Ebigenda Bibaawo nga Obunabbi Bwabirambulula.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kiseera eky’enkomerero.

Ekigambo kya Mukama kijja eri bannabbi.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Ebigenda Bibaawo nga Obunabbi Bwabirambulula.

Mmwe Abapentekoote baabagamba, emyaka amakumi ana, emyaka amakumi ataano egiyise, ba nnyammwe ne bakitammwe, bwe baali Abapentekoote abannamaddala, baafuluma ekibiina ekintu ne bakikolimira ne batambula okukivaamu: Kale ng'embwa bw'edda eri ebisesemye byayo, baakiddamu nate, ne bakola ekintu ky'ekimu ekyatta ekkanisa eyo, n'eyammwe mugisse olw'ekintu ky'ekimu. Tewali kye mpakanya ku bantu abali munda omwo, tewali kye nkirinako, z'enkola z'ebintu ze zikikola.

Era, mwetegereze, baasubwa okulaba obukakafu bw'obunnabbi obw'Ekigambo kya Katonda nga kituukiriziddwa. Bwe kiba nga bakabona abo… Baakikolera ddala mu ngeri Masiya gye yali Agenda okujjamu, baamanya kiki ekyali kigenda okutuukawo. Abafarisaayo baalina endowooza yaabwe bo, Abasaddukaayo, Abakerodiya, n'abalala, baalina ebirowoozo byabwe bo. Wabula Ye Teyajja… Yajja okukontana ku buli omu ku bo, wabula ng'Ali ddala n'Ekigambo. Yesu Yayogera ekintu ky'ekimu bwe Yali wano: “Singa mubadde muntegedde Nze, mwandiyinzizza okumanya olunaku Lwange. Singa mubadde mutegedde, nga mu… Mugamba nti, ‘Kale, Musa! Tulina Musa.’” Nti, “Lwaki, singa mwakkiriza Musa, mwandinzikirizza Nze; kubanga, yampandiikako Nze.”

Wabula, mulabe, Katonda bwe Yali Akakasiza ddala ekyo kye Yasuubiza, baakirina mu ngeri emu ey'ekitiibwa eyo Yesu gye Ali Ateekeddwa okujjamu, era e… ntegeeza Masiya. Masiya Yalina okujja eri ekibinja kyabwe oba si ekyo Teyali Masiya. Kale, kyenkana, bwe kityo bwe kiri n'olwaleero nti, “Bw'otalabira mu galubindi zange, oba tolabirako ddala.” Mulaba, kale eyo-eyo y'engeri gye kirimu. Ffe… Ago ge mazima. Ekyo tukyawa okukirowooza, wabula ge Mazima ddala.

Mu Abaebbulaniya 1:1, Katonda edda bwe Yawandiika Baibuli mu ngeri Ye gye Yeerondera. Teyagiwandiika kuyita mu bakugu mu magezi g'ekinnaddiini, oba Ye okugivvuunula okuyita mu bakugu b'amagezi g'ekinnaddiini. Tewabangawo kiseera ekyo-ekyo abakugu mu magezi g'ekinnaddiini we baali babaddeko n'okuvvuunula kw'Ekigambo kya Katonda. Okuvvuunula kujja eri nnabbi yekka. Era engeri yokka gye tugenda okuvaamu mu kavuyo kano, ye Katonda okututumira nnabi oyo, ddala, engeri yokka gye kigenda okukolebwamu. Kikkiriziddwa, ne kitunuulirwa, no-n'okutuukirira.

Mulaba, tekyawandiikibwa muntu, wabula kyawandiikibwa Katonda. Si kitabo kya muntu, si kitabo kya mukugu mu magezi g'ekinnaddiini. Kitabo kya Katonda, nga ky'Ekitabo eky'obunnabbi ekyawandiikibwa bannabbi nga kivvuunuddwa bannabbi. Baibuli egamba nti, “Ekigambo kya Mukama kijja eri bannabbi.” Ddala!

