Akasengejja k'omuntu alowooza.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Okutambula kw’Ekikristaayo series.

Akasengejja k'ensi y'ekinnaddiini.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Akasengejja k'omuntu alowooza.

Okubala 19:9,
N'omuntu omulongoofu anaayoolanga evvu ly'ente, n'alitereka ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era linaakuumirwanga ekibiina ky'abaana ba Isiraeri okuba amazzi ag'okwawula: ekyo kye kiweebwaayo olw'ekibi.

Eky'okuyigako kye enda okukozesa olwa leero: Akasengejja K'omusajja Alowooza. Ekyo kiwulikikanga ekyo bukambwe ennyo okubeera omutwe ogw'okuyigako, eri omuwereeza akyaawa ennyo okufuuwa taaba, ayinza okutwala ekyokuyigako ng'ekyo, Akasengejja K'omusajja Alowooza. Kyaliwo ku makya gaaluli bwe nnali nga enze okuyigga bu kaamuje.

Bantu mmwe abali wabweru eyo ku leediyo, ku mpeewo, oba ku mayeengo g'essimu, singa mulabye enfaanana eri mu bwenyi bw'abantu mu kibiina wano bwe nnangiridde omutwe ogw'okuyigako, kyandibasesezza. Akasengejja k'omusajja alowooza.

Kale nno, kyonna kyatuukawo eyo ba Malayika ba Mukama bwe bandabikira olumu ku makya, era awo bu kaamuje ne butondebwawo okuva mu kwogera ekigambo. Mmwe mwenna mujjukira lwe kyabeererawo. Era, nate, eyo waggulu w'akasozi gye nnali nnyimiridde, eyo ye wali... awo nga sinnabuulira Mirembe gy'Amakanisa Omusanvu, nga enze okuyigga olumu kumakya ng'obudde tebunakya. Awo waali wayimiridde... nnalowooza enjuba yali evaayo, ssaawa nga kkumi ez'okumakya. Sikyabulijjo; nnalaba Ekitangaala ekyo, era ne nkyuuka okwetooloola, era nga awo wayimiriddewo Ebikondo by'Ettabaaza Omusanvu ebya Zzaabu nga biyimiridde awo ku ntikko y'akasozi, nga ziriko ekiringa Musoke ng'afuluma okuyita mu mpiira nga zigabirira wabweeru.

Mbagirawo oluvanyuma lw'ekyo, Mukama Yesu n'atulabikira. Era awo w'ennyini n'empulira eddoboozi erya gamba nti, “Yakuwa ow'Endagaano Enkadde ye Yesu ow'Empya.” Era ng'Ali awo, nga wayise akaseera, n'Abikkulibwa oluvannyuma lw'ebyo Ebikondo by'Ettabaaza Omusanvu ebya Zzaabu. Olwo nno ekyo kyeetegereze ekyo. Bameka abajjukira eky'okuyigako ekyo? Nnakiwandiika emabega w'ekibokisi ekibeeramu amasasi kye nnalina mu nsawo yange. “Yakuwa ow'Endagaano Enkadde ye Yesu ow'Empya.” Katonda mu Ggulu amanyi nti ekyo kyaali kituufu.

----
Nnali nsomyeko eyo mu kitabo kya... ekya Danyeri, awo bwe yajja eri “oyo ow'Edda n'Edda, enviiri Ze zaali njeru ng'ebyoya by'endiga.” Kaakati awo ne ndaba oyo ow'Edda n'Edda. Ye yali oyo ow'Edda n'Edda, y'omu jjo, leero era n'emirembe gyonna. Okiraba, olwo kaali kabonero. Lwaki ebyooya ebyeeru? Ate era nze... Kyalabika ng'Omwoyo Omutukuvu eyali ayogera nange ku bikwata ku kifaananyi kye nnalaba omulundi ogumu, eky'omulamuzi ow'edda. Awo nno ne enda mu byafaayo; ne nzirayo mu byafaayo bya Baibuli ne byonna, okuzuula. Era n'abalamuzi abakadde, nga kabona asinga obukulu mu Isiraeri, yali alina okubeera n'ekyo ekirevu eky'evi, ekyeeru, ekiringa ebyoya kubanga ekyeeru ku ye ky'alaga nti yalina obuyinza obusukkulumu obw'abalamuzi mu Isiraeri.

