Olunaku Olwo Ku Kalivaaliyo.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Olunaku Olwo Ku Kalivaaliyo.


William Branham.
 

Soma akawunti mu...
Olunaku Olwo Ku Kalivaaliyo.

Lukka 23:33,
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa kiwanga, ne bamukomererera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ogwa ddyo n'omulala ku gwa kkono.

Lwe lumu ku nnaku ezisinga obukulu mu ezo zonna Katonda ze yali akeesezza ku nsi kuno. Kati bwe luba lukulu bwe lutyo eri olulyo lw'omuntu- Kalivaaliyo- Ndowoozanga kirungi gye tuli okuddayo ne twekenneenya tulabe kiki ky'ategeeza gye tuli. Kubanga ndi mukakafu nti mussaawa eno eweddeyo mwetuli, tunoonya buli nsonga ya Katonda ey'omugaso gye tumanyi; era yonna gye tusobola okuzuula, tuli beetegefu okugiyiga. Okulaba ky'eri ku lwaffe, era na kiki Katonda ky'atuledde, n'okulaba kiki kye yasuubiza okutukolera. Era ekyo kye kituleeta ku kkanisa.

Eyo y'ensoga lwaki omubuulizi abuulira. Y'ensonga lwaki asoma n'afumiitiriza ku Kyawandiikibwa ng'anoonya okulunngamizibwa, lwa nsonga nti abeera mukozi eri abantu ba Katonda, era aba agezaako okunoonya ekintu ekiyinza... nti Katonda kye yandyogedde eri abantu be, ekintu ekyandibayambye. Oba oli awo kiyinza okuba nga kibanenya bibi byabwe; naye nga kiyinza kuba kya kubayamba kubayimusa, basobole okuleka ebibi byabwe, olwo bagolokoke baweereze Mukama. Era abaweereza balina okunoonya ebintu bino.

Olunaku luno bwe luba olukulu ennyo, olumu kunnaku ezisingayo obukulu, ka tutunuulire ebintu bisatu eby'enjawulo olunaku luno bye lutegeeza gye tuli. Twanditutte bikumi na bikumi. Naye enkya ya leero nnonzeeyo bulonzi ebintu ebikulu bisatu eby'enjawulo bye twagala okutunuuliramu kaseera katono akagenda okuddako, Kalivaaliyo ky'ategeeza gye tuli. Eransaba nnumirize buli mwonoonyi ali wano, ndeetere buli mutukuvu okukka kumaviivi ge, ndeetere buli muntu mulwadde okuyimusa okukkiriza kwe eri Katondaera ave wano agende ng'awonye, buli mwonoonyi alokoke, buli eyadda ennyumaakomewo era awulire ensonyi, na buli mutukuvu asanyuke era afune okusuubiraokuggya-okusuubira okuggya.

Ekintu ekimu ekikulu ennyo Kalivaaliyo ky'etegeezagye tuli era n'eri ensi, kwe kuba nti yasirisiza ddala ekibuuzo ky'ekibi ebbanga lyonna. Omuntu yasangibwa n'omusango gw'ekibi, era ng'ekibi kyaliko ekibonerezo omuntu yenna kye yali tasobola kusasula. Ekibonerezo kyali kinene nnyo okutuusanga tewali muntu n'omu eyali asobola okukisasula. Nzikiriza nti Katonda yakitegeka bw'atyo-ekibonerezo okubeera ekinene ennyo nga tewali muntu asobola kukisasula-asobole okukisasula ye kennyini!

Kati, ekibonerezo eri ekibi kwali kufa. Twali twazaalirwa mu kibi, ne tukulira mu kwonoona, ne tujja mu nsi nga twogera bulimba. N'olw'ekyo, tewaaliwo n'omu ku ffe eyali asaanira, oba okusanga omuyekka bw'ati ku nsi eyali asaanira. Kati ekibi tekyatandikira ku nsi. Ekibi kyatandikira mu ggulu. Lusofeeri, setaani,ky'ekitonde ekyazza omusango gw'obujeemu nga tannaba na kwetonnya ku nsi. Ekibikyatandikira mu ggulu, Katonda we yateekera bamalayika na buli kimu kussa lyelimu kwe yateeka omuntu. Amagezi. Omuti oguleeta amagezi... omuti ogw'obulamu n'omuti oguleeta amagezi, omuntu we yali ow'okwesalirawo. Kati Lusofeeri bwe yaweebwa enkizo okwesalirawo, yayagala ekintu ekirungi ekisingaku ekyo Katonda kye yalina. Ekyo kye kyatandika omutawaana.