Ekyo nga kyannyonnyolwa bulungi, oba okulagibwa awo nga Yesu bwe Yajja ku nsi, ne Yokaana ye yali nnabbi w'olunaku olwo, era ya-yali alagula. Ne bagamba nti, “Oh, ky'ogamba nti Katonda agenda kuyuzaayuzaamu ebibiina byaffe eby'okwegatta wano na bino byonna ebintu? Era nga wagenda kubaawo ekiseera, awo yeekaalu zaffe we zitaasinzibwengamu?”

Yagamba nti waali wajja akaseera awo Katonda w'Ayinza okukola ssaddaaka okuva mu Mwana gw'Endiga gwa Katonda, Omuntu. N'agamba nti-nti ajja kumumanya Ye bw'Anajja. N'agamba… Yali yeekakasa nnyo obubaka bwe, yagamba nti, “Ayimiridde mu mmwe kaakano so temukimanyi.” Ali ddala mu mmwe ate nga temukimanyi.

Era olunaku lumu Yesu bwe Yatambula okwesowolayo, Yokaana n'atunula waggulu n'alaba akabonero ako waggulu We, n'agamba nti, “Laba Omwana gw'Endiga wa Katonda Aggyawo ebibi by'ensi.” Eddakiika eyo y'emu Yesu Yamanya ku olwo nti Yali Akakasiddwa mu maaso g'abantu. Kaakati, ye Yali Kigambo, ekyo tuyinza okukibuusabuusa? Baibuli egamba nti ye Yali Kigambo nti, “Ku Lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. Kigambo n'afuulibwa omubiri n'abeerako gye tuli.” Era wuuno, e… Ekigambo kiikino wano ku nsi (labayo! nga kituukiridde!) Yavaayo mu mazzi okugenda eri nnabbi.

Ekyo kituufu, Ekigambo bulijjo kijja eri nnabbi We. Kale tetuyinza kukisuubira kujja eri mukugu mu magezi g'ekinnaddiini. Tetukisuubira kujja eri ebibiina by'eddiini. Kirina kujjira mu kkubo ery'omukutu gwa Katonda ogwo gwe Yatubuulirako edda, era eyo y'engeri yokka gye kirina okujjamu. Kijja kukyayibwa, okunyomebwa, okugaanibwa. Awo bwe kijja, kijja kusuulibwa erudda, nabuli kimu, wabula Katonda Ajja kukikola mu buli ngeri. Kyagaanibwa mu Yesu Kristo, kyagaaniwba mu Yokaana, kyagaanibwa okuyita mu Yeremiya, kyagaanibwa okuyita mu Musa. Bulijjo kiri bwe kityo. Naye Katonda Yeeyongerayo mu ngeri gye Yasuubiza gy'Ajja okukikolamu. Yee, ssebo, Talemererwangako kukikola mu ngeri y'emu.

-----
Mutunule mu Baibuli, mulabe awo, mulembe ki gwe tulimu, bwe mulaba ebintu bino eby'amaanyi nga birabisibwa. Katonda nga bwe Yasuubiza okukikola, bulijjo Akikola. Era ku nkomerero ya buli mulembe ekkanisa bw'etuuka mu kifo awakyukirwa, n'ekyuka okuva ku Kigambo okudda ku kibi n'okubaamu ensi… Okubaamu ensi kibi. Baibuli egamba nti, “Bwe mwagalanga ensi oba ebintu by'ensi, okwagala kwa Katonda nga tekuli na mu mmwe.”

