Omukazi oyo Yezeberi.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Omukazi oyo Yezeberi.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Suwatira.

Okubikkulirwa 2:20-23,
Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi. Era nnamuwa ebbanga okwenenya; n'atayagala kwenenya mu bwenzi bwe. Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye. Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima : era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri.

Omutume Yakobo yatulaga emitendera ekibi gye kiyitamu. Yakobo 1:14- 15, "Naye buli muntu akemebwa nga awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n’okwonoona okwo, bwe kumala okukula ne kuzaala okufa." Kati ekyo kye kifaananyi ekyolekera ddala ebiriwo mu mirembe gy’ekkanisa. Nga ekibi bwe kitatandikira mu kintu kirala okuggyako mu ekyo ekyali munda mu muntu, n’okufa kw’ekkanisa kwatandikira mu buntu butono, obukolwa obutonotono obwa Banikolayiti. Bwasookera mu bikolwa ne bulyoka bufuuka eby’okuyigiriza. Okuva mu by’okuyigiriza, bwanywegera amaanyi agaali gafuga eggwanga era ne buzaala obukaafiiri. Kaakati mu mulembe guno, bugendera ddala era nnabbi waabwo omukazi (omusomesa) era bukyeyongera okutambula okutuusa lwe bulyesanga mu nnyanja ey’omuliro, kubanga eyo yennyini ye nkomerero yaabwo, mu kufa okw’okubiri.

Kaakati, eddoboozi lya Katonda lyonna eri omulembe guno ogw’okuna lisangibwa mu ngeri gye yawemuukirizaamu omukazi ono nnabbi Yezeberi. Okutegeerera ddala ensonga lwaki yamuwemuukiriza bw’atyo, tujja kunoonyereza ebyafaayo bye mu Bayibuli era bwe tusanga bye yakola emabega eyo, tujja kumanya ebiriwo ekiseera kino. Ekisooka era nga kintu kikulu nnyo kye tuyiga ku Yezeberi kiri nti SI muwala wa Ibulayimu, n’okuyingira kwe mu bika bya Yisiraeri tekwali kuyingira kwa mwoyo nga okwa Luusi Omumowabu. Nedda ssebo. Omukazi ono yali muwala wa Esubaali, kabaka we Sidoni - 1 Bassekabaka 16:31), eyali kabona wa Asitati. Entebe yagifuna amaze kutta gwe yaddira mu bigere, Pelesi. Kale tulabirawo nti yali muwala wa mutemu. (Kino, ddala kitujjukiza Kayini). N’engeri gye yafuukamu ekitundu ku Isiraeri, teyali ya makubo ga mwoyo Katonda gye Yali Ategekedde ab’amawanga okuyitamu; naye yayingirira mu KUFUMBIRWA Akabu, Kabaka w’ebika ekkumi ebya Isiraeri. Kaakati okwegatta kuno nga bwe tulabye tekwali kwa mwoyo ; kwali kwa bya bufuzi. Kale omukazi ono eyali atobye n’okusinza ebifaananyi, teyalina kwagala wadde akatono, okwali kusobola okumufuula omuntu asinza Katonda Omu ow’Amazima, naye wabula yajja n’ebigendererwa nga amaliridde okukyusa Isiraeri okuva ku Mukama. Kaakati Isiraeri (ebika ekkumi) baali bamaze okutegeera ki kye kyali kiteegeza okusinza ennyana eza zaabu, naye baali tebannaba kwewaayo eri okusinza ebifaananyi, kubanga Katonda Ye Yali Asinzibwa era n’amateeka ga Musa gaali gakakasa bwe gatyo. Naye okutandikira mu biseera Akabu mwe yawasiza Yezeberi, okusinza ebifaananyi kwakulaakulana ku ddaala erizikiriza. Omukazi ono we yafuukira kabona mu masinzizo ge yazimbira Asitati (Venasi) ne Baali (katonda w’enjuba) awo Isireari we yayingirira mu biseera ebya kazigizigi mu bulamu bwe.
Nga tulina bino mu birowoozo kaakati tuyinza okutandika okulaba Omwoyo wa Katonda ky’Ayoleka mu Mulembe guno ogwa Suwatira. Kiikino wano.

Akabu yawasa Yezeberi era yakikola nga akakodyo k’ebyobufuzi ak’okunyweza obwakabaka bwe awamu n’okubukuuma. Kye ekyo kyennyini ekkanisa kye yakola bwe yafumbirwa Constantine. Bombi beegatta lwa nsonga za bya bufuzi, newakubadde baakirippako endowooza y’omwoyo. Tewali ayinza kunzikirizisa nti Constantine yali Mukristaayo. Yali mukaafiiri eyalina obukodyo obwefaananyirizanga obw’ekikristaayo. Yasiiga emisaalaba emyeru ku ngabo z’abaserikale be. Ye yatandikawo abakuumi ba Columbus. Yateeka omusaalaba ku kkanisa ya Sofiya omutukuvu olwo akalombolombo ne katandika.

Kyali kirowoozo kya Constantine okuleeta abantu bonna awamu, abakaafiiri, abayitibwa obuyitibwa Abakristaayo n’Abakristaayo abatuufu. Era okumala akabanga kyalabika nga ekigenda okuyitamu kubanga abakkiriza abatuufu bajja okulaba oba nga kiyinzika okukomyawo abaali baseeseetuse okuva ku Kigambo. Bwe baalaba nga tebasobola kubakomyawo mu mazima, baawalirizibwa okweyawula okuva ku kibiina ekyo eky’ebyobufuzi. Bwe baakikola, baayitibwa abaali bawabye era ne bayigganyizibwa.

