Akabonero Akookuna.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Obubonero Omusanvu series.

Embalaasi eya kyenvu.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akookuna.

Kati, ngezaako nga bwe nsobola, kyokka era nga waliwo ekintu, eky'omu nda, wakati mu ffe, ekikoleramu. Era kati tugenda kugezaako, olwaleero, olw'ekisa kya Katonda, okukwata ku Kabonero kano Akookuna, tulabe kiki Omwoyo Omutukuvu, ky'Anaatugamba mu ko. Kati, nngenda kusoma O - Okubikkulirwa, essuula eyoomukaaga, okutandikira ku lunyiriri olwomusanvu; 7 ne 8. Ennyiriri ziba bbiri bbiri; olusooka kwe kulangirira, n'olwokubiri ky'ekyo kye yalaba.

Bwe yabembula akabonero akookuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu ekyokuna - ekyokuna nga kyogera nti, Jjangu olabe. Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n'eyali atuddeko (oyo atudde) erinnya lye Kufa; ne Magombe n'agenda... naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekyokuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala, n'olumbe, era... n'ensolo z'ensi.

Kati, Mukama Atuyambe kino okukitegeera. Kyama.

Kati, tusooke tuyiteeyitemu katono, okusobola okukinyweza, nga bwe twakola emirembe gy'ekkanisa, abavuzi b'embalaasi bano n'okubembula kw'Obubonero buno. Kati, kale tukiteekere ddala mu mitima gyaffe, tulindeko katono okutuusa lwe tunaawulira nga kye kiseera ekituufu okwogera. Kaakati, kati twetegerezza, nti, okubembula Obubonero, ky'Ekitabo ky'Obununuzi ekisibeko. Ekitabo kizingiddwako okufaanana ng'omuzingo, ng'enkola enkadde bwe yabanga. [Ow'oluganda Branham annyonnyola enzinga n'ensiba ey'omuzingo, nga yeeyambisa omuko gw'olupapula - Omuk.] Tekyali kitabo kya kika kino; kubanga kino kyakajja, ebitabo eby'ekika kino, oh, ndowooza byakabaawo emyaka nga kikumi-mu- ataano, oba bwe kityo, egiyise. Kale baaguzingangako, enkomerero ne bagireka nga si nsibe. Nga bwe nnabagamba engeri gye kyakolebwanga, n'Ebyawandiikibwa, we binoonyezebwa, mu Yeremiya n'ebirala. Olwo omulala gwazingibwangako, enkomerero neerekebwa nga si nnywevu, ne kiba bwe kiti. Era buli gumu gwalinga Kabonero. Kyali Kitabo kya mizingo Musanvu, era kyali... Tewali n'omu... Bwe baali... Kyali Kitabo eky'emizingo Omusanvu eky'Obununuzi. Munsonyiweko.

Kati, olwo, tewaaliwo mu Ggulu ne ku nsi, oba wansi w'ensi, yali asaanidde kukizingulula oba wadde okukitunulako. Yokaana yakaaba, kubanga teyalaba muntu... Kubanga, singa Ekitabo ekyo kyajjibwa mu mukono gwa Nnyinikyo eyasooka... Gye kyali kisuuliddwa Adamu ne Kaawa, ne kiddayo, oluvannyuma lw'okufiirwa eddembe lyabwe ery'Ekigambo, ebisuubizo, obusika bwabwe. Abo, jjukira, baafuganga ensi. Ye yali - ye yali katonda omutono, kubanga yali mwana wa Katonda. Omwana wa Katonda aba ka - ka - katonda mutono. Kati, ekyo tekikontana na Byawandiikibwa. Mmanyi kiwulikika bulala. Naye Yesu Yagamba, “Oba abo, abajjirwa Ekigambo kya Katonda mubayita...” Era Ekigambo kya Katonda kijja eri ani? [Ekibiina kiddamu, “bannabbi.” - Omuk.] Bannabbi. “Oba mubayita 'bakatonda,' abo abajjirwa Ekigambo kya Katonda, muyinza mutya okunnenya bwe Nngamba nti Ndi Mwana wa Katonda?” Mukiraba?

