Ensigo ey’Enjawulo.
<< jjuuzi
ekiddako >>
Enkuba etonnya ku batuukirivu n’abatali batuukirivu.
William Branham.Soma akawunti mu...
Ensigo ey’Enjawulo.Nnali nsaba mu mpuku eyo gye nagendanga okusaba. Najjula enfuufu mumpuku, era akawungeezi kamu, nagifulumamu, ne nteeka Bayibuli yange ku nduli, empewo n’ekunta n’egibikkula mu Abaebbulaniya, essuula eyo 6. Eyagamba, nti mu nnaku ez’oluvannyuma, bwe kiriba singa tugwa okuva ku Mazima ne twezza obuggya olw’okwenenya, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw’ebibi, n’amaggwa ne ssere, era eri kumpi n’obutasiimibwa, enkomerero yaayo kwokebwa; naye enkuba egitonnyako ensi, emirundi mingi, okugifukirira, okugibaza; naye amaggwa ne ssere tebirisiimibwa, naye enngaano erikunnganyizibwa. Ne ndowooza, “Kati, mpewo yegibikkudde.” Kale, ne nzisa Baibuli wansi nate. Ne ndowooza, “Kale, kati nja...” Naye ate empewo nejja n’ekunta okugibikkula. Ekyo kyabaawo emirundi esatu. Ne ndowooza, “Kale, kati, ekyo si kya bulijjo.”
Era bwe nnali nnyimuka, ne ndowooza, “Mukama, lwaki obikkudde Baibuli eyo nze okugisoma, nze... bwe nnatuuka ku kigambo ekyo, ‘amaggwa ne ssere, eri okumpi n’obutasiimibwa, enkomerero yaayo kwokebwa’?” Nalowooza, “Lwaki, okumbikkulira ekitundu ekyo?” Era nga ntunuulidde ebweru eyo...
Kati, okwolesebwa kuno okutuufu kujja awatali kukyeteekamu. Katonda y’akikola. Mulaba? Natunula era ne ndaba ensi eyali yetooloola mu maaso gange, ne ndaba nga yonna yali nkabale. Waaliwo omusajja eyali ayambadde ebyeru, n’agenda ng’asiga enngaano ennungi. Era oluvannyuma lw’okwetooloola enkulungo y’ensi, awo ne wajja omusajja, ng’alabika bubi, era yali ayambadde bidugavu, era yali asiga ensigo y’omuddo ku nsi yonna. Zombiriri zakulira wamu. Era bwezakula, zonna zaalumwa ennyonta, wamu kubanga enkuba yali yetaagibwa. Era buli emu yalabika nga esaba, n’omutwe gwayo nga gukotese, “Mukama, tuwe enkuba, tuwe enkuba.” N’ebire ne bibindabinda, enkuba n’etonnya ku zombiriri. Bwe yatonnya, enngaano ennungi ne yimuka neetanula okugamba, “Mukama yeebazibwe! Mukama yeebazibwe!” n’enngaano ey’omu nsiko n’eyimuka ku ludda lwe lumu, n’egamba, “Mukama yeebazibwe! Mukama yeebazibwe!”
Olwo okwolesebwa ne kuvvunulwa. Enkuba etonnya ku batuukirivu n’abatali batuukirivu. Omwoyo y’omu ayinza okukka mu lukunngaana, buli muntu yenna naalusannyukiramu: abannanfuusi, Abakristaayo, ne bonna awamu. Mazima kituufu. Naye ekyo kye ki? Bategeererwa ku bibala byabwe. Mulaba. Eyo y’engeri yokka gye bayinza okutegeerwamu.
Kati okiraba ekyo, okuva empeke ey’omunsiko oba enngaano ey’omu nsiko n’ensigo ebiseera ebimu lwe byefaananyiriza entuufu, enngaano ey’awaka, zifaanagana nnyo zibuzeebuze n’abalonde ddala singa kiyinzika. Ndowooza tuli mu mulembe omutuufu, ebintu bino we bisaanidde okubuulirwa n’okwogerebwako.
Weetegereze mu lunnyiriri 41, nazo zombiriri zifaanagana nnyo, zifaanagana nnyo mu nnaku ez’oluvannyuma okutuusa lwa taasobola... Yali tasobola kwesigama ku kkanisa gundi okuzaawula, katugambeAbamesodisiti oba aba Baputisiti, oba Abapentekoote, okuzaawula. Yagamba, “Atuma bamalayika Be okuzaawula.” Malayika ajja okuleeta okwawula, okwawula wakati w’obulungi n’obubi. Era tewali n’omu ayinza kukikola wabula Malayika wa Mukama. Y’agenda okubuulira kiki ekirungi era kiki ekibi. Katonda yagamba alituma bamalayika Be mu biseera eby’oluvannyuma. Si bamalayika mu mirembe egyayita, naye bamalayika mu biseera eby’oluvannyuma, era balikunngaanya wamu. Tumanyi nti kati kuno kwe kujja kwe biseera by’amakungula. Kati, malayika mazima amakulu gaakyo “omubaka.” Era tulaba nti waliwo bamalayika musanvu ab’ekkanisa omusanvu, era kati... Nedda, okuyita mu mirembe gy’ekkanisa.
