Kyo ky'eky'enkomereddde.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Kyo ky'eky'enkomereddde.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Kristo abikkuliddwa mu Kigambo Kye Ye.

Kaakati enda okwogera ku ky'okuyigako kino ekya: Kristo Abikkuliddwa mu Kigambo Kye Ye. Engeri bwe kyali mu ngero ezikwata ku mikisa, nga Ekifaananyi kya Kristo kiri awo Ayimiridde, nga kyetengeredde kyokka. Awo we nnalowoolezza eky'okuyigako kino. Kaakati, Kristo n'Ekigambo bali omu. Mukiraba?

Bagamba nti, “Baibuli yali etya...?” Abantu bwe bagamba. Nnali nvuga n'omusajja ssi bbanga ddene. n'agamba nti, “Kirowoozeeko. Tuli wano ku nsi, mu ngeri gye tulimu, era kye tumanyi kyokka, oba kye tusobola okwogera kyokka, twalokolebwa n'olufumo lw'Abayudaaya oluyitibwa Baibuli.” Ne njogera nti, “Ssebo, simanyi ekyo bwe mukyogera, naye era ssikkiriza nga lufumo lw'Abayudaaya,” bwe nnagamba. Ye n'agamba nti, “Kale, bw'oba osaba, osaba ani? Ne mmubuuza gundi oyo n'ebimu ku bintu ebirala; ssaasobola kubifuna.”

Ne njogera nti, “Musaba mu bukyamu. Tetuteekwa kusaba okukyusa endowooza ya Katonda; tuteekeddwa kusaba okukyusa endowooza zaffe. Endowooza ya Katonda teyeetaaga kukyusibwa kwonna. Mulaba? Laba, ekyo kituufu.” Ne amba nti, “Si ekyo kye wasabye...” Nnina omulenzi Omukatoliki embulakalevu gwe mmanyi, lumu, eyalina akatabo k'okusaba, nga bw'asaba essaala, nnyina abe omulamu. N'amala n'afa, n'akwata akatabo n'akasuula mu muliro. Kale, mulaba, sigoberera katabo ka ssaala; naye, mu ngeri yonna, laba, n'otwala endowooza enkyamu. Ng'ogezaako okugamba Katonda eky'okukola.

Essaala eteekeddwa okuba nti, “Mukama, Nkyusa nze okugya mu Kigambo Kyo.” Si nti, “Nkyusa,” si nti “Leka nkyuse endowooza Yo. Ggwe Kyusa endowooza yange.” Mulaba? “Kyusa endowooza yange nga bw'Oyagala. Era ky'Oyagala kiwandiikiddwa wano mu Kitabo. Era, Mukama, To-toanya kugenda okutuusa ng'Ofunye endowooza yange nga etuukanidde ddala n'endowooza Yo. Olwo endowooza yange bw'eba etegekeddwa ng'endowooza Yo, olwo nja kukkiriza buli Kigambo kye Wawandiika. Era Wayogera munda omwo, 'Byonna Ojja kubikola olw'obulungi' eri abo abakwagala Ggwe. Era nkwagala Ggwe Mukama. Byonna bikola lwa bulungi.”

-----
Mwekkaanye kaakano, tukomewo, tulina okuba n'ekintu eky'okwenywerezaako. Ekintu ekimu kirina okuba enkondo y'okwenywerezaako, ekitegeeza, kya nkomeredde. Na buli omu ateekwa okuba n'eky'enkomeredde oba kikamalabyonna. Nnakibuulirako olumu, emyaka egiyise, ku kikamalabyonna, nga ky'ekifo ky'ekigambo ekisembayo.

Ng'omufuuyi wa ffirimbi y'omupiira gw'abakazi, bw'agamba nti kuteeba, ekyo ky'ekibeerera ddala. Sinsonga ggwe okirabye otya, ow'effirimbi agambye nti ateebye. Wagambye nti “Nze- Nze- Nze...” Tekubadde kuteeba. Kigenze... Ndabye nga...“ Sinsonga kiri kitya, bwe yagambye nti, ”ateebye,“ ky'ekyo, ekyo kimala bumazi. Ye ,ky'eky'enkomeredde. Ekitaala kyoku kkubo, ky'eky'enkomeredde. Bwe kigamba nti “genda.” Ggwe n'ogamba, nti “Kale, Nze, ndi mu bwangu, nnina...” Nedda, nedda. Kigamba, “Ggwe Yimirira butengerera, ng'abalala bagenda.” Mulaba? Kyo ky'eky'enkomereddde.

