Akabonero Akookubiri.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Obubonero Omusanvu series.

Embalaasi emmyufu.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akookubiri.

Era kati, leero, tuyiga ku Kabonero kano Akookubiri. Obubonero buno obuna obusooka waliwo abavuzi b'embalaasi bana. Kati mbabuulira, leero waliwo era ekintu ekyabaddewo. Era, nze - nze, ekintu kye... Nagenze ne nzigyayo empapula enkadde ku bye nnayogerako, edda, ne ntuula butuuzi awo. Muli ne ndowooza, “Weewaawo, nze - nakola kye nnali nsobola.” Era abawandiisi bangi n'ebintu... ne ndowooza, “Kale, nja kugira nga nsomako katono, nga bwe nneetegereza kino na kiri.” Kati ky'olina okusooka okumanya, waliwo ekyabaddewo, era kyonna kyawukanira ddala. Kijja mu ngeri ya njawulo. Amangu ago ne nkwatirawo ekkalaamu yange, ne ntandika okuwandiika mangu nnyo nga bwe nsobola, ng'Akyaliwo.

-----
Kati, akawungeezi ka jjo, nga bulijjo bwe twagala, okuyigiriza ku - ku Bubonero, tukiyigiriza mu ngeri y'emu nga bwe mukola ku - ku - emirembe gy'ekkanisa. Bwe twamala okuyigiriza ku mirembe gy'ekkanisa, omulundi ogwasembayo bwe nnagikuba wano ku - ku kituuti, ku lubaawo, bameka abajjukira ekyabeerawo? Yajjira ddala wano, n'Agenda ku lubaawo n'Ekitangaala, Ye Mwennyini, n'Agikuba nga ffenna tulaba, wano ku kisenge, mu maaso gaffe ffenna. Malayika wa Mukama yayimiririra ddala mu maaso g'ebikumi by'abantu. Era ne kaakano a - waliwo ekintu ekya nnamaddala ekyamagero era, ky'Akola, n'olw'ekyo tusuubira ebintu eby'ekitalo. Tetumanyi... Mwandyagadde okulindirira - okw'okwetegeka okwo, tetumanyi kiki kigenda kuddirira, nga bwe mumanyi, tu - tulindiriria bulindirizi.

Kati, Katonda nga wa kitalo gye tuli, era nga Yeewuunyisa! Tumwebaza! Kati, olunyiriri olusooka n'olwokubiri, nja kuzisoma, tusobole okufuna omusingi. ate tusome olwokusatu n'olwokuna, ezikwata ku Kabonero Akookubiri. Olwokutaano n'olwomukaaga ke Kabonero Akookusatu. Ate olwomusanvu n'olwomunaana ze... Nnyiriri bbiri bbiri ku buli muvuzi wa mbalaasi.

Era kati njagala mwekkaanye engeri abantu bano... Ku mbalaasi eno eya kyenvu, oba oli awo... Wano w'ejjira, ekyuka bukyusi nga bw'ekkirira. Era olwo, Akabonero ako ak'ekitalo akasembayo kajja kubikkulwa, Katonda ng'Ayagadde, ku lunaku lwa Sande ejja! Nti, bwe kibeerawo, ekintu kyokka ekyaddirira, “kaali kasirise mu Ggulu nga ka kitundu kya ssaawa.” Katonda Atuyambe. Era kati, ka nsome olunyiriri olwokusatu.

Bwe yabembula akabonero akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, Jjangu olabe. N'evaayo embalaasi endala... (olunyiriri olwokuna)... eyali emmyufu: n'eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi... battinngane bokka na bokka... battinngane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene.

Kati, kati kino kintu kya kyama nga e - Ekiramu kyagamba Yokaana, “Jjangu buzzi olabe.” Era teyalaba kiki kye kyali. Yalaba kabonero bubonero. Akabonero ako, ensonga lwaki ka... Yagamba, “Jjangu, olabe,” naye yalaba kabonero, ke yali alina okugeraageranya ku kkanisa, mu engeri gye baalina okuketegeerezaamu; okutuukira ddala ku mulembe ogusembayo, olwo Obubonero bubembulwe. Kati, ekyo buli muntu akitegeera, laba, Obubonero bubembulwe.

Temuli basanyufu okubeera mu nnaku zino? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.” - Omuk.] Kati, laba, si ekyo kyokka, ab'emikwano, naye bulijjo kati mujjukire, amakya ga sande eyise, ebintu byonna we twabyesigamiza, ku binyoomebwa! Olaba? Ebinyoomebwa, ebikkakkamu, nga bibaawo mu ngeri abantu gye babiyitako obuyisi nga tebamanyi na kibaddewo. Era, mujjukire, tulindirira kujja kwa Mukama, ekiseera kyonna. Era bwe tu... Nnayogera ekigambo, nti oba oli awo n'Okukwakkulibwa kuliba mu ngeri y'emu. Kuliba kumaze okubaawo, era, tewali alikutegeerako. Kulijja bwe kutyo. Olaba? Era bulijjo... Ddayo buzzi mu Bayibuli olabe engeri gye kibeeramu bwe kityo. Olaba? Kya kitalo okufaanana ng'okujja kwa Mukama Yesu, tewali yakumanyaako. Baalowooza, “Oyo, kintuntu.” Amakanisa gaagamba, “Oyo muzoole. Ffe... Mulalu yennyini.” Nti, “Mutabufu wa mutwe.” “Tumanyi nti oli mulalu.” Eddalu kitegeeza “butabufu bwa bwongo.” “Tumanyi nti olina omuzimu, era gwe gukusudde eddalu. Weepanka okutuyigiriza? So nga, wazaalibwa bweru wa bufumbo. Ffe... Ggwe wazaalibwa mu bukaba. Weepanka okuyigiriza abantu abali nga ffe, bakabona, n'abalala, aba yeekaalu?” Kale, abange, okwo kwali kubatyoboola.

