Ekitabo kinoeky'Obubonero Omusanvu.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Obubonero Omusanvu series.

Ekitabo ky'Okununulwa.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Ebbanga Wakati W’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa N’Obubonero Omusanvu.

Kati, naye, nnayambuka mu mponko, nenninnya waggulu nga bwe nnali nsobola. Era ne- ne- nensaba Mukama, nga ntudde waggulu eyo, kiki binobyonna kye byali bitegeeza, n'ebirala. Nnasoberwa, ne ssimanya kya kukola. Bwe ntyo bwe nnalinga nsaba; ne wabaawo ekintu ekitaali kya bulijjo. Nze- nze- njagala kubamwesimbu. Kati, mpozzi otulo twankwata. Kiyinzaokuba nti kwali kuwaanyisibwa, oba kwolesebwa.Okusinga kindabikira okuba nti kwali- e- kwolesebwa. Sisobola kugaana oba okukkiriza nti kwali kwolesebwa. Kubanga, nnali mpanise emikono gyange, ngansaba, “Mukama, okubwatuka kuno kutegeeza ki?Era bamalayika Omusanvu bano abali mu kibinjakya- ekyakola Pyramid, abansitula ne boolekera ebuvanjuba, baalibategeeza ki?”

Nnali nnyimiriddeawo, mu kusaba, ne wabaawo ekintu. Era, kati, ekintu ne kigwa mu mukonogwange. Kati mmanyi, bw'oba totegeera bintu byamwoyo, kijja kukulabikira bulala. Naye ekintukyagwa ku mukono gwange. Kati, bwe nnatunula, kyali kitala. Awakwatwa waakolebwa mu luulu, luulu gye nnali ndabye esingayo obulungi. Kati e- Ekikwatibwako wekikoma, mumanyi, awo... muamanyi, ndowoozaawaba watangira engalo zo obutasalwa, bw'oba nga... e- abantu bwe baba balwana; kyali kya zaabu. N'ekitala kyali kiyitirivu obuwanvu, nayeng'obwogi kyenkana akagirita; era nga kimasamasanga ffeeza. Kati kye kintu ekisingayo obulungikye nnali ndabye. Kyali kijiira ddala mu mukonogwange bulungi. Era nnali nkikutte. Ne nngamba, “Ekyosi kirungi!” Nnakitunuulira, ne ndowooza, “Wabula omanyi, bulijjo nnalinga ntya ekitala.” Nnali nneesiimye okuba ntiebiro we nnabeererawo baali tebakyabikozesa, kubanga - nze akambe nkatya. Bwe ntyo nzennalowooza, “Kiki kye nnandikikozesezza?” Era bwe nnalinkyakikutte, mu mukono gwange, eddoboozi ne lijja ngaligamba, “Ekyo ky'ekitala kya Kabaka.” Awo ne kinvaako.

-----
Kale, ebintu bino tu- tumala gabitwala, kubanga, obutaba na buyigirize, nkwataganya bukwataganya. Ntunula ne ndaba kiki ekiri, oba ekyali muNdagaano Enkadde, eyo nga kye kifaananyi obaekisiikirize ky'Empya, olwo ne mbaako n'ekifaananyi kiki Empya ky'eri. Mulaba? Nga... Nga Nuuwa bwe yayingira mulyato ng'okuyigganyizibwa tekunnatandika, ekyokifaananyi. Naye nga Nuuwa tannaba na kuyingiramu lyato, Enoka yasitulibwa nga tewannabaawokintu kyonna. Ne Luuti yayitibwa okufuluma Sodoma nga tewannatandikawo kantu konna kukuyigganyizibwa okuzikirizibwa; naye Ibulayimuebbanga lyonna, yali bweru waakyo. Olaba, bifaananyi.

Naye kati tujjakusoma olunyiriri olusooka. Nja kusoma ennyiriri bbiri oba ssatu ezisooka.

Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu. Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu? Ne watabaawo mu ggulu, newankubadde ku nsi, newankubadde wansi - newankubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newankubaddeokukitunuulira. (Nga kitabo kya kitalo!) Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newankubadde okukitunuulira.
Kati, oyogera kuobutasaanira? “Tewaali yali asaanidde na kukitunuulira; tewaali omuntu yenna,awantu wonna.”
Omu ku bakadde n'anngamba nti Tokaaba laba, Empologoma ow'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, yawangula, okwanjuluza ekitabo n'obubonerobwakyo omusanvu. Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna. N'ajja n'akiggya mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe.