Kati, wateekwa okubaawo eky'enkomeredde mu buli ekikolebwa. Waalina okubaawo eky'enkomeredde ng'olonda mukyala wo. Waalina okubaawo omukazi ow'okulonda. Kale, walina okubaawo ekiseera, ky'ogenda okuguliramu emmotoka, kya nkomeredde ki ky'ogenda okusalawo. Enaaba kika kya mmotoka ekya Ford, Chevy, Plymouth, foreign car, na kyonna kye kisobola okuba, olina okuba n'eky'enkomeredde. Kye kimu ddala n'obulamu bw'Obukristaayo. Walina okubaawo eky'enkomeredde.

-----
Kale, buli kibiina kyaddiini kyankomeredde eri abakkiriza baakyo. Wabula, eri nze, n'abo be nsuubira nga mbakulembedde eri Kristo, era n'olwa Kristo, Baibuli ky'eky'enkomeredde kyaffe. Si nsonga... Kuba Katonda Yagamba nti, “Leka ebigambo by'omuntu bube obulimba, ne Kyange gabeere Amazima.” Era nzikiriza nga Baibuli ky'eky'enkomeredde kya Katonda. Si nsonga kiki omulala yenna ky'agamba; Ky'eky'enkomeredde.

Baibuli si kitabo kya nkola. Nedda, ssebo. Si kitabo kya nkola, newankubadde okulambikibwa kwebigobererwa mu nneeyisa. Baibuli si kitabo kya nkola, enkola nnyingi nnyo n'ebirala. Nedda, ssebo. Si kitabo kya mpisa. Nedda, ssebo. Si bwe kiri. Ate Okutwaliza awamu si kitabo kya byafaayo. Oba okubeera ekitabo ky'amagezi g'eby'eddiini. Kyo kwe Kubikkulirwa kwa Yesu Kristo. Kale, bw'oba oyagala okukisoma ekyo, mmwe abalina empapula zammwe, nga mukiwandiika, kwe Kubikkulirwa 1:1 okutuuka 3 nga Baibuli bw'eri “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.”

-----
Kaakati, mwetegereze Baibuli eno. Abamu ku bo baagamba nti, “Oh, kale, kikoze kino, kikoze ekyo.” Naye leka mbeeko kye mbagamba, ka... Leka tugendeko mu byafaayo bya Baibuli, okumala eddakiika, tusobole okulaba ensibuko yaakyo. Kyawandiikibwa abantu amakumi ana Abawandiisi ab'enjawulo. Abasajja ana be baawandiika Baibuli, mu bbanga lya myaka lukumi mu lukaaga, ate mu biseera eby'enjawulo, nga balanga ebintu ebisinga obukulu ebyali bibaddewo mu byafaayo by'ensi, era emirundi mingi, emyaka bikumi na bikumi nga tebinnabaawo. Era tewaliiwo nsobi mu Bitabo byonna enkaaga mu omukaaga. Oh, abange! Tewali Nnannyini wabula Katonda Mwennyini y'Atuukiridde. Tewali wadde Ekigambo ekikontana ne kinnaakyo.

Mujjukire, emyaka lukumi mu lukaaga wakati, Baibuli yawandiikibwa okuva ku Musa oku- okutuuka ku kufa kwa Yokaana ku kizinga Patumo. Emyaka lukumi mu lukaaga, era yawandiikibwa abantu amakumi ana ab'enjawulo; omu teyasobolanga kumanya na mulala era baali tebakimanyi nga “Kigambo.” Abamu ku bo tebaalaba na “Kigambo.” Naye bwe baakiwandiika, era kyategeerebwa okuba bannabbi, olwo bwe bateeka obunnabbi bwabwe awamu, buli bumu bwagombagana n'obw'omulala.

-----
Kaakati, okugeza, okuva... Watya nga tututte ebitabo nkaaga mu mukaaga eby'ekisawo ebikwatagana n'omubiri, nga byawandiikibwa amasomero g'ekisawo ag'enjawulo amakumi ana, kikumu kkumi na mukaaga... oba wakati w'emyaka lukumi mu lukaaga? mu kkumi na mukaaga... oba lukumi mu lukaaga ng'ogyawudde? Twebuuza kweyongerayo nnabaki kwe tuyinza okuba nakwo?

