Katonda w'omulembe guno omubi.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kiseera eky’Enkomerero.

Ayitayo Omugole ku lwa Kristo.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Katonda w'omulembe guno omubi.

Kaakano, eky'okuyiga kyange amakya ga leero, kiri: Katonda w'Omulembe guno Omubi. Nga bwe tusomye mu Byawandiikibwa, “Lubaale w'ensi eno, omulembe guno omubi.” Kaakano, Obubaka buno buggyayo obubi obw'omulembe guno omubi, era kituukirira ddala mu bunnabbi obw'omulembe guno omubi. Kwe kukkiriza kwange nga buli... Nga Baibuli erina eky'okuddamu ekya buli mulembe, nga kyawandiikibwa mu Baibuli eri omukkiriza ow'omulembe ogwo. Nzikiriza nti buli kintu kye twetaaga, kiwandiikiddwa butereevu muno, nga kyetaaga bwetaazi okuvvunulwa n'Omwoyo Omutukuvu. Ssikkiriza ng'omuntu yenna alina olukusa okuteekkako okuvvuunula kwe ku Kigambo. Katonda tayagala muntu yenna kuvvuunula Kigambo Kye. Yagamba nti Ajja kukikola era n'Akikola.

Nga bwe njogeddenga. Yagamba nti, “Omuwala atamanyi musajja aliba olubuto,” ekyo Yakyogera okuyita mu mimwa gya nnabbi, era ne kibeerawo. Tewali muntu yenna ateekeddwa ku kivvuunula ekyo. Ku lubereberye, yagamba nti, “Leka wabeewo obutangaavu,” era nebubeerawo. Tewali muntu yenna atekeddwa ku kivvuunula. Yagamba nti, “Mu nnaku ez'oluvannyuma, Alifuka Omwoyo gwe ku bonna abalina omubiri,” era Yakikola. Teyetaaga muntu yenna kukivvuunula. Yagamba nti, “Mu nnaku ez'oluvannyuma, ebintu bino” (bye tulaba nga bituukawo) “Bijja kubeerawo wano.” Tekyetaagisa kuvvuunulwa kwonna. Kyavvuunulwa dda. Mulaba?

Kaakano, mwetegereze bulungi nnyo nga bwe tuyiga Ekigambo. Katonda w'Omulembe Guno Omubi, ogwo gwe tulimu kaakano. Kiyinza okulabika ng'ekitali kya bulijjo, ekintu ekyewuunyisa ennyo, mu mulembe guno ogw'ekisa, “Katonda mw'Atwalira abantu olw'Erinnya Lye,” Oyo nga ye Mugole We, mu mulembe guno omukyamu oguteekeddwa okuyitibwa omulembe gw'obubi. Omulembe gwennyini nga “Katonda ayita abantu olw'Erinnya Lye,” olw'ekisa, gumalirirzibwa, guyitibwa omulembe omubi. Kaakano, tugenda ku kikakasa okuyita mu Baibuli nti guno gwe mulembe gwe yali Ayogerako. Kintu ekyewuunyisa ennyo okukirowoozaako, anti mu mulembe omubi nga guno, Katonda Ajja kuba Ayitayo Omugole We.

Mwetegereze, Yagamba nti, “abantu,” so si “ekkanisa.” Lwaki? Ng'ate, eyitibwa Kkanisa, naye Ye Ajja kuyita “abantu.” Awo nno, ekkanisa libeera kuaaniro ery'abantu ab'ebikula eby'enjawulo. Naye Katonda wano Ayita omu... teyagamba nti, “Nja kuyita Abamethodist, Ababaptist, Abapentekoote.” Yagamba Ajja kuyita abantu. Ng'Abayirira ki? Erinnya Lye. Mulabeeyo, abantu; omu okuva mu Abamethodists, omu okuva mu Ababaptists, omu okuva mu Abalutheran, omu okuva mu Abakatoliki. Mulaba?

Wabula Ye Ali mukuyita, si kibiina kya kkanisa, wabula “abantu olw'Erinnya Lye,” oyo afuna Erinnya Lye, atambulira mu Linnya Lye, Agenda mu mbaga okufumbiriganwa naye, okufuuka ekitundu ku Ye, mulaba, okuyita mu kusaanyizibwa okw'edda. Ng'omusajja bw'alonda omukyala omutuufu mu bulamu, nga yayawulibwa okubeera ekitundu ky'omubiri gwe. N'olwekyo, bw'atyo, Omugole wa Kristo bw'ajja okuba, era bw'ali kaakati, okuva edda, yayawulibwa Katonda okubeera ekitundu ku mubiri ogwo. Mulaba? Oh, Ebyawandiikibwa bigagga nnyo, bijjudde omubisi gw'enjuki!

