Amaka agajja ag'Omugole Omusajja ow'omu ggulu n’omugole omukazi ow'oku nsi.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kiseera eky’enkomerero.

Eggulu eriggya n'Ensi Empya.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Amaka agajja ag'Omugole Omusajja ow'omu ggulu n’omugole omukazi ow'oku nsi.

2 Peetero 3:5-7,
5 Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi olw'ekigambo kya Katonda:
6 Ensi ey'edda, amazzi kye gaava gagisaanyaawo, n'ezikirira:
7 Naye eggulu erya kaakano n'ensi, ebiriwo kaakati, olw'ekigambo ekyo biterekeddwa, omuliro nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango awamu n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.

Nga kisuubizo kya kitalo, ekya bannabbi bano n'abasajja abagezigezi ab'ekitalo, abayigiriza ba Baibuli, mu biro eby'edda ennyo, okuba nti baalaba Olunaku luno olw'ekitiibwa nga lutuuka! Okuyita mu nnyiriri zino, omu ayinza okulowooza, oba okuleeterwa, manyanga, okukkiriza nti ensi eno yonna, ensi eno, egenda kuzikirizibwa, “Nkola Eggulu eriggya n'Ensi Empya,” laba, nti eggulu lijja kuvaawo n'ensi eggweewo, bisaanirewo ddala. Naye bwe weeyongera okwetegereza, era nga Omwoyo Omutukuvu Atuyambye, tusobola okulaba Amazima agali mu kino; era kati ekyo kye tugendamu.

Embeera eyeetoolodde ensi, n'okwonoona okuli mu nsi, bye bijja okuzikirizibwa. Olaba? Kaakati, tulaba nti eggulu kitegeeza “bwengula.” Olaba?

Kikola ki? Olwo, guno omwennyango, n'endwadde, n'okufa, eby'obufuzi, n'abasajja aboonoonyi, n'abakazi aboonoonyi, n'emyoyo emibi, byonna bijja kuggwaawo era bisaanewo. Olaba? Kirina kukolebwa bwe kityo, kubanga wano wennyini we tujja okubeera. Ekyo tujja kukozesa Baibuli okukikakasa. Kuno kwennyini kwe tulibeera. Kaakati weetegereze, omwennyango, obuwuka obulwaza, endwadde zonna n'ebirala byonna, bigenda kuggibwawo ddala. Bino byonna, ebiri mu nsi eno byonna kaakati, enkola eza abantu, eby'obufuzi, ekibi, buli ngeri y'emyoyo emibi egikyafuwaza ensi, awamu n'obwengula obutuli waggulu ffe abatuula kuno, byonna byonooneddwa n'emyoyo emibi. Kati tugenda kuyingirira ddala buziba era ewala, mu kino, laba.

Bino byonna ebiri mu bwengula, oba embeera ezeetolodde, n'ensi eriwo kaakano. Ensi eno y'eriko ebintu ebyo, naye ng'ekyo si kye kigendererwa kye yakolerwa. Ekibi kye kyagireetera okuba bw'etyo. Olaba? Yakolebwa Katonda, Omutonzi. Naye byonna... N'emibiri gyaffe gyonna, gye tulimu kaakano, gyateekebwa ku nsi Katonda bwe Yagitonda, kubanga wava mu nfuufu ya nsi. Gwali omwo gwonna. Katonda Mwene bwe Yagutonda, wali mu birowoozo Ye. Era mu Ye, Omukulu Ataggwaawo, mwe mwali ekirowoozo, ng'ekyo ye yali enneeyoleka Ye. Naye kati ate ekibi ne kireetera bino byonna okubaawo. Era Katonda, okuyita mu mulembe guno gwonna, akuŋŋaanya ebikozesebwa Bye.

Setaani akyali wano. Eyo y'ensonga lwaki ebintu bino byonna bibaawo. Akyali wano, n'amaanyi ge gonna amabi gakyali wano. Labayo, y'ensonga lwaki ensi nnyonoonefu nnyo bw'eti. Ye nsonga lwaki obuvundu n'ebintu ebitasaana bikyagenda mu maaso; okuyiwa omusaayi, entalo, eby'obufuzi, okwonoona, obwenzi, na buli ngeri ya bugwagwa egenda mu maaso, kubanga Setaani ye mufuzi w'ensi eno na bino ebigyetoolodde. Obuuza nti, “Embeera e-...?” Yee, ssebo!