Yokaana bwe yajja, nga bwe yayogerwako, mu mirembe gyonna egyali giyise, okuva ku Isaaya okutuuka ku Malaki. Gy'emyaka lukumi-mu-bibiri... Manyanga lusanvu-mu-kkumi-n'ebiri, bannabbi baali bamulabye, ng'ajja. Buli muntu yali amunoonya, ng'amusuubira ekiseera kyonna. Naye yajja bw'atyo, n'abuulira, n'akola omulimu gwe, n'agenda mu Kitiibwa. Era n'abatume tebaakimanya, kubanga baamubuuza; nga bagamba, “Kati, singa - singa Omwana w'omuntu agenda e Yerusaalemi, ebintu bino byonna, eby'okuweebwayo,” nti, “lwaki Ebyawandiikibwa bigamba nti Eriya agenda kusooka kujja'?” Yesu Yaddamu, “Yajja dda, ne mutakimanya. N'akola ebyo byennyini Ebyawandiikibwa bye byagamba nti by'alikola. Era ne bamukola ebyamwogerwako.” Mulaba? Baali tebasobola kukitegeera. N'Agamba nti, “Yali Yokaana.”

Kati, olwo, “Oh!” Laba, bo - ne bazuukuka, okukitegeera. Bo Kati era, ne ku nkomerero, ng'ebintu bino byonna biwedde a - by'Akoze, n'obubonero bw'Abalaze, Abayise n'okubayita. N'Abagamba nti, “Ani ku mmwe anvunaana ekibi, obutakkiriza?” Bwe mba nga ssikoze Byawandiikibwa kye byogera nti obuwereza bwange bwe birikola bwe ndijja ku nsi, kale mundage wa we Nnyonoonye. Mukiraba? Olwo nja - nja kubalaga kiki kye muteekwa okuba, era ka tulabe oba mukikkiriza, oba nedda.“Olaba? Yandikomyewo n'Agamba nti, mulina okukkiririza mu Nze nga Nzize.” Tebaakikola, mulaba, kale baali bamanyi ekisusse nga tebasobola kumukkiriza, ku ekyo. Naye Yabagamba, “Ani ku mmwe anvunaana obutakkiriza? Mulaba? Sikoledde ddala nga bwe kyali?”

-----
Kati, okusooka yayitibwa mulabe wa Kristo. Omutendera ogwaddako, yayitibwa nnabbi ow'obulimba, kubanga omwoyo ogwo mu bantu gwayingira mu mubiri. Mujjukira, omuvuzi w'embalaasi enjeru mu kiseera kino, bwe yatandika teyalina ngule, naye olwo na... Yaweebwa engule. Lwaki? Okusooka, gwali mwoyo gwa Nikolayiti; ne guyingira mu muntu; ne gutikkirwa engule, ne gufuna entebe ne gutikkirwa engule. Olwo n'akolera awo okumala ebbanga ggwanvu, nga bwe tunaalaba ffe... Ng'Obubonero bubembulwa. Kati olwo tukizuula, oluvannyuma lw'ebbanga eryo eddene, Setaani yagobebwa mu Ggulu. Yakka wansi, okusinziira ku Byawandiikibwa, ne yeewanngamya ku ntebe. Gwe fumiitiriza, yeetuuza ku ntebe mu muntu oyo, n'afuuka ensolo. Yalina obuyinza, obuyinza obw'oku ntikko, era bw'atyo, n'akola ebyamagero byonna na buli kimu, nti - nti, okutta kwonna n'okulwana kwonna okw'okuyiwa omusaayi na buli kimu ekya - kyonna Rooma ky'esobola okukola.

-----
Kati okubikkulirwa kwange ku ekyo kuukuno. Ono Setaani, era. Ye Setaani, nate, ng'ali mu ngeri ndala. Kati, tumanyi nti - Obubonero obwo bukwata ku... nga bwe nnagamba jjuuzi. Nti amakondeere gakwata ku - ku - ku - ntalo ez'omu bitundu, mulaba, mu bantu, oba mu mawanga. Naye wano, osanga, nti omuntu ono alina ekitala, kale akwataganako ku lutalo lw'eby'obufuzi olw'ekkanisa. Oyinza obutakitwala bw'otyo, naye kyetegerezeeko eddakiika emu, obudakiika butono. Weetegereze okukyuka kwa langi y'embalaasi zino. Omuvuzi y'omu; akyusa langi ya mbalaasi. Embalaasi nsolo. Kati ensolo, mu Bayibuli, kaba kabonero, akalaga amaanyi. Enkola y'emu nga evugira ku maanyi ga langi endala, okuva ku njeru etalina musango, okudda ku mmyufu eyiwa omusaayi. Olaba? Kati mumwekkaanye, engeri gy'ajjamu.