Leka ŋŋambe wano nti tulina ekintu kye kimu ekyo ekikyakolebwa na kati. Abantu bonna bagenda beegatta. Bali mu kuwandiika Bayibuli eneebeera ennuŋŋamu eri buli omu Omuyudaaya Omukatuliki n’Omupulotestante. Balina akakiiko kaabwe ak’e Nikyeya naye bo, bakayita akakiiko akagatta enzikiriza (Ecumenical Council). Era mumanyi ebibiina bino byonna gwe birwanyisa? Birwanyisa Abapentekote abatuufu. Sitegeeza bibiina byeyita bya Bapentekote. Ntegeeza abo Abapentekote abajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu era nga balina obubonero n’ebirala mu makkati gaabwe kubanga batambulira mu mazima.

Akabu bwe yawasa Yezeberi olw’ensonga z’ebyobufuzi yatunda obusika bwe. Weegatte n’ekibiina otunde obusika bwo, ow’Oluganda, oba oyagala okukikkiriza oba nedda. Buli kibiina ky’Abapulotesitante abaali bavuddemu ate ne baddayo, baatunda obusika bwabwe, ate bw’otunda obusika bwo, obeera nga Esawu - oyinza okukaaba ne weenenya byonna by’oyagala, naye tekijja kukuyamba mu ngeri yonna. Waliwo ekintu kimu kyokka ky’oyinza okukola era kye kyo nti: "Mukifulumemu, abantu Bange, era mulekere okussa ekimu n’ebibi bye!" Kaakati bw’olowooza nti ssiri mutuufu, ddamu ekibuuzo kino kimu.

Waliwo omuntu yenna omulamu ayinza okuntegeeza kkanisa ki oba nkola ki eya Katonda eyali efunye okudda obugya n’eddawo nate oluvannyuma lw’okweyawulamu ekibiina n’efuuka eddiini eŋŋunje? Soma ebyafaayo byo. Toyinza kusangayo n’emu - yadde emu.

Bwali budde bwa ttumbi eri Isiraeri bwe yeegatta ne ensi n’erekulira eby’omwoyo okwesogga eby’obufuzi. Gaali matumbi ga budde e Nikyeya ekkanisa bwe yakola ekintu kye kimu. Ssaawa ya ttumbi kati nga amakanisa geegatta.

Kaakati Akabu bwe yawasa Yezeberi, yamukkiriza okutwala ssente z’eggwanga n’azimba amasabo amanene abiri erya Asitati n’erya Baali. Eryo eryazimbirwa Baali ddene lyali ekimala Isiraeri yonna okujja okusinzizaamu. Ate Constantine n’ekkanisa bwe baafumbiriganwa yawa ekkanisa ebizimbe, n’azimba ebyoto n’ebifaananyi, era n’aluŋŋamya ne mu kutegeka obuyinza obwali butandise okweyoleka.

Yezeberi bwe yafuna obuwagizi obw’obuyinza bw’eggwanga, yakakaatika ku bantu eddiini ye n’atta bannabi ne bakabona ba Katonda. Kyayitirira obubi okutuusa Eriya, omubaka ow’omumulembe gwe bwe yalowooza n’okulowooza nti ye yekka eyali asigaddewo; naye Katonda Yalina abalala 7,000 abaali batannavuunamira Baali. Era kaakati eyo mu madiini ga Babaptist, Bamethodist, Bapresbyterian n’amalala, eriyo abamu abajja okugafulumamu badde eri Katonda. Njagala mutegeere nti sirwanyisa, kati era siringirizangako bantu. Wabula ddiini eŋŋunje - enkola ey’ebibiina gye mpakanya. Nnina okugiwakanya kubanga Katonda Agikyawa.

Kaakati, ka tuyimirireko wano eddaakiika nga emu twejjukanye ku bye twazudde ku by’ensinza mu Suwatira. Nnagambye nti baali basinza Apolo (eyali katonda njuba) awamu ne Kabaka. Kaakati Apolo ono yali ayitibwa “aziyiza ebitali bya butuukirivu”. Yajjawo obutali butuukirivu mu bantu. Yabawa omukisa era yali katonda yennyini gye bali. Yalina obuvunaanyizibwa obw”okuyigiriza abantu. Yannyonnyola ebikwata ku kusinza, n’obulamu obubaawo oluvannyuma lw’okufa. Engeri gye yakikola kino, yali ayita mu nnabbi omukazi eyali atuula ng’ayolesebwa ku ntebe ey’amagulu asatu. Owaaye! Okiraba? Wuuno nnabbi omukazi oli ayitibwa Yezeberi ng’ali mu kuyigiriza abantu. N’okuyigiriza kwe kusendasenda abaweereza ba Katonda era abaleetera okukola obukaba. Obukaba kitegeeza "Okusinza ebifaananyi." Ago ge makulu gaakyo ag’omwoyo. Kwe kwegatta okumenya amateeka. Okwegatta okwakolebwa Akabu n’okwegatta okwakolebwa Constantine kwali tekukkirizaganya na mateeka. Bombi baakola obukaba mu mwoyo. Buli mukaba, enkomerero ye eri mu nnyanja eyaka n’omuliro. Katonda Yagamba bw’Atyo.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Suwatira.

Download (PDF Olungereeza)... Jezebel Religion.



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.)


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF Olungereeza)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Ebimuli by’omuliro.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950.

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.


 

Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

   Bayibuli egamba...

Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga:

era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange;

era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya.

Okubikkulirwa 2:26-28



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.