Okwolesebwa okw’oku kizinga Patumo.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Yokaana ku Patumo.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okwolesebwa okw’oku kizinga Patumo.

Kubik. 1:9,10
“Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’Ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeza Kwa Yesu Kristo. Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama ne mpulira ennyuma wange eddoboozi eddene, nga ery’akagombe.”

Okwolesebwa kuno okw’omuddiriŋŋanwa okw’Omuntu Yesu Kristo kwaweebwa Yokaana bwe yali awaŋŋangusiddwa ku kizinga Patumo. Akazinga kano keesudde ebbanga lya mailo asatu okuva ku lubalama lwa Asia Minor mu Guyanja oguyitibwa Aegean. Nga bwe kali ak’enjazi, nga kasangibwako n’emisota, eminya n’embalasaasa, kaalina omugaso mutono mu by’obusuubuzi, kale kaakozesebwa Ettwaale lya Roma nga ekifo ky’okubonerezaamu kwe baasibiranga abazzanga emisango egya nnaggomola, abasibe ab’eby’obufuzi n’abalala.

Ojja kulaba nti Yokaana yeeyanjudde eri Abakristaayo nga owoluganda mu kubonaabona. Mu kiseera kino ekkanisa eyasooka yali eyita mu kuyigganyizibwa. Eddiini yaabwe teyali nti “eyogerwako bubi buli wantu kyokka” naye abantu bennyini baasibibwa era ne battibwa. Yokaana, okufaanana nga abalala abangi ennyo, kaakano yali abonaabonera mu kkomera olw’Ekigambo kya Katonda n’obujulizi bwa Yesu Kristo. Bwe yakwatibwa, baagezaako okumutta nga bamufumbira mu mafuta agaali geesera okumala essaawa 24 naye ne balemwa. Ba ofiisa abaali baswakidde naye nga amaanyi tebaalina bamusalira omusango nga omulogo, asibibwe ku Patumo. Wabula Katonda yali naye era yamuwonya n’ava ku kizinga n’addayo mu Efeso gye yeeyongera mu maaso nga omusumba okutuusa lwe yafa.

Eky’emirundi omusanvu.

Kubik. 1:14-16,
"N’omutwe Gwe n’enviiri Ze nga zitukula ng’ebyoya by’endiga ebitukula nga omuzira; n’amaaso Ge nga ennimi z’omuliro; n’ebigere Bye nga bifaanana na ekikomo ekizigule, nga ekirongoosebbwa mu kikoomi; n’eddoboozi Lye nga liri nga eddoboozi ly’amazzi amangi. Era nga Akutte mu mukono Gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu; ne mu kamwa Ke ne muvaamu ekitala ekisala eky’obwogi obubiri; n’obwenyi Bwe nga buli nga enjuba bw’eyaka mu maanyi gaayo."

Okulabika kwa Yesu eri Yokaana nga kukyamula era nga kuluŋŋamya, bwe yali mu buwaŋŋanguse olw’Ekigambo, era laba, EKIGAMBO Ekiramu kati kiyimiridde mu maaso ge. Kuno okwolesebwa nga kumulisa, kuba buli kimunnyonnyolako kirina amakulu. Nga kubikkulirwa kwa kitiibwa okw’Enkula Ye.

1. Enviiri Ze Njeru nga Omuzira.

Yokaana asooka n’alaba era n’ayogera ku bweru bw’enviiri Ze. Zaali njeru, era nga zitangalijja nga omuzira. Kino tekyali lwa myaka Gye. Ha, nedda. Enviiri enjeru ezitangalijja si kabonero ka myaka wabula bumanyirivu, obukulu n’amagezi. Oyo Ataggwaawo takaddiwa. Ekiseera kye ki eri Katonda? Ekiseera kirina amakulu matono eri Katonda, naye amagezi galina amakulu mangi. Kiringa Sulemaani bwe yasaba Katonda okufuna amagezi okulamula abantu ba Isiraeri. Kati Ajja, Omulamuzi w’ensi yonna. Agenda kutikkirwa engule ey’amagezi. Ago ge makulu g’enviiri enjeru ezitangalijja.

Ye yali omulamuzi nga Abikkula ebitabo era nga Alamula okusinziira ku byalimu. Danyeri yamulaba nga Ajja mu bire. Kye ekyo kyennyini Yokaana kye yalaba. Bombi baamulaba mu ngeri y’emu. Baalaba Omulamuzi n’olukoba Lwe ku bibegabega Bye, ng’Ayimiridde mutukuvu Ataliiko kamogo, Ajjudde amagezi, Alina ebisaanyizo byonna okulamula ensi mu butuukirivu. Aleruuya.

