Okubeerawo kwa Katonda Obutategeerebwa.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Enkomerero y’ebiseera.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okubeerawo kwa Katonda Obutategeerebwa.

Okubeerawo Okutategeereddwa! Abantu bano bayinza kuba balowooza ki? Bulijjo Katonda kiki ky'Akozenga, bwe kityo olubeerera bwe kibaddenga buli lw'Ajja. Yesu bwe Yali wano omulundi ogwasooka, Yagamba nti, “Muyooyoota amalaalo ga bannabbi so nga mmwe mwabateekamu omwo.” Labayo, waagwawo ekintu, ne kiyita. “Katonda n'Akikweka amaaso g'abagezigezi, naye ate n'Akibikkulira abato abayinza okuyiga.” Yesu Yeebaza Kitaffe olw'okukola ekintu bwe kityo. Olaba? Kiyitira ddala ku bantu ne batakimanya.

----
Kaakati, mu nnaku za bannabbi, biki ebyaliwo? Baakola ekintu ky'ekimu. Tebaabategeera okutuusa lwe baamala okujja, nga obuweereza buwedde, ne baggyamu mu abo Abalonde, naye bwe baamala okuvaawo ne balyoka bategeera nti mu bo mwalimu nnabbi.
Yesu, Yajja ku nsi. Yali wamu ne Kitaffe, Katonda. “Nze ne Kitange Tuli omu. Kitange Abeera mu Nze. Ssi Nze Nkola emirimu, wabula Kitange. Kale bwe Ssikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza.” Kaakati, bwe wekkaanya bwe Yajja, awo nga omu-omu mu kyenda eky'ensi yonna be baamanya n'okumanya mu kiseera ekyo nti Yali wano ku nsi, so nga ate Ye Yali Omulokozi w'ensi. Naye tebaamutegeera Yali Ani, wadde ekkanisa oba omulala yenna, tebaamutegeera, ppaka lwe baamukomerera, ne bamuziika, n'Azuukira ku lunaku olw'okusatu, nga tebannategeera Yali Ani.

Kijja ne kivaawo, naye abantu ne batakitegeera ppaka nga kimaze kuvaawo, ne, balyoka, kubanga tekituukagana na bya nzikiriza zaabwe, tekituukagana na biseera bya nnaku ezo. Labayo, kye kiri, baba bali mu kisiikirize kya mulembe mulala, bulijjo.
Ensonga lwaki tebakkiriza Yesu, yali lwakubanga baali batambulira mu kisiikirize ky'Amateeka. Yesu bwe Yajja, Yali Takontana na Mateeka, wabula Yajja kutuukiriza Mateeka, kale, baali tebasobola kumukkiriza olw'okubanga Obubaka Bwe tebwali ddala nga bwe baali bayiiyizza, era mu biseera ebyo bwali buyitibwa bulombolombo. Era teyajja kusinziira ku bulombolombo bwabwe. Teyakuuma bulombolombo bwabwe. Era yabuvuunika, n'Abuyuzaayuza, n'Akola ebintu ebyali bikontana nabwo, ne balowooza n'okulowooza mbu Yali Amenya amakanisa gaabwe. Kale ne batamusembeza olw'Obubaka Bwe. Era ffenna tumanyi olwaleero nti Yajjira ddala mu layini y'obunnabbi bwa Katonda, naye mu kiseera ekyo tebaakimanya.
Era kiyinza okuddamu okubaawo nate, ne tutakimanyaako. Muli nkuba akafaananyi ssinga Alabika akawungeezi ka leero, kiba kikontanira ddala n'ebyo byonna bye tupanzepanze ku bipande byaffe, mu masomero gaffe n'ebirala. Baba batono nnyo ddala abategeera ekiba kigenda mu maaso. Yagamba nti bwe kityo bwe kiriba, nga bwe Yajja.