Weetegereze b’ani be yagamba nti be basizi, era n’ensigo yali ki, Omu, omusizi yali Ye, Omwana wa Katonda, oyo eyagenda ng’asiga Ensigo. N’omulabe yajja ennyuma We, eyali Setaani, n’asiga ensigo ey’enjawulo, emabega w’okusiga Ensigo ennungi. Kati, ab’emikwano, ekyo kizze kibaawo okuyita buli mu mulembe okuva ku ensi lwe yabaawo. Mazima. Mu mirembe gyonna okuva ku lubereberye, kyatandika ekintu kye kimu.
----
Tukiraba nti omusizi w’ensigo ey’enjawulo eyasooka yayitibwa “Setaani,”... era tumanyi kyaliwo mu Lubereberye 1. Eyo tulaba, wano mu – mu Kitabo kya Matayo, essuula eye 13, Yesu ayita buli kya njawulo ku Kigambo Kye okuba “Setaani.” Ne mu 1965, ekintu kyonna ekisiga ensigo ey’enjawulo, okwawukana ku Kigambo kya Katonda ekyawandiikibwa, oba okuwa amakulu amalala ku Kyo, y’ensigo ey’enjawulo. Katonda takiwa kitiibwa. Tasobola. Tebiyinza kwetabula. Mazima ddala tebisobola. Okufaanana nga akaweke ka kaladaali; teketabula na kintu kirala kyonna, tosobola ku katabulamu, kiteekwa okuba ekintu ekyannamaddala. Ensigo ey’enjawulo!Kati tulaba, Katonda bwe yasiga Ensigo Ye mu lusuku Adeni, tukiraba nti Yo yazaala Abiri. Naye Setaani bwe yasiga ensigo ye ey’enjawulo, yo yazaala Kayini. Emu yazaala omutuukirivu; emu n’ezaala atali mutukirivu Kubanga Kaawa yawuliriza ekigambo eky’enjawulo, ekyawukana ku Kigambo kya Katonda, kino kyaleetera ekibi okweyongera okuva awo, era kyeyongedde nnyo. Era tetulikoolamu okutuusa bamalayika lwe bajja ne babyawula, ne Katonda alitwala abaana Be mu Bwakabaka n’enngaano ey’omu nsiko ery’okebwa. Weetegereze emizeeyituuni egyo gombi.
Weetegereze, ensigo zaabwe zaakulira wamu nga Katonda bwe yagamba na wano mu ssuula eye 13, ey’essomo lyaffe leero, mu Matayo, “Muleke bikulire wamu.” Kati, Kayini yagenda mu nsi ya Enodi, n’afuna omukazi, n’amuwasa; ne Abiri yattibwa, Katonda n’ayimusa Seezi okutwala ekifo kye. N’okuzaala ne kweyongera mu maaso, wakati w’abalungi n’ababi. Kati, tulaba beeyongera, buli omu ku bo, buli kiseera, era Katonda yalina... yeyongera nnyo mu bubi okutuusa Katonda lwe yalina okugizikiriza.
Naye zaakula okutuusa zombi ensigo, ensigo ey’enjawulo n’Ensigo ya Katonda, bwezateekako emitwe gyazo emituufu era zalabisibwa mu Yuda Isukalyoti ne mu Yesu Kristo. Kubanga, Ye yali Ensigo ya Katonda, Ye yali olubereberye lw’okutonda kwa Katonda, Teyali kirala wabula Katonda. Ne Yuda Isukalyoti yazaalibwa nga mwana w’akubula, yava mu Ggeyeena, naddayo mu Ggeyeena. Yesu Kristo yali Mwana wa Katonda, Ekigambo kya Katonda ekyalabisibwa. Yuda Isukalyoti, mukuba ow’enjawulo, yali nsigo ya Setaani, yajja mu nsi , era olw’obulimba; nga bwe yali ku lubereberye, Kayini, jjajja we.