Byombi eggulu n'ensi kati byonooneddwa birimu amasetaani agatuloopa mu maaso ga Katonda. Naye Yesu Waali okutuwolereza. Olaba? Abatuloopa bwe beeyongera okutusongamu ennwe mbu, “baakoze kino, baakoze kino, baakoze kino,” naye gwo Omusaayi guba gukyatubisseeko. Yajja okununula Abalonde abo be Yalaba edda. Ye nsonga lwaki ensi nnyonoonefu nnyo leero.

Wano, omutume, wano mu Peetero eky'Okubiri, essuula ey'o 2, n'olw'e 5 era ne... olunyiriri olw'e 5 ne 6. Weewaawo, nkifunye. Ayogera ku mitendera esatu egy'ensi. Labayo, a-alaga emitendera gyayo esatu. Weetegereze engeri gy'agireetamu. “Ensi ey'edda yayimirira ng'evaayo mu mazzi,” kaakati, eyo ye nsi eyaliwo nga amataba tegannabaawo. Kaakati, eyo eriwo kati, ensi ya leero gye tulimu kaakati, yagiyita “nsi.” “Ensi ey'edda eyayimirira okuva mu mazzi,” Lubereberye 1:1. Kati ate “ensi” eriwo kaakati. Ate, oluvannyuma, n'ayogera ku ndala, “ensi ejja,” Ensi Empya. Ensi za ngeri ssatu; emitendera esatu egy'ensi.

Kale weetegereze engeri Katonda gy'Atulagira ddala entegeka Ye ey'obununuzi. Ha, kino kyasanyusa emmeeme yange bwe nnakiraba, engeri gy'Atulagira ddala entegeka Ye ey'obununuzi. Kati geraageranya n'ebyo bye tulaba n'amaaso gaffe. Katonda by'akoze okununula ensi Ye, Akoze entegeka y'emu okununula abantu Be, kubanga Katonda atakyuka ne mu nkola Ze zonna takyuka oba mu kintu kyonna. Nga kya kitiibwa nnyo!

Engeri gye Yatuluamya n'Atuleeta gy'Ali, alyoke atuule mu ffe, okuyita mu mitendera esatu egy'ekisa; era nga bw'Aluamizza ensi mu mitendera esatu, okujja mu nsi. Nga Katonda bw'Alijja ku nsi ng'emaze okuyita mu mitendera esatu egy'okulongoosebwa, era bw'atyo ddala bw'Ajja gye tuli nga ayita mu mitendera esatu egy'ekisa. Ekyo nnakiyigiriza okuva ku lubereberye; ssikikyusanga, okuva ku olwo. Kigambo kya Katonda.

-----
Weetegereze, “ensi ey'edda,” eyaliwo nga amataba tegannabaawo; ne “ensi” eriwo kati; ate n'Eyo ejja. Kati, omutendera ogusooka mw'Atuleeta oku... Labayo, entegeka Ye ey'obununuzi y'emu mu buli kintu. Akozesa enkola y'emu. Takyusaako n'akatono. Yagamba, mu Malaki 3 nti, “Nze Katonda, era Ssikyukakyuka.” Engeri gy'Akikolamu, n'olwekyo, oba Yalokola omuntu gwe Yasooka okulokola, nga Akozesa Omusaayi ogwayiika ogw'Oyo ataalina musango, bw'atyo bw'Ajja okulokola addako; na buli mulala yenna gw'Alokola ajja kuba mu ngeri y'emu.

Bw'Aba Yali Awonyezzaako omuntu yenna mu lugendo lwonna olw'obulamu; ka kibe mu nnaku za Yesu, abatume, bannabbi, wonna wonna we kyali kibaddewo; embeera eyo yennyini bw'eddamu n'esangibwa, Alina okuddamu okukikola. Kye ekyo. Takyuka. Omuntu akyuka, ebiseera bikyuka, emirembe gikyuka, ebiro bikyuka, naye Katonda Asigala kye kimu. Atuukiridde taliiko kamogo. Ekyo nno nga kisaanye okuleetera abalwadde essuubi!