Naye tewaaliyo Kigambo kyonna mu Baibuli ekikontana ne kinnaakyo. Tewaliiwo Nnabbi yali akontanye ne munne. Buli omu ku bo yali atuukiridde. Era omu bwe yayingirangawo n'alagula, era nnabbi oyo owannamaddala bwe yasitukanga ng'ayitiddwa okujja, kyalabisibwanga. Mulaba? Olaba? N'olwekyo Baibuli Kigambo kya Katonda, eri abakkiriza abatuufu.

-----
Era bagenda kuzuula, olunaku olumu, nti tebalaba bbanga lya kitangaala obukadde bw'emyaka kikumi mu ataano. Batambulira mu nkulungo. Bwe kiri ddala. Mugenda kukizuula, olumu ku nnaku zino, nti bw'ogenda mu Ggulu tolina walala w'obuukira, ojja kuba ng'okyali ddala wano, naawe, ng'oli mu mutendera omulala ogudduka okusinga guno mwe tuli. Wakati mu kisenge muno waliwo langi eziyitamu. Buli langi, essaati, ebiteeteeyi, na buli kimu ky'oyambadde, nga Butaggwaawo, nga kiri eyo ku lutambi, nga lwetooloola wonna wonna mu nsi. Nga buli kiseera lw'otemya eriiso, nga kiteekebwa butereevu ku lutambi. Mwetegereze, ttivi zijja kukikakasa ekyo.

-----
Kaakati Mwekkaanye, tewaliiwo nsobi yonna mu Byawandiikibwa. Yesu, Ekigambo kya Katonda, kitegeera ebirowooza ebiri mu mutima. “Ekigambo kya Katonda Ky'amaanyi, kisala,” Abaebbulaniya 4:12 “Ekigambo kya Katonda kisala, ky'amaanyi okusinga ekitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kyawula ebirowoozo n'okufumiitiriza kw'omu ndowooza.” Mulaba? Kigendera ddala okuyingira mu ndowooza, ne kisikayo ne kyawula emyoyo. Okukebera kye ki? “Okumanyisa, okubikkula.” Era ekyo Ekigambo kya Katonda kye kikola.

Leero tugamba nti, “Eklezia Enkatolika ky'Ekigambo kya Katonda; Ababaputisiti, Abamesodisiti, Abapentekoote, ekkuaaniro.” Ekyo kikyamu. Ekigambo kwe kubikkulirwa; Katonda, ng'Abikkuddwa n'Ekigambo.

-----
Nga kituukiridde nnyo, Ekigambo kya Katonda kituukiridde nnyo, ka kibe mu Ndagaano Enkadde awamu n'Endagaano Empya, nga bitundu bibiri era ebyenkanankana n'ekiramba kimu. Ekyo bwe kiri. Endagaano Enkadde kitundu kyayo, ate n'Endagaano Empya bw'etyo kitundu kyayo; ng'obitadde awamu, ofuna okubikkulirwa kwa Yesu Kristo kwonna. Baabo awo bannabbi nga boogera; kati ate Wuuno wano ng'Omuntu; mulabe ebitundu bibiri ebyenkanankana n'ekiramba ekimu.

Kaakati mujjukire, Endagaano Enkadde tetuukirira awatali Mpya. So n'Empya tesobola kutuukirira nga tewali Nkadde. Eyo y'ensonga enjogezza ebitundu bibiri n'ekiramba ekimu. Kuba, bannabbi baagamba nti, “Ajja kuba wano! Ajja kuba wano! Ajja kuba wano; bajja kumukola kino. Bajja kumukola kino!” era Wuuno wano, “Yali wano! Yali wano, era kino ne bakimukola Ye, ne kino ne bakimukola.” Nnaakabuulira ku ekyo ebiro si bingi ebiyise.

Kaakati, okusobola okuyiga Ebyawandiikibwa, Pawulo yagamba Timoseewo nti, “Fubanga okuyiga, ng'ogabanya bulungi Ekigambo kya Katonda, ekyo nga ge Mazima.” Ebyo by'eby'essimba ebisatu mu Byawandiikibwa. Mu kukozesa Ekigambo kya Katonda, waliwo ebintu bisatu by'otateekeddwa kukola. Kaakati ka tuyige ku ebyo mu ddakiika eziddako ekkumi; ebintu ebisatu by'otateekeddwa kukola. Era nga byonna biri mu ggwanga, wonna w'oli, mu ggwanga wonna, kakasa bino okubiteeka mu ndowooza yo bw'oba nga tolina kkalaamu. Ebintu bino toteekeddwa kubikola. Tubabuulira buli kiseera nga bwe muteekeddwa okukolamu, kaakano enda kubabuulira bye mutateekeddwa kukola.

