Okubatiza ku mazzi.


  Series - Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.

Nzikiriza nti kyetaagisiza ddala kubikkulirwa okuva eri Omwoyo Ornutukuvu okulaba amazima agakwata ku bulamba bwa Katonda mu nnaku zino mwe tutambulira mu kukyamizibwa okungi okw'Ebyawandiikibwa. Naye yo ekkanisa empanguzi, ezimbiddwa ku kubikkulirwa kale tuyinza okusuubira Katonda okutubikkulira amazima Ge.

Wabula, mu butuufu ddala teweetaaga kubikkulirwa ku kubatizibwa kw'omu mazzi. Kiikyo awo kiri ddala mu maaso go. Kyandisobose wadde eddakiika emu abatume okukyamizibwa okuva ku kiragiro kya Mukama ne babatiza mu Linnya lya Kitaffe, n'Omwana Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo n'Omwoyo Ornutukuvu n'Abasanga mu bujeemu obugenderere? Baamanya lyali Linnya ki, era tewali wantu wonna mu Byawandiikibwa we baabatiza mu ngeri endala okuggyako mu Linnya lya Mukama Yesu Kristo.

Endowooza eya bulijjo yandikubuulidde nti Ekitabo ky'Ebikolwa kiraga ekkanisa ng'eteeka ebintu mu nkola, kale oba eyo y'engeri gye baabatizaamu ekyo kitegeeza nti y'engeri okubatiza gye kuteekwa okukolebwamu. Kati oba olowooza nti ekyo kikalubo ate kino kyo okirowoozaako ki? Omuntu yenna ataabatizibwa mu Linnya lya Mukama Yesu yalina okuddamu okubatizibwa.

Bikolwa 19:1-6,
“Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso Pawulo ng'ayise ku njuuyi eza waggulu n'atuuka mu Efeso: n'asanga abayigirizwa abamu n'abagamba Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu okuva lwe mwakkiriza? Ne bamugamba nti Nedda, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliyo Omwoyo Omutukuvu. N'abagamba nti kale mwabatizibwa kuyingira mu ki? Ne bagamba nti mu kubatizibwa kwa Yokaana. Pawulo n'ayogera nti Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja ennyuma we, ye Yesu. Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu Linnya lya Mukama waffe Yesu. Pawulo bwe yabassaako emikono Omwoyo Omutukuvu n'Ajja ku bo ne boogera ennimi ne balagula.”

Bwe kityo bwe kiri. Abantu bano abalungi mu Efeso baawulira ku Masiya Eyali Ajja. Yokaana yali amubabuuliddeko. Baali babatiziddwa mu kwenenya kw'ebibi nga BEETEGEKA okukkiriza Yesu. Naye kati kye kyali ekiseera okutunula EMABEGA babatizibwe eri OKUSONYIYIBWA ebibi. Ekiseera kyali kituuse okufuna Omwoyo Omutukuvu. Era bwe baabatizibwa mu Linnya lya Mukama Yesu Kristo, Pawulo n'abateekako emikono Omwoyo Omutukuvu n'Abakkako.

Oh, abalungi abo mu Efeso nga baali ba kitalo: era oba waaliwo abaalina eddembe okuwulira nti batebenkedde baali abo. Laba we baali batuuse. Baava wala ne batuuka ne ku kukkiriza Masiya Ajja. Baali bamwetegekedde. Naye ate tolaba nga wadde baali batuuse eyo naye ate baali bamusubiddwa? Yali azze n'okugenda n'agenda. Kyali kibeetaagisa okubatizibwa mu Linnya lya Yesu Kristo. Baali beetaaga okujjuzibwa n'Omwoyo Omutukuvu. Bw'oba obatiziddwa mu Linnya Mukama Yesu, Katonda Ajja kukujjuza n'Omwoyo We Omutukuvu. Ekyo ky'Ekigambo.

Kye tusoma mu Bikolwa 19:6 okutuukirira kwakyo kwe kuli mu Bikolwa 2:38,
“Mwenenye buli muntu mu mmwe mubatizibwe mu Linnya lya Mukama Yesu Kristo okuggibwako ebibi, era munaaweebwa ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu.”

Mulabe, Pawulo yayogera ng'alungamizibwa Omwoyo Omutukuvu ekyo kyennyini Peetero kye yagamba ng'alunngamizibwa Omwoyo Omutukuvu. Era ebyayogerwa TEBISOBOKA kukyusibwa. Birina kuba bye bimu okuva ku Pentekote okutuuka ng'omulonde asembayo abatiziddwa.

Abaggalatiya 1:8,
“Naye oba ffe oba Malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twabuulira, akolimirwenga.”

