Akabonero Akookutaano.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Obubonero Omusanvu.

Emyoyo egiri wansi w'ekyoto.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akookutaano.

Okubikkulirwa 6:9-11,
9 Bwe yabembula akabonero akookutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina:
10 Ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, Olituusa wa, Ai Mukama, omutukuvu era ow'amazima, ggwe o... obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku abo abatuula ku nsi?
11 Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa, okuwummula nate a - akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe... baganda baabwe, lwe baliwera, abagenda okuttibwa nga bo.

Kati, kino ddala kyama. Era kati ku lw'entambi, ne bakabona n'abayigiriza abatudde wano, kati, bw'oba okiraba mu ngeri ya njawulo okuva ku Kino; nange, bwe nnali. Naye nkiggya mu kulunngamizibwa, okwakikyusiza ddala ku ndaba yange. Mukiraba? Era olwo nnakizuula, nga bwe mulaba bino nga bibikkulwa, kiddirayo ddala ne kireeta emirembe gy'ekkanisa egyo n'Ebyawandiikibwa wamu, ne kibisiba. Mukiraba? Era eyo y'ensonga lwaki nzikiriza nti kiva wa Katonda.

-----
Weetegereze, tewali nsolo ndala eyogerwako, oba ekiramu - Ekiramu, mu kulangirirwa kuno okw'Akabonero Akookutaano. Kati jjukira, mu Kabonero Akookuna, kyalimu. Mu Kabonero Akasooka, kyalimu, Akookubiri, Akookusatu, n'Akookuna, naye muno temuli. Mukiraba? Kati, bwe weetegereza, ka tusomeko emabega, mu kamu ku Bubonero. Ka tuddeyo ku Kabonero Akookuna, olaba. Era olwo lwe lunyiriri olwo 7. Bwe yabembula akabonero akookuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, Jjangu... olabe.... bwe ya... yabembula akabonero akookusatu, ne mpulira e... ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, Jjangu olabe... ekiramu ekyokubiri... Jjangu... olabe... ekiramu ekisooka nga kyoyogera, Jjangu olabe.

Naye bwe tutuuse mu Kabonero Akookutaano, temuli Kiramu. Kati weetegereze. Bwe yabembula akabonero akookutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto... Mangu ddala! Olaba, temuliimu - temuliimu Kiramu. Ekiramu kiraga maanyi. Ekyo tukimanyi, mukiraba. Temuliimu Kiramu. Kati, ekimu ku Biramu bino, twakiraba, mu kuyiga o - o- okubikkulirwa mu makanisa, nti ekimu ku byo kyalina... yali mpologoma; ate ekirala - ekirala yali nte ennume; ekirala yali muntu; n'ekirala yali mpungu. Twakiraba, mu mirembe gy'ekkanisa, nti Ebiramu ebyo ebina, bitegeeza maanyi ag'emirundi ena, geetooloola Ebikolwa by'Abatume, mu ngeri yennyini ddala nga - weema bwe yali mu ddungu.

-----
Weetegereze. Naye, wano, bwe tutuuka wano ku Kabonero kano Akookutaano kati, tewa - tewa - tewaliiwo muvuzi wa mbalaasi avaayo, era tewaliwo Kiramu kukirangirira. Yokaana ya... Omwana gw'Endiga Yakabembula, Yokaana n'akalaba. Awo tewaaliwo kyonna kigamba, “Kati jjangu, otunule. Jjangu, olabe.” Weetegereze, tewaliiwo maanyi ga Kiramu. Manyanga tewa... Kati ku Kabonero Akoomukaaga, tewaaliwo Kiramu kukalangirira. Era ne ku Kabonero Akoomusanvu, tewaaliwo Kiramu kukalangirira. Tewaaliwo maanyi kukalangirira. Olaba, tewali n'omu akikola. Ku e... Laba. Ku e... Oluvannyuma lw'Akabonero Akookuna, tewaaliwo kulangirirwa kukolebwa maanyi ga Kiramu, okuva ku Kabonero Akookutaano, Akoomukaaga, oba Akoomusanvu, tewaali n'akatono.

