Omuti Ogw’Obulamu. Ezzadde ly'omukazi.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Ezzadde ly'omukazi.


William Branham.

Okubikkulirwa 2:7,
"... Alina okutu awulire Omwoyo ky’Agamba ekkanisa. Awangula Ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli wakati mu lusuku lwa Katonda."

Kino kye ekirabo ky’omu maaso eri abo bonna abawanguzi ab’omu mirembe gyonna. Okukoowoola okusembayo okujja mu lutalo nga kuwedde, ng’eby’okulwanyisa byaffe biteekeddwa wansi, otwo tuliwummulira mu lusuku lwa Katonda era omugabo gwaffe gulibeera Omuti Ogw’Obulamu, emirembe gyonna.

“Omuti Ogw’Obulamu.’’ Eyo si njogera nnungi? Gwogerwako emirundi esatu mu Kitabo ky’Olubereberye era emirundi esatu mu Kitabo ky’Okubikkulirwa. Mu bifo byonna omukaaga muti gwe gumu era gulagira ddala ekintu kye kimu.

Naye Omuti ogw’Obulamu kye ki? Kale, okusookera ddala tulina okumanya omuti gulaga ki. Mu Kubal. 24:6, nga Balamu bwe yayogera ku Isiraeri, yagamba nti, “ng’emiti egy’omugavu Mukama gye Yasimba.” Emiti mu Byawandiikibwa byonna giraga bantu, nga mu Zabbuli esooka. N’olwekyo Omuti Ogw’Obulamu guteekwa kuba Omuntu w’Obulamu, era Oyo ye Yesu. Kati mu lusuku Adeni mwalimu emiti ebiri nga giyimiridde wakati mu lwo. Ogumu gwali muti Ogw’Obulamu, omulala gwali Omuti ogw’Okumanya Obulungi n’Obubi. Omuntu yali wa kuba mulamu lwa Muti Ogw’Obulamu; naye yali tateekwa kukwata ku muti guli omulala nga bw’akikola yali wa kufa.

Naye omuntu yalya ku muti guli omulala, era bwe yakikola, okufa kwamuyingira nga kuyita mu kibi kye, era n’ayawukanyizibwa ku Katonda. Kati Omuti ogwo eyo mu Adeni, Omuti ogwo ogwali ensibuko y’obulamu, Yali Yesu. Mu Yokaana, essuula ey’omukaaga okutuuka ku y’omunaana, Yesu Yeeraga bulambalamba nga ye nsibuko y’obulamu obutaggwaawo. Yeeyita Emmere eva mu ggulu. Yayogera ku kugaba obulamu Bwe nti era omuntu bw’amulyako talifa. Yalangirira nti Yamanya Ibulayimu, era nti nga Ibulayimu tannabaawo, Ye YALIWO. Yalanga nti Ye Yennyini Yali wa kubawa amazzi amalamu nti nga omuntu bw’aganywa teyali wa kulumwa nnyonta nate, naye yali wa kuba n’obulamu obutaggwaawo. Yeeraga nga NDI OW’EKITALO. Ye y’EMMERE Ey’Obulamu, Luzzi Olw’Obulamu, Oyo Ataggwaawo, OMUTI OGW’OBULAMU. Yaliyo eyo mu Adeni wakati mu lusuku era nga bw’Alibeera wakati mu lusuku Iwa Katonda.

Abamu balowooza nti emiti egyo ebiri wakati mu lusuku gyali miti buti emirala ebiri okufaanana nga emiti emirala ku egyo Katonda gye Yali Ataddeyo. Naye abayizi abeegendereza bamanyi nti kino si bwe kiri. Yokaana Omubatiza bwe yayogerera waggulu nti embazzi etteekeddwa ku bikolo by’emiti gyonna, yali tayogera ku miti buti egirabika, wabula yali ayogera ku bintu byamwoyo. Kati mu I Yokaana 5:11 kyawandiikibwa nti, “Era OKUTEGEEZA kwe kuno nti Katonda Yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana We. “Yesu Yagamba mu Yokaana 5:40 nti “Era temwagala kujja gye Ndi okubeera n’obulamu.” N’olwekyo obuwandiike, Ekigambo kya Katonda, kyogerera ddala lwatu era awatali kubuusabuusa nti OBUILAMU, OBULAMU OBUTAGGWAAWO buli mu Mwana.

Si mu kifo kirala kyonna. I Yokaana 5:12, ‘Alina Omwana alina OBULAMU atalina Mwana wa Katonda TALINA Bulamu.’’ Kati obuwandiike okuva lwe butayinza kukyuka, tebuyinza kutoolwako oba kugattibwako, olwo obuwandiike buli nti OBULAMU BULI MU MWANA ... Kino okuva bwe kiri bwe kityo, OMUTI OGULI MU LUSUKU GULINA KUBA YESU.

