Teweesigamanga Ku Kutegeera Kwo Ggwe.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Kiki ekikyamu mu Byenjigiriza?


William Branham.

Soma akawunti mu...
Teweesigamanga Ku Kutegeera Kwo Ggwe.

Engero 3:1-6,
Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange; Kubanga ennaku nnyingi n’emyaka egy’okuwangaala, n’emirembe bye birikwongerwako. Okusaasira n’amazima tebikulekanga: bisibenga mu bulago bwo; biwandiikenga ku bipande by’omutima gwo; Bw’onoolabanga bwotyo okuganja n’okutegeera okulungi mu maaso ga Katonda n’abantu. Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe; Mwatulenga mu makubo go gonna, kale annalunngamyanga olugendo lwo.

Oh, ndowooza ekyo kye Kyawandiikibwa ekisinga obulungi! Kati njagala okutwala eky’okuyiga, okuva mu-mu lunnyiriri olw’o 5, Teweesigamanga Ku Kutegeera Kwo Ggwe.

Kati kino kye-kyakuyiga ekyewuunyisa mu lunaku luno lwe tulimu, kubanga, essira leero mazima lissibwa ku buyigirize ne ku kutegeera kwaffe ffe okw’ebintu, olunaku olwo-olw’okuyiga. Wabula tuzuula wano nti bino ebigambo ebyewuunyisa, okufaanana Ebyawandiikibwa ebirala, birina ekifo kyabyo, era tweesiga nti Katonda anatukkiriza okulaba ekifo wa we kiri. Leero tusindika abaana baffe mu ssomero, okuweebwa okutegeera. Oluvannyuma baava mu masomero agasookerwako, tubasindika mu masomero ag’awaggulu okuweebwa okutegeera okusingawo okwokumanya. So bwe bamala eyo abaana abamu balina omukisa ogumala okugenda mu tendekero, ne bayita mu tendekero okumaliriza emisomo gyabwe n’okutegeera kwabwe okw’okumanya. Ebyo bye babeera bafunye… Emirundi mingi, okufuna omulimu, olina okubeera n’okutegeera okw’amasomero ag’awaggulu ekitono ennyo, oba obuyigirize bw’etendekero, oba okukirawo.

Naye Sulemaani omugezi yatubuulira nti, “obuteesigamanga ku ekyo, si ku kutegeera kwaffe ffe; teweesigamanga ku bintu bino.” Kubanga, twewuunya lwaki yandigambye ekintu nga kino, lwa kubanga nti bulijjo okutegeera kwaffe okw’emirembe gya kaakano bulijjo ge magezi g’omuntu, nga gakontana n’Ekigambo kya Katonda. Ndowooza ekyo Sulemaani kye yali agezaako okubuulirira abaana be, si okubeera abataasoma, naye obuteesigamanga ku kutegeera kwabwe bo. Ndowooza kwandiba okubuulirira okulungi leero singa tugamba abaana baffe n’abaana ba Katonda, nti, kirungi okubeera n’obuyigirize, tekiriko buzibu; naye obwo obuyigirize bwe bukontana n’Ekigambo kya Katonda, kale nno weesigamenga ku Kigambo obuyigirize bwammwe bugende eri, labayo, kubanga, Ekigambo. Obuyigirize bulungi era bulikuwa omulimu omulungi, osanga ekifo eky’okumwanjo mu bantu abakenkufu, naye ekyo kirungi, osanga kiriba kyamugaso gy’oli, okuyamba mu by’ensimbi n’embeera ey’okwebesaawo kwo, osanga okulongooseza mu mbeera y’obulamu bwo.

Naye jjukira ekintu kimu, mwana wange, olina okufa. Si nsonga oba olina obuyigirize bwekana wa, enzikiriza mmeka z’oyinza okufuna, olina okusisinkana okufa, kubanga kyawandiikibwa, nti “Omuntu alina okufa, oluvannyuma lw’ekyo Musango.” Ne Katonda, bwe… Okufa si kwe kubi kati, oyinza okufa, “naye oluvannyuma lw’ekyo Musango.” Katonda tagenda kubuuza wasoma kyenkanawa bwe wali wano ku nsi, wafuna obuyigirize bwenkana wa, oba ddiguli ya ngeri ki, kyonna kye wali, nga omuweereza. Tebigenda kubuuzibwa. Naye ogenda kubuuzibwa, ggwe, wakola wo ki ku kutegeera Ekigambo kya Katonda. Awo ekyetaagisa wekijjiramu, kubanga ekyo. Obuyigirize bwo bulungi, naye Ekigambo kya Katonda bwe Bulamu. “Ekigambo Kyange bwe Bulamu.” N’okukimanya bwe Bulamu. Era ye, yagamba, “Mutegeere.” Ye kye Kigambo. Era eyo ye ngeri yokka gy’oyinza okumutegeeramu, na Kigambo Kye.