Era n'olwa leero, era n'okuyita mu myaka nga kikumi emitono egiyise, oba oli awo emyaka nga kikumi n'omusobyo egiyise, oba tekiri bwe kityo, nga kisingawo naawo. Abalamuzi abangereza bonna, ssi nsonga baali bato kwenkana wa oba bakulu kwenkana wa bwe baagendanga okusala emisango, baayambalanga ekiviiri ekyeeru; okulaga nti teri buyinza bulala bwonna, mu bwakabaka obwo, obuli waggulu w'ekigambo kyabwe. Ekigambo kyabwe ky'enkomeredde eky'obwakabaka. Kye boogera nga ky'ekyo kyonna. Era kaakati, awo, nnakiraba ekyo. Yali awo ng'ayimiridde, wadde nga Musajja muto, naye ng'ataddeko ekiviiri ekyeeru. Ye yali, Obuyinza obusukkulumu obujjuvu. Yali Kigambo. Era Alina, ng'ayambadde ekiviiri ekyeeru.

Kaakati, awo oluvannyuma nga tumaze okubiyitamu, era n'obubaka, era n'etugenda ebugwanjuba, era ba Malayika ba Mukama bwe bandabikira wabweeru eyo ku Lw'evumbo Omusanvu, era ne kigenga waggulu mu bbanga (ekyo nga tulina ekifaananyi kyaakyo wano, era n'okwetooloola eggwanga), ye Yali awo ng'ayimiridde awo. Nga akyayambadde ekiviiri ekyo ekya wigi ekyo ng'alina obwo obuyinza obusukkulumu. Ye ye Mutwe gw'E kkanisa. Gwe Mutwe gw'Omubiri. Tewali wo kintu kiringa Ye, awantu wonna. “Yakola ebintu byonna ku lulwe. Yeekolera ebintu byonna, era w'atali Ye tewali kintu na kimu kyakolebwa.” “Alina obuyinza bwonna mu ggulu era ne ku nsi,” era buli kintu kyonna kikye. “Era mu Ye mwe muli obujjuvu bw'obwa Katonda bwonna mu mubiri.” “N'Ekigambo kyali Katonda, era ne kifuuka omubiri mu ffe.” Era Yali Ye Oyo eyabikkula ekyama kyonna eky'enteekateeka eyo bulokozi, eyo ba nnabbi bonna n'abasajja abagezigezi gyebaali boogeddeko. Ye yekka ye Yali Oyo alina ekiviiri ekya wigi n'Obuyinza obusukkulumu.

Kaakati, nnabadde nnyimiridde, waggulu ku kasozi amakya ga luli, nga kirabikanga awabadde bu kaamuje nga busimaasima waggulu eyo. Era ne ntandiika okuserengeeta wansi. Era nnali nnaakamalawo akaseera katono, awo, ekisaka ne kyenyenyeeza okumpi nange, era omuntu omunene ng'alina emmundu ey'emidumu ebiri n'avaayo ng'atambula okuyita mu bisiko awo, ne kintiisaamu kko. Ne nneeyongerayo, era ne nkutama wansi; nnali ntidde okutambula, nga ntidde nti ayinza okunkuba essasi. Era n'ensiko nga yeenyenya, kaakati awo ne nsigala mu kifo kimu.

Kaamuje n'etandiika okudduka waggulu ku kasozi, era n'agitunuuliza emudumu gy'emmundu gyonna, naye n'atagiteeba, kaakati awo kaamuje n'eserengeta wansi w'akasozi. N'endowooza, “Kaakati nja kudduka; amaloboozi amangi ago gonna nga gawaawaala. N'emmundu ye terimu masasi.” Awo ne nserengeta wansi ku kasozi, awo omusajja n'akuba essasi awo wennyini mu maaso gange, ne nkyuuka okudda eno. Era ne ntandikira awo, okuyitira mu kkubo eddala, era emmundu ey'ekika ekya 22 n'etandika, era amasasi nga gampitako waggulu. Ne amba nti, “Gamba, ndi mu kifo eky'akatyabaga.”

Kaakati awo ne nkyuuka era ne mpita ku ludda lw'omugga. Era ne ndowooza nti, “Nja kugenda wansi eno nneekweke okutuusa nga biweddewo, awo nsobole okuvaayo.” Era ku luguudo wansi, nnasobola oku... ebirowoozo byange byasikibwa okutunula ku ludda lwange olwa ddyo. Era, bwe nnakikola, awo waaliwo akapaketi ka sigala akakalu awo omu ku bo ke yali asudde wansi, mu kudduka kwabwe kwonna... nga bukaamuje buyita mu bisiko.

