Katonda Omugagga W'ekisa.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Katonda Omugagga W'ekisa.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Katonda Omugagga W'ekisa.

Kati bangi ku rarawe mwagala okuwandiika ebyo omuweereza byasomye. Nange nkibaagaliza, olwaleero, bwe muba mukyagala, mugende mu Abaefeso. Ku sande eyayita nnali njogera ku Abaefeso, nti ekitabo kya Yoswa ky'eky'Abaefeso mu ndagaano enkadde, n'engeri gye kyalimu Ekitabo eky'obununuzi. Kati obununuzi bulinaebitundubibiri eby'enjawulo: "okufuluma" wamu "n'okuyingira" okusooka olina okufuluma. Abantu abamu baagaala kuyingira n'ensi; naye olina okusooka okufuluma ensi, okusobola okuyingira mu Kristo. Olina okuva mu butakkiriza, n'oyingira ku kukkiriza. Tewasobola kubaawo kintu kyonna mu kkubo lyo. Mazima okuba n'okukkiriza okwannamaddala, oteekeddwa okusuulira ddala emabega, ebintu byonna ebikontana n' Ekigambo kya Katonda, okuyingira mu kukkiriza. Kati ekyo kye kyali ekitabo ky'Abaefeso eky'Endagaano Enkadde, ekya Yoswa. Awo Musa we yakiiririra amateeka, agaali tegasobola kulokola muntu yenna; naye ekisa kisobola, kati wuuno Yoswa ajja n'Ekigambo kye kimu nga Yesu, "Yakuwa-omulokozi." Era kati olwo, tukizuula nti tutuuse ku Abaefeso omulala, Abaefeso omulala kati. Awo, okutegeera kw'ebibiina by'Amadiini gaffe, n'ebirala, n'enteekateeka zaffe ez'obuyigirize we bituukidde ku—ku Yolodaani waabyo, kati olwo tuteekwa okuba ne—n'Abaefeso ate. Tuteekwa okuba n'Okuva, okusobola "okufuluma" n'okusobola "okuyingira" okusobola okugenda mu kukwakkulibwa.

Kati leero tugenda kusoma okuva mu ssuula ey'o 2 ey'Abaefeso. Ekyo mbadde nkyogera mutuukeyo-mangu, manya tugende mu ssuula.

Mmwe, era nammwe yabazuukiza, bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n 'ebibi byammwe: Bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe gy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu ow'obuyinza bw'omu bbanga, omwoyo ogukoza kaakano mu baana atawulira: Era naffe jfenna bwe twatambuliranga edda mu kwegomba kw'omubiri gwajfe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw 'obuzaaliranwa abaana ab 'obusungu, nga n 'abalala. Naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe, Era bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo, (mwalokoka Iwa kisa;)   [Abaefeeso 2:1-5]
Njagala kuggyayooko awo akatono oba ekitundu ku lunyiriri, "naye Katonda oyo," Katonda Omugagga w'Ekisa.

Wano njagala twetegereze nnabbi, manyanga, omutume, Pawulo, eyali— oyo, engeri kino gye yakyogerako, nti, "Mmwe be yazuukiza, olumu abaali bafudde, abafu mu kibi ne mu byonoono; nga mugoberera ebintu by'ensi eno, n'okwegomba kw'omubiri, nga tutuukiriza ebirowoozo bye byagala. Nga.. Kiki, ekyaleetawo enkyukakyuka gye mulaba? Kiki ekyakireeta, "okuva ku lumu abaali abafu," okuzuukizibwa? Okuzuukizibwa kitegeeza "okukifuula ekiramu." Waaliwo enkyukakyuka, okuva mu kufa okudda mu bulamu. Tewali kirala, tewali kintu kirala kyonna ekiribeera ku muntu yenna, eky'ekitalo, ng'okumukyusa okumuggya mu kufa okumuzza mu mulamu. Omuntu, singa ng'afa, mu mubiri, era naawonyezebwa mubiri, kyandibadde kintu kya kitalo, naye tewali kikulu nga kuba mufu mu mwoyo kyokka Katonda n'amuzuukiza mu bulamu.