Ekiro ekyayise, nnabadde njogera ku-ku ssaddaaka eyaweebwayo, Omwana Gw'Endiga. Zaali za kuba ennaku musanvu, nga zikiikirira emirembe gy'amakanisa omusanvu. Tewaaliwo kusanga kizimbulukusa mu bantu, nga tewali kizimbulukusa okumala ennaku musanvu. Ekyo kitegeeza nti tewaliiwo ky'etabudde nakyo, tekiriimu kizimbulukusa, bulijjo. Era tetwagala kiyiiye kyonna, ebizimbulukusa n'ebyo ebintu nga by'etabudde naffe. Tetwagala nsi kwetabulatabula mu ffe. Erina kuba Mmere etaliimu kizimbulukusa eya Katonda, Ekigambo kya Katonda, Ekigambo kya Katonda ekitali kijungulule, ekyo nti, “Omuntu anaabanga mulamu lwa buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.”

Enkola yaffe ey'ebibiina by'eddiini, enjawukana n'ebintu, bitutaddemu ekizimbulukusa, kino na kiri n'ensi n'emisono. Era oh, tutuukidde ddala okuba nga kyenkana Hollywood eri buli wamu. Oluvannyuma kijja kutuuka okuba nga Bungereza eyo, ng'okuyita abantu okujja okulokoka nga kiswaza. Abange! Ng'owoluganda bwe yagambye nti, “Oyinza otya okuleeta eky'ennyanja mu lyato?” Bwe kiri.

Tulina okuba na kubuulira kwa Nnjiri mu bujjuvu bwakwo, n'amaanyi ga Katonda okukikakasa ekyo okusinziira ku kisuubizo eky'omulembe ogwo n'okukakasa nti okwo ddala kusiima kwa Katonda. Wabweru w'Ekyo oli bubeezi mmemba wa kkanisa, sinsonga ogezaako kyenkana wa, ogezaako okubaako omulimu gw'okolera Katonda. Oyinza okugenda ku bubagabaga oyinza okuba omwesigwa ennyo bulijjo eri ekkanisa; naye okuggyako ng'akawulungwa ako ak'Obulamu Obutaggwaawo nga kaayawulibwa okuteekebwa mu ggwe, okubeera omwana wa Katonda ow'obuwala oba ow'obulenzi, ojja kukula ng'oli kintu ekikonzibye; naye tolibeera mwana wa Katonda owannamaddala ow'obuwala oba ow'obulenzi.

-----
Mwetegereze, olwaleero tuzuula nti abantu… Waliwo abantu bangi abatasobola kukikkiriza, n'abantu abajjuziddwa Omwoyo. Ŋŋenda kukuwaayo kimu ekijja okubakolokoota. Okubatizibwa kw'Omwoyo Omutukuvu tekitegeeza nti ogenda kuyingira, yadde n'akatono, si ku ekyo, tekirina we kikwatira ku mmeeme yo. Okwo kubatizibwa, mulaba. Yiino wano emmeeme ay'omunda, wano munda, eyo erina kuva eri Katonda. Naye ate ebweru olina obusimo butaano, n'obutaano ebweru… obuyingira eri… okukwatagana n'amaka go agoku nsi. Munda, olina omwoyo, era nga munda omwo olina ebifulumya bitaano: entegeerayo, n'okwagala, n'ebirala, ebifulumya bitaano eri omwoyo ogwo. Mujjukire, mu mwoyo ogwo osobola okubatizibwa n'Omwoyo wa Katonda owannamaddala ate era n'osigala ng'obuze. Emmeeme y'ebeera ennamu, eyo eyayawulibwa Katonda.

Yesu Teyagamba nti, “Bangi balijja gye Ndi ku lunaku olwo, bagambe nti, 'Mukama, ssaagoba mizimu, ne nkola eby'amaanyi, emirimu egy'ekitalo, ne ndagula, ebirabo eby'amaanyi ebya Katonda?” N'Alyoka agamba nti, “Muve wendi, mmwe abaakola eby'obujeemu, Sibamanyangako' Bangi balijja ku lunaku olwo.”