Kati abamu ku mmwe aba Oneness mubatiza mu ngeri nkyamu. Mubatiza okubatiza okw'okukyusa omuntu nga gy'obeera nti okunnyikibwa mu mazzi kwe kwabalokola. Okukyusibwa tekujja n'amazzi; mulimu gwa Mwoyo. Omusajja Omwoyo Omutukuvu gwe yayisaamu ekiragiro, “Mwenenye era mubatizibwe buli omu mu Linnya lya Mukama,” teyagamba nti amazzi gakyusa. Yagamba nti bwali bukakafu oba kabonero ka kuba “okuddamu omwoyo omulungi eri Katonda.” Kyali ekyo kyokka.

1 Peetero 3:21,
“Era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima kwe kubatizibwa, (si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda), olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo.”
Nkikkiriza.

Bwe waba nga waliwo alina endowooza enkyamu nti ebyafaayo bisobola okutuwa obukakafu nti okubatiza mu mazzi kwali mu ngeri ndala etali mu Linnya lya Yesu Kristo, nkuwa amagezi okwesomera ebyafaayo ggwe wennyini olabe. Kino wammannga ky'ekiwandiiko ekituufu ekikwata ku kubatza okwaliwo mu Roma A.D. 100, era byakubibwa nate ne mu katabo ka Time Magazine, akaafuluma nga 5 December 1955.

“Omudinkoni yawanika omukono gwe, Publius Decius n'ayita mu mulyango gw'ebbatirizo. Marcus Vasca omutunzi w'embaawo n'ayimirira mu kidiba ng'amazzi gamukoma mu kiwato. Yamwenyaamu nga Publius ng'asenvula mu kidiba okumusemberera. N'amubuuza 'Credis' ('Okkiriza?') Publius n'addamu 'Credo' ('Nzikiriza'), 'Nzikiriza nti obulokozi bwange buva eri Yesu Kristo Eyakomererwa mu biro bya Pontiyo Piraato. Gwe nafa naye nsobole okufuna naye obulamu obutaggwaawo.' Olwo n'awulira emikono egy'amaanyi nga gimuwanirira ng'akka eky'ennyumannyuma mu kidiba, n'awulira eddoboozi lya Marcus mu kutu kwe nga ligamba - 'Nkubatiza mu Linnya lya Mukama Yesu - ng'amazzi amannyogovu bwe gamubuutikira.”

Mu biseera ebyo okutuusa amazima lwe gaabula (era tegaakomawo okutuusa mu mulembe guno ogusembayo - kino kyava mu Nikyeya ku nkomerero y'ekyasa kino) baabatizanga mu Linnya lya Mukama Yesu Kristo. Wabula kukomyewo. Setaani tayinza kukweka kubikkulirwa ng'Omwoyo Ayagala Akwanjule.

Yee, singa baali ba Katonda basatu wandibadde mutuufu okubatiza olwa Kitaffe, n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu. Naye OKUBIKKULIRWA OKWAWEEBWA YOKAANA kwali nti waliwo KATONDA OMU n'Erinnya Lye ye MUKAMA YESU KRISTO, era obatiza ku lwa Katonda OMU era Omu Yekka. Eyo y'ensonga lwaki Peetero yabatiza mu ngeri eyo ku lunaku lwa Pentekote. Yalina okuba omwesigwa eri okubikkulirwa okwali, “Leka ennyumba ya Isiraeri emanyire ddala nti KATONDA YESU Y'OMU oyo, gwe mukomeredde amufudde MUKAMA ERA KRISTO.” Wuuyo awo, “MUKAMA YESU KRISTO.”

Oba nga Yesu ye 'BYOMBI' Mukama era Kristo, olwo Ye (Yesu) era Tayinza kuba kintu kirala okuggyako “Kitaffe, Omwana n'Omwoyo Omutukuvu mu Muntu OMU eyayolesebwa mu mubiri era tayinza kubeera kintu kirala kyonna. Si ”Katonda mu baperesona abasatu tirinita ey'omukisa“ naye KATONDA OMU, OMUNTU OMU n'emitwe emikulu esatu, ne woofiisi ssatu mwayoleseza ebitiibwa ebyo. Mukiwulire nate. Yesu y'omu ono ye ”BYOMBI Mukama era Kristo.“ Mukama (Kitaffe) era Kristo (Omwoyo Omutukuvu) ye Yesu, kubanga ye (Yesu) ye BYOMBI ebyo (Mukama era Kristo).

Ekyo oba tekitulaga kubikkulirwa okutuufu okw'Obulamba bwa Katonda, tewali kirala kirisobola. Mukama SI mulala; Kristo Si mulala. Yesu ono ye Mukama Yesu Kristo - KATONDA OMU. Lumu Firipo yagamba Yesu, “Mukama tulage Kitaffe kinaatumala. Yesu n'Amugamba bukya mbeera naawe tontegeeranga? Oyo alabye Nze aba alabye Kitange, kale lwaki ogamba nti Tulage Kitaffe? Nze ne Kitaffe tuli Omu.”