Kale kyali kyetaagisaawo omutango olw'ekibi. Omutango kwali kufa. Okufa kye kyali ekibonerezo. Kati ekyo... kino twandikigenzeeko mu bujjuvu, kubanga sirina kufa kulala kwonna kwe mmanyi okuggyako kuno. Waliwo obulamu bwa mulundi gumu.Nzikiriza nti omuntu alina obulamu obutaggwaawo tasobola kufa, era nzikirizanti waliwo okuzikiririza ddala okw'emmeeme eyonoona. Kubanga Bayibuli yagamba,“Emmeeme eyonoona, mazima ddala erifa”-si muntu, emmeme eyonoona. N'olw'ekyo Setaani mazima ddala ateekwa kufa, okuzikiririzibwa ddala. Olaba bwesikkiriziganyiza ddala n'aba Universalists abagamba nti Setaani alirokolebwa! Yayonoona. Era ye ye mutandisi w'ekibi. Emmeeme ye yayonoona, ate nga gwali mwoyo. Omwoyo ogwo guteekwa buteekwa kuzikiririzibwa ddala obutabaawo kantu konna kasigalawo.

Era mu lubereberye ekibi bwe kyakuba ensi nga kiringa ekibembe ky'ekizikiza ekigwa okuva mu ggulu, awatali kuwannaanya kyasannyalaza ensi. Kyasuula buli kitonde ekiri ku nsi, n'obutonde bwa Katonda bwonna, mu busibe. Omuntu yali mu busibe obw'okufa, endwadde, emitawaana,n'ennaku. Obutonde bwonna bwakigwamu. Ekibi kyali kisannyalaza era ddala kyasannyalaliza ddala ensi! Era bwe tutyo bwe twali, nga tetulina ssuubi,kubanga kyafuga buli kitonde ekyali ku nsi, ne kifuga buli eyazaalibwa ku nsi. N'olw'ekyo essuubi lyali lirina kuva mu kifo awataali kibi. Lyali teriyinzakuva ku nsi. Omu ku ffe ngatasobola kubaako gw'anunula. Kyalina kuva walala. N'olw'ekyo, omuntu bweyategeera nti ayawuddwa okuva ku Katonda we, yatandika okubungeeta. Baasinda,baakaba, ne babonaabona, ne babungeetera eyo mu nsozi, era ne mu malugu, nga banoonya ekibuga ng'omukozi era omuzimbi waakyo ye Katonda. Kubanga yamanya ntisinga yali asobola okuddayo mu kubeerawo kwa Katonda, yandibadde ensonga eyoagyogerako naye. Wabula ekkubo erimuzzaayo teryaliwo. Bw'atyo n'abula, ngatamanyi kkubo lya kukwata. Bw'atyo n'asigaliza kubungeeta, ng'agezaako okubaako awantu wonna w'azuula awayinza okuba ekkubo eriyinza okumuzzaayo mu kifo ekyo! Ekintu kyalinga kimugamba muli munda ye nti yava mu kifo ekyali kituukiridde.

Tewali muntu yenna mu kibiina kino enkya ya leero, oba eri ekibiina ekiri ku lutambi mu nsi yonna gye luliraga, tewali muntu yenna wano oba awalala wonna, atanoonya kituukiridde. Ekikusasuza amabanja go, kwe kulowooza nti onootereera. Bw'osasula amabanja go, ate olwo ne wabaawo alwadde mu maka. Obulwadde bwe buwona, ate olwo n'oba n'amabanja agawerako g'olina okusasula. Ekintu ky'olina okusooka okumanya, nti enviiri zo zifuuka envi, kati olwo n'oba ng'ate oyagalakudda buto. Bwe kityo lubeerera wabaawo ekintu, ekitakyuka, olw'ejjengo ly'ekibi. Naye mu mutima gwo, olw'okubeera nti oliko ky'onoonya, kiraga nti waliwo ekintu ekituukiridde awantu awamu. Awantu awamu ekintu gye kiri.
-----

Ku nkomerero olunaku lumu-lw'elunaku olwa Kalivaaliyo-ne wabaawo omu eyakka okuva mu kitiibwa, Oyo ng'ayitibwa Yesu Kristo Omwana wa Katonda, eyava mu kitiibwa, bwekityo Kalivaaliyo n'atandika. Olwo lwe lwali olunaku omuwendo lwe gwasasulwa,n'ebbanja ku kibi lwe kyayanukulirwa ddala, n'aggulawo ekkubo erituyingiza mu kintu kino kyennyini kye twali tuyaayaanira nga tuwammanta. Yaleetawo ekifo wetumatirira. Tewali muntu n'omu yali akyalidde Kalivaaliyo n'alabanga bwe yali, n'asigala kye kimu. Buli kintu kye yali yeegombye oba kye yali anoonyezza akituukako bw'atuuka mu kifo ekyo. Lwali lunaku lwa njawulo, eran'ekintu eky'enjawulo ng'ekyo, ekyanyeenya ensi! Kyanyeenya ensi mu ngeri eringa gye kitaginyeenyangako.

