Akabonero Akoomukaaga.
<< jjuuzi
ekiddako >>
Kabonero ak'okusala omusango ak'Ekigambo.
William Branham.Soma akawunti mu...
Akabonero Akoomukaaga.Okubikkulirwa 6:12-14,
Ne ndaba Bwe ya... yabembula akabonero akoomukaaga, era, laba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi; N'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku... nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi. N'eggulu ne liggibwawo ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.Kati, njagala okwate Ekitabo kyo bw'oti, Matayo 24 ne Okubikkulirwa 6, bw'oti. [Ow'oluganda Branham akwata Bayibuli ye ng'agibikkudde ku ssuula zino zombi - Omu.] Era ka tubeeko kye tugeraageranya wano katono. Kati, mwekkaanye kino kati, era musobola okuzuula engeri -engeri gye kirimu. Mulabe, Omwana gw'Endiga kyalaga wano, ddala mu kifaananyi, ky'Ayogedde wano mu Kigambo. Akolera ddala ekyo kyennyini, asobole okukitereeza. Kati, ekyo - ebyo byonna awo bye bikiriko. Wano... Ekimu kiikino, Akyogerako, era wano we kibeererawo. Olaba? Kulabisibwa okutuukiridde. Kati, ka tulabe mu ssuula eya 24 ey'Omutukuvu Matayo, ne Okubik kulirwa 6, tugeraageranye essuula 24 eya Matayo. Ffenna tumanyi nti eyo ye yali essuula buli musomi, buli muntu gy'agendako, oku - okwogera ku kiseera eky'Ekibonyoobonyo. Kiva mu ssuula 24 eya Matayo. Era kati ka tu...
Ekyo bwe kiri bwe kityo, kati ka... Kubanga, tumanyi nti Akabonero kano Akoomukaaga ke Kabonero ak'okusala omusango. Ke Kabonero ak'okusala omusango, ky'ekyo kyennyini kye kali. Kati, mulabe, tubadde ne - omulabe wa Kristo nga ali ku mbalaasi. Tulabye n'Ekkanisa ng'egenda; kati eweddeko, Esituliddwa. Ate ne tulaba abajulizi, ab'omu Bayudaaya eyo, wansi w'ekyoto. Kati wano okusala omusango, ku bantu aba... Mu musango guno ogw'Ekibonyoobonyo wagenda kuvaayo Abayudaaya emitwalo ekkumi-ena-mu-enkumi-ennya abanunuddwa. Nngenda kubakakasa nti Bayudaaya, so si Abaamawanga. Tebalina we bakwataganako na Mugole, n'akamu. Omugole, Twalaba nti Omugole yagenda. Ekyo tolina walala w'oyinza kukiteeka; takomawo nate okutuuka mu ssuula eya 19 ey'Ekitabo ky'Ebikolwa by'Abatume. [Okubikkulirwa - Ed]
Kati mwetegereze, kubanga, Akabonero Akoomukaaga ke Kabonero ak'okusala omusango ak'Ekigambo. Kati, wano, kati leka tutandike ka tusome Omutukuvu Matayo, essuula 24. Kati njagala mbeeko wano kye mbawa kye mbadde nnoonya okulaba. Kati, Omutukuvu Matayo okutandikira ku 1 okutuuka ku 3, kale, we tunaasooka okusoma. Yesu n'Afuluma mu yeekaalu; yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga yeekaalu. Naye n'Addamu n'Abagamba nti, Temulaba bino byonna? Mazima mbagamba nti, Tewalisigala wano jjinja... eriri ku ngulu ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi. Kati, era (olunyiriri olwokusatu.) Bwe yali atudde ku... lusozi... olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti, Tubuulire, bino we biribeererawo?... akabonero ak'okujja kwo bwe kaliba, n'ak'emirembe gino okuggwaawo?