Omuntu ayinza okujja n’agamba, “ono ye Katonda,” oba “oli ye Katonda,” oba “ono ye Katonda.” oba “kino kituufu,” era “kiri kituufu,” naye tukomawo ku Kigambo, nga ge Mazima. N’Ekigambo kirina emmunyeenye y’Obukiika obwa kkono, ye mmunyeenye entuufu. Si nsonga oba ensi eraga wa, yo emmunyeenye y’Obukiika obwa kkono enywerera wakati wamu n’ensi. Ggwe tunuuza kampasi yo eri emmunyeenye ey’Obukiika obwa kkono. Bulijjo ebeerera wakati w’ensi. Emmunyeenye endala ziyugayuga okwetooloolera wamu n’ensi, naye emmunyeenye ey’Obukiika obwa kkono enywerera wamu. Kati kampasi ye Mwoyo Mututukuvu, era ennanga yo yandibadde Emmunyeenye ey’Obukiika obwa kkono, kale Mwoyo Mutukuvu bulijjo asonga ku Kigambo. Omwoyo Omutukuvu talikukulembera ku kirala kyonna wabula Ekigambo kya Katonda. Kale omuntu akkiriza atya ebiyiiye, ebikontana n’Ekigambo, era n’asigala nga agamba alina Omwoyo Omutukuvu akusonga okuggya ku ebyo. Kitwala Omwoyo Omutukuvu okusonga ku Kigambo, kubanga Ye kye Kigambo. Ye kye Kigambo, era kye kyokka ekisobola … Nga-nga magineti mu kampasi yateekebwamu okulaga Obukiika obwa kkono obw’Ensi, eyo ye ngeri yokka gyesobola okulaga. N’Omwoyo Omutukuvu nga bwali ye Mukunngaanya era Omuwandiisi, oyo afuula Ekigambo okuba ekiramu, Ayinza atya okusonga omuntu ku kirala kyonna wabula Ekigambo?

Kale omuntu bw’agamba nti balina Omwoyo Omutukuvu, ate ne bakkiriza ekintu ekikontana n’Ekigambo, kiraga nti oyo si ye Mwoyo Mutukuvu gwe balina. Mukiraba? Guyinza okuba omwoyo, si kiwakanya, naye si-si Mwoyo Mutukuvu owa Kristo. Kati, kati mumanyi, emirundi mingi, bo buli omu atwala omwoyo wa munne; kale bwe kityo kiyinza okusonga, nga ekibiina ky’abantu, eri ekintu gundi, naye tekiyinza-tekiyinza okusonga ku Kristo. Naye Omwoyo Omutukuvu bulijjo asonga ku Kristo, ne Kristo ye Kigambo. Kino tukiraba bulungi mu Bayibuli. Oba, nze nkiraba. Osanga nyinza okuba omukyamu, naye mu kulowooza kwange, naye si kirowooza; kubanga, ekyo, kino: “So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe nga bw’olaba.” Singa weesigama ku kutegeera kwo ggwe, olwo obeera wa kuva mu kkubo etuufu. Toyinza na kweesigama na ku kutegeera kwa mulala, bwe kituuka ku Bulamu. Okulaba Obulamu obeera olina kweesigama ku Kigambo. Bwe Bulamu.