Kati weetegereze. Kino nkyagala. Nga mu biseera by'omuvuzi w'embalaasi ennya, omuvuzi (omu) ow'embalaasi ennya ez'enjawulo, waaliwo Ekiramu ekyalangiriranga amaanyi. Buli mulundi omuvuzi w'embalaasi yeebagalanga mbalaasi ndala n'avaayo avuge, Ekiramu eky'ekikula ekirala ne kivaayo ne kikirangirira, “Ekyo kyama kikulu.” Mukiraba? “Ekyo kye kyama.” Lwaki? Okulangirira ekyama Lwaki wano mu Kabonero Akookutaano, tewaliiwo akirangirira? Kiikino, okusinziira ku kubikkulirwa Mukama Yesu kw'Ampadde olwaleero, olaba, manya amakya ga leero, ku makya ennyo. Ekyo, kiri nti, ekyama ky'emirembe gy'ekkanisa kiweddeko, mu kiseera kino. Mu kiseera kino, ekyama ky'omulabe wa Kristo kimaze okubikkulwa. Omulabe wa Kristo yavuga omulundi gwe ogwasembayo, era tumulaba ku mbalaasi ye eya kyenvu, etabuddwamu langi ze ennyingi, n'avugira ddala okutuuka mu kuzikirira. Twakiraba ku Bugombe, n'awalala, ekyo bwe twakiyigiriza. Nnandikigenzeemu kati, naye ate tujja kuwaba tuve ku ky'oyigako.

-----
Kati, kubanga bo, mu kiseera kino, bwe weetegereza, Akabonero kano Akookutaano nga kabembulwa, olaba, Ekkanisa eba egenze. Teyinza kuba, myoyo wansi wa - Ekkanisa eyasooka. Kati, kati, mwattu, oba wali ofuddeyo kati, kubanga kino kyawu-... kyawufu nnyo, n'olw'ekyo njagala owulirize nnyo kati. Mmwe abalina n'empapula zammwe, n'ebintu eby'okuwandiisa. Kati, njagala mwetegereze. Kati, bano tebayinza kuba myoyo egyo. Kubanga, e - emyoyo egya - egy'abatukuvu, abattibwa, n'abantu abatuukirivu, ab'Ekkanisa, Omugole, giba gitwaliddwa; n'olw'ekyo tegiyinza kuba wansi wa kyoto. Bajja kuba mu Kitiibwa, n'Omugole. Kati wekkaanye. Kubanga, baba bagenze mu Kukwakkulibwa, mu ssuula eyookuna ey'Okubikkulirwa. Baba batwaliddwa. Kati, olwo, emyoyo gino be baani? Ekyo ky'ekintu ekiddako. Olwo, be baani, bw'eba nga si y'Ekkanisa eyasooka? Eno ye Isiraeri ey'okulokolebwa ng'eggwanga, abo bonna abaayawulibwa. Abo ye Isiraeri. Eyo ye Isiraeri, yennyini. Ogamba, “Oh, lindako katono.” Ogamba “Tebasobola.”

Oh, ddala, ba kulokolebwa. Wano, leka tukitereeze, katono. Nnina Ebyawandiikibwa bina oba bitaano. Nngenda kutwalako kimu. Ka tutwale Abaruumi, katono, tulabe oba nga beebo. Ka tutwale Ekitabo ky'Abaruumi, tugende mu - mu ssuula 11 ey'Abaruumi, tujja kukiraba. Ka... Leka tukisome, olwo tujja kukyerabira ffe bennyini. Abaruumi, essuula 11, ennyiriri 25 ne 26. Kati muwulirize Pawulo wano. Pawulo n'agamba, “Omuntu omulala yenna, oba Malayika, bw'abuulira si nga bwe twabuulira,” (eki?) “Akolimirwe.” Mwekkaanye. Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, (uh!), mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka; (ky'eko); ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusa okutuukirira kw'Abaamawanga lwe kulituuka.

-----
Weetegereze. Kati njagala kino mukiwulirize nnyo. “Baaweebwa ebyambalo.” Tebaabirina. Baaweebwa ebyambalo, ebyambalo ebyeru, buli omu ku bo. Kati, abatukuvu mu kiseera kino babirina, bamaze okukifuna; Bakifunira wano. Naye, awo, “Baaweebwa ebyambalo,” kyokka abatukuvu ebyabwe nga baabifuna dda era nga bagenze. Mukiraba? Mulaba? Baalina - tebaalina... Bo, olaba, tebaalina mukisa, kubanga Katonda Yali Abazibye amaaso, Kitaabwe Yennyini; ekisa kya Katonda kiryoke kituukirire, Omugole asobole okuggibwa mu b'Amawanga. Ekyo si bwe kiri?