Kati, Yesu nga bwe Yaliwo okusinziirira ddala ku Byawandiikibwa, naye Abawandiisi n'Abafalisaayo b'omu biro ebyo tebaamutegeera. Lwaki tebaamutegeera, lwaki kyabalema? Lwakubanga bo baali bakitegedde mu ngeri ndala. Awo Yesu we Yabagambira nti, “Munoonye mu Byawandiikibwa, kubanga mu ebyo mulowooza nti mulina Obulamu Obutaggwaawo, so nga bye binjogerako.” Olaba? Kaakati Yajja kusinziirira ddala ku Byawandiikibwa. Naye bbo baali bakigedde nti Alijja, nti Masiya oboolyawo Alikola Musa bye Yakola, oba Nuuwa bye yakola, nti Alibazimbirawo eryato n'ekintu, ekirala. Wabula, ensonga lwaki Yajja mu ngeri gye Yajjamu, baali tebakitegedde; mu Byawandiikibwa n'obulombolombo bwabwe, tebaabayigiriza; n'olwekyo abantu baatabulwa nnyo ne batamanya kiki ekyali kigenda mu maaso.

Simanyi oba ekyo kiyinza okubeerawo ennaku zino? Ssimanyi oba kiba kya njawulo ku bulombolombo bwaffe bye butuyigirizza? Era kiyinza okujja ne tutamanya ppaka nga kivuddewo, nga kiwedde. Eyo y'engeri gye kigenda okujjamu.

Omanyi nti, Yokaana Omubatiza bwe yalabika, nti ekyo kyali kyalagulwa okuviira ddala mu Kitabo kya Isaaya, emyaka bikumi na bikumi? Emyaka nga lunaana, Isaaya yalagula, ndowooza nga okujja kwa Kristo tekunnabaawo. Okimanyi nti Yokaana yajjira ddala nga Isaaya bwe yagamba nti bw'Alijja, yajjira ddala mu ngeri Malaki gye yagamba gy'ajja okujjamu, wadde n'abatume tebaakitegeera? Olumu, mu Matayo 11, Yokaana yali mu kkomera; abatume, abamu ku bayigirizwa be ne bagenda okubuuza Yesu oba Ye Yali Oyo, oba-oba banoonye omulala.

Kaakati weetegereze, Yesu Teyabawa kitabo kikwata ku ngeri ki gye yali agenda kweyisaamu, yeeyise mu ngeri ki nga ali mu kkomera, oba okutambuzanga atya obulamu bwe. Yagamba nti, “Mubeerewo mwetegereze biki ebibaawo, mugende mulage Yokaana bye muba mulabye ebigenda mu maaso.” Obwo bwe bwali obukakafu nti e... Ye Yali Ekigambo ekyo.

Kale kati jjukira, Ekigambo bulijjo kijja wa nnabbi. Ffenna ekyo tukimanyi. Katonda Talina ky'Akola nga Takiraze bannabbi Be. Eyo y'ensonga lwaki Ekitabo ky'Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo bwe bulamba bwa Kristo wano mu maaso gaffe gennyini, Ekitabo. Kaakati Ajja kuba Alina okubaako gw'Atuma, oyo akakase Ekitabo ekyo, akibikkule, abembule Obubonero, n'ebirala. Naye ebikwata ku kweyongerayo okubikkulirwa kwa Kristo, kwategeerwa dda Wano wennyini. Ye bwe Bulamba bwa Kino, eky'Okubikkulirwa. Kaakati weetegereze, tekiremererwako wadde omulundi ogumu, naye Ekigambo kijja eri Nnabbi.

Laba Yokaana nga ayimiridde mu mazzi, alagula, nnabbi, nti Masiya Yali ddala wakati mu bo. Yagamba nti, “Waliwo Ayimiridde wakati mu mmwe kaakati, gwe mutamanyi; Ajja kubabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'Omuliro.” Kaakati jjukira, Yali Ayimiridde wakati mu bo, Baibuli bw'etyo bw'egamba, naye tebaakitegeera. Lwali lumu Yesu bwe Yajja nga Atambula, Yokaana yamutegeera, n'agamba nti, “Laba Akaliga ka Katonda Aggyawo ebibi by'ensi.” Kaakati weetegereze, nga Tannategeerebwa muntu yenna, Yajja eri nnabbi. Ye kye kyali Ekigambo. Yokaana Yali nnabbi.

