaakatikiri mu mukono gw'Omwana gw'Endiga. Kati wekkaanye. Ekyapa eky'Obununuzi, eri obutonde bwonna, kiri mu mukono Gwe. Era, Azze okukibanja, ku ly'olulyolw'omuntu. Si kukibanja kiddeyo eri Bamalayika, kukibanja kiddeyo eri abantu, be kyaweebwa, okuddamu nate okuzaala abaana ba Katonda ab'obuwala n'ab'obulenzi; okubazzaayo nate mu LusukuAdeni, n'ebyo byonna bye baafiirwa; obutondebwonna, emiti, obulamu bw'ensolo, buli kintuekirala kyonna. Oh, abange! Ekyo munda yammwetekibeewuliza bulungi?

Soma akawunti mu...
Ebbanga Wakati W’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa N’Obubonero Omusanvu.


Ekitabo kinoeky'Obubonero
Omusanvu kibikkulwa
mu kiseera
ky'Ebibwatuka
Omusanvu
eby'omuKubikkulirwa
10.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,

n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate:

naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba ng'agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.

Okubikkulirwa 10:5-7


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)
Ekitala gye kyalabika.

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.