Nnakatunuulira wansi wekaali, ssaakalondawo, kubanga ekisookera ddala, ssaagala kuwunya bintu ebyo. Era n'entunula wansi awo, nga kampuni ya taaba emu gye ndowooza nti ssiteekeddwa kwogera linnya lyayo, naye mujja ku gimannya. Kawandikiiddwako awo, “Akasangejja k'omuntu alowooza era obuwoomi bw'omufuuweesi.” Nnatunuulira ekintu ekyo, era ne ndowooza nti, “Akasengejja k'omuntu alowooza?” Nnalowooza nti, “Singa omuntu asobola okulowooza ddala, teyandinywedde ddala sigala. Kiyinza kitya okubeera Akasengejja k'omuntu alowooza'? Omusajja alowooza teyandinyweredde ddala sigala yadde.” Kituufu.

----
Nnakitunuulira, era n'endowooza nti, “kiringa ebibiina by'amadiini ebya leero, amakanisa ge tulina.” Buli limu ku go lirina akasengejja k'alyo; balina ekika ky'akasengejja kaabwe. Baleka buli kye baagala okuyingira ne kiyingira, era na kiki ekitalina kuyingira; ekyo kye basengejja okuyingira munda ne kye basengejja okufuluma wabweru, wamu n'ekika ky'akasengejja ke balina. Baleka ensi yonna okuyingira basobole okumatiza abatakkiriza be balina munda eyo. Bajja kubayingiza sinsonga kiki kye bali, kasita babeera ne sente. Bajja kubayingiza sinsonga kiki kye bali, kasita babeera abettutumu. Naye waliwo ekintu kimu ekikiriko, tosobola kuyingira mu Kkanisa ya Katonda bw'otyo; si mu bibiina by'amadiini kaakati, ntegeeza Ekkanisa ya Katonda eya nnamaddala.

----
Abantu, bamanyi kye baagala. N'olwekyo bwe babeera nga balina okufuna kye baagala, kaakati awo balina okubeera n'ekika ky'akasengejja, era n'ensi emala okwogereramu, okumatiza okwagala kwe balina eri ensi. “Akasengejja k'omuntu alowooza, obuwoomi bw'omufuuweesi.” Akasengejja k'ensi y'ekinnaddiini, era obuwoomi bw'omuntu w'ensi.

Baagala kubeera bannaddiini. Balowooza bateekeddwa kubeera bannadiini, kubanga balina emmeeme. Bwe twaali twakajja mu ggwanga lino, wasanga Abayindi nga basinza njuba n'ebirala, kubanga, (lwaki) ye muntu. Tuddayo eyo ewala mu bibira bya Africa, tusaanga abantu abazaaliranwa nga balina bye basiinza. Lwaki? Abo bantu, era baagala, balina okusiinza. N'olwekyo omuntu, sinsonga yagwa kyenkaniddewa, asigala akimanyi nti waliwo ekintu ekimu awantu awamu. Naye alina okwagala bwe kutyo eri ensi, nti tasobola kutwala kasengejja katuufu. Alina okubeera n'akasengejja ke yeekoledde yennyini. Buli omu nga yeekolera akasengejja ke ye k'ayagala.

----
Mwetegereze mu Okubala 19, njagala mukisome bwe muddayo ewaka, bwe muba n'obudde obumala. Mwetegereze, Isiraeri bwe yali ekoze ekibi, okusooka baatwala ente emyuufu etaaberangako na kikoligo mu bulago bwaayo. Ekyo kitegeeza nti tebeerangako na kikoligo kya kintu kyonna. Era yali erina okubeera emyuufu. Langi emyuufu langi ya kutangirirwa. Omanyi, Ssaayansi akimanyi nti bw'otwaala ekimyuufu era n'otunula okuyita mu kimyuuufu, okulaba ekimyuufu, kibeera kyeeru. Tunula okuyita mu kimyuufu okulaba ekimyuufu, kibeera kyeeru. Atunula okuyita mu Musaayi omumyuufu ogwa Mukama Yesu, era n'ebibi byaffe ebimyuufu bifuuka byeeru ng'omuzira; ekimyuufu okuyita mu kimyuufu. Era ente yattibwa ekibiina kya Isiraeri kyona, mu ssaawa ey'akawungeezi Era awo waatekeebwaawo enkoloboze musanvu ez'omusaayi gwaayo awo ku luggi ekibiina kya Isiraeri kyonna we kyalinanga okuyingirira; ekifaananyi ky'Emirembe Omusanvu egy'Amakanisa, olw'Omusaayi.