Yesu bwe yafa kuKalivaaliyo n'asasula ebbanja ly'ekibi, ensi eno ey'ekibi yakwata ekizikiza! Enjuba yagolooba mu ttuntu. Yafuna okusannyalala, enjazi ne zinyeenya, ensozi ne ziyulika, n'abafu ne bawaguza okuva mu ntaana. Kiki kye yakola? Katonda yaliku kaweefube e Kalivaaliyo. Ensolo eyo eyitibwa Setaani yagitema olubale olutaggwaawo. Okuva olwo nakati abadde wa bulabe nnyo, kubanga ky'aleeta omusana eri olulyo lw'omuntu; eraomuntu yenna amanyi nti ensolo etemeddwako ekiwundu eba ya bulabe nnyo... ngayeekuteerera awo n'omugongo gwayo ogumenyese. Kaakati, Setaani yakubibwa tonziriranga e Kalivaaliyo. Ensi n'ekikakasa nti bwe gwali.Omulangira ow'ekitalo oyo omusasuzi, era nga ye yekka eyali ayinza okusasula,yajja n'akikolera e Kalivaaliyo. Eyo omuwendo omunene ennyo gye gwasasulirwa. Ekyo kye kimu ku bintu ebyo.

Katonda yali akyetaaga. Tewaaliwo muntu asaanira, tewaaliwo muntu ayinza, tewaaliwo muntu yali asobola kukikola. Kati Katonda n'ajja yennyini n'afuuka omuntu, n'abeera n'obulamu ng'obw'omuntu n'okwegomba kw'omuntu, bw'atyo n'akomerererwa e Kalivaaliyo. Era awo, Setaani we yalowooleza nti Katonda yali tasobola kukikola, tasobola kubeera mu ebyo-yagenda e Gesusemane n'ayita mu buli kikemo omuntu yenna kye yali abadde nakyo. Yabiyitamu byonna era ng'omutu yenna bwe yaalibadde; wabula gwo omuwendo yagusasula! Era ekyo kye kyakwasa ensi ekizikiza. Era ng'eddagala erisannyalaza abagenda okulongosebwa. Omusawo bw'awa omuntu eddagala erisannyalaza... asooka n'amukonkonamu nga tannakikola. Ne Katonda bw'abaagenda okulongoosa ekkanisa, ensi efuna eddagala erisannyalaza. Ensi yafunna enkyukakyuka. Eyo y'ensonga lwaki, Katonda, ng'ali mu mubiri, yafa. Eyo ye yali essaawa ensi gye yalinga enoonya, so nga ate bangi abataagimanya.Nga bwe kiri leero, bangi abanoonya ebintu bino, naye nga tebabitegeera. Tebategeera kkubo linaabayamba. Bakyagezaako okunoonya amasanyu n'ebintu by'ensi, nga bagezaako okunoonya ekkubo.

Obupande bungi obwasonga nga ku lunaku olwo-eby'okululanga ebikulu bingi nnyo. Lwalangibwanga okuyita mu mwana gw'endiga, okuyita mu nte ennume, okuyita mu kaamukuukulu, n'ebirala bingi;naye era tebyasobola kukikutula. Tebyasobola kukutula kikoligo kya kufa ekyo!Kubanga ensi Setaani ye yagirina. Enjazi zennyini ze yatambulirangako eno n'eriku nsi, ejjinja ly'ekibiriiti eryokya-Lusofeeri ye yali omwana ow'enkya erayatambuliranga ku nsi kuno bwe yalinga ng'eyokya ng'olunyata-enjazi ezo ezaali zaawola, Yesu bwe yafa e Kalivaaliyo, zaafubutukayo mu ttaka. Omutango gwasasulwa, n'ekikoligo kya Setaani eky'obuddu kyakutulwa

Katonda yakomyawo mu mikono gy'omuntu ekkubo lye yanoonyanga. Nga takyetaaga kukaaba nate. Bwe yakutula enkizi ya Setaani e Kalivaaliyo-enkizi ey'ekibi, ey'obulwadde-era ne kireetera buli muntu ku nsi okukomawo mu kubeerawo kwa Katonda ng'ebibi bisonyiyiddwa. Aleruuya! Ebibi byaffe bisonyiyiddwa! Setaani takyayinza kutubuutikira butalaba Katonda! Waliwo oluguudo olwakolebwa, waliwo essimu eyassibwawo, waliwo omukutu ogutuyunga mu kitiibwa. Kireetera buli muntu okufuna omukutu ogwo.Omuntu bw'aba ajjudde ekibi, ayungirwa ddala ku nsibuko. Era asobola okusonyiyibwa ekibi ekyo! Si ekyo kyokka, naye omutango gw'ekibi ekyo gwasasulwa! Tolina kudda awo n'ogamba, “Sisaanidde.” Ddala tosaanidde. Era tolisaanira. Naye Oli eyasaanira yatwala ekifo kyo! Oli waddembe! Tokyetaaga kubungeeta n'akatono. Tokyetaaga kuddayo kubeera muntuanoonya ssanyu wano ku nsi. Kuba:

Waliwo ensuloejjudde omusaayi,
Nga guva mu misuwagya Emanueli;
Ng'aboononyibennyikamu,
Ne batukulira ddala.

