Ekigambo eri Ekkanisa.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Ekigambo eri Ekkanisa.

Soma akawunti mu...
  Kristo Kye Kyama Kya Katonda Ekibikkuliddwa.


William Branham.

Ekisingira ddala mwagalanenga. Mwagalanenga mwekka na mmweka. Temu… si nsonga setaani ne bw’agamba ki! Kaakati muli kibiina kimu ekinene ekirungi naye mujjukire okulabula kwange, labayo, Setaani ekyo tajja kukiganya kusigala bwe kityo.

Nedda, ssebo. Ajja kukuba buli kintu, okusobola okubaako gw’anakwasa yesibe ku oyo. Ajja kuleeta omuntu akolokota oba atali mukkiriza, amutuuze awo, akunngaane nammwe kimpowooze bw’atyo, olwo abeeko obutwa bwateeka mu sempala oyo, atandike okubusaasaanya mu kkanisa. Ekyo temukyegattako. Temukolagana nakyo n’akatono. Musigale nga mwagalanira ddala nga muli balungi era ba kisa buli omu eri munne. Musabire omusajja oyo, naye alokoke, oba omukazi oyo, k’abeere ani, mubasabire busabizi. Era munywezagane.

Era musigale n’omusumba wammwe. Labayo, oyo y’alabirira ekisibo, kale mumuteekemu ekitiibwa. Ajja kubalunngamya okubayisaamu, era, kubanga Katonda yamwawula ekyo okukikola.

Kati ekyo mujjukira? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.”-Omuwa.] Omulabe wa kujja. Era bw’ajja munyweerere wamu bwe mutyo. Kale oyo setaani gw’akozesa ng’omulabe ku bibiri wa kufuluma oba kuyingira abe omu ku mmwe. Kye ekyo kyokka.

Temwesalasalamu, oba-oba okwogera nga mweyawulayawula. Tuli omu. Siyinza kugamba nti “Ggwe omukono ogwa kkono, nku-nkusunguwalidde, nngenda ku kuggyako kubanga toli mukono gwa ddyo.” Oyo gwe mukono gwange ogwa kkono. Mwagala asigale awo. Wadde akasongezo k’engalo yange njagala, kabeererewo ddala, buli katundu konna ku mubiri gwange kabeererewo ddala. Era Katonda ayagala, ng’omubiri gw’abakkiriza, tusigalire ddala wamu, wamu fekka na fekka.

Era ekyo mukirinako entambi. Mulina entambi ezikwata ku bye tukkiriza. Mulina entambi ezikwata ku nneeyisa mu kkanisa, engeri gye tweyisaamu mu kkanisa ya Katonda, engeri gye tulina okujjamu wano tutuule wamu mu bifo eby’omu Ggulu. Tosigala waka. Katonda bw’aba mu mutima gwo, toyinza na kulinda nzigi kuggulibwa okuyingira wano okunngaane ne baganda bo. Bw’oba nga teweewulira bw’otyo, olw’o nkugamba, kye kiseera gwe osabe.

Kubanga tuli mu nnaku za luvannyuma, Bayibuli w’egulumiriza… oba w’etukalaatiririra oku-oku, “nga bwe tulabira dala nti olunaku olwo lusembera, okwagalananga n’okwagala okw’Ekikristaayo n’okwagala okw’Obwakatonda, “okukunngaanira awamu mu bifo eby’omu Ggulu, ne-ne Kristo Yesu,” kale mwagalanenga. “ku kino abantu bonna kwe balimanyira nti muli bayigirizwa Bange, bwe mwagalana mwekka na mwekka.” Kye ekyo. Mubeere ddala wamu.

Ow’oluganda, bw’olowooza nti alina ensobi gy’akoze, oba mwannyinaffe, gamba, “Mukama, tonganya kumerukamu mulandira gwa bukyayi, kubanga ekyo kijja kubaako kye kimukosa, era nange Kristo kijja muggira ddala mu bulamu bwange.” Obutwa bwa asidi obwo obw’ettima, obw’obuggya, n’obw’obukyayi, ekyo kijja kukuggirako ddala Omwoyo Omutukuvu. Kijja kumugobawo wano ave mu Tabernacle. Kijja kutta Omwoyo wa Katonda, oba okumugobawo wano, kirumye omusumba wo. Kijja kukola buli kimu. Mulaba? Temukikola ekyo.