Era kaakati awo omubiri gwaayo ne gutwalibwa era ne gwokebwa. Gwayokebwa wamu n'ebigere, wamu n'eddiba, wamu n'ebyenda, wamu n'obusa, buli kimu kyayokebwanga wamu. Era gwali gulina okuggyibwawo omusajja omulongoofu, era ne gutekeebwa mu kifo ekirongoofu wabweru w'ekibiina. N'olwekyo, singa Isiraeri yali esobola okulaba ekifaananyi kyokka! Ekigambo kya Katonda kino tekiteekeddwa kukwatibwako na mikono mikyaafu egy'obutakkiriza. Alina kubeera musajja mulongoofu. Era bw'abeera nga mulongoofu, yalina okuyita mu Kasengejja ka Katonda.

Omusajja omulongoofu, emikono emirongoofu, era kyaali kirina okukuumibwa mu kifo ekirongoofu; si mu kifo ba Yezeberi, era ne bakazannyirizi, era n'ebintu byonna ebifaanana bityo; okusembera ku mmeeza era n'ebintu, ng'ate bwe baddukadduka n'abakyala, era n'abaami, era na buli kika kya bugwaagwa; okugenda mu mazina era n'obubaga, era n'okusala enviiri ennyimpi, era n'empale ennyimpi, era n'ebirala byonna, ate ne beeyita Abakristaayo. Kirina kukumiibwa mu kifo ekirongoofu, era ne kikwatibwa n'emikono emirongoofu. Era kaakati awo Isiraeri bwe yayonoona, era ne bakitegeera nti bakoze ekikyamu, kaakati awo ne babayiwako evvu ly'eno ente, ku bo. Era ago ge gaali amazzi ag'okwawula okulongoosebwa olw'ekibi.

Weetegereze. Kiri bwe kiti! Era Isiraeri, nga tebannaba kujja mu kukuaana mu kusinza, baalina okusooka okuyita mu mazzi ag'okwawulibwa. “Okuggyibwako omusango olw'okukkiriza; kujja okuyita mu kuwulira, n'okuwulira Ekigambo.” Awo ne bayingira mu kibiina wansi w'ezo enkoloboze omusanvu, omusaayi, okulaga nti ekintu ekimu kyafudde era ne kibakulembera, ku lw'ekibi kyaabwe. Baayawulibwa olw'okuwulira Ekigambo, amazzi ag'okwawulibwa, kaakati awo ne bayingira mu lukuaana.

Ekifo kyokka Katonda mwe yali asisinkanidde omuntu kyaali mabega wa nteekateeka eyo. Yali tasobola kumusisinkanira wantu walala wonna. Yali alina okujjira emabega w'enteekateeka eyo. Katonda yasisinkananga Isiraeri mu kifo kimu kyokka. Era Katonda naawe akusisinkana olwa leero mu kifo kimu kyokka, era ng'ekyo kiri mu Yesu Kristo; era ye Ye Kigambo, amazzi ag'okwawula. Era Omusaayi Gwe gwayiika ku lw'Emirembe gy'Amakanisa Omusanvu gyonna. Era awo, ku lw'Omwoyo Omutukuvu, tuyingira mu kussa ekimu okwo, okwo okuweebwa Ekkanisa yokka. Oh, nga wa maanyi nnyo Ye!

Nate era, kaakati, twagala okutunuulira Abaefeeso 5:26, yagambye nti, “Kiri kunaazibwa n'amazzi n'Ekigambo,” amazzi ag'okwawula. Kiki kye kikola? Awo, Akasengejja ka Katonda kye Kigambo. Amazzi ag'okwawula, “okunaazibwa n'amazzi, ag'okwawula, okuyita mu Kigambo,” Akasengejja ka Katonda.

Olwo nno, tosobola kujja mu Kristo okuyita mu kasengejja k'ekkanisa. Tosobola kujja kuyita mu kasengejja k'ekibiina ky'eddiini oba ekiyiiye. Waliwo Akasengejja kamu kokka, okusobola okuyingira mu kifo ekyo ekitukuvu, kiri kuyita mu “kunaazibwa n'amazzi okuyita mu Kigambo.” Ekigambo kya Katonda ke kasengejja k'omuntu alowooza.

Ekkanisa wano ejja kukusalira omusango oba oli mmemba waayo omulungi oba nedda. Bajja kukuwa okuziikibwa okulungi, era ne bendera y'eggwanga bagiwanikeko kitundu ku kufa kwo, basindike ebimuli ebingi era bakukolere buli kintu kyonna. Naye bwe kituuka ku mmeeme yo okusisinkana Katonda, erina okuba ng'erina Obulamu Obutaggwaawo. Era bwe kiba nga Bulamu Obutaggwaawo, kitundu ku Kigambo. Era ng'ekigambo kyange bwe sisobola ku kyegaana... Omukono gwange gwennyini sisobola kugwegaana. Amaaso gange gennyini tegasobola kwegaana mukono gwange, oba ekigere kyange, oba akagere kange, oba ekitundu kyange kyonna. Tebisobola ku kyegaana.