-----
Kati, eggulo twabadde n'okubembula kwa - kw'Akabonero Akookusatu. Okusooka yali muvuzi wa mbalaasi njeru, era eyaddako yali ku mbalaasi mmyufu, era olwo embalaasi nzirugavu. Era tusanga nti abavuzi yali muvuzi omu, emirundi gyonna; era oyo ye yali omulabe wa Kristo okusooka, teyalina - teyalina ngule, naye oluvannyuma yagifuna. Olwo ne tulaba ng'oluvannyuma yaweebwa ekitala, okuggyawo emirembe ku nsi, era tusanga nti ekyo yakikola. Era olwo ajja n'ebikwate eby'okutunda, ng'aguza ekkanisa, ng'apima ddinaali olwa kino, ne ddinaali bbiri olwa kiri. Naye yagaanibwa okukwata ku mafuta n'omwenge, ebyali byasigalawo ebitono. Kati eggulo, twalese tuwadde okunnyonnyola, kiki amafuta n'omwenge kye byali, n'ebyo ebyakivaamu. Era ffe... Kyandiba nga kyawulikiseemu katono nga kikalubo, naye nze... Ago ge Mazima gennyini.

-----
Jjukira, Amazima bwe gabikkulwa, Amazima gakakasibwa. Katonda, olubeerera, si nsonga omuntu ne bw'aba yenkana wa, nga mugezi kwenkana wa mu kutegeera kwe, Katonda bw'atawagira ekyo kyayogera wabaawo ekikyamu. Ekyo bwe kiri, kubanga kye Kigambo. Kati, Musa bwe yagenda eyo ng'ali wansi w'okulunngamizibwa kwa Katonda, yagamba, “Leka wabeewo ensowera.” Ensowera zajja. Era nti, “Leka ebikere bijje.” Ebikere byajja. Olaba, watya singa yagamba, “Leka ensowera zijje,” ne zitajja? Mukiraba, Olwo - yandibadde teyayogedde Kigambo kya Mukama, olaba; yandibadde ayogedde, ng'ayogedde bigambo bye ku bubwe. Ayinza okuba nga yalowooza nti ensowera zisaanye okubaawo. Naye, awo - tewaaliwo nsowera zajja, kubanga Katonda yali tamugambye kukikola. Era Katonda bw'Akugamba ekintu kyonna, n'Agamba, “Genda okole kino, era Nja kubeerera ddala nakyo, kubanga kino Kigambo Kyange,” era n'Akiraga mu Bayibuli, olwo Katonda Ayimiririra ddala emabega waakyo. Era bwe kiba nga tekyawandiikibwa mu Bayibuli, Katonda Ayimirira emabega waakyo, mu buli ngeri, bwe kiba nga Kigambo Kye. Mukiraba? Era olwo bwe kiba ebweru waakyo, kibikkulirwa bannabbi. Tukiraba nti ebyama bya Katonda byonna bimanyibwa bannabi, era abo bokka. Olaba, Amosi 3:7.

-----
Kati, “Omwana gw'Endiga bwe Yabembula Akabonero Akookuna.” Leka tuyimirire awo kati. Akabonero Akookuna, kati, ani yakabembula? Omwana gw'Endiga. Waaliwo omulala yenna eyali asaanidde? Tewaali mulala yenna yali asobola kukikola. Nedda. Omwana gw'Endiga Yabembula Akabonero Akookuna. Era e - ekiramu ekyokuna, ekitonde ekyali kifaanana ng'empungu, ne kigamba Yokaana, “Jjangu olabe ekyama kyokuna eky'entegeka y'obununuzi ekibadde kikwekeddwa mu Kitabo kino,” kubanga Omwana gw'Endiga Yali Akibikkula. Amakulu nti, ky'ekyo kye yali agamba. “Kiikyo ekyama ekyokuna wano. Nkibalaze, mu kabonero. Kati, Yokaana, simanyi oba mukitegedde, oba nedda.” Naye, yawandiika wansi kye yalaba, naye kyali kyama. Kale, yawandiika kye yalaba. Omwana gw'Endiga Yali Abembula Obubonero, era Katonda Yali Tagenda kukabikkula. Kaalekebwayo olw'ennaku ezisembayo. Olaba?