Tujja kuyimiriramu wano katono,we tubadde tusoma mu Okubikkulirwa 5 tukkirireko ku lunyiririolwomusanvu.

Ekitabo kinoeky'Obubonero Omusanvu kibikkulwa mu kiseera ky'Ebibwatuka Omusanvu eby'omuKubikkulirwa 10.

-----
Kati, mulabe, ekyama ky'Ekitabokino eky'Obubonero Omusanvu kiribikkulwa Obubaka bwaMalayika w'Ekkanisa Eyoomusanvu nga buvuga. Mulaba? “Malayika Owoomusanvu atandikaokufuuwa,” awo Obubaka we buwandiikirwa, era tubulinaku ntambi ne mu bitabo. Kati, “ku ntandikwa y'okufuluma kw'Obubaka, olaba, ekyama kya Katonda mu kiseera ekyo kirinaokuggwa.” Kaakati tugenda kwetegereza. Ekitabo,eky'ekyama kya Katonda, tekibikkulwa okutuusang'Obubaka bwa Malayika Owoomusanvu buvuze. Kaakati, ensongazino zijja kuba nkulu mu Bubonero, nkakasa, kubangabyonna biteekwa okukwatagana. Kati, kyawandiikibwa mu kyama, kubatewali muntu yenna, wantu wonna akimanyi, Katonda Yekka, YesuKristo, mulaba.

Kati, wabula kkyo... Kitabo,Kitabo eky'ekyama. Kitabo kya Bununuzi. Ekyotujja kukiyingiramuuko, gye bujjako. Era kati tumanyinti Ekitabo kino eky'Obununuzi tekigenda kutegeerekeka bulungi; bakinoonyerezza okuyita mu mirembe mukaaga egy'ekkanisa, naye ku nkomerero, Malayika Owoomusanvu bw'atandika okufuuwa ekyama kye, asibako ebitundu ebyobyonna ebitali binywevu bano abalala bye baanoonyerezaera ebyama bikka okuva ewa Katonda, ng'Ekigambokya Katonda ne bibikkula okubikkulirwa kwaKatonda kwonna, olwo obulamba bwa Katonda na buli kintu ne bitereera. Ebyama byonna,ezzadde ly'omusota, n'ebirala byonna, byakubikkulwa.

-----
Obubonero Musanvu ku Kitabo, bu... Obubonero buno Omusanvu bwe busibye Ekitabo. Olaba? Ekitabo kisibiddwa ddala. Mukiraba? [Ekibiinakiddamu, “Amiina.” -Omuk.] Ekitabo kisibiddwaddala okutuusa Obubonero buno lwe bubembulwa. Kisibiddwakon'Obubonero buno Omusanvu. Kati, ekyo kyawufu okuvaku Bibwatuka Omusanvu. Olaba? Kino bwe Bubonero Omusanvuku Kitabo, era Ekitabo tekijja ku- Obubonero si bwa kusumululwa okutuusa mu kiseera ky'Obubaka bwa MalayikaOwoomusanvu. Olaba? N'olw'ekyo tu - tumala gakitwalabutwazi; naye okubïkkulirwa kwa Katonda okwa nnamaddalakwa kutuukirizibwa, mu Mazima agakakasiddwaag'okufuuwa okwo. Kaakati, Ekigambo bwe kityoddala bwe kyayogera, “Ebyama birina okuggwa mukiseera ekyo.” Era Ekitabo kinoeky'Obubonero Omusanvu, jjukira, kyali kisibiddwa wano, mu Kubikkulirwa essuulaeyookutaano, kyokka mu Kubikkulirwaessuula ey'ekkumi kibikkuddwa.

26 Kati, tugenda kulaba kiki Ekitabo kyekigamba ku ngeri gye kyabikkulwamu. Era tekimanyibwa okutuusaOmwana gw'Endiga lw'Atoola Ekitabo, n'AbembulaObubonero, n'Abikkula Ekitabo. Olaba? Omwana gw'Endiga Alina okutoola Ekitabo. Kikisiddwa. Kati jjukira, “Teri muntu muGgulu, teri muntu ku nsi, ppaapa, omulabirizi, Kalidinaali,omukadde w'eggwanga, k'abe ani yenna, ”ayinzakubembula Bubonero obwo, oba okubikkula Ekitabo, okuggyako Omwana gw'Endiga.“ Eratunoonyerezza, ne tumala gatwala bintu, netutagala, awamu n'okubulubuuta era— era eyoy'ensonga lwaki tuli mu muvuyo bwe guti. Naye awaliokusuubiza okutukuvu nti Ekitabo kino eky'Obununuzi kiribikkulirwa ddala Omwanagw'Endiga, era n'Obubonero obulimu bulisumululwaOmwana gw'Endiga, mu nnaku ezisembayo zinokaakano ze tulimu. Kati tebumanyibwa okutuusang'Omwana gw'Endiga Akwata Ekitabo n'Abembula Obubonero. Kubanga, jjukira, Ekitabo kyali kiri mumikono gy'Oyo Eyali Atudde ku Nnamulondo. “EraOmwana gw'Endiga Ajja eri Oyo Atudde kuNnamulondo, n'Atoola Ekitabo okuva mu mukono Gweogwa ddyo. Atwala Ekitabo!