Kayaafa teyalagula? Yali setaani. Tukizuula awo… N'abo bakabona, abo abasajja ab'amaanyi, baali bateekeddwa kuba bakulembeze ab'amaanyi mu nnaku ezo, n'obwetoowaze nabuli kimu kyonna, wabula baalemererwa okulaba Ekigambo kya Katonda kyo kyennyini nga kirabisibwa mu maaso gaabwe. Tusobola okumala gatwala ekibinja ku bo nnabawandiise wano wansi. Ate Balamu? Yali mu… Ogamba nti, “Katonda Akyusa endowooza Ye.” Takyusangako ndowooza Ye!

Awo Balamu bwe yafuluma nga nnabbi, n'akkirira wansi eyo, omulabirizi, omubuulizi, kyonna ky'oyagala okumuyita, yali musajja w'amaanyi. Naye bwe yeebuza ku Katonda ku ky'okuserengeta emmanga eyo akolimire Israeri, ekisooka yali tabaagala, kale bwe yasaba okugenda, Katonda n'Agamba nti, “Togenda!”
Awo ne batuma ab'ebitiibwa, ekibinja, abamu oboolyawo abalabirizi oba akulira aba Pulesibeteriyani, oba ekintu ekimu, wansi, n'agamba, n'obuyigirize obukirawo, okumusendasenda. Yaddayo n'asaba Katonda nate. Tolina kusaba Katonda mulundi gwa kubiri! Katonda bw'Akyogera omulundi ogusooka, ky'ekyo! Tolina kulinda kintu kyonna.

Lebbeeka teyalinda kufuna kiragiro kya kubiri. Baamubuuza, nti, “Onaagenda?”
“Leka ayanukule.”
N'agamba nti, “Nja kugenda!” Yali aluŋŋamiziddwa ddala Katonda. N'afuuka omu ku bannaabakyala ba Baibuli olw'okukolera ku ntunnunsi ez'Omwoyo wa Katonda Eyamutambulirako okufuna ago agaali amazima ddala, n'akikkiriza.

Kaakati tuzuula, Balamu, mazima, yali tayinza kulaba. Yafuluma ebweru n'atunuulira abantu, n'agamba nti, “Kaakati, akadakiika! Tuli bantu b'amaanyi engulu eno, mmwe muli kibinja ekyesuddesudde.” Mulaba? “Era ffenna-ffena tukkiriza Katonda y'Omu.”
Ekyo kituufu. Bonna bakkiriza Katonda y'Omu. Bonna basinza Yakuwa. Mutunuulire ssaddaaka ya Balamu: ebyoto musanvu, omuwendo gwa Katonda ogutuukiridde; amakanisa musanvu; mulaba; endiga ensajja musanvu, nga byogera ku kujja kwa Mukama. Mu mateeka, yali w'amateeka nga Musa bwe yali; wabula, mulaba, tewaaliwo kukakasibwa Kwabwakatonda. Munda eyo, bombiriri baali bannabbi.

Wabula wansi w'obuweereza bwa Musa, waaliwo Empagi y'Omuliro ey'Obwakatonda, Ekitangaala ekyewuubiranga ku lusiisira. Waaliwo okuwonyezebwa kw'Obwakatonda, waaliwo okuleekaana kwa Kabaka mu lusiisiira, obubonero obw'amaanyi, okuwonyezebwa kw'Obwakatonda, n'ebyewuunyo n'ebintu nga bikoleddwa mu bo. Kaali kabonero ka Katonda omulamu mu bantu Be.
Mu mateeka, bombiriri baali batuufu. Ne Balamu n'agezaako okusendasenda abantu, n'abaloga okukiyingiramu. Ddi? Nga tebannatuuka mu nsi ensuubize. Olunaku olulala oba bbiri, baali mu nsi nsuubize.

Soma akawunti mu...
Ebigenda Bibaawo nga Obunabbi Bwabirambulula.


  Bayibuli egamba...

Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi,

mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna;

Abaebbulaniya 1:1-2



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Kano ke kabonero
k’enkomerero, ssebo?

(PDF)
Olusozi Enjuba Egwa.
Ekire gye kyalabika.

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)