Kino tukiraba, okuva ku lubereberye. Kyatumanyisibwa bulungi, okuva ku lubereberye, nti Katonda yawa abantu Be abaasooka ku nsi Ekigambo, okuba abalamu ku bwa kyo. Okubeera abalamu ku bw’Ekigambo. Kati, okwo si okuyita mu kulya emmere, n’ebirala. Naye okuba abalamu ku bw’Ekigambo Kye, Lubeerera. Era bwe baasigala nga bakuumye Ekigambo, bali balamu Lubeerera. Naye akatundu ak’Ekigambo ekyo bwekassibwa mu kifo ekikyamu, olujeegere lwonna ne lukutuka, n’olubu lw’abantu ne lunnyikibwa mu kufa. Labayo, kaakano twekkaanya. Kaawa awatali kubuusabuusa yali muntu mugezi; eyasooka okuggibwa mu Adamu, oyo eyali omwana wa Katonda. Ne Kaawa, mazima bwe yali mu mbeera eyo nga tewannaba kuba kibi, tewali kifo kya kibi, mazima ayinza okuba yalina okumanya okw’ekitalo okw’ekyo Katonda kye yali. Kubanga, buli kawungeezi, ye ne bba we batambulanga mu kiseera eky’empewo eky’olusuku, akawungeezi, ne boogera maaso ku maaso ne Katonda. Ngakintu ekitali kya buntu nti omuntu eyatambulanga maaso ku maaso awamu ne Katonda, buli lunaku, n’oluvannyuma n’adda mu kukubaganya ebirowoozo ebyamukubaganya ebirowoozo okuva ku Kigambo kya Katonda!

Tukyabalina. Bakubaganya mangu ebirowoozo okukuggya ku Kigambo kya Katonda, oluvannyuma lw’okutuula mu Kubeerawo kwa Katonda. Bwe balaba Ekigambo kya Katonda nga kibuulirwa, Ekigambo kya Katonda nga kirabisibwa, abatamiivu n’abalina ebibi nga bajja ku kituuti ne bakyusibwa ne bafuulibwa ebitonde ebiggya mu Kristo, abantu abalina ebibi nga bafuulibwa abakyala era abaami abalungi; ate oluvannyuma n’okyamizibwa okugobereranga ebiyiiye, kikusobozese okuyatiikirira oba-oba olyoke oyingire mu ekyo kye banaayita abantu ab’ekika ekyawaggulu. Lwaki, oli mu kika ekikyasinze okuba: abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala aba Katonda. Kale, njagala nnyo ekika ekyo okusinga okuba awamu ne bakabaka bonna awamu n’abalangira, na buli kimu kyonna. Mpa ekibiina ky’abantu abawombeefu, oba tebamanyi kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono! Kasita babeeranga bamanyi Katonda, nga bamwagala era nga bamuweereza, abo be batiikirivu ab’omu Ggulu, eri nze. Yee, ssebo!

Kati, tulaba nti Kaawa kyayanguwa okusendebwasendebwa ne Setaani, okuva ku Kigambo kya Katonda, yeesigama ku kutegeera kwe ye, kubanga Setaani yali amulaze ekintu ekitali ye nga bwategeera Katonda. Naye yalina ekintu ekirala ekyamubuulirwa omulabe, Setaani, era ye n’akikkiriza. Kati tulaba ebyo ebyakivaamu. Kyannyika lwonna olubu lw’abantu mu kufa, kubanga maama eyasooka ku nsi, yeesigama ku kutegeera kwe ye, okukontana n’Ekigambo kya Katonda, ne kinnyika lwonna olubu lw’abantu mu kufa. Kati mukkiriza ekyo? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.”-Omuwa.] Ekyo kye Kigambo. Kale, omukazi bulijjo ya… Ekkanisa, mu Bayibuli egeraageranyizibwa na mukazi. N’ekkanisa leero eyinza okukkiriza omuganda gw’ebikwate oba ebiyiiye, n’ennyika ekibiina kyonna mu kwawukana okuva ku Katonda. N’abantu abatwala ebintu ebyo, mu kifo ky’Ekigambo kya Katonda, bafaanana ne Kaawa. Era kikoleddwa emirundi n’emirundi, okutuusa bwe kituusiza omulembe gwonnna okunnyikibwa okuva ku Kigambo kya Katonda.

N’Ekigambo bwe kirabisibwa, Ekigambo bwe kibikkulwa, tebayinza kukikkiriza, kubanga tebayinza kukikola, kubanga beesigama ku kutegeera kwabwe bo. “Kkanisa eno yazimbibwa wano. Kifo kirungi. Kibiina kinene. Ye mmemba y’ekibiina ky’abantu abangi ennyo. Lwaki tetubeera abamu ku kyo? Nnagyesiganga.” Teweesiganga kutegeera kwo ggwe, naye weesigenga Kigambo kya Mukama! Kati-kati kyakomenkereza, ku nkomerero, mu kufa eri olubu lwonna olw’abantu nga bwe nnagambye, kye kimu ne kaakano, abantu bangi abeesigama ku kutegeera kwabwe bo, ebikwate byabwe n’ebiyiiye, n’ebirala, nga bagamba, “Ekigambo kya Katonda kyonna awamu si kituufu, nga ebimu ku Byo byalunngamizibwa ate ebirala si bwe kiri.” Oyinza otya okuba n’okukkiriza mu Bayibuli, singa ekitundu ku Yo yalunngamizibwa n’ekitundu ku Yo nga si bwe kiri? Oba nga ekitundu ekimu kikyamu, kale yonna ebeera nkyamu. Yonna erina kuba ntuufu, ddala kituufu.