Oh, ekyo ky'ebuziba. Tujja kugezaako okukitereeza nga tusobodde, ngatuyambibwako Omwoyo Omutukuvu. Kati Ye gwetwesigamyeko. Era tujja kulaba oluvannyuma,kibeerawo mu kiseera ekivannyuma, “Ng'ekiseera kiweddeyo.“ Tewali madiinigasaanidde kuvvuunula Kitabo kino. Tewali muntu asaanidde kukivvuunula.Omwana gw'Endiga y'Akivvuunula. Era Omwanagw'Endiga y'Akyogera, era Omwana gw'Endigay'Ayoleka Ekigambo ne kimanyibwa, n'okulamya okuyitamu kukakasa n'Ekigambo okukifuula Ekiramu. Mulaba? Ky'ekyo kyennyini!

-----
Etteeka lya Katonda lyali lyetaaga ekintu ekirala ekitaaliko musango. Kati ani ataalikomusango? Buli muntu yali azaaliddwa kuyita mu kwegatta okw'musajja na mukazi,buli omu, ng'ajja oluvannyuma lw'okwegattakw'omusajja n'omukazi. Era oyo yekka, ataayitamu ekyo, yali afiiriddwa eddembe ku Bulamu Obutaggwaawon'okubeera kabaka ku nsi. Oh, bwe ndowooza ku Kyawandiikibwa ekyo,“Kubanga otununudde okutuzzaayo eri Katonda,tulyoke tufuge era tube bakabaka era bakabona kunsi.” Oh, abange! Kiki ekyo? Omununuzi ow'omuLulyo! Oh, nga twandibadde n'eby'okwogerako wano! Weetegereze,etteeka lyali lyetaagisa Omununuzi Ow'omu Lulyo okununula ekintu ekyabula. Ekisakyatuukiriza ekisaanyizo kino mu MuntuYesu Kristo. Ow'omu Lulyo ateekwa okuzaalibwa mu lubu lw'abantu.

Kati, twandibadde tutya, nga buli muntu eyazaalibwa alina oku... era buli muntu atasobola kulabanti kwali kwegatta kwa mukazi na musajja, kale,oyo muzibe yennyini, olaba, kubanga buli muntueyazaalibwa yazaalibwa mukazi. Era KatondaYayagala Mununuzi wa mu Lulyo, era Ateekwa kuba muntu. Oh, abange! Kati ogendakukola ki? Etteeka lyayagala Mununuzi wa muLulyo. Kati, Yali tasobola kutwala Malayika.Yalina kutwala muntu, kubanga tetuli ba mu lulyo lumu nebamalayika. Tuli ba mu lulyo lumu fekka nafekka. Malayika tagwanga. Kitonde kya njawulo, balina omubiri gwa njawulo. Tayonoonanga oba ekintukyonna. Mwawufu. Naye etteeka lyali lyetaaga Mununuzi Ow'omu Lulyo. Ate buli muntuyenna mu nsi yazaalibwa kuyita mu kwegatta wakati wa musajja na mukazi. Kati,temulaba, awo we kyava. Awo ekibi wekyatandikira. Kale, mulaba we kiri kati? Awo ezzadde lyo ery'omusota, we liyingiriramu. Mulaba?