"Lumu, edda, twali bafu." Mwali bafu. Era bangi wano leero, muyinza okutunulako emabega ne mumanya nti lumu, mwali bafu. Naye kati lwaki temuli bafu leero, nga bwe mwali luli? Mugwanira okubeera bwe mutyo, kubanga mwali boonoonyi, "naye Katonda omugagga ow'ekisa." Ekyo ye— ekyo ky'ekyo, "Katonda eyali omugagga." Ebintu bino byonna bye twalimu, "naye Katonda"! Ekyo butereevu kyaleetawo enjawulo awo, "Katonda omugagga w'ekisa"! Oh, ndi musanyufu olw'ekyo, ye okubeera omugagga ow'ekisa. Singa yali mugagga bugagga mu ssente, singa yali mugagga bugagga mu bintu, kyokka era ky'ali, naye ekintu ekisinga obukulu kwe kubeera omugagga ow'ekisa. Oh, nga kigamba kya kitalo, okuba nti lumu twali tubiize.

Kati luli twali twogera ku ngeri ensigo gy'erina okufaamu. Era na buli kintu kyonna ekyetooloodde akaweke ako ak'obulamu tekiteekeddwa kufa bufi kwokka, naye n'okuvunda. Bwe kitavunda, tekisobola kuba kiramu. Kati okuvunda, "kwe kuggweerawo ddala; nga kiwedde." Kati okutuusa nga tutuuse awo endowooza ne birowoozo byaffe byennyini we biba biviiriddewo ddala era nga bivundidde ddala okutuvaamu, olwo akaweke ak'obulamu ne katandika okuba akalamu. Kaakati—kati tuyinza, kati nnyinza okuyingizaamu ko wano katono ku njigiriza, eyo gye... bwe mutakkirize, kale. Ekyo kituufu. Nkikkiriza. Nzikiriza nti—omuntu oyo, bwe yazaalibwa mu nsi eno, bwe wali ng'okyali kato, n'ozaalibwa mu nsi, tewandisobodde kubeera mu nsi muno nga tolina kumanya kwa Katonda okw'edda, kubanga ye takoma era amanyi ebintu byonna. Era omwana oyo bw'azaalibwa mu nsi muno, wabaawo ekintu mu mwana oyo. Bw'aba nga agenda kubeera n'obulamu, waliwo akantu munda omwo, nate mu mwana oyo, ne kijja, mangu ddala oba ekikeerezi. Akasigo ako kali mu ye. Kati singa onootwala... Ebyawandiikibwa ekyo bikyoleka bulungi.

Kati leero bw'oba ng'olina Obulamu obutaggwaawo, bwe tuba tulina obulamu obutaggwaawo, olwo lubeerera kye tuba, kubanga waliwo engeri ya mulundi gumu ey'Obulamu obutaggwaawo. Bulijjo kye tuli. Ensonga lwaki kye tuli, kiri lwa kubanga tuli kitundu ku Katonda. Era Katonda kye kintu kyokka ekitaggwaawo. Era nga Ibulayimu bwe yawa Merukizeddeeki ekimu eky'ekkumi, era ne kiba nga kibalirwa ku muzzukkulu wa muzzukkulu we, Leevi, eyali akyali mu ntumbwe za Ibulayimu; yawa ekimu-eky'ekkumi, wadde nga yali akyali mu ntumbwe za Ibulayimu bwe yasisinkana Merukizeddeeki. Amakya gamu, ekyo njagala okukyogerako mu kifo kiri ekirala. Merukizeddeeki Ono y'Ani? Kati ekyo mukyetegereze. Edda eyo, Katonda yamanya nti omulenzi ono wa kujja. Yamanya ebintu byonna. Kati tuli kitundu ku Katonda. Bulijjo ekyo kye wali. Tokijjukira, kubanga wali katundu butundu ku Katonda. Wali bubeezi mu ndowooza ye. Erinnya lyo lyennyini, bwe liba nga lyali libadde mu Kitabo ky'Obulamu, lyateekebwayo nga n'emisingi gy'ensi teginnabaawo. Yamanya nti olibaawo.

Njogera kino kyokka, si kutabula nj igiriza, naye kugiwa muzinzi, tusobole okuva mu kutya kuno n'okukankana. Tomanyi kiki ky'oli. Temugenda bugenzi kubeera, naye kati muli baana ba Katonda. Mulaba, lubeerera muli baana ba Katonda. Mulaba? Kuba bw'aba nga Katonda yabalina mu ndowooza ye ku lubereberye, olwo kiba kitegeeza, ekitundu ku mmwe, obulamu bwo obukulimu kaakati, bulina okuba nga bw'ali ne Katonda nga tebunnakujjamu. Kale, bwe yali, nga tannafuuka kintu kyonna wano ku nsi, nga tewannabaawo kintu kyonna, wabula Katonda, wali kutundu ku ye. Yamanya erinnya lyo kye liriba. Yamanya langi y'enviiri z'olibeera nazo. Yamanya byonna ebirikubaako. Ekintu kyokka ekyabaawo ky'ekyo, ggwe okuba omwonoonyi...

