Enjigiriza ya Balamu.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Enjigiriza ya Balamu.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Perugamo.

Okubikkulirwa 2:14,
"Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g’abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n’okwenda."

Kati toyinza kuba na nkola ya Nikolayiti nga eteekeddwa mu kkanisa enjigiriza eno nayo n’etayingira. Mulaba, bwe mujjawo Ekigambo kya Katonda n’okukola kw’Omwoyo nga ye engeri y’okusinza (abo abansinza bateekwa okunsinza mu Mwoyo ne mu mazima). Olwo abantu oba ojja kubawa ngeri ndala ey’okusinza mu kifo ky’eri gy’onaaba ojjeewo, era okujjawo ekya Katonda n’oteekawo ekirala ekyo kiba kiraga Bwabalamu.

Bwe tuba tunaategeera enjigiriza ya Balamu ki ky’eri mu kkanisa ey’Endagaano empya tusaanye tuddeyo emabega tulabe kiki kye yali mu Ndagaano Enkadde era tugigeraageranye ku mulembe ogw’okusatu olwo tugireete okugituusa ku gwa leero.

Ebyo bisangibwa mu Kubala Essuula 22 okutuuka ku nkomerero ya 25. Kati tumanyi nti Isiraeri be baali abantu ba Katonda abalonde. Be baali Abapentekote b’omu nnaku zaabwe. Baali babudamye wansi w’omusaayi, bonna baali babatiziddwa mu Nnyanja Emmyuufu era baava mu mazzi nga bayimbira mu Mwoyo era nga bazinira wansi w’amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu, nga Miriyamu, nnabbi omukazi, bw’akuba ensaasi ze. Kale, nga wayiseewo ekiseera mu lugendo lwabwe abaana ba Isiraeri bano baatuuka e Mowabu. Mujjukira ani yali Mowabu. Yali mutabani wa Luti gwe yazaala mu omu ku bawala be, Ibulayimu n’aba kitaawe wa Luti omuto, n’olwekyo Isiraeri ne Mowabu baalina oluganda. Ekyo njagala mukirabe. Abamowaabu baamanya amazima, oba baagatambuliramu oba nedda.

Bw’etyo Isiraeri yajja ku nsalo za Mowabu ne batuma ababaka eri kabaka nga bagamba nti, "Tuli baluganda. Tukkirize tuyite mu nsi yo. Abantu baffe oba ebisolo byaffe bwe binaalya oba bwe binaanywa ekintu kyonna tujja kuba ba ssanyu okukisasula." Naye kabaka Balaki yakyamuka nnyo. Omutwe ogwo ogw’ekibinja kya Banikolayiti gwali tegunnaba kutuuka kukkiriza kkanisa kuyitamu na bubonero bwayo, eby’amagero n’okweyoleka kw’Omwoyo Omutukuvu, n’amaaso gaabwe okumasamasa n’ekitiibwa kya Katonda. Kwali kweŋŋanga kusuffu, nga bwe kyali nti yali asobola okufiirwa ekitundu ku kibiina kye. N’olwekyo Balaki yagaana Isiraeri okuyitawo. Mazima yabatya nnyo, n’atuuka n’okugenda okupangisa nnabbi Balamu okumusaba abe omutabaganya wakati we ne Katonda asabe Omuyinza wa Byonna okukolimira Isiraeri, abafuule abatalina maanyi gonna. Era Balamu, nga yeesunga okubaako ekitundu ky’azannya mu by’obufuzi afuuke omuntu ow’ekitalo, yasanyuka nnyo okukikola. Naye bwe yalaba nga alina okutuukirira Katonda Amuwulirize abantu Abakolimire ye nga bwe yali tasobola kukikola yekka, yagenda okusaba Katonda oba Ayinza okumukkiriza okugenda. Kati ekyo tekifaanana nga Banikolayiti be tuli nabo ennaku zino? Bakolimira buli muntu atagendera ku nkola zaabwe.

Balamu bwe yasaba Katonda okumuwa olukusa okugenda, Katonda Teyamukkiriza. Owange ekyo kyamuluma! Naye Balaki yaguggubira, nga amusuubiza ebirabo n’ekitiibwa ebisingako. Kale Balamu n’addayo eri Katonda. Kati okwanukulwa okumu okuva eri Katonda kwandibadde kumala. Naye si ku Balamu eyeetulinkiriza. Katonda bwe Yalaba obukyamu bwe, Yamugamba okusituka agende. Amangu ago ne yeebagala endogoyi n’avaawo.

Yandikitegedde butegeezi nti ekyo kukkiriza kwa Katonda okuwalirize (so si nga bwe Yali Ayagala okusooka) era teyandisobodde kubakolimira ne bwe yandigenze emirundi makumi abiri era n’agezaako emirundi makumi abiri. Abantu so nga bafaanana Balamu ennaku zino! Bakkiririza mu Bakatonda basatu, babatizibwa mu bitiibwa bisatu mu kifo ky’ERINNYA, ate nga Katonda Ajja kutuma Omwoyo gye bali nga bwe Yakola ku Balamu, era bajja kugenda mu maaso nga bakkiriza nti batuufu ddala, era wano ddala Babalamu bennyini. Mulabe, enjigiriza ya Balamu. Mala gagenda. Kikole mu ngeri yo. Bagamba nti, "Kkwo okuba, Katonda nno Atuwadde omukisa. Wateekwa okuba nga tewali mutawaana." Nkimanyi nti Abawadde omukisa. Ekyo sikiwakanya. Naye kkubo lye limu ery’ebibiina ebigunje eryatwala Balamu. Okwo kuziimuula Kigambo kya Katonda. Njigiriza nkyamu.