Kaakati, temuteekeddwa kuvvuunula Kigambo mu bukyamu. Ogamba nti, “Kale, nzikiriza kitegeeza kino.” Kitegeeza ekyo kyennyini kye kigamba. Tekyetaaga muvvuunuzi. Ate era Ekigambo temuteekeddwa kukiteeka mu kifo ekikyamu. Era Ekigambo temuteekeddwa kukiggya mu kifo kyakyo . Era bwe katutanda ne tukola ekimu ku bino, olwo Baibuli yonna kigisuula mu kutabulwatabulwa n'akavuyo.

Mwekkaanye. Okuvvuunula obubi Yesu mu kikula kya Katonda mu muntu. Osobola okumufuula Katonda omu mu basatu. Okuvvuunula obukyamu Yesu Kristo okuba nga ye Kigambo, musobola okumufuula Katonda omu mu basatu, oba musobola n'okumufuula Omuntu ow'okubiri mu Bulamba bwa Katonda. Era okukikola ekyo, Ekyawandiikibwa kyonna musobola okitaataaganya kyonna. Temulibaako we mutuuka. N'olwekyo tekiteekeddwa kuvvuunulwa bubi.

Era bw'obaako ekintu ekimu ky'oyogera, n'omala n'okiteekako okuvvuunula, ate n'omala n'okikozesa omulundi omulala; oba nga kikozeseddwako omulundi omulala; naawe oba okoze okuvuunula okutali kutuufu.

-----
Eby'essimba bino ebisatu biteekeddwa Okubeerawo. Tetuteekwa kuvvuunula mu bukyamu, oba okukikwata mu bukyamu, okukivvuunula mu bukyamu oba okuki... oba okukiggya mu kifo kyakyo ekituufu. Kiteekeddwa kukuumibwa ddala mu ngeri Katonda gye Yakyogeramu nga bwe kyali. Eri ensi Kitabo kya byama. Abantu bakkiriza nga kyo Kitabo kya byama. Olumu nnali njogera n'omusajja ow'ettuttumu wano mu kibuga, awaniridde ennyo Obukristaayo, n'agamba nti, “Nnagezaako okusoma Ekitabo ky'Okubikkulirwa ekiro ekimu.” N'agamba nti, “Yokaana ateekwa okuba nga yafuna entegeso ennene awamu n'ekirooto eky'entiisa.” Mulaba, Kitabo kya kyama.

Naye, eri omukkiriza omutuufu, kwe kubikkulirwa okwa Katonda ng'Abikkuliddwa mu mulembe gwe tulimu. Yagamba nti, “Ebigambo byange gwe Mwoyo bwe Bulamu.” Yesu Yeyayogera bw'atyo. Ate era, “Ekigambo Nsigo omusizi gye yasiga.” Tukimanyi nga kituufu ekyo. Ye Katonda mu kikula eky'Ekigambo, era Ye Mwene y'Asobola okukivvuunula. Endowooza y'omuntu tesobola kuvvuunula ndowooza ya Katonda. Endowooza entono eriko ekkomo eyinza etya okuvvuunula Endowooza etaliiko kkomo, bwe tuba nga tetusobola na kuvvuunula ndowooza ya mulala?

Era mwetegereze, ye Yekka Asobola okukivvuunula, era ng'Akivvuunula eri oyo gw'Ayagala okukivvuunulira. Tekyagamba nti, “Abaafa ab'edda, nga bwe baatambula ku nsi yonna mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi.” Katonda mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi Yeebikkula eri bannabbi. Mulaba?

Soma akawunti mu...
Kristo abikkuliddwa mu Kigambo Kye Ye.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi,

mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna;

Abaebbulaniya 1:1-2


Okuvvuunula obubi
Yesu mu kikula kya
Katonda mu muntu.
Osobola okumufuula
Katonda omu mu
basatu.


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)
Ekitala gye kyalabika.

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.