Bw'Aba Yali Awonyezza omuntu, Alina okuddamu okukikola embeera y'emu nga esangiddwa. Bw'Aba nga, Yali Alokoddeko omuntu, Alina okuddamu Akikole mu mbeera y'emu gye Yakikoleramu omulundi ogwasooka. Bw'Aba yali Ajjuzizza omuntu n'Omwoyo Omutukuvu, Alina okuddamu Akikolere mu mbeera y'emu gye Yakikoleramu omulundi ogwasooka. Bw'Aba nga Yali Azuukizizza omuntu okuva mu ntaana, Alina okuddamu Akikole ogw'okubiri, na buli mulundi omulala gwonna, ku nnono y'emu.

Ye Takyuka. Oh, ekyo nga kimpa essuubi! Kiki? Ssi mu ndowooza obulowooza ez'abantu, ng'ekintu obuntu ebibiina by'abantu bye beegunjizaawo ebikuaanya abantu; wabula mu Kigambo Kye ekitakyukakyuka. Ggwe obuuza nti, “Ge Mazima?” Yagamba nti, “Leka buli kigambo kya muntu kibe bulimba, Ekyange gabeere amazima.” “Kubanga eggulu n'ensi biriggwaawo, naye Ekigambo Kyange tekiriremwa n'akatono.” “Ebyawandiikibwa byonna byaweebwa nga biyita mu kuluamizibwa, n'olwekyo birungi era bigasa olw'Okuyigiriza.” Era jjukira, nti, “Ebyawandiikibwa byonna bigenda kutuukirizibwa,” buli katundu konna ku byo.

-----
Mu nsi Empya n'Eggulu Eriggya, tetuliddamu kufuna buzibu nate, mu Nsi eri Empya ejja. Setaani aliba asibiddwa... Setaani, kaakati akyetaaya; omuloopi. Naye mu Nsi Empya, aliba asibiddwa era nga asuuliddwa mu Nnyanja ey'Omuliro, mu Muliro guno omutukuvu.

Kale, mu Nsi eno Empya, leka twetegerezeemu okumala eddakiika ntono kati. Mu Nsi eno Empya, eggulu teririddamu kukwata kazigizigi; nedda, ekyo kyava mu kikolimo, laba. Terigenda kuddamu kuddugazibwa bire binyiivu. Embuyaga teziriddamu kukunta kuyita mu bbanga. Nedda. Teziriddamu kumenya miti, na kumenya mayumba, na kuvuunika bintu. Okumyansa n'ekiruyi tebiriddamu kuva mu kibejjagalo kya Setaani okuliyitamu, oba okutta omuntu eyeetambulira amakubo ge, wadde okwokya ekizimbe. Mulaba? Tewali, n'akatono. Waliba tewakyali miyaga gya maanyi gikunta, oba emiggundu n'embuyaga, ebiyuzaayuza amayumba, ne bitta abaana abato, n'ebirala. Hmh-mh, biriba tebikyaliwo. Okugezaako okuzikiriza, kiriba tekikyaliwo. Setaani awo nga asuulidddwa ebweru.

-----
N'ebintu bino, Setaani, aboonoonyi, byonna bigenze, Emirembe Egitaggwaawo; era tebiriddamu kubaawo. Byonna... Laba, Setaani tasobola kutonda. Singa asobola, awo aba Katonda. Mulaba? Asobola kwonoona bwonoonyi ebyo ebyatondebwa. Mulaba? Ate, okukyamya kwonna, okukyamya, kujja kumalirwawo ddala. Era okufa kwe kukyamizibwa kw'obulamu; era okukyamizibwa nga kuweddewo, waliba tewakyali kufa nate. Okukaddiwa kabonero ka kufa; era okukaddiwa nga kugenze, obulamu we buyingirira. Buli kabonero ka kukyamizibwa na buli kimu byonna biweddewo. Amaggwa n'omwennyango kabonero ka kibi, “ensi ekolimiddwa nabyo,” era nabyo nga biweddewo. Endwadde zijja, okuyita mu ebyo; nazo ziijja kuggwaawo. Okufa kujja kuggwaawo. Okuyiwa omusaayi kujja kuggwaawo.