Mwetegereze, si kiki omuntu omu ky'agambye, omuntu omu ky'ayise; wabula Katonda kye Yalonda ng'emisingi gy'ensi teginnaba kubaawo, era ali mu kuyitayo abantu bano mu nnaku ez'oluvannyuma; si kibiina. “Omuntu olw'Erinnya Lye.” Era mu mulembe guno omubi mwalina okukikolera, omulembe guno gwennyini ogw'obulimba.

Wiiki eyise, mu Matayo 24, gwe gwali omulembe ogusinga okulimba mu mirembe gyonna. Emirembe gyonna egy'obulimba, okuva mu lusuku lwa Adeni, okuyitiramu ddala, tewabeerangawo mulembe gulimba nnyo ng'omulembe guno. “Bannabbi ab'obulimba balijja era bakole obubonero n'eby'ewuunyisa, oba nga kisoboka balimbe n'Abalonde.” Mulaba? Kaakano, nga mannyogovu, ag'emikolo, amakanisa ga sitakange, n'ebirala, agakoleddwa n'amagezi g'eby'eddiini, ebitasobola; Omulonde tasobola kussaayo birowoozo. Naye kiri awo nga ky'ekyaddala. Okulekayo obulesi ekigambo kimu ebweru kyokka nga ky'olina okukola. Ekyasuubizibwa ku lw'omulembe; ekiseera eky'amaanyi ennyo! Abakristaayo, buli wamu wano, mwegendereze essaawa gye tulimu! Mugirambe, era musome, era muwulirize n'obwegendereza.

Kiki Katonda kye Yandiyitidde abantu okubajja mu mulembe guno, olw'Erinnya Lye? Ensonga eri nti kugezesa, Omugole We. Kiri nti... ng'alabisiddwa, ng'agezeseddwa, ng'akakasiddwa, okukakasa eri Setaani. Nga bwe kyali ku lubereberye, bwe kityo bwe kijja okuba ne ku nkomerero.

Ng'ensigo bw'etandikira mu ttaka, n'evaayo okuyita mu bigyetikka, obulamu bwayo, naye emaliriza ekyali nsigo y'emu nga bwe yali ng'egenda mu ttaka. Era mu ngeri y'emu ensigo y'obulimba gye yagwamu mu ttaka, mu lusuku Adeni, y'engeri y'emu gy'emalirizaamu mu nnaku ezisembayo. Ng'enjiri bwe yali bwe yagwa mu kibiina ky'eddiini mu eky'Enikyeya, Ruumi, ekomekkerereza mu kibiina ekisukkulumu. Mu ngeri y'emu ng'ensigo y'ekkanisa bwe yagwa emabega eyo, n'obubonero, n'ebyewuunyisa, ne Kristo omulamu mu masekkati gaabwe, kikomekkerereza mu nnaku ez'oluvannyuma wansi w'obuweereza bwa Malaki 4, n'azzaawo nate okukkiriza okwasooka okwaweebwa omulundi ogumu.

Tukizuula kaakano nti, omulembe guno omubi gwa kukakasa, eri Setaani, nti Omugole ono talinga Kaawa, nti ye si mukazi kika kiri. Era ajja kugezesebwa n'Ekigambo Kye, Omugole, ng'Omugole wa Adamu bwe yagezesebwa n'Ekigambo. Era Omugole wa Adamu yakiriza buli katundu konna ak'Ekigambo, byonna, naye n'atabulwa ku kisuubizo kimu kyokka, nti, “Ye y'Omu, jjo, olwa leero, era n'emirembe gyonna,” leero, mulaba; naye yalemererwa kukisuubizo kimu kyokka, wansi w'okukemebwa kw'omulabe, maaso ku maaso. Era kaakano, abantu abayitibwa Erinnya Lye, mu mazima, ye Mugole We, agenda kusisinkana n'ekintu ky'ekimu nate; si na mazima ga bibiina by'amadiini oba ekintu kyonna, naye na buli Kigambo!

Kubanga, mu ntandikwa ya Baibuli, omuntu yaweebwa Kigambo kya Katonda okumubezaawo. Ekigambo kimu, eky'avvuunulwa obubi omusajja ayitibwa Setaani, mu muntu alinga ensolo ayitibwa omusota. Setaani, mu muntu ono, yali asobola okwogera ne Kaawa, era n'amuvvuunulira bubi Ekigambo, era n'ebula. Mulaba, kiteekeddwa kuba Kigambo kyonna.