-----
Kati, mwetegereze. Okusooka, kati tugenda kusoma, olwa e... “N'addamu n'abagamba...” Kati - kati olwo na - kati Agenda kutandika okubaanukula, era twagala okubigeraageranya n'Obubonero. Kati mwekkaanye. Akabonero Akasooka kwe Okubikkulirwa 6:1 ne 2. Kati tusoma 6:1 ne 2.
Ne - ne ndaba... Omwana gw'Endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira, ekimu ku biramu ebina nga kyogera ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti, Jjangu. Ne ndaba, era laba embalaasi enjeru: n'oyo atuddeko ng'alina omutego; n'aweebwa engule: n'agenda ng'awangula, era awangule.
Omuntu ono twamuzudde nga y'ani? [Ekibiina kiddamu, “Omulabe wa Kristo.” - Omuk.] Omulabe wa Kristo. Matayo 24, kati, 4 ne 5.
Yesu n'addamu n'abagamba nti - n'abagamba nti, Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga. Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti, Nze Kristo; era balikyamya bangi.Mukiraba? Omulabe wa Kristo. Ako ke Kabonero. Mukiraba? Mukiraba? Yakyogera wano; kati wano babembula Akabonero, era kiikino wano, nga kituukiriridde ddala. Kati, Akabonero Akookubiri, Matayo 24:6, Okubikkulirwa 6:3 ne 4. Kati mwekkaanye, Matayo 24:6. Kati ka ndabe kye kigamba.
Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga ebintu bino byonna tebirirema kubaawo, naye enkomerero ng'ekyali.
Kale, Ka tulabe Akabonero Akookubiri, Okubikkulirwa 6:3 ne... Bbiri. Mwekkaanye ky' Agamba kati.
Bwe Yabembula Akabonero Akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, Jjangu... laba. N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battinnganne bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene.Ky'ekyo, kyennyini ddala! Oh, njagala nnyo Ekyawandiikibwa kyeyanukulire. Ate mmwe? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.” - Omuk.] Omwoyo Omutukuvu Kyonna Ye Yakiwandiika, era Asobola okukibikkula. Kati ka twetegereze Akabonero Akookusatu. Kati, eno njala. Kati, Matayo 24:7 ne 8. Ka tulabe 7 ne 8, mu Matayo.
Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga, ne kabaka alitabaala kabaka: era walibaawo Enjala,... kawumpuli,... n'ebikankano, mu bifo ebitali bimu. Naye ebyo byonna lwe lubereberye w'okulumwa.
Olaba, kati mutandise okukitegeerera ddala. Kati, Okubikkulirwa 6, kati tugenda kubikkula Akabonero Akookusatu. Kasangibwa mu Okubikkulirwa 6:5 ne 6.Bwe yabembula Akabonero Akookusatu, ne - ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, Jjangu olabe. Ne ndaba, era laba, embalaasi enzirugavu; n'eyali atuddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe. Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu nga lyogera nti, Ekiyi . . . ddinaali . . . Ekiyi ky'enngaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; amafutan'omwenge so tobyonoona.
Njala! Mulaba, Akabonero ke kamu kennyini, ekintu kye kyennyini Yesu kye Yayogera. Kale. Akabonero Akookuna, “kawumpuli” ne “okufa.” Weetegereze, Matayo 24. Tujja kusoma o - olunyiriri olwo 8, olwo 7 n'olwo 8, nsuubira kye kiri, ku Kabonero kano Akookuna, bye nnina wano. Kale. Kati, kiki kye nsomye wano? Waliwo kye nsomye ekikyamu? Yee, ekyo nkirambyeko. Yee, ky'ekyo. Kati tugenda. Kati ka tutandike. Kale, ssebo.Kati ka tutandikire wano ku lwo 7, ku kano, Akabonero Akookuna; ku 6:7 ne 8, ku kiri ekirala, mu Okubikkulirwa. Kati, ka tulabe, olwo 7 n'olwo 8 mu Matayo 24. Kale, kati.
Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo Enjala,... kawumpuli,... ebikankano, mu bifo ebitali bimu. Naye ebyo byonna lwe lubereberye lw'okulumwa.
Kati Akabonero Akookuna, nga bwe tukasoma wano, kaali... Akabonero Akookuna, katandikira ku 7 ne 8, ku kano akalala kati.
Bwe yabembula Akabonero Akookuna, era laba... ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, Jjangu olabe. Ne ndaba, era laba embalaasi eya kyenvu:...Kati lindako. Kino nnawandiise bukyamu. Ddala. Ddala. Kati mulindeeko katono, kati, 7 ne 8. Kati leka tulabe, Matayo 24:7 ne 8. Kati leka tulabe. Ekyo tujja kukifuna. Okwo kwe kubikkula, okwokusatu, si bwe kiri? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.” - Omuk.] Matayo 24:7 ne 8. Munsonyiwe. Kati, ekyo kiggulawo enkuba... manyanga enjala, kiggulawo enjala. Kale. Kati, “ebikankano” ne “okufa.” Yee, ssebo. Kati tukigendeko, 7 ne 8. Kati, ako ke kajja ok'okuba Akabonero Akookuna. Ka tulabe we tujja Akabonero Akookuna. “Bwe yabembula Akabonero Akookuna...” Yee, oyo ye yali atudde ku mbalaasi eya kyenvu, “Kufa,” olaba.
Ne - ne ndaba, era, laba embalaasi eya kyenvu n'eyali... embalaasi eya kyenvu: n'eyali atuddeko, erinnya lye Kufa, ne Magombe n'agenda... naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekyoku-... ebitundu eby'ensi, okutta n'ekitala, n'enjala, n'olumbe, n'ensolo z'ensi.
Kati, tulabye, ng'oyo yali “Kufa.”Kati, Akabonero Akookutaano, Matayo 24: 9-13. Leka ndabe oba kino nnakifunye bulungi, kati, nate. Mulaba?
Lwe balibawaayo mmwe mubonyaabonyezebwe, balibatta (ky'ekyo): nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange. Era bwe... Mu biro ebyo bangi abaliwannganayo... bangi abalyesittala, baliwannganayo, balikyawagana. Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, era... balikyamya bangi. Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola.
Naye oyo a... agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa. Kaakati, tuli ku Kabonero akookutaano kati. Era olwo lwe lunaku lwa jjo, mulaba. “Balibawaayo, baliwannganayo,” n'ebirala.Kaakati, wekkaanye, wano ku kabonero Akoomukaaga; 6:9 okutuuka ku 11. Kati, leka kino tukifune Okubikkulirwa 6:9 okutuuka ku 11.
Bwe yabembula Akabonero Akookutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina: Ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, Olituusa wa... Mukama, omutukuvu... ow'amazima, ggwe o... obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi? Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa, okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe,... lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.Kati, mulaba, mu Kabonero Akookutaano, tusangawo - tusangawo okuttibwa. Era ne mu 24:9 wano, tu... okutuuka ku 13, tulaba nti nawo kwali kuttibwa nga balangibwa erinnya lye. “Balibawaayo, era balibatta,” n'ebirala. Mulaba, Akabonero ke kamu nga kabikkulwa. Kati, mu Kabonero Akoomukaaga, ke tugendako kati, Matayo 24:29 ne 30. 24, kati tugende ku lwa 29 ne - ne 30. Ky'ekyo. Kati, tujja kugenda kati, era, ne mu Okubikkulirwa 6:12 okutuuka 17. Ekyo kyennyini kye twakamala okusomawo. Kati, muwulirize kino, kati, Yesu kye Yayogera mu Matayo... 29, 24:29 ne 30.