Tolina kubula. “Waliyo oluguudo, era n'ekkubo,era liyitibwa ekkubo ery'obutuukirivu; abatali balongoofu tebaliriyitamu.” Kubaosooka kuyita mu nsulo eri; olwo n'oyigira mu luguudo.

Yamenya amaanyi ga Setaani. Enzigi z'ekkomera ery'emagombe yaziggula, na buli muntu eyali aggaliddwa mu nsi muno-mu makomera-ng'atya nti bw'aliba afudde, oba okufa kulimuyisa kutya... eKalivaaliyo enzigi z'amakomera ezo zonna yaziggula n'afulumya abawambe bonnanga ba ddembe. Tekikyakwetaagisa kuddamu kutaagulwa kibi. Tekikyakwetaagisa kutwala banno mu kibi, mu butamiivu, okufuuweeta ssigala, okukuba zzaala,n'okulimba. Osobola okubeera omwesigwa, omwenkanya, era omwesimbu; nga Setaani talina ky'asobola kukikolako, kubanga oyungiddwa kumukutu! Omukutu ogw'obulamu ogwasimbwa mu lwazi olw'edda n'edda. Tewali kisobola ku kuggyayo. Tewali muyaga gusobola ku kuggyayo. Tewali kintu kyonna,ka kubeere kufa kwennyini, tekusobola kutuggya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu.

Ekyo Kalivaaliyo ky'ategeeza. Abantu abaali mu busibe baateebwa. Abantu abaatyanga okufa tebakyatya kufa. Omuntu eyanoonyanga ekibuga ekyakolebwa ne kizimbibwa Katonda,asobola okwessa mu luguudo, n'ayolekera eggulu, kubanga kati wa ddembe.Aleruuya, yanunulwa! Takyetaaga kubungeeta nate, kubanga kati waliwo engeriy'okumanyaamu nti oli mutuufu oba oli mukyamu. Katonda atuwadde obulamu. Ebibi byaffe byaggwa. Olunaku olwo ku Kalivaaliyo lwasasula omutango. Bwe tulaba ebyo byonna, n'omuyiiya kye yava awandiika nti: Wakati munjazi nga ziyulika n'eggulu eriddugadde, Omulokozi wange yakutamya Omutwe gwe n'Afa. Eggigi eryeggula lyatulaga ekkubo Eritutwala mu ssanyu ly'eggulu era obudde gye butaziba. Ibulayimu tekyamwetaagisa kubungeeta nate kumalako nsi ng'anoonya ekibuga. Omwonoonyi tekikyamwetaagisa kubungeeta nate nti oba anaasobola okulokoka oba nedda. Omulwadde
-----

Ekisooka, tulina okunoonya olunaku olwo kye lwategeeza. Ekyokubiri, tulina okulaba olunku olwokye lutukoledde, kye lwatukolera. Kati ekyokusatu, leka tutunuulire kiki kyetuteekeddwa okukolera olunaku olwo, kiki kye tuteekeddwa okukola. Ekisooka, tulina okulutunulamu, kuba lwe lunaku olw'ekitalo-olusinga ennaku zonna. Omutango gw'ekibi gwaggwa. Amaanyi ga Setaani gaamenyebwa. Era kati naffe twagala okulaba kiki kye tuteekeddwa okukola ku lw'ekyo.Kati, ku ludda olulala, Yesu bwe yafa e Kalivaaliyo,ku Kalivaaliyo ku lunaku olwo, Teyasasula mutango gwa bibi byaffe kyokka, nayeera yasasula omutango n'ateekawo n'ekkubo mwe tusobolera okumugoberera. Kubangaffe, nga ba Adamu abaagwa era kati abanunuddwa.... Nga Adamu eyakulemberwa Omwoyo-Adamu eyasooka-ng'akulemberwa Omwoyo, yalina obuyinza ku butonde bwonna,olwo ffe-Adamu owookubiri, oba, omuntu ow'ettaka-yanunulwa Kristo okuva kulunaku lwa Kalivaaliyo, era asobola okumugoberera.

Soma akawunti mu...
Olunaku Olwo Ku Kalivaaliyo.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.

2.Abakkolinso 5:17


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Chapter 9
- The Third Pull

(PDF Olungereeza)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

“Sisaanidde.”
Ddala tosaanidde.
Era tolisaanira.
Naye Oli
eyasaanira yatwala
ekifo kyo!



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.