Tewali kiririnnya ku nsi eri okuggyako obutukuvu, Abanunule. Ha, bannange! Yee. Ha, nga mpulira bulungi nnyo. Katonda, n'obutonde Bwe; n'ebitonde Bye bye Yatonda binunuliddwa Omusaayi Gwe Ye. Nga birongooseddwa n'ennongoosa Ye; ennongoosa Ye etta obuwuka obulwaza, era etta n'ekibi kyonna!

Tugambe ekintu kyonna bwe kiba nga obuwuka bwonna obukibaddeko buttiddwa, engeri ekyasinzeeyo okubutta gye tulina y'ey'okukozesa omuliro. Oyinza okuddira ekintu n'okyoza ne sabbuuni owa buli ngeri oba n'eddagala lino lyonna lye boogerako, naye kiba tekinnatukula. Naye gezaako okyokye!

Kale Omuliro gwa Katonda omutukuvu bwe gulongoosa ensi n'Eddagala lyagwo; awo aba Asitudde Omugole We, basobole okugenda Bombi mu Ggulu, nga kino bwe bigenda mu maaso. Baddamu ne bakomawo ku nsi, Eggulu Eriggya n'Ensi Empya. Obutiti tebukyayinza kugikosa. Ekyeya ekyokya tekikyayinza kugikosa. Amalungu gagenda kwanya nga ekimuli kya roza. Ekibi n'abonoonyi nga biweddewo.

Katonda, n'ebitonde Bye wamu n'obutonde, olwo nga babeera wamu mu bumu obutaliiko kamogo. Nga eggulu n'ensi bwe biri omwami n'omukyala, bw'atyo Kristo bw'Ali n'Ekkanisa, era bonna basisinkanira wamu mu ntegeka ya Katonda enkuukuutivu ey'obununuzi byonna ne biddira ddala mu kifuba kya Katonda. Mukiraba?

Era, mu Nsi Empya, mulimu Ekibuga Ekiggya. Ha, bannange! Kaakati wuliriza bulungi. Kino tokyerabira. Nti, Yesu yagamba, mu Yokaana 14, nti Yali wa kugenda ateeketeeke. “Emitima gyammwe tegyeraliikiranga.” Bwe yali agenda yagamba nti, “Nnina ensonga lwaki enda. Mwakkiririza mu Katonda,” N'agamba, nti “Nange munzikirizemu.” Baali tebalaba nti Yali Katonda. N'agamba nti, “Mukkiririza mu Katonda, kati munzikiririzeemu. Era enda kubateekerateekera Ekifo. Mu Nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi; mu Bwakabaka bwa Kitange mulimu embiri nnyingi.” Kristo gyali, mu kuzimbibwa kwa Yerusaleemi kino Ekiggya kaakati. Kaakati wuliriza bulungi. Tosagaasagana. Leka, kino kireme kukiyitako. Kristo ali mu Ggulu, leero, nga ateekateeka Yerusaleemi Ekiggya.

Era nga Katonda bwe yatonda ensi mu nnaku mukaaga, nga bwe Yakola ensi mu nnaku mukaaga, oba emyaka kakaaga. Nga bwe yagamba nti, “Muleme okuba abatamanyi,” tusoma mu Byawandiikibwa nti, “emyaka olukumi giri nga olunaku lumu.” Kale Kristo Yagenda era Ateekateeka Ekifo, ekibadde kizimbibwa okumala enkumi n'enkumi z'emyaka, ng'Ateekateeka Ekifo. “Era bwe enda okuteekateeka Ekifo, Ndikomawo nate, Mbatwale; eyo gye Ndi, nammwe mubeere eyo.” Laba Omununuzi n'Abanunule!

Soma akawunti mu...
Amaka agajja ag'Omugole Omusajja ow'omu ggulu n’omugole omukazi ow'oku nsi.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi ey'olubereberye nga bigenze; n'ennyanja nga tekyaliwo.

Nze Yokaana ne ndaba ekibuga ekitukuvu, ekyo Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.

Kubikkulirwa 21:1-2


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Kano ke kabonero
k’enkomerero, ssebo?

(PDF)
Olusozi Enjuba Egwa.
Ekire gye kyalabika.

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)