Nzijukira omusomesa wange ow'edda Omubaputisiti, yaŋŋamba nti, “Omanyi ebyagwawo?” Nti, “Yesu Yabatiza Yokaana.”
Ne mmuddamu nti, “Ssirowooza bwe ntyo.”
N'agamba nti, “Ddala, Yokaana teyabatizibwa; yajja abuulira, ng'abatiza, tewali yali asaanidde kumubatiza. Yesu ye Yamubatiza.”
Kko nze nti, “Ssimanyi.”
Lwali lumu nga nsoma, Omwoyo Omutukuvu n'Akimbikkulira bw'Ati, labayo. Weetegereze, Yatambula n'agenda mu mazzi; yagamba nti, “Lwaki Ojja gye ndi? Nze nneetaaga Ggwe Ombatize.” Yesu Yaddamu nti, “Leka kibeere bwe kityo,” wekkaanye, “naye kigwaniddde ffe (kisaana) tutuukirize obutuukirivu bwonna.” Yokaana, nga bwe yali nnabbi, yali amanyi Ekigambo! Nga bwe Yali Ssaddaaka, Yali Ateekwa okunaazibwa nga Tannaweebwayo; awo Yabatizibwa, Yokaana n'amubatiza Ye, kubanga, “Kisaanidde ffe okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Ekigambo kyajja eri nnabbi, mu mazzi.

Awo bwe YAbatizibwa, era abantu... Omwoyo Omutukuvu Yakka, ssi buli omu nti yamulaba. Yokaana yamulaba. Malayika wa Mukama Ayinza okuba nga Ali wano akawungeezi kano, era oboolyawo omuntu omu y'amulaba, ne wataba muntu mulala yenna.

Ekitangaala ekyo, Emmunyeenye eyo eyajja we balengerera ebiri ewala, abasajja abagezigezi we-we bagirondoolera; tewaali balengera biri wala abaagimanyaako ekintu kyonna, tewali mulala yagiraba, n'akatono, okuggyako abasajja abo abagezigezi, kubanga kyali kyabwe okugiraba. Baagiraba. Yali yannamaddala gye bali.

Awo 0Ekitangaala, Empagi y'Omuliro, bwe Yakuba Pawulo n'agwa wansi, nga ali ku luguudo olugenda e Damasiko, yategeera nti yali mu mu Maaso ga Katonda. Kaakati, Omwebbulaniya oyo yandibadde tayita mwoyo mulala gwonna nti, “Mukama,” ng'oggyeeko ekyo yamanya nti Eyo ye Yali Empagi y'Omuliro eyakulembera abantu okuva mu lukoola. N'agamba nti, “Mukama, Ggwe ani?”
“Sawulo, Sawulo, ongigganyiza ki?” Yagamba nti, “Nze Yesu.”

Yesu Yagamba nti, “Nava wa Katonda, era Ndiddayo wa Katonda.” Ye Yali Omuliro ogwo ogwali mu kisaka ekyali kyaka. Ogwakulembera Musa okuyita mu lukoola, n'akomawo ku Eyo.
Era kati ali wano, ku luguudo olugenda e Damasiko. N'akubibwa n'agwa wansi. Era abantu bonna abaali naye, tebaalaba Mpagi ya Muliro eyo. So nga Yali yannamaddala eri Pawulo n'etuuka n'okumuziba amaaso, n'aba nga alina kukulemberwa bukulemberwa okugenda ku luguudo oluyitibwa Staright mu Damasiko. Yali azibye amaaso.
Ananiya, nnabbi emmanga eyo, yalaba mu kwolesebwa, n'agenda n'amuteekako emikono n'afuna Omwoyo Omutukuvu, amagalagamba ne gagwa nga gava mu maaso ge n'alyoka addamu n'alaba. Kyali kya nnamaddala gy'ali ne kituuka n'okuggyamu amaaso ge, so abalala bonna tewali yakitegeera nti kyaliwo, tebaakiraba.
Bwe kityo nno-bwe kiri akawungeezi ka leero! Waliwo omuntu atudde awo wennyini asobola okulabisa Katonda, ate omulala n'atabaako ky'akimanyaako. Okutegeera Katonda!