Mwongere bwongezi kunyweerera wamu bwe mutyo. Ssembeza e… Nyweza ekimyu, ng’ow’oluganda bwe yawadde obujulizi, ekiro kya luli omuweereza,wano ng’ayogera ku kubeera n’ekimyu, kye yalaba mu kwolesebwa. Ekyo… Ekyo ekimyumyula eky’okulwanyisa kya Katonda kyonna. Kyambale, kinyweze, mweyongere okwagalananga mwekka na mwekka. Mwagalanenga, mu buli ngeri. Buli omu ayogere ebirungi ku munne, buli muntu ayogere birungi ku munne, awo Katonda ajja kubaawa omukisa.

Soma akawunti mu...
  Kristo Kye Kyama Kya Katonda Ekibikkuliddwa.


  Kigambo Ekiramu series.

Etteeka lya Katonda ery’okuzaala.

Soma akawunti mu...
  Omulembe Gw’ekkanisa Ya Perugamo.


William Branham.

Kye ngezaako okubagamba kiikino wano. Etteeka ly'okuzaala liri nti buli kika kizaala ekyo ekikifaanana, era nga bwe kiri mu Olubereberye 1:11, ”Katonda n'Ayogera nti Ensi emere ebimera, omuddo ogubala ensigo, omuti ogw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ku nsi bwe kityo bwe kyali.“ Obulamu bwonna obwali mu nsigo bwajja mu kimera ne buva mu kimera ne bugenda mu kibala. Etteeka lyennyini lye limu lye likola ku kkanisa leero. Ensigo yonna eyatandika mu kkanisa ejja kuvaayo efaananire ddala ensigo eyasooka kubanga nsigo y'emu. Mu nnaku zino ezisembayo Ekkanisa Omugole omutuufu (ensigo ya Kristo) ajja kutuuka ku Jjinja ery'oku ntikko, era y'ajja okuba ekkanisa ey'enkizo, ekika eky'enkizo, nga bw'amusemberera. Abo abali mu mugole bajja kumufaananira ddala (Yesu) n'okuba babeerere ddala mu kifananyi Kye. Kino kijja kuba bwe kiti balyoke basobole okwegatta naye. Bajja kuba omu. Bajja kubeerera ddala okweyoleka okw'Ekigambo kya Katonda omulamu. Amadiini tegasobola kuvaamu kino (nsigo nkyamu). Bajja kuvaamu bikwate byabwe na biragiro, nga bitabuddwamu Ekigambo. Okugattika kuno kuvaamu ekintu ekiyitibwa maleeto.

Omwana eyasooka (Adamu) yali nsigo ya Katonda ey'Ekigambo ekyogere. Yaweebwa omugole asobole okuzaala. Eyo y'ensonga lwaki omugole yamuweebwa, azaale, aveemu omwana wa Katonda omulala. Naye yagwa. Yagwa (omugole) okuyita mu kutabula ezzadde. Yamuviirako (omugole) okugwa. Omwana owookubiri (Yesu), naye Ensigo ya Katonda ey'Ekigambo ekyogere Yaweebwa omugole nga Adamu bwe yaweebwa. Naye Yali Tannamuwasa, naye n'agwa (omugole). Oyo, okufaanana nga mukazi wa Adamu, yagezesebwa oba yali asobola okukkiriza Ekigambo kya Katonda abeere omulamu, oba okukibuusabuusa afe. Yabuusabuusa. Yaleka Ekigambo. Yafa.

Okuva mu kabiina akatono ak'ensigo entuufu ey'Ekigambo, Katonda Ajja kuwa Kristo omugole omulungi. Omugole oyo mbeerera ya Kigambo Kye. Mbeerera lwa kuba tamanyi bikwate na biragiro byakolebwa bantu. Byonaa bye yasuubiza okulabisbwa ng'ayita mu mbeerera ajja kubituukiriza ng'ayita mu mugole.