Mu masekkati ga Baibuli, Yesu yajja era n'Agamba nti, “Omuntu tabeerenga mulamu na mmere yokka, naye na buli Kigambo,” bwe Yali ng'akemeddwa Setaani. Kaakano, Katonda ng'Atugamba wano mu nnaku ez'oluvannyuma, nti, “Lubaale w'omulembe guno omubi ajja kugolokoka nate mu nnaku ez'oluvannyuma.” “Era buli yenna ajja okukigatako ekigambo ekimu, oba okukitoolako ekigambo kimu, ekitundu kye kijja kuggibwako okuva mu kitabo eky'Obulamu.”

Katonda beera wa kisa gye tuli! Era tuleme kutambula ng'ebitogi biralambadde, ng'ebifuba biri wabweru, emitwe tugiwanise, tubimanyi byonna, kubanga naffe lumu twali mu bujeemu. Leka awamu n'ekisa, era n'okusasirwa, era n'eneewulira mu mitima gyaffe eri Katonda, mu buwombeefu tujje eri Entebe ey'ekisa. Ekyewuunyisa kaakano, oluvannyuma lw'emyaka lukumi mu lwenda egy'okubuulira Enjiri, era kaakano ye, nga y'enkola y'ensi, mubi nnyo okusinga mu nnaku Kristo, bwe yali ng'Akyali wano. Enkola y'ensi mbi nnyo. Ensi eyolekedde entiiko ey'amaanyi. Ekyo mukimanyi. Mukama Atuukiriza Ekigambo Kye ku buli ludda.

Okubikkulirwa 18:4-5,
4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.
5 Kubanga ekibi kye kituuse mu ggulu, era Katonda ajukira obujeemu bwe.

----
Nga kulabula! Ekyo kikasuka ekkanisa okuddayo mu Kubikkulirwa 3:14 eri omulembe gwa Lawodikiya, obujeemu; nga bannaddiini nnyo naye abajeemu. “Ggwe, kubanga oyogera nti, Ndi mugagga, so siriiko kye nneetaaga,' so nga tomanyi ng'oli mmwe munaku ggwe era asaasira era omwavu era omuzibe w'amaaso, kyokka temukimanyi.” Kikwataganira ddala n'Ekyawandiikibwa ky'omulembe guno, sikyawandiikibwa ky'omulembe gwa Danyeri, si eri abo mu Linnya lya... omulembe gwa Nuuwa, naye mu guno ogusembayo, omulembe omubi.

Mwetegereze, wano, “Muli bwereere.” Leka ekyo kinnyikire buziba ddala. Mmanyi nti nnyinza okubeera n'okuwakanyizibwa kungi ku kino, naye kituuse mu kifo nti kumpi Omukristaayo takyasobola kufuluma mu nnyumba ye n'atatuuka mu kubeerawo kw'omulembe guno omubi, n'abakazi abambadde engoye ezitabatuuka.

Abakazi, enda kwogera kino, ate njagala muwuliririze. Era, abasajja n'abakazi, muyinza obutakkiriziganya kino, naye mpulira nnuamizibwa okukyogera. Mumanyi nti, omukazi yenna eyeeyambula bw'atyo abatategeera bulungi? Mukimanyi, bw'ali, oba akikkiriza oba nedda, oba alowooza nti si bwe kiri, Malaaya? Newankubadde omukazi oyo ayinza okuyimirira naye mu maaso ga Katonda era n'alayira nti takwatibwangako musajja mulala yenna okuggyako omwami we, ate era ago gayinza okuba nga ge Mazima ameesimbu, naye era Malaaya. Yesu bwe yagamba, “Buli atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako.” Era omukazi ayinza okubeera nga...

Mulaba, ali “bwereere,” Baibuli bw'egamba, “Kyokka nga tabakimanyi,” Omwoyo ogumufukako amafuta okukola ebintu ng'eby'omwoyo mubi, guba mwoyo gwa bwamalaaya. Omuntu we ow'okungulu, Omubiri gwe, omubiri gwe, ayinza okubeera ng'atukula. Ayinza obutakola ku bwenzi bwonna, era nga asobola okulayira mu maaso ga Katonda nga ge Mazima, nti takikolanga, naye omwoyo gwe, mwoyo gwa bwenzi. Azibiddwa nnyo amaaso n'omwoyo gw'ensi eno ogw'emisono; ayambala mu ngeri y'ekikaba era n'afuluma ebweru eyo.