----
Toyinza kuddira Katonda n'omuteeka mu bantu (baperesona) basatu oba mu bitundu bisatu. Toyinza kugamba Muyudaaya nti waliwo Kitaffe ne wabaawo Omwana ate ne wabaawo Omwoyo Omutukuw. Ajja kukubuulirirawo wa ekyo gye kyava. Abayudaaya bamanyi nti enzikiriza eno yasibuka mu Lukiiko lwe Nikyeya (Nicene Council). Kye bava batusekerera nti tuli bakaafiiri.

Twogera ku Katonda Atakyuka. Abayudaaya nabo ekyo kye bakkiriza. Wabula yo ekkanisa yakyusa Katonda waayo okuva ku Omu n'emufuulamu BASATU. Naye omusana gukomawo akawungeezi. Nga kikyamula okulaba nti amazima gano gajjidde mu kiseera Abayudaaya nga baddayo mu nsi Entukuvu. Katonda ne Kristo bali OMU. Yesu ono Ye MUKAMA ERA KRISTO. Yokaana yalina okubikkulirwa era Yesu ye Yali Okubikkulirwa, ye Yennyini yeeyanjula wano mu Byawandiikibwa - “Ndi Oyo Eyaliwo, Abaawo era Ajja okubaawo, Ayinza byonna. Amiina.”

Okubikkulirwa okwo bwe kuba nga kukusukkiridde, tunula waggulu onoonye Katonda. Eyo yokka y'engeri gy'olikufunamu. Okubikkulirwa kulina kuva wa Katonda. Tekujja mu magezi ga buntu, oba obutonde wabula Omwoyo y'Akuwa. Oyinza n'okukwata Ebyawandiikibwa mu mutwe, era wadde ekyo kya kitalo, ekyo si kye kinaakikola. Kulina kuba kubikkulirwa nga kuva wa Katonda. Ekigambo kyogera nti tewali muntu asobola kwogera nti Yesu ye Kristo awatali Mwoyo Mutukuvu. Olina okufuna Omwoyo Omutukuvu era olwo, era nga y'engeri yokka, Omwoyo n'Alyoka Akuwa okubikkulirwa nti Yesu ye Kristo: Katonda, Eyafukibwako Amafuta.

Tewali muntu amanyi bintu bya Katonda okuggyako Omwoyo wa Katonda era n'oyo Mwoyo wa Katonda gw'Abibikkulira. Twetaaga okuyita Katonda tufune okubikkulirwa okusinga ekintu ekirala kyonna mu nsi Bayibuli tugikkirizza, amazima gaayo ag'ekitalo tugakkirizza wabula tegannaba kufuuka kintu kya nnamaddala eri abasinga obungi kubanga okubikkulirwa nga kuyita mu Mwoyo tekuliiwo. Ekigambo tekinnafuulibwa kiramu. Bayibuli egamba mu 2 Bakkolinso 5:21 nti tufuuse obutuukirivu bwa Katonda okuyita mu kwegatta kwaffe ne Yesu Kristo. Mukifunye? Kigamba nti FFE BENNYINI TULI BUTUUKIRIVU BWA KATONDA olw'okubeera MU KRISTO. Kigamba nti Ye (Yesu) yafuuka ekibi ku lwaffe. Tekigamba nti yafuuka mwonoonyi, naye yafuuka KIBI ku lwaffe kale ffe okuyita mu kwegatta naye tusobole okufuuka OBUTUUKIRIVU bwa Katonda.

Kino bwe tukkiriza (nga bwe tuteekeddwa), nti ddala yatufuukira EKIBI nga yeewaayo ku lwaffe olwo tuteekwa n'okukkiriza kino nti ffe okuyita mu kwegatta naye tufuuse OBUTUUKIRIVU BWENNYINI obwa Katonda. Okugaanako ekimu n' ekirala oba okigaanye. Bw'okkirizaako ekimu n'ekirala oba okikkiriza. Kati tumanyi nti Bayibuli ekyo ky'eyogera. Tekiyinzika kusambajjibwa. Naye okubikkulirwa kwakyo kwe kutaliiwo. Si kintu kya namaddala eri abaana ba Katonda abasinga obungi. Lunyiriri lulungi bulungi mu Bayibuli. Naye kitwetaagisa lufuulibwe OLULAMU gye tuli. Ekyo kijja kwetaagisa okubikkulirwa.

Soma akawunti mu...
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Okwolesebwa okw’oku kizinga Patumo.)


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

(PDF)

Mu kusooka...

Oluvannyuma...

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.

Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya?

Peetero n'abagamba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.

Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kwa baana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.

Ebikolwa 2:36-39