Bangi ku mmwe—muyinza okukkiriziganya nange ku ndowooza eno, bwe wali ng'okyali kalenzi kato, oba kawala kato, ng'oyinza okutambulatambula olwo ne wabaawo ebintu ebikusumbuwa, ate ebitatawaanya bato balala, ne kirabika nti waaliwo ekintu mu ggwe ekibanja. Awo waalingawo Katonda, kyokka nga wali okyali mwonoonyi. Ekyo mukijjukira? [Ekibiina kiddamu, "Amiina."—Omuk.] Mazima ddala. Kati kyali kiki ekyo? Kati ekyo kyali kikula ekyo eky'obulamu mu ggwe. Kati nga wayise akabanga, n'owulira Enjiri. Oba oli awo wagenda mu kkanisa, n'ofunayo kino na kiri, n'otambula kibiina kya ddiini ku kibiina kya ddiini. Naye lumu, olw'okuba wali kitundu ku Katonda, wali oteekwa okuba ekitundu ku Kigambo. Era bwe wawulira Ekigambo, wamanya wa gye wava, wamanya nti ago ge Mazima. Ekyo kye wali bulijjo, bulijjo ensigo yabeeranga mu ggwe. Ekigambo ky'alaba Ekigambo ekyali mu ggwe, nga n'emisingi gy'ensi teginnabaawo, walaba Ekigambo, n'ojja gye kiri.

Ng' akagero kange akakawungu, engeri akawungu kano bwe kaayalulwa enkoko. Kati akantu kano ne katambulanga n'enkoko, bw'etyo, enkoko bwe yakokkolyanga, nga tekategeera kukokkolya kwayo. Kati— kati obukoko, eby'okulya byabwo bibeera mu luggya, ko— ebyo tekaabitegera, engeri gye bwabikolangamu. Naye mu ko mwalimu ekintu, ekyalabika okuba eky'enjawulo ku ekyo enkoko kye zaali, kubanga okuva ku lubereberye kaali mpungu. Bwe kiri. Lumu maama waako yajja ng'akanoonya, kati, bwe kaawulira okukaaba kw'empungu eyo, kyali kya njawulo, okuva ku kukokkolya kw'enkoko. Kati eyo y'engeri gye kirimu eri buli mukkiriza eyazaalibwa ogwokubiri. Osobola okuwuliriza enjigiriza y'ekinnaddiini yonna gy'oyagala, na buli nsigo ya bukyayi yonna; naye Ekigambo ekyo bwe kifubutukayo, olwo wabaawo ekintu ekikakafu, kwe weekwata. "Mmwe lumu abaali bafiiridde mu kibi (obulamu obwo) yabazuukiza." Mu kusooka, wateekwla okubeerawo obulamu kwe tuzuukirira. Katonda, n'okumanyirawo kwe okw'edda, ebintu byonna yabimanya. Bwe tutyo twayawulibwa dda okubeera abaana ab'obuwala n'ab'obulenzi aba Katonda. "Mmwe olumu abaali bafiiridde mu kibi n'okwonoona, ffenna eyo gye twali mu kusooka, naye n'atuzuukiza."

Tunuulira Pawulo, Pawulo bwe yali ng' akyali ow'ekitalo mu by' amagezi g'eddiini. Naye bwe yasisinkana Ekigambo maaso ku maaso, nga ye Yesu, kyamuzuukiza. Yakomerawo ddala mangu eri obulamu, kubanga yali yategekerwakubabw'atyo. Ya.. .yali kitundu ku Kigambo; kati Ekigambo bwe kyalaba Ekigambo, kye kyali ekikula kye. Okukokkolya kwonna okw'enkoko, mu makanisa ag'obujjajja, kwali tekukyamukwatako; yali amaze okulaba Ekigambo. Ye yali ekitundu ku kyo. Yali mpungu. Teyali nkoko; yabeerako bubeezi mu luggya nazo. Naye nga ya yali mpungu, mu kusookera ddala.