Kati, weetegereze, kyetaagisa Omununuziow'omu Lulyo. Era Omununuzi, Omununuzi ow'omu Lulyo,ateekwa kuzaalibwa mu lubu lw'abantu. Wano, ekyokituleka mu buzibu. Naye leka nfuuwe ekkondeeregye muli. Okuzaala okwaliwo awataali kumanyamusajja kwavaamu e - ekintu. Amiina. Embeerera okuzaalayavaamu Omununuzi waffe ow'omu Lulyo. Si mulala wabulaKatonda Ayinza Byonna Yafuuka Emmanweri, omu ku ffe. Emmanweri! “Omununuzi ow'omu Lulyo” Yasisinkanibwa. OlabaKatonda engeri gy'Akolamu ekisaanyizo, era tewalikyetuyinza kukola. Wabula ekisa kiyingiramu nekibikka etteeka eryo, ne kivaamu ekintu ekyo. Amiina!

-----
Kati mutunule. Ekitabo... Ekitabo kya Luusi kiragaekifaananyi ekirungi ku kino, engeri Bowaazi . . . Ne Nawomi gye baalibafiiriddwa ekibanja. Ekyo, mmwe mukimanyi.Mwampulira nga nkibuulirako, temwampulira?Muwanike ku mikono gyammwe oba mwampulira ngankibuulira. Ekitegeeza mukitegedde, olaba. Bowaazi yalina okufuuka omununuzi. Era ye yekka eyali akisobola. Yalinaokuba ow'omu lulyo, asingayo okuba ow'okumpi.Era okununula Nawomi, yafuna Luusi. Oyo yaliYesu, Bowaazi yali kifaananyi kya Kristo. Bwe yanunula Isiraeri, Yafuna Omugole ow'omu Baamawanga. Olwo kati, mulaba, nga kya kitalo! Nkakasa, tukirina kulutambi, waliwo we kiri wano, oba mwandyagaddeokukifuna.

-----
Ekisa kyavaamu Omuntu Yesu Kristo. Era Ekitabo kino, kaakatitukisanga nga... Katonda Yagaziya eweema Ye,Yava mu Katonda, n'Afuuka omuntu. Yakyusa ensulo Ye, okuva mu Ayinza byonna, okufuukaomuntu; okwambala ekifaananyi ky'omuntu, AlyokeAfe, okununula omuntu. Lindako lwe tunaamulaba,nga tewali asaanira. Olaba?

Kale. Mu Bayibuli, Ekitabo kya Luusi, nga bwemukisoma, mujja kukisanga, nti omuntu ng'oyo yayitibwanga“goel,” g-o-e-l. Yayitibwanga goel, oba, yeyalinga omuntu asobola okutuukiriza ebyetaago byonna. Era nga goel ateekwa okuba omwetegefuokukikola, ng'ateekwa okuba nti agayagala okukikola,era ng'ateekwa kuba wa mu lulyo, nga y'addirira,oyo gw'agenda okukikolako. Kati Katonda,Omutonzi, w'Omwoyo, yafuuka muganda waffe bwe Yafuuka omuntu, Alyoke Yeetikke ekibikyaffe, Asasule omuwendo, Atununule okutuzzaayonate eri Katonda. Ky'ekyo. Oyo ye Mununuzi. Kristo kaakano Atununudde. Kaakanotununuddwa. Naye Tannaba kubanja kikye. Kati, ekyo muyinzaobutakikkiriza, naye mulindeeko katono, olaba.Tujja kukiraba. Mulaba?

Tannakibanja. Mulaba? Oba Yatwala Ekitabo ky'Okununulwa, buli kintuAdamu kye yalina na buli kyonna kye yafiirwa, KristoAkinunula okukizzaayo. Era Yatununula dda.Wabula Tannatweddiza; Tayinza okutuusa mu kiseera ekyategekebwa. Olwookuzuukira kulijja, ensi erizzibwa buggya. Katibw'Alyeddiza ebibye, ebibye bye Yafuna bweYatununula, wabula tulikikola mu kiseera ekyategekebwa. Oh, abange! Kino kinnyonnyolwamu Kitabo kino eky'Obubonero Omusanvu kye twogerako kaakati. Kale.Ekitabo ky'Obununuzi, kyonna kinnyonnyoddwawano. Ebyo byonna, Kristo by'Alikola ku nkomererobijja kutubikkulirwa wiiki eno, mu Bubonero Omusanvu, Katonda bw'Anaatukkiriza. Olaba? Kale. Kijja kubikkulwa...

Soma akawunti mu...
Ebbanga Wakati W’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa N’Obubonero Omusanvu.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjuba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro;

era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi;

n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo.

Okubikkulirwa 10:1-3


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Ekitabo kinoeky'Obubonero
Omusanvu kibikkulwa
mu kiseera
ky'Ebibwatuka
Omusanvu
eby'omuKubikkulirwa
10.