Ekisuubizo kyajja eri Malyamu Embeerera. Naye Ekigambo ekyo ekyasuubizibwa yali Ye, Mwene, okulabisibwa. Katonda Yalabisibwa. Ye, Mwene, Ye Yakola mu kiseera ekyo n'Atuukiriza Ekigambo Kye ekyasuubizibwa mu mbeerera. Malayika ye yali aleese obubaka bwe. Naye obubaka bwa malayika bwali Kigambo Kya Katonda. Isaaya 9:6. Mu kiseera ekyo Yatuukiriza byonna ebyamuwandiikibwako kubanga yakkiriza (Malyamu) Ekigambo Kye.

Embeerera abo abali mu mugole bagenda kumwagala, era bagenda kuba n'obusobozi Bwe, obutanneeyolesa, kubanga Ye gwe mutwe gwabwe, era amaanyi gonna Gage. Bamugondera ng'ebitundu by'emibiri gyaffe bwe bigondera emitwe gyaffe.

Laba enkolagana ennungi eya Kitaffe n'Omwana. Yesu Teyakola kintu kyonna okutuusa nga Kitaffe Asoose kumulaga. Yokaana 5:19 Embeera eno ennungi kati y'egenda okubeera wakati w'omugole Omusajja n'omugole omukazi. Amulaga (bba) Ekigambo Kye eky'obulamu. Akisembeza (omugole omukazi). Takibuusabuusa. N'olw'ekyo, tewali kiyinza kumulumya, wadde okufa. Kubanga ensigo bw'esimbibwa, amazzi gajja nate kugiyimusa. Ekyama kya kino kiikino wano. Ekigambo kiri mu mugole omukazi (nga bwe kyali mu Malyamu). Omugole omukazi alina endowooza ya Kristo kubanga amanyi kiki bba ky'Ayagala kikolebwe n'Ekigambo. Akola ekiragiro ky'Ekigambo mu Linnya Lye kubanga alima “bw'Atyo bw'Ayogera Mukama.” Olwo Ekigambo Omwoyo n'Akifuula ekiramu ne kituukirira. Okufaanana ng'ensigo esimbibwa n'efukirirwa, kituuka ku kukungulwa, ne kituukiriza ekigendererwa kyakyo.

Abo abali mu mugole bakola ebyo byokka by'Ayagala. Tewali ayinza kubakozesa kirala. Balina bw'Atyo bw'Ayogera Mukama bwe kitaba bwe kityo basooka ne balinda. Bamanyi nti Katonda y'Alina okuba mubo ng'Akola emirimu, ng'Atukiriza Ekigambo Kye Ye Mwene. Teyamaliriza mulimu Gwe gwonna bwe Yali ng'Akyali ku nsi mu buweereza Bwe n'olw'ekyo kaakati Akozesa omugole era Akola mu ye. Ekyo akimanyi, kubanga ekiseera tekinnatuuka Ye abeeko ebintu ebimu by'Akola by'Ateekwa okukola mu kiseera kino. Naye kaakano Ajja kutuukiriza omulimu ogwo gwe Yalekera ekiseera kino eky'enjawulo ng'Ayita mu mugole.

Kati ka tuyimirire nga Yoswa ne Kolebu. Ensi yaffe ensuubize etandise okulabika ng'eyaabwe bwe yatandika. Kati Yoswa litegeeza “Yakuwa Omulokozi”; era aliwo ng'ekifaananyi ky'omukulembeze w'ebiseera ebivannyuma ow'okujja eri ekkanisa nga Pawulo bwe yajja ng'omukulembeze eyasooka. Kolebu y'aliwo ng'ekifaananyi ky'abo abaasigala ne Yoswa nga beesigwa.

Soma akawunti mu...
  Omulembe Gw’ekkanisa Ya Perugamo.


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)
 

Kristo Kye Kyama
Kya Katonda
Ekibikkuliddwa.
(PDF)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.

Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.

Isaaya 60:1-2



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.