Kati, tubaddenga tubuwadaawadako, era emirundi egimu ne tukola bulungi nnyo, mulabeeyo. Naye tumanyi kyeyongeddeyo mu maaso. Naye kati, mu nnaku ezisembayo, tuyinza okutunula emabega ne tulaba wa gye kibadde. Ekyo kirina kukolebwa, awo, ku nkomerero ya mulembe gwa kkanisa, ng'Okukwakkulibwa kunaatera okubaawo. Engeri omuntu gy'ayinza okulaba Ekkanisa ng'eyita mu kibonyoobonyo, simanyi. Kiki ekigiyisa mu kibonyoobonyo, ate nga terina - nga terina kibi? Ntegeeza... Sitegeeza kkanisa; ekkanisa ya kuyita mu kibonyoobonyo. Wabula njogera ku Mugole. Omugole, taliiko, kyonoono kyonna, n'akatono. Kisaanusiddwa ne kiggibwawo, tewasigaddeewo wadde e - e... Tewaliiwo wadde lusu lwakyo, tewali kisigaddewo. Batuukiridde, mu maaso ga Katonda. Kale olwo ekibonyoobonyo kyetaagisiza ki okubalongoosa? Wabula bo abalala bakyetaaga. Ekkanisa yo eyita mu kibonyoobonyo, naye si Omugole. Kati, tukitwala butwazi mu bubonero obwa buli ngeri kati. Nga e - ng'ekkanisa. Nuuwa, ky'ekifaananyi ky'abo abatwalibwa, eyagendera mu kibi. Olaba, kati, baagenda. Naye, Enoka ye yasooka okugenda, oyo yali kifaananyi eky'abatukuvu abaali ab'okuyingira, ekiseera eky'ekibonyoobonyo nga tekinnaba.

-----
Kati weetegereze. Tewali n'omu ku bavuzi bano balala, tewali n'emu ku mbalaasi zino endala, oba tewali mulundi omuvuzi ono we yavugira, we bataalina; omusajja oyo waatabeerera na linnya. Naye kati ayitibwa Kufa. Tekyayogerwa. Olaba? Abikkuddwa kati. Nga ye kufa. Kale, ekyo tujja kukitunuulira tukikolemu eky'okuyigako, tukyanjululize ddala! Naye ekintu kyonna ekiwakanya, ekikontana n'ekyannamaddala, kiteekwa kuba kufa. Kubanga, waliwo ebintu bibiri byokka, ng'ebyo bye, Obulamu n'okufa. Era ekyo kikakasa nti okubikkulirwa kw'Omwoyo Omutukuvu okwa kino, mu lunaku luno, ge Mazima ddala. Awakanya, ye kufa. Kubanga, Ekigambo, bwe Bulamu, nga bwe tunaalaba wano oluvannyumako. Olaba? Omusajja ono ayitibwa Kufa.

-----
Kati, mwekkaanye, wekkaanye wano mu Bayibuli. Kigamba nti erinnya lye yali magombe, era... kyentegeeza:.. erinnya lye yali Kufa, era magombe n'amugoberera. Kati, bulijjo magombe y'agoberera kufa, mu mubiri. Omuntu ow'omubiri bw'afa, magombe amugoberera; eyo y'entaana, amagombe, olaba, ekyo bwe kiri mu mubiri. Naye mu mwoyo, nnyanja ya muliro, olaba. Kale, mu kwawukana okw'olubeerera, gye bookerwa. Era - era Malaki 4 yagamba, “Tobalekerawo kikolo newankubadde ettabi, oba ekintu ekirala kyonna.” Y'engeri ensi gy'erina okwerongoosaamu nate, olw'obufuzi obw'Emyaka Olukumi, mukiraba?

-----
Weetegereze. Kino kyonna kigenda kuvaamu ki? Kati, ndowooza, tulinayo eddakiika nga kkumi-nabbiri oba kkumi-na-nnya. Laba kino kyonna gye kiraga. Kiki? Kiddirayo ddala nga bwe kyali. Kyatandikira mu Ggulu; kijja mu lutalo olw'ebiseera ebisembayo. Mu Ggulu, ekintu ekyasooka, lwali lutalo. Lusifa yasuulibwa ebweru, n'ajja ku nsi. Olwo n'ayonoona Adeni; okuva ku olwo abaddenga agyonoona. Era kati, okuva ku lutalo mu Ggulu, lutalo ne lujja mu nsi; era lwakuggweera, ku nsi mu biseera eby'enkomerero, mu lutalo oluyitibwa Kalumagedoni. Kati, ekyo buli muntu akimanyi. Olutalo lwatandikira mu Ggulu, ettukuvu, ne bamugobayo. Mikayiri ne Bamalayika be baamuwangula, ne bamugoba. Era bwe baakikola, n'asuulibwa mu Adeni, n'atandika wano olutalo wansi wano.