Kale Balamu yaserengeta nga ataamye okutuusa Malayika eyava ewa Katonda bwe yeekiika mu kkubo lye. Naye nnabbi oyo (omulabirizi, kaliddinaali, ssentebe, pulezidenti, ssaabalabirizi) yali muzibe nnyo ku bintu by’Omwoyo olw’okulowooleza mu kitiibwa ettutumu ne ssente n’aba nga tasobola kulaba malayika eyali ayimiridde n’ekitala ekyali kisowoddwaayo mu kiraato kyakyo. Yayimirira awo okuziyiza nnabbi omulalu. Akalogoyi kko kaamulaba ne kamwebalama nga kadda eno n’eri okutuusa lwe kaakoona ekigere kya Balamu ku kisenge eky’olwazi. Endogoyi yayimirira n’eba nga tesobola kugenda. Yali tesobola. Balamu kwe kugibuukako n’atandika okugikuba. Olwo endogoyi n’etandika okwogera eri Balamu. Katonda endogoyi Yagyogeza olulimi. Endogoyi eyo teyali maleeto; yali nsigo etaali ntabulemu. Yagamba nnabbi omuzibe nti, "Siri ndogoyi yo, era sikusituddenga n’obwesigwa?" Balamu yaddamu nti "Yee, ddala, oli ndogoyi yange era obadde nga mwesigwa mu kuntambuza okutuusa kati; era bwe sikutambuza, nja kukutta... Abange! Kino kiki, kwogera na ndogoyi? Ekyo kisesa, ndowoozezza nti mpulidde nga endogoyi eyogera nange nga ngiddamu."

Bulijjo Katonda Ayogeddenga mu lulimi. Yayogerera ku mbaga ya Belusaza n’Ayogerera ne ku Pentekote. Era n’ennaku zino kati Akikola. Okwo kulabula okw’okusala omusango okunaatera okujja.

Olwo Balamu n’asobola okulaba malayika. Yagamba Balamu nti singa teyali ndogoyi mu kiseera ekyo yandibadde mufu olw’okukema Katonda. Naye Balamu bwe yasuubiza okuddayo, yasindikibwa nga alabuddwa okwogera ekyo kyokka Katonda ky’Amuwa okwogera.

Kale Balamu bw’atyo n’aserengeta n’azimba ebyoto musanvu olw’ensolo ennongoofu ez’okusaddaaka. Yatta akaliga akalume ekyalaga okujja kwa Masiya. Yamanya kiki eky’okukola okutuukirira Katonda. Yalina ebikola nga biri bulungi; wabula enkola teyagirina; nga bwe guli ennaku zino. Temulaba Banikolayiti? Eyo emmanga mu kiwonvu waaliyo Abaisiraeri nga bawaayo ssaddaaka y’emu, nga bakola ebintu bye bimu naye omu yekka ye yalina obubonero nga bugoberera. Omu yekka ye yalina Katonda wakati mu bo. Ekifaananyi obufaananyi tekirina we kirikutuusa. Tekisobola kutwala kifo kya kweyoleka kwa Mwoyo. Ekyo kye kyali e Nikyea. Baateekako njigiriza ya Balamu, so si njigiriza eya Katonda. Kale beesittala; ddala ne bagwa. Baafuuka bantu bafu.

Nga ssaddaaka emaze okuweebwayo, Balamu yali yeetegese okulagula. Naye Katonda Yasiba olulimi lwe n’atasobola kubakolimira. Yabawa mukisa. Balaki yasunguwala nnyo, naye Balamu yali talina ky’asobola kukola ku bunnabbi. Omwoyo Omutukuvu ye Yali Abwogedde. Balaki kye yava agamba Balamu okuserengeta mu kiwonvu, atunuulire amabega gaabwe okulaba oba tewaaliwo ngeri yonna gy’ayinza kubakolimira. Obukodyo Balaki bwe yakozesa bwe bumu bwe bakozesa ennaku zino. Amadiini amanene gatunula wansi ku bubiina obutono, kale ekintu kyonna kye babalabamu okusobola okukola ekikolobero bakijjayo ne bakyogerera waggulu. Bo abagendera ku by’omulembe bwe batambulira mu kibi, tewaba akyogerako; naye omu ku balonde leka agwe mu buzibu buli lupapula lw’amawulire lujja kukibunya eggwanga lyonna. Ddala, Isiraeri baalina amabega (omubiri) agaabwe. Baalina oluuyi lwabwe olwali lutasaana kuwaanibwa; naye wadde baalinamu obutali butuukirivu, olw’ekigendererwa kya Katonda ekikolera mu kulonda, olw’ekisa so si olw’ebikolwa, BAALINA EKIRE EMISANA EKIRO NE BABA N’EMPAGI Y’OMULIRO, BAALINA OLWAZI OLWASE, OMUSOTA OGW’EKIKOMO EKIZIGULE N’OBUBONERO N’EBYAMAGERO. Baakakasibwa - si mu bo, naye mu Katonda.

Soma akawunti mu...
Omulembe gw’Ekkanisa ya Perugamo.



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Omukazi oyo Yezeberi.)


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF Olungereeza)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Ebimuli by’omuliro.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950.

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu:

Ekyamateeka 6:4


Katonda Alina emitwe
(ebitiibwa) mingi:...
naye Alina erinnya
ery'obuntu limu
lyokka era
erinnya eryo
ye Yesu.