N’agamu ku gano egeeyita agaakyamizibwa, amatendekero ga Bayibuli nga gayigiriza okumanya kw’abantu, okukulakulana, awo bwe bajja awamu ne batuula mu kakiiko k’abantu, ne bagamba, “Kati laba, oba ennaku z’ebyamagero, zaakoma mu nnaku z’abatume.” N’abasajja bangi wansi w’abalabirizi oba abasajja abakulu, bayinza okutuula ne bogera, “Kale, singa nnyinza okukkirizaganya awamu naye, awatali kubuusabuusa, nze ayinza okubeera adda mu kifo kye.” Labayo, kale nno weesigamye ku kuteegera kwo ggwe, mu kifo ky’okuyimirira ku bigere byo olw’Ekigambo kya Katonda. Ekyo kye kireeta bino byonna.

Emabegako awo, omuntu omu ... Nnali mukuwakanya eby’omusolo. Ne bangamba, bagamba, “Lwaki, abawanika bo si kirala wabula abazinira ku ntoli zo, bwe ndowooza.” Ne nngamba, “Bwe mba n’omuwanika ku kakiiko, oyo abeera n’endowooza, eyawukana, n’atasobola kuyimirira era (sifaayo oba ani akyogerako) n’ayogera endowooza ye ku kyo, nze muggya ku kakiiko.” Yee, ssebo. Yadde kyali kyawukana ku ndowooza yange, njagala ye ayogere ekyo kyalowooza okuba ekituufu. Eyo ye nsonga eyamuteesawo, okulaba ki kyakyogerako. Naye tukirina.

Laba, Yesu yagamba, mu Yokaana 10 “Endiga Zange zimanyi Eddoboozi Lyange.” Eddoboozi, mazima, kye Kigambo Kye, Ye bw’aba ayogera. “Endiga Zange zimanyi Edoboozi Lyange. Eddoboozi Lyange likakasibwa gye bali, okuba ery’amazima. Lyakakasibwa nga ly’Eddoboozi Lyange.” Kati, kati mwekkaanye, bo tebayinza kugoberera ddoboozi ddala lyonna. Tebayinza. “Endiga Zange zimanyi Eddoboozi Lyange omulala tezirimugoberera.” Mu bigambo ebirala, teziritegeera ddoboozi ly’oyo eyasoma eby’eddiini ayigiriza ebyawukana ku Kigambo. Endiga ebyo tebitegeera nga n’empungu, ekiro ekyayise, bwetategeera kukokolya kw’enkoko. Tezikutegeera, kubanga yo yali mpungu. Ekintu kye kimu n’omwana wa Katonda omutuufu eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri, bategeera ebyo byokka ebya Katonda. Kati omuntu agamba, “Kale, kati laba, oyinza okukola kino, ndowooza. Kiri, nzikiriza nti tekiri bwe kiti. Nzikiriza nti ennaku z’ebyamagero zaayita. Sikkiriza nti ekyo kwe kuwonyezebwa kw’Obwakatonda. Sikkiriza Kino.” Kati Omukristaayo omutuufu eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri, ebyo tebirinywerera mu matu ge, ebyo tabitegeerera ddala yadde. Kisoboka kitya omuntu akkiriza mu Katonda, era asobola okusoma Bayibuli n’alaba nti Y’omu jjo, leero, n’emirembe gyonna, ayinza okukkiriza ekintu ng’ekyo, sibitegeera.

Bwe kityo tebeesigama ku kutegeera kwabwe bo.

Soma akawunti mu...
Teweesigamanga Ku Kutegeera Kwo Ggwe.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye akamwa k'abasirusiru emmere yaako busirusiru.

Engero 15:14


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Pillar of Fire.

(PDF Olungereeza)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Omwoyo
Omutukuvu
talikukulembera
ku kirala kyonna
wabula Ekigambo
kya Katonda.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.