-----
Kati wekkaanye. Mu buzibe bwabwe, batta Masiya waabwe, era kaakati baali bakungula olw'ekyo. Baakitegeera. Baakimanya, nga kimaze kubaawo. Olwo baamulaba, bwe bajja ku kyoto kya Katonda. Naye kati ekisa kya Katonda kiri gye bali. Wekkaanye. Kati, mu ngeri yonna, baali tebasobola, kuba batukuvu, kubanga bandibadde bamaze okwambazibwa. Naye kati baabano wano, abo, “emyoyo egiri wansi w'ekyoto, olw'Ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina,” olw'okuba abantu ba Katonda, Abayudaaya. Naye kati, wekkaanye. Ekisa kya Katonda kyajja gye bali. Yesu bonna Yabawa, buli omu, ekyambalo ekyeru, (oh, abange, mwekkaanye; okutegeera, ng'Ekkanisa emaze okugenda), kubanga baali beesigwa eri ensonga yaabwe. Baazibibwa amaaso, ne batakimanya. Tebaakimanya. Baali batuukiriza ekitundu kyennyini Katonda kye Yabateekerateekera batuukirize. Era wano, wano, Yokaana alaba emyoyo wansi w'ekyoto. Kati mwekkaanye, alaba emyoyo egyo. Laba kye yagiyita. Baayogerera waggulu nti, “Mukama, Olituusa wa?” Wekkaanye, “Mweyongere okulindako katono.” Olaba? Leka ekyo tukirabe, nga bwe tweyongerayo, butereevu mu Byawandiikibwa kati.

Baakizuula nti basse Masiya waabwe. Olaba? Kyokka tebaakimanya, naye oluvannyuma baakizuula. Ba - Nabo battibwa, eyo, okukisasulira, olw'okukola ekikyamu. Era kati olaba kye baalina okukola! Olaba, gwali gubasinze olw'okutta, n'olwekyo baalina okuttibwa. Baayogerera waggulu, “Omusaayi Gwe gube ku ffe!” Olaba? Ky'ekyo. Era baazibibwa amaaso. Kati, singa tebaazibibwa maaso; Katonda Yandigambye, “Baleke. Tebasaanidde.” Naye olw'okuba nti Katonda ye Yabaziba amaaso, ekisa Kye kyabatuukako. Amiina! Yogera ku kisa ekyewuunyisa! N'Abawa buli omu kubo ekyambalo, kubanga Isiraeri yenna alirokoka, buli alina erinnya lye nga lyawandiikibwa. Ky'ekyo.

-----
Kati mwetegereze Abayudaaya bano. Kino nnina okukikola, musobole okulaba okubikkulirwa kwa Kabonero kano; mulabe kye kali, emyoyo gino egiri wansi w'ekyoto, era be baani. Kati mwetegereze. Mu kiseera kya Danyeri, kati, ekitundu ekyokubiri ekya ssabiiti ey'ensanvu. Kati jjukira, “Masiya yali wa kusalibwako mu makkati.” Awo we wakati. Kale, ekitundu kya musanvu ziba mmeka? [Ekibiina kiddamu, “ssatu-n'ekitundu.” - Omuk.] Ssatu-n'ekitundu. Kristo Yamala bbanga ki ng'Abuulira? [“Esatun'ekitundu.”] Ekyo bwe kiri. Kati, “Naye waliyo egisigaddeyo, eri abantu,” (eki?) emyaka emirala esatu-n'ekitundu.

Kale, mu kiseera kino, kale, labayo, ekyabaawo, ye, Omugole w'omu Baamawanga alondebwa mu mirembe omusanvu egy'ekkanisa, n'akwakkulibwa. Era bwe kibaawo bwe kityo, Abayudaaya bano bonna abattibwa, olw'obuzibe bw'amaaso, abali wansi w'ekyoto, Katonda Ajja n'Agamba, “Mulaba kiki kye kyali? Kati, Nja kubawa buli omu ku mmwe ekyambalo.” Ne bagamba, “Olituusa wa? Mukama? Tugenda kati?” N'Abagamba, “Nedda, nedda, nedda, nedda. Abayudaaya, bannammwe, balina okubonaabonako, akatono. Balina okuttibwa nga mmwe bwe mwattibwa. Ensolo erina okubakwata bw'erimenya endagaano yaayo.”