2. Amaaso Ge nga Omuliro.

Kirowoozeeko. Amaaso ago lumu agaali gaddiridde nga gakulukuta amaziga ag’ennaku n’okusaasira. Amaaso ago agaakaaba n’okusaasira ku ntaana ya Lazaalo. Amaaso ago agataalaba bubi bw’abatemu abaamuwanika ku musaalaba naye mu nnaku ne gakaaba nti, “Kitange basonyiwe.’’ Kati amaaso ago nnimi za muliro, amaaso g’Omulamuzi Alyesasuza abo abaamugaana. Mu kukyamuka kwonna okw’obuntu kwe Yayoleka kuno kwe kwasingayo bwe Yalabika nga Omwana w’Omuntu, Yakaabanga. Ate nga emabega w’okukaaba okwo n’ennaku waalingayo Katonda. Amaaso ago ge gamu gaalaba okwolesebwa. Gaatunulanga mu nda mu buziba bw’emitima gy’abantu ne gasoma ebirowoozo byabwe era ne gamanya amakubo gaabwe gonna ag’enjawulo. Ekyayakaayakananga okuva mu maaso ago ag’omubiri Yali Katonda Eyakaabiranga abo abataamanya lwaki Yaliwo. “...Bwe mutakkiriza nti Nze Nzuuyo, mulifiira mu bibi byammwe.” Yokaana 8:24. “Bwe Ssikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. Naye bwe Ngikola (emirimu gya Kitange), newakubadde nga temunzikiria Nze, mukkirize emirimu...” Yokaana 10:37,38. Nga Yeremiya ow’edda, Ye Yali nnabbi akaaba, kubanga abantu tebaafuna Kigambo kya Katonda ne basammula eri okubikkulirwa.

Amaaso g’Omulamuzi ago ag’ennimi z’omuliro ne kaakati gawandiika obulamu bw’emibiri gyonna. Ng’Adduka okuva eno n’eri okumalako ensi yonna, tewali ky’Atamanyi. Amanyi emitima bye byagala na buli omu ky’agenderera okukola. Tewali kikwekeddwa kitalibikkulwa, kubanga ebintu byonna byeruliddwa mu maaso g’Oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe. Kirowoozeeko, Amanyi ne kaakati ky’olowooza.

Yee, Wuuyo Ayimiridde nga Omulamuzi n’amaaso agaakaayakana okulamula mu bwenkanya. Olunaku lw’ekisa luweddeko. Ha, singa abantu beenenya ne banoonya amaaso Ge mu butuukirivu nga ekiseera kikyaliyo. Balyoke basobole okufuula ekifuba Kye akatto ng’ensi tennannyikira mu muliro.

3. Ebigere eby’Ekikomo Ekizigule.

“N’ebigere Bye nga bifaanana nga Eby’ekikomo ekizigule ekirongoosebbwa mu ntamu.” Ekikomo ekizigule kimanyiddwa olw’obugumu bwakyo obuyitirivu. Tewali kintu kimanyiddwa ky’oyinza kukiteeka nakyo okukigonza. Naye ekikomo kino ekizigule ekinnyonnyola ebigere Bye kyo kisingako okulabika lwa nsonga nti kigumidde okugezesebwa kw’ekikoomi, okugezesebwa okutayitibwangamu muntu mulala yenna. Era ekyo kituufu ddala. Kubanga ekikomo ekizigule kabonero ka Kulamula Okutukuvu: okulamula Katonda kwe yalangirira era n’Akutuukiriza. Okubala 21;8,9, “Mukama n’Agamba Musa nti, Weekolere omusota ogw’omuliro, oguteeke ku muti: awo olunaatuuka, buli alumiddwa bw’anaagulaba, anaaba mulamu. Musa n’akola omusota ogw’ekikomo ekizigule, n’aguteeka ku muti; awo olwatuuka omusota bwe gwali gulumye omuntu yenna bwe yatunuulira omusota ogw’ekikomo ekizigule n’aba mulamu.” Isiraeri yali eyonoonye. Ekibi kyalina okusalirwa omusango. Kale Katonda n’Alagira Musa okuteeka omusota ogw’ekikomo ku muti, era buli eyagutunuulira yawona okuva mu kibonerezo ky’ekibi kye.