Naye amangu ago oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo... [Ekiki? E... ekibonyoobonyo kino, ekibonyoobonyo ekitono ekisookawo kye baayitamu wano, olaba...] enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi aga... mu ggulu galinyeenyezebwa: Awo we kalirabika akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: n'ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'Omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene.Kati, musome nate mu Okubikkulirwa kati, a - Akabonero Akoomukaaga, kennyini ke tuliko kati.
Bwe yabembula akabonero akoomukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano ekinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye (olaba?) olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi; N'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, bwe gu... gunyeenyezebwa empewo ennyingi. N'eggulu ne liggibwawo ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga... biggibwawo mu bifo byabyo. Ne bakabaka b'ensi n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'abaamaanyi, na buli muddu,... ow'eddembe, ne beekweka mu mpuku... mu mayinja ag'oku nsozi. Ne bagamba ensozi n'amayinja nti, Mutugweko, mutukise amaaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu... mu busungu bw'Omwana gw'endiga: Kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse;... ani ayinza okuyimirirawo?Kikwataganira ddala, ddayo obikkulire ddala, olabe Yesu kye Yayogera wano kati mu Matayo 24:29. Wuliriza. “Oluvannyuma,” lwa bino ebya Eichman n'abalala.
Naye amangu ago oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erifuuka ekizikiza, . . . omwezi tegu... tegulyolesa musana gwagwo,... emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu,... amaanyi aga... mu ggulu galinyeenyezebwa: Kati mwekkaanye. Awo we kalirabikira akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: era baliraba, era ba... olwo ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'Omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene Era... alituma bamalayika be, n'ebirala, era ne... eddobozi ddene ery'ekkondeere, ne... nabo balikunngaanya abalonde be... empewo ennya,... okubakunngaanya wamu.Mulaba, bikwataganira ddala, ng'ogeraageranyizza n'ebyo Yesu bye Yayogera mu Matayo 24, n'ebyo Omubikkuzi bye yabikkula wano mu Kabonero Akoomukaaga, by'ebyo byennyini. Yesu Yali Ayogera ku kiseera kya kibonyoobonyo. [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti emirundi esatu - Omuk.] Mukiraba? Okusooka, baamubuuza ddi ebintu bino we biribeererawo, yeekaalu lw'eriggibwawo. Ekyo Yakyanukula. Ekyaddako kye bamubuuza, ddi ekiseera lwe kirituuka . . . Ekiseera eky'okuttibwa okulangibwa Erinnya Lye. Era ne kino lwe kiribeerawo, omulabe wa Kristo bw'aligolokoka; era omulabe wa Kristo w'aliggirawo yeekaalu.
-----
Kati, njagala mwetegereze. Yesu... Kati, ku lunaku lw'enkya, ku Kino, Yesu okuyigiriza ku Kabonero Akoomusanvu Yakubuuka. Wano tekuliimu. Mwekkaanye, kati agenda mu maaso na ngero, oluvannyuma lw'ebyo. Ne Yokaana Akabonero Akoomusanvu yakabuuka. Akoomusanvu, akasembayo, Akabonero Akoomusanvu, akagenda okuba ekintu ekikulu. N'okuwandiikibwa tekaawandiikibwa, olaba. Bombi, Akoomusanvu baakabuuka. Kati Omubikkuzi, Katonda bwe Yagamba bugambi ne... Yokaana yagamba, “Ne wabaawo akasiriikiriro mu Ggulu.” Yesu teyakoogerako kigambo na kimu. Kati mwetegereze, tuddeyo ku lunyiriri olwe 12, weetegereze, tewali Kiramu. Olwo lwe lunyiriri olwe 12, nga tutandika ku Kabonero kaffe, okukalaba nga kabembulwa. Tewali Nsolo, wadde, Ekiramu ekiragibwa wano, nga, bwe gwali mu Kabonero Akookutaano. Lwaki? Kino kyabaawo, ku luuyi luli mu mulembe gw'Enjiri, mu kiseera ky'Ekibonyoonyo.Soma akawunti mu...
Akabonero Akoomukaaga.