Yesu, bwe Yali wano ku nsi, Yali Akoledde ddala akabonero Baibuli ke yagamba nti Alikakola, naye tabaakategeera kubanga tekaali kusinziira ku bulombolombo bwabwe. Eri omulembe ogwo, teyali wa kujja kukola Musa bye yakola. Yali wa kujja Azaalibwe embeerera. Era Ye, n'okusinziira ku Kyamateeka 18:15, Yali wa kuba Nnabbi. Era ddala Yakola emirimu egyo n'obubonero obwo.
Abayudaaya bulijjo banoonyanga bubonero. Baayigirizibwa obuteesigamanga ku bigambo bya bayivu; Abayudaaya bbo ekyo baali bakimanyi bulungi. Abayonaani ekyo baakiyigirizangako. Naye ssi bigambo by'abayivu, wabula ku bubonero. “Tulage akabonero.” Abantu bano, omu yagamba nti, “Labbi, oba Omuyigiriza, Tulage akabonero.” Baali baagala kumanya. Yali Yabalaga dda akabonero, naye baayagalawo akabonero ak'enjawulo, naye Yali Asobola kukola kabonero ako kokka ak'omulembe ogwo.
Bw'Atyo bw'Akola n'olwaleero, okufukibwa kw'Omwoyo Omutukuvu kuno ke kabonero k'okulabika Kwe ne mu mulembe guno, nga bwe Yasuubiza. Baagala kabonero, naye Yali Abawadde kabonero ka mu Byawandiikibwa, naye nga bo baagala kabonero ka njawulo.

Awo bangi nnyo ennaku zino we bajja okutabulwatabulirwa. Omanyi, Okukwakkulibwa kuyinza okubaawo, gwe lowooza ku nnaku ebaawo! Leka nzireyo ku Yesu we Yajirira, manyanga...
Yokaana Yatuma abayigirizwa bokugenda okulaba Yesu, oba ye Yali Masiya oba nedda. Essaawa eyo, Yali Akoze ebintu bingi. Bwe yakomawo, abayigirizwa, okubuulira Yokaana bye baali balabye, Yesu Yabuuza abaali batudde awo, nti, “Mwagenda kulaba ki mu lukoola? Kiki kye mwagenda okulaba nga Yokaana abuulira? Mwagenda kulaba musajja ayambadde ezinekaaneka, n'ebirala, oba-oba ebyambalo ebigonda?” nti nno, “Abo babeera mu... bifo bya bakabaka. Baziika abafu, ne banywegera obwana obuto, ne bafumbiza abavubuka, n'ebirala, bwe bityo. Tebamanyi bya kukwata kitala kya bwogi bubiri.”

N'agamba nti nno, “Olwo mwagendayo kulaba ki, lumuli olunyeenyezebwa buli mpewo, omuntu, ekibiina ekimu kijja kumuwaayo ku kasente akatono agende mu kino mu kifo ky'okugenda mu kuyitibwa okwa Mukama? Ssi Yokaana! Omu yali asobola okumukyusa n'agamba, mbu, 'Tujja kukuwaayo endala bw'onaasambajja Kino otwalemu kino'? Ssi Yokaana!” Yabuuza nti, “Olwo kiki ekyabatwala okulaba, nnabbi?” N'agamba nti, “Leka Mbabuulire nti, 'Asinga ku nnabbi.' Era oba muyinza okukikkiriza, ono ye oli nnabbi gwe yayogerako nti, 'Laba, Mbatumira Omubaka Wange mu maaso Gange, Aliteekateeka ekkubo.'” Kale oyo ye yali Malaki 3, we yakikolera.

Olumu abayigirizwa baamubuuza, nti, “Lwaki Abawandiisi bagamba nti Eriya ateekwa okusooka okujja?” Yesu Yabaddamu nti nno, “Yamala dda okujja ne mutakimanya,” ne bakitegeera nti oyo yali Yokaana Omubatiza. Abatume abo abalonde era baali tebasobola kulaba yali ani. Oyo yali Eriya.
Kaakati labayo. Omanyi, O-Okujja kwa Mukama kugenda kuba kujja kwa kyama. Yagamba nti, “Wagenda kubaayo babiri mu buliri, Ntwaleko omu omulala mmuleke,” eyo we wali ekiro. “Babiri mu nnimiro, Ntwaleko omu omulala mmuleke,”
Omanyi, abantu bangi nnyo ababula buli lunaku, okuva ku maaso g'ensi, abatasoboka kumanyika. Olumu ku nnaku zino abantu bayinza okugamba nti, “Kale otegeeza ekibonyoobonyo, ky'ekintu ekitutuuseeko kaakati? Nnali mmanyi nti Ekkanisa yali ya kugenda nge ekibonyoobonyo tekinnabaawo.” Tebazuula era n'okutegeera nti Okukwakkulibwa kuyinza okubaawo ne batabaako na kye bakumanyaako; kwe kugenda kw'Ekkanisa okw'ekyama.