Bwe yali yaakatandika, yatandika, nga, kale yali njigiriza buyigiriza entono- eyabayingiramu, mu bo, eyayitibwa Obwanikolayiti. Yali tasobola na kutta kintu kyonna. Ekyo kwe Okubikkulirwa 2:6, oba mwagala okukiwandiika. Yali tasobola kutta kintu kyonna. Yali njigiriza buyigiriza, gwali mwoyo wakati mu bantu. Kati, ogwo gwali tegulina kye gusobola kutta. Oh, teyalina mutawaana, ng'ali ku mbalaasi énjeru. “Kale, mumanyi, tuyinza okuba n'ekkanisa ennene ey'ensi yonna. Tuyinza okugiyita ey'ensi yonna.” Bakyakikola. Kale. Olaba? Kati, “Twandibadde na...” Oh, teyalina kabi konna. Kati, oh, mazima teyalina ddala kabi. “Kibiina bubiina eky'abantu. Fenna tujja kusisinkana tukunngaanire wamu.” Mulaba, mu kino temuli kabi; kitukula, yali mbalaasi njeru. Mulaba?

-----
Mulabe. Mwetegereze. Setaani bwe... Kati, buli muntu, oyo, alaba nti Setaani afuga amaanyi gonna ag'eby'obwobufuzi by'ensi. Ekibiina kiddamu, “Amiina.” - Omuk.] Bw'Atyo bwe Yagamba Mu Matayo essuula eyookuna, mujja kukisangamu, mu lunyiriri olwomunaana. Obwakabaka bwonna bubwe. Eyo y'ensonga lwaki balwana, batabaala, batta. Kati ekyo mukijjukire. Ekyo tekyewuunyisa? Baaweebwa ekitala kino, okuttinngana. Oh, oh, oh, abange! Kati mwetegereze Kati, ekyo bwe yakikola, yali tannafuna maanyi ga bya ddiini. Naye yatandika na muzimu ogw'enjigiriza ey'obulimba. Era enjigiriza eyo yakakata. Enjigiriza eyo yayingira mu mubiri gwa nnabbi ow'obulimba. Olwo n'agendera ddala mu kifo ekituufu. Mu kiseera kino, teyagenda mu Isiraeri. Yagenda Rooma; e Nikyeya, Rooma.

Olukiiko lwatuula, ne balonda omukulu w'abalabirizi. Era olwo, mu kukola kino, baagatta wamu ekkanisa n'eggwanga. Olwo, n'asuula omutego gwe. Yavaako ku mbalaasi ye enjeru. Ne yeebagala embalaasi ye emmyufu, olwo asobole okutta buli muntu yenna atakkiriziganya naye. Ako ke Kabonero ako. Omuntu oyo y'omu! Mwekkaanye nga bwe yeeyongerayo eyo mu butakoma, ng'ali bw'atyo, olaba, ng'agatta amaanyi ge gombi wamu. Ekintu kye kimu ekyo kye bagezaako okukola kaakati, ekintu kye kimu.

-----
Kati, kati jjukira, alina ekitala. Agenda mu maaso, n'ekitala mu mukono gwe; ng'avuga, embalaasi emmyufu, ng'ayita mu kuyiwa musaayi gw'abantu bonna abatakkiriziganya naye. Kati mukitegeera? [Ekibiina, “Amiina.”- Omuk.] Bameka kati abategeera amakulu g'Akabonero ako? [“Amiina.”] Kale. Kati, kiki Yesu kye Yagamba? “Abo abatta n'ekitala nabo balittibwa na kitala.” Si bwe kiri? Kale. Kale. Omuvuzi w'embalaasi ono n'abali mu bwakabaka bwe bonna abattiddwa mu mirembe gyonna, abayiye omusaayi guno gwonna ogw'abatukuvu, abajulizi bajja kuttibwa ekitala kya Yesu Kristo bw'Alijja. “Abo abakwata ekitala nabo balittibwa na kitala.” Baakozesa ekitala eky'ebikwate n'omulabe wa Kristo, ne basanjaga, obukadde n'obukadde obw'abasinza abannamaddala abatuufu, okuyita mu mirembe gyonna. Era Kristo bw'Alijja n'Ekitala, kubanga kye Kigambo Kye ekiva mu kamwa Ke, Alitta abalabe bonna abaamusooka. Ekyo mukikkiriza?

Soma akawunti mu... Akabonero Akookubiri.


  Bayibuli egamba...

Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.

Okubikkulirwa 2:10



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Mpagi y'omuliro.
-Amabegaabega

Ebimuli by’omuliro.

 

Amagaali g’Omuliro.

Eriya ng’atwalibwa
waggulu.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.