Era newankubadde omusajja n'omukazi abali ekitundu ku Kigambo kya Katonda, okwegaana ekitundu yadde ekimu eky'Ekigambo kya Katonda. Kale nno, abakazi bwe mulowooza nti musobola okusala enviiri ennyimpi era ne mujja mu Kubeerawo kwa Katonda, muli bakyaamu. Okiraba? Oli mukyaamu; tosoboola kuyita mu Kasengejja ka Katonda awo w'onaazibwa n'amazzi ag'Ekigambo kya Katonda. Olwo n'oyingira mu kussa ekimu. Olowooza oli, naye tosobola okutuusa ng'ozze okuyita mu Kigambo, era na buli katonyeze akatono, na buli Kigambo kya Katonda kyonna ekitono ennyo. “Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, naye na buli Kigambo.” Kirina okuyita mu kusengejjebwa okwo, okuyitamu. Era ekyo kye kiwa obuwoomi bw'omusajja omutuukirivu, kubanga, ekyo ky'anoonya, anoonya ekintu okumulongoosa.

Ekigambo, Ekigambo kya Katonda ke Kasengejja k'omuntu alowooza, era kikola obuwoomi bw'omusajja omutuukirivu. Tukimanyi nti ekyo kituufu; kisengejja ekibi kyonna eky'obutakkiriza wabweru. Tewakyaaliwo butakkiriza bwonna bw'oyitira mu Kasengejja, kubanga kye kiwoomera omukkiriza owannamaddala.

Omukkiriza owannamaddala ayagala okubeera omutuufu, sinsonga. Ye tayagala kugamba nti, “Kale, nze ndi omu ku bantu abaawaggulu mu kitundu. Ndi wa kkanisa, ekkanisa esinga obunene mu kibuga.” Nze sifaayo oba kubuulira njiri mu kkoona, oba mu kidaala, awantu awamu, omuntu alowooza akimanyi nti alina okusisinkana Katonda. Era nga oggyeko kiki ekkanisa ky'egamba, oba omuntu yenna omulala ky'agamba, alina kukkirizaganya na bukwakkulizo bwa Katonda. Era obukwakkulizo bwa Katonda kye Kigambo kya Katonda.

“Kale,” bagamba nti, “Ekigambo kya Katonda.”' Mazima, bonna bakkiriza nti ky'Ekigambo kya Katonda, naye osobola okwesengejja n'okiyitamu? Ogenda kuleka otya omukazi asaze enviiri ennyimpi okuyitamu? Ogenda kukikola otya ekyo? Ogenda kuleka otya omusajja ayitemu omwo atasobola kugumira njigiriza eno? Okiraba? Ekyo tekiwoomera muntu alowooza. Nedda. Omuntu alowooza ajja kulowooza, omuntu alowooza ajja kusooka kulowooza emirundi ebiri nga tannaba kubuuka kuyingira mu kintu bwe kityo.

Weetegereze, Ekigambo ekyo tekisobola kwewakanya. Awo nno kimatiziddwa, oba kwe kuyaayaana. Okuyaayaana ku lwaki? Kiki ekyakuleetedde okukiyaayaanira, mu kifo ekisooka? Kubanga wansi mu mmeeme yo mwalimu ensigo eyateekerwateekerwa nga obwo bwe bwali Obulamu Obutaggwaawo, bulijjo nga buli awo munda, bulijjo bwali munda. “Abo bonna Kitange b'ampadde bajja kujja gyendi. Tewali yadde n'omu agenda okubula.”

Ebiwoomera omuntu alowooza, omuntu alowooza bw'awulira Ekigambo kya Katonda, “Endiga zange ziwulira Eddoboozi Lyange, omugwira tezijja ku mugoberera,” kubanga wansi munda mu zo waliyo Obulamu, era Obulamu bukwatagana na Bulamu. Ekibi kikwatagana na kibi, era ekibi kinnaanfuusi nnyo okutuusa bwe kirowooza nti kyalokolebwa ng'ate tekyalokolebwa. Kiri wansi nnyo mu buziba bw'obunnaanfuusi.

Soma akawunti mu...
Akasengejja k'omuntu alowooza.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo;

alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo,

alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu eteriiko bulema.

Abaefeeso 5:25-27


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereza)



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.