Era, ndowooza, abantu baligenda bugenzi mu maaso okubuulira, na bagamba nti bakkiriza nti balokoka, n'okugattako ku kkanisa, n'okuzimba amakanisa, n'okugenda mu maaso bwe batyo nga ddala bwe baakola mu nnaku za Nuuwa, n'abirala, ne batabaako kye bakumanyaako so nga Okukwakkulibwa kwaggwa dda, “kwamala dda okubaawo ne mutakumanya.” Waliwo abantu bikumi na bikumi ababula ku nsi abantu ne batabaako kye bamanya wa gye baba bagenze, tebasobola kumanya mayitire gaabwe; omuntu omu yabadde alinako w'alaga, baba tebakyaddamu kubawuliza nate. Kale okwo kwandiba Okukwakkulibwa.

Leka mbabuulire, mikwano gyange, olw'okuba tuli bammemba ba kkanisa oba ekintu bwe kityo, ekyo tekirina nnyo makulu gye tuli. Mwattu kisingako onyweeza ekyambalo ky'okulwanyisa ekyo. Kisingako otwale mu bulamba Ekigambo kya Katonda ekyo okinyweerereko, ove ku by'okweyisa bino ebya Hollywood bwe biti. Biyingiridde ddala mu kkanisa, kale biswaza. Naye ebya Hollywood bimasamasa, bimyansa n'okumyansa, era ekkanisa ennaku zino eri mu kugezaako kwegeraageranya na Hollywood. Kristo Tali mu Hollywood. Kristo Ali mu muntu kinnoomu. Hollywood amasamasa manyanga... Hollywood amyansamyansa, so nga yo Enjiri emasamasa na buwombeefu. Katonda Tali mu bifo bino ebinene eby'amatiribona eby'amaanyi bye tulaba. Ajjira mu buwombeefu, mu kifaananyi eky'obwetoowaze n'obukkakkamu, n'eyitiramu ddala.
Era oba wamanyiira Ekigambo, awo oba ojja kukiraba. Alina amaaso, okuwulira, “awulire Omwoyo ky'Agamba amakanisa,” labayo.

----
Laba ennaku ze tulimu, ebyasuubizibwa eby'ennaku zino. Tuli wa? Tweyongeddeyo waggulu. Empagi y'Omuliro Etambula, era abaana ba Isiraeri baatambulanga n'Empagi y'Omuliro oba ssi ekyo nga baddayo Misiri. Tuteekwa kutambula na Kigambo. Naye olwaleero tugenda tugayaala bugayaazi, ekkanisa egenda efuukira ddala ya nsi kale nga teyeefiirayo, kale emitima gyabwe gitabuse nnyo olwa ttivvi, era ne bino ebya Twagala Sucy n'ebimu ku bintu bino eby'edda, n'okusigalanga awaka. Ekyo kiraga wa emitima gy'abantu we giri. Naye oyinza okubagamba nti ebintu bino bikyamu, ne balowooza nti oli mulalu. Kiki? “Abaagala amasanyu okusinga Katonda.” Olaba?

Oh, essanyu erikyasinzeeyo lye mmanyi, kwe kusaba ppaka lwe ndaba nga ndi mu Maaso ga Katonda, era ne nkitegeera. Ndowooza eryo lye liteekeddwa okubeera essanyu ly'Ekkanisa, Okubeerawo kw'Omwoyo Omutukuvu; okulaba Katonda eyakola ekisuubizo nga Ayimiridde wakati mu ffe, ne tuwulira Okubeerawo Kwe n'okulaba Ekigambo Kye, n'okukiraba nga kinywezeddwa. Kiteekeddwa okutuwa okukkiriza, okutambuza abagongobavu, bamuzibe okulaba, bakiggala okuwulira, bakasiru okwogera.

Soma akawunti mu...
Okubeerawo kwa Katonda Obutategeerebwa.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.

Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye.

Yokaana 14:6-7


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Chapter 9
- The Third Pull

(PDF Olungereeza)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)
Ekitala we kyalabika.

Kano Ke Kabonero
K'enkomerero,
Ssebo?

(PDF) Olusozi Sunset.
Ekire gye kyalabika.



 


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.