Kale. Oba nga Omuti Ogw’Obulamu muntu, n’Omuti Ogw’Okumanya Obulungi n’Obubi NAGWO muntu. Teguyinza kuba kintu kirala. Kale Omutuukirivu Oyo n’Omwonoonyi Oyo baalinaanagana eyo wakati mu Lusuku lwa Adeni. Ezek. 28:13a “Wali (setaani) mu Adeni, olusuku lwa Katonda”

Wano we ;tufunira okubikkulirwa okutuufu ‘okw’ezzadde ly’Omusota’. Wano kino ddala kye kyaliwo mu Lusuku Adeni. Ekigambo kyogera nti Kaawa yasendebwasendebwa omusota. Ddala omusota gwamulimbalimba. Mu Lub. 3:1 kigamba nti, “N’omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez’omu nsiko, ze Yakola Mukama Katonda.’’ Ekisolo kino kyali kifaanana nnyo omuntu (so nga kyali nsolo yennyini) ekyali kisobola okukubaganya ebirowoozo era nga kyogera. Kyali kitonde ekyatambulanga nga kyesimbye era nga kiri awo wakati w’ezzike n’omuntu, naye nga okusinga kifaanana nnyo omuntu. Kyali kyekuusa nnyo ku muntu nga ensigo yaakyo esobola, era yeetabula n’eyomukazi era n’emufunyisa olubuto. Kino bwe kyabeerawo, Katonda n’Akolimira omusota. N’Akyusa na buli ggumba eryali mu mubiri gwagwo okutuusa bwe gwewalulira ku lubuto nga kati bwe tugumanyi. Ssaayansi ne bw’agezaako atya, tayinza kuzuula Katonda kye Yajjawo omusota ogwo gulyoke gutambuze olubuto. Katonda ekyo Yakiraba. Omuntu yye mukenkufu, kuba alaba entabagana y’omuntu n’ensolo era bw’atyo kwe kukakasaawo endowooza nti omuntu yajja mpolampola ng’ava mu kwebbulula kwa nsolo. Tewali kwebbulula kwonna kwaliwo. Naye omuntu n’ensolo beetabula (baatabagana). Ekyo kye kimu ku byama bya Katonda ekibadde ekikweke, naye wano, kibikkuliddwa. Kyaliwo mabega eri wakati mu lusuku Adeni Kaawa bwe yava ku bulamu n’akkiriza Okufa.

Laba Katonda kye Yabagamba mu lusuku. Lub. 3:15, “Nange obulabe Nnaabuteekanga wakati wo n’omukazi, era wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.’’ Oba tukkiriza Ekigambo nga bwe kigamba nti omukazi yalina ezzadde, mazima ddala n’omusota nagwo guteekwa okuba nga gwalina ezzadde. Bwe kiba nti ezzadde ly’omukazi yali mwana mulenzi ataali muntu buntu, n’ezzadde ly’omusota nalyo, liteekwa okubeera mu ngeri y’emu nti nalyo lya mwana wa bulenzi azaalibwa nga awatali kweyambisa ngeri ya musajja eyatondebwa nga muntu wa mubiri. Tewali muyizi atamanyi nti ezzadde ly’omukazi yali Kristo Eyajja nga Ayita mu nkola ya Katonda, etaalimu kwegatta kwa mukazi na musajja. Kimanyiddwa bulungi nti okubetenta Setaani omutwe okwasuubizibwa, bwali bunnabbi nga bukwata ku ebyo Kristo bye Yali Agenda okutuukiriza mu lutalo Lwe ne Setaani ku musaalaba. Eyo ku musaalaba, Kristo Yali wa kubetenta omutwe gwa Setaani nga eno Setaani bw’abetenta ekisinziiro kya Mukama.

Akatundu kano mu Byawandiikibwa ke katubikkulira mu bulambalamba engeri ezzadde ly’omusota gye lyasigibwa mu nsi, era nga bwe tulina ebiwandiiko byennyini mu Lukka 1:26-35, wano batutegeereza ddala ezzadde oba ensigo y’omukazi bwe yayolekebwa mu mubiri awatali kuyita mu butonde bwa muntu. “Awo mu mwezi ogw’omukaaga malayika Gabulyeri n’atumibwa Katonda mu kibuga eky’e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi, eri omuwala atamanyi musajja eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu ow’omu nnyumba ya Daudi: n’erinnya ly’omuwala Malyamu. Awo n’ayingira omumwe, n’agamba nti mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama Ali naawe. Waweebwa omukisa mu bakazi bonna. Naye ye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n’alowooza okulamusa okwo bwe kuli. Awo malayika n’agamba nti Totya Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda Era laba oliba olubuto, olizaala Omwana ow’obulenzi, olimutuuma Erinnya Lye YESU. Oyo Aliba mukulu, Aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Era Mukama Katonda Alimuwa entebe ya Daudi jjajjaawe. Era Anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n’emirembe so obwakabaka bwe tebuliggwaawo. Awo Malyamu n’agamba Malayika nti kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja. Ne malayika n’addamu n’amugamba nti Omwoyo Omutukuvu Alikujjira n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikusiikiriza; era ekyo ekirizaalibwa kye kiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda.’’ Nga ezzadde ly’omukazi bwe lyali Katonda nga Yeezaalira ddala mu mubiri gw’omuntu, bwe kityo n’ezzadde ly’omusota ye ngeri yennyini Setaani gye yalaba nga ayinza okukozesa okuyingira mu lubu lw’abantu. Kyali tekisoboka Setaani (kubanga ye mwoyo bwoyo OGWATONDEBWA) okwezaalira mu bantu nga Katonda bwe Yakola. Ebiri mu Lubereberye bitutegeeza engeri gye yaddira ezzadde lye n’alireeta oba mu ngeri endala n’aliyingiza mu lubu lw’abantu. Jjukira nti Setaani ayitibwa ‘omusota’. Kati ezzadde lye lye yasiga mu lubu lw’abantu lye twogerako.