Yuda yali kazanyirizi mu kkanisa. Teyali wa, mwessimbu ,teyalina kukkiriza (teyandiridde mu Yesu lukwe). Naye, olaba, yasiga ensigo eyo ey’enjawulo. Yalowooza nti ayinza okukola emikwano n’ensi, mamona, ate amale abe n’omukwano ne Yesu, naye ekiseera kyali kimuyiseeko nga takyalina kya kukikolera. Essaawa envannyuma bweyatuuka, Yuda bwe yakola kino ekibi, yasomoka olunnyiriri olwawula wakati w’okugenda mu maaso n’okudda emabega. Yalina okugenda mu kkubo lye yagendamu, nga omulimba. Yasiga ensigo ey’enjawulo, yanonnya okusiimibwa amaddiini ag’olunaku alwo, Abafalisaayo n’Abasaddukaayo. N’alowooza agenda kukola sente, abeere mwatiikirivu mu bantu. Ekyo bwekiba tekireetera bantu bangi okuyingira mu njawukana eyo, nga bagezaako okusiimibwa abantu! Katusiimibwe Katonda, so si bantu. Naye ekyo Yuda kye yakola bino eby’enjawulo bwe byatuukirira mu ye.
Tumanyi nti Yesu yali Kigambo, Omutukuvu Yokaana 1, yagamba, “Ku lubereberye waliwo Kigambo, Kigambo n’aba awali Katonda, Kigambo n’aba Katonda. Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeerako gye tuli.” N’olw’ekyo, Ekigambo Nsigo, Ensigo ye yafuuka omubiri n’ebeerako gye tuli.
Kale Yuda bwaba ye yali ensigo y’omulabe ey’enjawulo, nayo yafuuka omubiri n’ebeerako gye tuli mu mubiri gwa Yuda Isukalyoti. Teyalina, kukkiriza kwannamaddala. Yalina kye yalowooza okuba okukkiriza. Waliwo okuba n’okukkiriza; n’okukkiriza okw’okwefuula obwefuuzi. Okukkiriza okwannamaddala okwa Katonda kukkiriza mu Katonda, ne Katonda kye Kigambo, tekukyongerako kintu kyonna. Bayibuli etubuulira singa twongerako ekigambo kimu, oba okuggyako Ekigambo kimu, omugabo gwaffe guliggibwa okuva mu Kitabo ky’Obulamu, Okubikkulirwa 22:18, essuula esembayo.
Mu lubereberye olw’asooka, Ekitabo kya Baibuli ekisooka, Katonda yabagamba obutamenya Kigambo n’ekimu ku Byo, “buli Kigambo kiteekwa okukuumibwa,” baalina okuba abalamu olw’Ekigambo ekyo. Yesu, wakati w’Ekitabo, yajja n’agamba nti mu mulembe Gwe, n’agamba, “Omuntu taabenga mulamu na mmere yokka, wabula na buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” N’emumulembe ogukomenkereza ogw’Okubikkulirwa, ogwatutegeezebwa, nti “Buli muntu yenna bw’aggyanga Ekigambo kimu okuva mu Kitabo, oba bw’ayongerako ekigambo kimu ku Kyo, omugambo gwe guliggibwa okuva mu Kitabo ky’Obulamu.”
N’olw’ekyo tewali kikyongerwako, wabula amazima, Ekigambo kya Katonda ekitatabuddwaamu! Abo be baana ab’obulenzi aba Katonda,abaana ab’obuwala aba Katonda, abataazaalibwa na kwagala kw’amuntu, oba n’okukwata mu ngalo, oba engeri emu ey’okubatizibwa; naye abazaalibwa mu Mwoyo wa Katonda, n’Omwoyo Omutukuvu, n’Ekigambo nga kirabisibwa mu bo. Eyo y’Ensigo entuufu eya Katonda!
Omulabe yegatta ku kkanisa n’afuuka omunnaddiini nnyo mu bikwate oba ekirala. Naye ekyo si ye... ekyo kya njawulo, ekintu kyonna ekiziyiza Amazima amatuufu ag’Ekigambo kya Katonda. Era tutegeera tutya? Tugamba, “Kale, bo, olina olukusa okukivvunula?” Nedda, ssebo! Tewali muntu alina lukusa kuvvunula Kigambo kya Katonda. Ye Mwene Ye muvvunuzi Wakyo. Akisuubiza, n’akikola, okwo kwe kuvvunula kwa Kyo. Bwe yakisuubiza, n’akituukiriza, okwo kwe kuvvunula kwa kyo. Ekintu kyonna ekyawukana ku Kigambo kya Katonda ekyo ye y’enjawulo! Mazima ddala!
Kati, nga bwe nngambye, Yuda teyalina kukkiriza kutuufu, yalina okukkiriza okwefaananyiriza. Yalina okukkiriza kwe yalowooza nti Oyo yali Mwana wa Katonda, naye teyategeera nti Oyo yali Mwana wa Katonda. Teyandikikoze ekyo. N’omuntu atakkanya ku kigambo kino ekya Katonda okuba Amazima, alina okukkiriza okwefaananyiriza. Omuweereza omutuufu owa Katonda yekwatta ku Kigambo ekyo.
Soma akawunti mu...
Ensigo ey’Enjawulo.