----
Omuntu ow'okungulu omubiri gufugibwa obusimu mukaaga... oba manyanga obusimu obutaano. Omuntu ow'omunda muntu ow'omwoyo afugibwa n'obusimu butaano; okulumirizibwa, okwagala, n'ebirala. Oomuntu ow'okungulu; kulaba, kuloza, enneewulira, okuwunyiriza, okuwulira. Naye munda mu mwoyo, mmeeme, era eyo efugibwa ekintu kimu kyokka. Okusalirawo. Osobola okukkiriza Setaani by'akugamba oba okukkiriza Katonda by'Akugamba. Kijja kuasalawo ekika ky'omwoyo ogulimu. Bw'aba nga Mwoyo wa Katonda, bijja kuliisibwa ku bintu bya Katonda, era tajja kulya kintu kyonna eky'ensi. Yesu yagamba nti, “Bw'yagala ensi oba ebintu by'ensi, ensonga eri nti okwagala kwa Katonda tekuyingiranga mu buziba mutima gwo.” Setaani akulimbye. “Era omuntu tabeengra mulamu na mmere yokka, wabula na buli Kigambo kyonna ekiva mu kamwa ka Katonda.”

Mwetegereze kaakano, tukizuula nti ali, “bwereere,” nga mukaba, era ali bukunya. Era ensi erabika eri mu mulembe ogukyasinze okubeera omubi ennyo ogwali gubaddewo. Tewaliiwo mu mulembe gwonna abakazi mwe baali beeyisirizza bwe batyo, tekibeerangawo naye okuggyako ensi ey'amataba bwe gaali tegannaba kubaawo. Era Yesu yakigeraageranyaako. Ekyo tujja kukituukaako oluvannyuma lw'akaseera.

Katonda takyasobola kufuga, oba akkiriza ekibiina ekirala okufuga? Nneewuunnya. Eky'okuddamu ekituufu eri ekibuzo kino kiri nti, okusinziira nga bwe ndowooza, waliwo emyoyo ebiri mu nsi egirwanagana olwa leero, egikola. Kaakano, tewasobola kubeerawo egisukka mu ebiri, emitwe ebiri. Era ogumu ku gyo ye Mwoyo Omutukuvu ng'Akola; omulala gwe mwoyo gwa setaani, era, mu nnaku zino ez'oluvannyuma, mu bulimba. Kaakano enda kwesigamya ebirowoozo byange ku kino mu ky'okuyigako kyonna... Obubaka bwaffe.

Emyoyo ebiri. Ogumu ku gyo, Mwoyo wa Katonda Omutukuvu; omulala, mwoyo gwa setaani, nga gukolera mu bulimba. Abantu b'okunsi kaakano bakola okusalawo kwabwe. Omwoyo Omutukuvu ali wano Ayitayo Omugole ku lwa Kristo. Akikola ng'akakasa Ekigambo Kye eky'okusuubiza eri ye, eri omulembe gwe, ng'alaga nti ye Kristo. Bwe kiba ng'engalo eteekeddwa okutambula mu mulembe guno, engalo ejja kutambula. Bwe kiba ng'ekigere kiteekeddwa okutambula mu mulembe guno, ekigere kijja kutambula. Bwe kiba ng'eriiso lirina okulaba mu mulembe guno, eriiso lijja kulaba. Mulaba?

Omwoyo wa Katonda, nga bw'Akuze okutuuka mu kigera kya Katonda ekijjuvu, gwe mulembe gwe tulimu kaakano. Omwoyo omutukuvu ali wano ng'akakasa Obubaka bw'ekiseera. Era Omwoyo Omutukuvu Akola kino, nti abantu abakkiririza mu Katonda bayitibweyo okuva mu katyabaga kano. Omwoyo wa Setaani atali mutukuvu ali wano ng'ayita ekkanisa ye ng'akozesa obulimba, nga bulijjo, okuyita mu kukyamya Ekigambo kya Katonda, nga bwe yakola ku lubereberye. Nkiraba nga kikomawo eri ekiseera ky'ensigo nate, okuva mu Adeni? Kiikino kikomyewo nate.

Soma akawunti mu...
Katonda w'omulembe guno omubi.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'emulisibwa ekitiibwa kye.

N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa.

Okubikkulirwa 18:1-2



 

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Katonda Yeekweka
Yennyini Mu
Binyoomebwa...
(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)