Adamu nga tannatabagana na Kaawa, omusota gwali gumaze okutabagana naye. Era oyo eyazaalibwa gwo, yali Kayini. Kanyini yali (yazaalibwa) w’Oyo “Omubi”. 1 Yokaana 3:12. Omwoyo Omutukuvu mu Yokaana Teyayinza mu kifo n’ekimu okuyita Adamu “Omubi” (kubanga bw’aba nga ye kitaawe wa Kayini, ekyo kye yaalibadde) ate mu kifo ekirala n’Ayita Adamu “Omwana wa Katonda” ekyo kye yali okusinziira ku butonde. Lukka 3:38. Kayini empisa ze zeeyolekera ddala ng’eza kitaawe, oyo aleeta okufa era omutemu. Engeri gye yanyoomoola Katonda ng’asisinkaniddwa Oyo Omuyinza wa Byonna mu Lubereberye 4:5,9,13,14, emwolekera ddala ng’omuntu ataalina mpisa za buntu, era ng’alabikira ddala nti yayitirira kw’ebyo byonna bye twali tusomyeko mu Byawandiikibwa, ebikwata ku ngeri setaani gye yaddangamu nga Katonda Amubuuza akana n’akataano. Naye Kayini ne ky’awaddeyo, Teyamukkiriza. Kayini n’asunguwala amaaso ge ne goonooneka. Mukama n’Agamba Kayini nti aluwa Abiri muganda wo? N’ayogera nti simanyi: nze mukuumi wa muganda wange? Kayini n’agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange tekuyinzika kugumiikirizibwa. Laba ongobye leero mu maaso g’ensi; era mu maaso Go mwe nneekwekanga; era nnaabanga momboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita.’’

Weekenneenye engeri yennyini okutegeeza kwa Katonda bwe kuttottola okuzaalibwa kwa Kayini, ne Abiri ne Seezi. Lub. 4:1, “Adamu n’amanya Kaawa mukazi we; n’abeera olubuto, n’azaala Kayini, n’ayogera nti mpeereddwa omusajja okuva eri Mukama. Era n’azaala muganda we Abiri.’’ Lub. 4:25, “Adamu n’amanya mukaze we; n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma erinnya lye Seezi...’’ Waliwo abaana ab’obulenzi BASATU abaazaalibwa okuva mu kwegatta Adamu kwe yakola emirundi EBIRI. Bayibuli okuva lw’eri Ekigambo kya Katonda eky’amazima ekituukiridde, eno si nsobi wabula kutegeeza okulina ekigendererwa eky’okutumulisa. Okuva abaana ab’obulenzi ABASATU bwe baazaalibwa nga bayita mu kwegatta okw’emirundi EBIRI Adamu gye yakola, okimanya awatali KWEBUUZA nti omu ku BASATU teyali mwana wa Adamu. Katonda kino Yakitwoleka mu ngeri eno yennyini ng’Alina eky’okutulaga. Amazima gali nti Kaawa yalina olubuto olwalimu abaana ab’obulenzi BABIRI (balongo) nga buli omu ku bo, yateekebwamu ku mulundi gwa NJAWULO. Yali lubuto lwa balongo nga naye okufuna olubuto olwavaamu Kayini kwe kwali kusoose okwo okwavaamu Abiri.

Read the full account in...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Efeso.

Download (English)... Serpent Seed. - William Branham.Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Continues on next page.
(Enjigiriza ya Banikolayiti.)Message Hub...Choose your Language and download Free Messages from Brother Branham


Merukizeddeeki
ono y’ani?

English Newsletter Site.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

 

Mwenenye, mubatizibwe

Okukwakkulibwa.

Archaeology.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Mpagi y'omuliro.

Olunaku Olwo
Ku Kalivaaliyo.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Bulamu Kigambo series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'omukazi.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo Yezeberi.

 

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Luganda omubaka.

Click on an image to download PDFs or fullsize picture.


The Acts of the Prophet.

(PDF English)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF English)

Mountainside and rosebush in snow, in China.

Lillies of Fire.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950.

Light on pyramid
rock.

   Bayibuli egamba...

Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we.

Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga

si nga Kayini bwe yali ow'omubi n'atta muganda we. Era yamuttira ki? kubanga ebikolwa bye byali bibi n'ebya muganda we bituukirivu.

1 Yokaana 3:10-12


If apples made
women realise
they were naked,
it's time to pass
the apples
again.