Ebiseera ebimu oyinza okwogera eri abantu ku nguudo, ng'oyogera nabo ku Mukama, ne bakusekerera. Weewaawo, mu buli ngeri, tuteekeddwa ekyo okukikola. Naye wuliriza, "Tewali muntu ajja gyendi Kitange bw'Atamuwalula okusooka." Katonda y'awalula. Walina kusooka kubaawo bulamu. "Era abo bonna be yampa, balijja gyendi." Yassaawo ekkubo eri abo abaagala okununulibwa. Yassaawo ekkubo eri abo abaagala okuwonyezebwa. Era kati olw'okuba nga kino yakikola, kimufuula omugagga w'ekisa, kuba bulijjo abaddenga mugagga wa kisa. Ky'ekyo, kino bw'okigaana, tewaba kirala kisigadde wabula omusango, kubanga ekibi kirina okusalirwa omusango. Falaawo, bwe yayingira e—mu nnyanja, mu ngeri y'okugeegeenya, ng'agamba nti naye asobola okuyingirayo nga Musa bwe yakola. Musa bwe yali n'eggye lye, ne Falaawo ng'alina eggye lye, mu kulabika, kyalabikanga bombi abaali bagenda okuzikiririra mu nnyanja. Naye Katonda, omugagga w' ekisa, yassaawo ekkubo eri abaana Abaebbulaniya okutolokeramu, (lwaki?) Kubanga baali mu mugendo gwennyini ogw'omulimu, baali mu mugendo gw'Ekigambo. Kati eyo y'engeri yokka ey'okufunamu okusaasirwa, kwe kugoberera ebiragiro ebiba bituweereddwa Katonda okugoberera. Eyo y'engeri yokka w'asobola okulagira okusaasira, bwe tugoberera ebyo by'abeera atulagidde okukola.

Nga bwe kyali mu kukubaganya ebirowoozo gye buvuddeko katono, bwe twali n'omuweereza eyagamba nti nze nnali njigiriza enjigiriza y'abatume mu nnaku zino. Ndowooza nnakyogerako jjo oba ennaku bbiri eziyise, oba gye buvuddeko, bwe yagamba, "Ogezaako, okuyingiza mu mulembe guno, enjigiriza y'abatume." Nti, "Omulembe gw'abatume, gwakoma dda n'abatume." Kwe kumubuuza, "Kale, Ekigambo okikkiriza?" Kko ye nti, "Yee." Ne nngamba, "Okubikkulirwa 22:18 wagamba, nti, 'Omuntu yenna aliggyako Ekigambo kimu ku kino, oba alyongerako kimu ku kyo,' si bigambo bibiri; Ekigambo kimu, okuggyako Ekigambo kimu." Kko ye nti, "Ekyo nkikkiriza." Kko nze, "Kati olwo nsobola okukubuulira wa enjigiriza y'abatume gye yaweerwa, kuoa Omukisa gw' abatume gwaweebwa Ekkanisa; kati ng'okozesa Ekigambo, ndaga wa we yaguggyira ku kkanisa. Tosobola kukikola; kuba tekiriiyo." Ne nngamba, "Kati jjukira, nti Peetero, ku lunaku lwa Pentekoote, ye yali—omwanjuzi w'omulembe gw'abatume. Era bonna n'abalagira, 'Mwenenye, mubatizibwe mu Linnya lya Yesu Kristo olw'okuggyibwako ebibi byammwe, era munaaweebwa n'ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu. Kubanga okusuubiza kwammwe, n'abaana bammwe, n'abo bonna abali ewala abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.'"

Kati bw' obeera oyagala okuwuliriza okukokkolya kw' enkoko y' ebibiina by'amadiini, era n'okubeera eyo mu bintu by'ensi, olwo kijja kuba kiraga nti waliwo ekikyamu. Kubanga, ekyo kye Kigambo. "Buli ayagala yenna, ajje." Era bw'obeera ofunye okwagala, jjangu. Naye bw'obeera tolina kwagala okwo, olwo oba oli mu mbeera ekwasa ennaku. Wabula bw'obeera n'okwagala okujja, jjangu ogoberere enkola ya Katonda! Era talemererwangako kutuukiriza kye yasuubiza. Nali muto, era kati nkaddiye, simulabangako ng'alemererwa mu Kigambo kye. Kubanga, byonna asobola okubikola okuggyako okulemererwa. Tasobola kulemererwa. Ekyo Katonda takisobola. Tekisobokera ddala Katonda okulemererwa, n'asigala nga ye Katonda. Bw'alemwa, aba takyali.

Soma akawunti mu...
Katonda Omugagga W'ekisa.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.

Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.

Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda.

Yokaana 3:16-18


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 13
Katonda gwe Musana.

(PDF)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Ekikula ky’omusajja
atuukiridde.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.