-----
Nze - nze - Waliwo kye mpulira, olaba. Olaba? Labayo, abamu bwe balowooza... Njagala kino mukitegeere kati, olaba. Oba abamu bakyalowooza nti Malaki 4, “okuzzaayo” abantu, ky'ekintu kye kimu ky'agenda okukola eri Abayudaaya, ne balowooza nti byonna kye kimu, ekyo leka nkibatereereze, mu ddakiika. Muyinza okukiraba, ng'ekitabulamuuko. Kubanga mujjukire, mu Malaki 4, kigamba, “Okukyusa okukkiriza kwa bakitaabwe... manyanga abaana eri bakitaabwe.” Olaba, eri bakitaabwe!

Kati leka mbalage enjawulo ey'obuweereza. Bw'aba ajja okuzzaayo okukkiriza kw'abaana eri bakitaabwe, alina okwegaana Kristo. Aba addayo ku mateeka. Ekyo bwe kiri? Bakitaabwe baakwata mateeka. Mukitegeera? Mwetegereze, Eriya, bw'ajja okutuukiriza obuweereza bwe obuli mu Malaki 4, olaba, nga Malaki 4, Eriya yali ku lulwe. Naye bw'ajja okuweereza eri Abayudaaya, ab'omu Okubikkulirwa 11, aba wamu ne Musa. [Ow'oluganda Branham akuba mu ngalo emirundi ebiri - Omuk.] N'olw'ekyo, tewali kubuzaabuzibwa, n'akatono. Mulaba? Mukitegeera? Eriya ow'omu Malaki 4, bw'ajja, aba yekka. Eriya avaawo; si Eriya ne Musa “Eriya” ajja kugolokoka.

Naye okulunngamizibwa kwe kumu, okwagamba nti, Eriya alijja olw'ekitundu ekisembayo eky'omulembe gw'ekkanisa, “okuzzaayo Okukkiriza kw'abaana eri Okukkiriza nnakabala okwa bakitaabwe,” Okukkiriza okw'abatume, kwe mulina okuddako. Era omulabe wa Kristo bonna abaggyeeyo. “Okuzzibwayo,” ng'Ebyawandiikibwa ebisigaddewo byonna bwe bikwataganye. Mukiraba, ajja yekka. Mulaba? Naye bw'ajja eri Ekkanisa, Bayibuli... manya bw'ajja eri emitwalo ekkumi-ena-mu-enkumiennya, Bayibuli ekyolekera ddala nti bombi ye... Bali babiri, si omu ku bo. Babiri!

Era obuweereza bwe obusooka tebusobola kuzzaayo Bayudaaya ku mateeka, afuuka e... kubanga ajja, ng'abuulira Kristo eri emitwalo ekkumi-ena-mu-enkumi-ennya, amiina, “Wuuyo, Masiya oyo eyasalibwako.” Amiina! Ky'ekyo, n'olw'ekyo temukitabulatabula. Si muvuyo. Ebyawandiikibwa tebirimba, n'akatono. Ekitiibwa! Oh, ekyo bwe nnakiraba, ne mbuuka! Ne nngamba, “Mukama, weebale,” bwe nnalabye nti Eriya eyo mu mulembe ogwasooka, yavaayo ku lulwe, era nga yali ku lulwe. Era olwo bwe nnamulabye ng'ajja nate, ng'aliko awalala w'alaga, baabadde babiri ekyo we kyabeereddewo. Ne nngamba, “ky'ekyo. Nti, Mukama, kiwedde. Amiina! Nkiraba kati!” Aleruuya!“ Ky'ekyo kyennyini. Singa sikyogedde, osanga wandibaddewo gwe kibuzaabuza. Naye Ye - Yanngambye nkyogere, n'olw'ekyo nkyogedde.

Weetegereze, abasajja bano Katonda Abakumye nga balamu, okuva mu buweereza bwabwe obwasooka, olw'obuweereza obw'omu maaso; baagukola bulungi nnyo. Mukiraba? Mulowooze, omwoyo oyo owa Eriya aweereza emirundi etaano; ate owa Musa, ebiri. Ekiki? Baakuumibwa nga balamu olw'okwongera, okuweereza okujja. Kati ku bombi tekuliiko mufu n'omu; Ekyo temukikkiriza? Bombi baalabibwa, nga balamu, nga boogera ne Yesu ku Lusozi lw'Okuwaanyisibwa. Naye, jjukira, bateekwa okufa.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akookutaano.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Kale tukole tutya? Isiraeri kye yanoonya, teyakiraba; naye abaalondebwa baakiraba, abalala ne bakakanyazibwa:

Abaruumi 11:7


Mu buzibe bwabwe,
batta Masiya
waabwe, era
kaakati baali
bakungula
olw'ekyo.


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Essuula 13
Katonda gwe Musana.

(PDF)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...