-----
Kati, olutalo lwatandikira mu Ggulu. Lugenda kuggweera ku nsi, mu ngeri ya Kalumagedoni. Kati ka twekkaanye era tukirabe nga kyeyanjuluza. Era oba oli awo tusobola okukyanjuluza. Mukama kaakano Atuyambe kino tukikole kati. Kyekkaanye nga kyanjuluzibwa. Omuvuzi w'embalaasi ow'ekyama, wekkaanye ky'akola kati; “awakana,” yagaana okwenenya n'okuddayo ku Kigambo nnakabala eky'Omusaayi. Ekigambo kyafuuka Omusaayi n'omubiri. Mukiraba? Yagaana okuddayo ku Kyo. Ye omulabe wa Kristo! Omugole omutuufu ow'Ekigambo, awaka-... Takkiriziganya na Mugole omutuufu ow'Ekigambo. Yeetwalira omugole owuwe! Naye, awakanya Omugole ono omutuufu. Ne yeetwalira omugole owuwe ku bubwe, n'amuleeta gy'ali, mu kikula eky'eddiini ekiyitibwa ebiyiiye n'ebikwate. Olaba? Era kati, bw'alaba Omugole omutukuvu, amulwanyisa, naye yeekolera omugole owuwe, ayitibwa omulabe wa Kristo, n'enjigiriza ewakanya Kristo, ekontana ne Kristo. Olaba bw'ali omukujjukujju? Era kati, mu kifo ky'okuba n'okwegatta okw'okwagala, okukulemberwa okusinza, wansi w'Omusaayi, alina kibiina kya ddiini. Mu kifo ky'okuba n 'Ekigambo, yatwala biyiiye, ebikwate, n'ebiri bityo.

-----
Wekkaanye... Okukunngaanya, okwa langi entabuletabule ez'embalaasi. Era, laba, ekintu kino akikunngaanya wamu, nga kitabikiddwamu ebiyiiye, ebibiina by'amadiini, n'enjigiriza ezaakolebwa abantu. Si bwe kiri? [Ekibiina, “Amiina.” - Omuk.] Ddala, langi entabuletabule, langi entabule ey'abafu, embalaasi ya kyenvu ey'ensi! Kati, ekyo bwe kiri. Langi z'abafu entabule, ekifaananyi eky'ensi eky'embalaasi eya kyenvu, oh, abange, Omusaayi omutukuvu ogw'Ekigambo teguliiwo, n'akatono! Kati mwekkaanye. Okuva mu nsonda... “Babakunngaanya, okuva ku nsonda ennya ez'ensi; nga babakunngaanya eri Kalumagedoni,” Bayibuli bw'etyo bw'egamba. Ngezaako okulowooza ku Byawandiikibwa, mbirina wano mu buwandiike. Sibiggyeeyo; naye nga weebiri biwandiike, laba nga bwe biri. “Abakunngaanyiza eri olunaku olukulu olw'olutalo lwa Mukama Katonda.”

-----
Kati baabano, beegatta, bajja babe mu nsiike, e Kalumagedoni, nga bali ku mbalaasi eya langi entabike; ng'embalaasi emu njeru, embalaasi emmyufu, n'embalaasi enzirugavu. Ebisatu, eby'enjawulo: eby'obufuzi - amaanyi ag'ebyobufuzi, amaanyi ag'omwoyo, nga bufugibwa amaanyi ag'emizimu, nga ye mulabe wa Kristo. Ebyo byonna nga bitabuddwa wamu, ofuna kyenvu, ekintu ekitunula ng'ekirwadde ky'atuddeko. Ky'ekyo. Kati mwetegereze. Laba ky'avuga. Embalaasi eno eya kyenvu, embalaasi eya kikuusikuusi, etabuddwamu enzirugavu, emmyufu, n'enjeru; ng'ejja mu lutalo, ng'ekunngaanya abantu baayo okuva mu buli ggwanga wansi w'Eggulu! Danyeri teyavvuunula ekirooto, n'alaba ng'ekyuma ekyo nga kigenda mu buli bwakabaka, obw'e Rooma? Baabano bazze, bakunngaanye. Kati, mukkaalire tumalirize, katono, era wuliriza nnyo. Bakunngaana kati okukikola, aleeta abantu be okuva mu nsonda ennya ez'ensi; ng'avuga embalaasi eya kyenvu, endwadde, eya langi, ezitabuddwa awamu. Muntu y'omu!

Soma akawunti mu...
Akabonero Akookuna.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atuddeko eyali afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi.

Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti Teekako ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi bikaze.

Okubikkulirwa 14:14-15


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Kano Ke Kabonero
K’Enkomerero, Ssebo?

(PDF)
Olusozi Enjuba Egwa.
Ekire gye kyalabika.

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...