Naye luliba lumu ebigere ebyo eby’ekikomo ekizigule bijja kuyimirira ku nsi. Era omulamuzi w’ensi yonna Aliba, era mu bwenkanya ne mu butuukirivu Aliramula omuntu. Era tewaliba kwewala, kulamulwa okwo. Tewaliba kuvuunika bwenkanya obwo. Tewaliba kubugonzaamu. Oyo atali mwenkanya wa kusigala nga si mwenkanya; oyo omugwaagwa ajja kusigala ng’akyali mugwaagwa. Atakyuka Oyo Talikyuka ku olwo, kubanga Takikolangako era Talikikola. Ebigere ebyo eby’ekikomo ekizigule bigenda kubetenta omulabe. Bigenda kuzikiriza omulabe wa Kristo, ensolo n’ekifaananyi n’ebyo byonna eby’ensonyi mu maaso Ge. Alizikiriza enkola z’ekkanisa ezikozesezza Erinnya Lye ne zoonoona okumasamasa kwalyo Azibetentere wamu n’omulabe wa Kristo. Ababi bonna, abatakkiriza nti waliyo Katonda, abakkiririza mu ebyo byokka ebirabika, abo abagendera ku biri ku mulembe, bannampawengwa, bonna balibeera eyo. Okufa, ggeyeena, n’amagombe biribeera eyo. Ddala bwe biriba. Kubanga bw’Alijja, ebitabo biribikkulwa. Ku olwo n’ekkanisa ey’ekibuguumirize n’embeerera abataano abasiru balirabika. Alyawula endiga okuva ku mbuzi. Lw’Alijja Alitwala obwakabaka, kubanga, Bubwe, era emitwalo n’emitwalo balibeera na Ye, Omugole We ajja okumuweereza. So ekitiibwa! Ha, kirina kuba kati oba si ekyo nedda. Weenenye nga obudde tebunnayita. Zuukuka okuva mu bafu onoonye Katonda okujjuzibwa Omwoyo We oba si ekyo ogenda kusubwa obulamu obutaggwaawo. Kikole kaakati nga wakyaliwo ekiseera.

4. Eddoboozi Lye Lyali Liringa ery’Amazzi Amangi.

Kati amazzi galiwo ku lwaki? Kiwulire mu Kubik. 17:15, “...amazzi ge walabye be bantu, n’ebibiina, n’amawanga, n’ennimi.” Eddoboozi Lye lyafaanana nga eddoboozi erya nnamungi w’abantu aboogera. Kiki ekyo? Kwe kulamula. Kubanga gano ge maloboozi ga nnamungi w’abajulizi, Mwoyo Omutukuuvu be Yayisa mu mirembe nga bajulira eri Kristo ne babuulira Enjiri Ye. Liriba ddoboozi lya buli muntu nga ayimuka mu kusalira omusango omwonoonyi ataawuliriza kulabula. Amaloboozi g’ababaka omusanvu gagenda kuwulikika waggulu era nga gategeerekeka. Ababuulizi abo abeesigwa abaabuulira amaanyi ga Yesu agalokola, abaabulira okubatiza okw’omu mazzi mu Linnya lya Yesu, abaabulira okujjuzibwa n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, abaayimirira n’Ekigambo okusinga n’obulamu bwabwe bo; bonna lye lyali eddoboozi lya Yesu Kristo nga liyita mu Mwoyo Omutukuvu mu mirembe. Yokaana 17:20, “So sisabira bano bokka, naye n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe.”

Ha, singa mukirabako obulabi. Amazzi ge gaazikiriza ensi, naye ate gaali mazzi ge gamu agaanunula Nuuwa era ne galokola ensi yonna ku lwa Nuuwa. Wuliriza eddoboozi Lye, eddoboozi ly’omuweereza We, nga liyita abantu okujja eri okwenenya n’obulamu.

5. Mu Mukono Gwe Ogwa ddyo Mwalimu Emmunyeenye Musanvu.

“Ne mu mukono Gwe Yalina emmunyeenye musanvu.” Kati kkwo okuba tukimanyi nti okuva mu lunyiriri olw’abiri kiki ddala emmunyeenye omusanvu kye ziri. “Era ekyama ky’emmunyeenye omusanvu be bamalayika (ababaka) b’amakanisa omusanvu.” Kati tetuyinza wano kukola nsobi yonna, nga bw’Akituwuunulira. Emmunyeenye zino omusanvu be babaka eri emirembe gy’amakanisa omusanvu egiddiringana. Tebayitibwa na linnya. Bavaayo buvi nga bali musanvu, omu omu eri buli mulembe. Okuva ku Mulembe gwa Efeso okutuuka ku Mulembe guno ogwa Lawodikiya buli mubaka yaleeta obubaka obw’amazima eri abantu, n’atalemwa kukuuma Kigambo kya Katonda eri omulembe gw’ekkanisa eyo. Buli omu yabwekwatako. Tebaasagaasagana mu buwulize bwabwe eri omusana ogwasooka. Nga buli mulembe bwe gwayawukana ku Katonda, omubaka We omwesigwa azzaayo omulembe ogwo eri Ekigambo. Amaanyi gaabwe gaava wa Mukama singa tekyali ekyo tebandisobodde kuyimiriza muyaga. Baali batebenkedde nga y’Abalabirira, kuba tewali kintu kyali kisobola kubajja mu mukono Gwe, era tewaali kisobola kubaawula kuva ku kwagala kwa Katonda, ka bube bulwadde, nnaku, kuyita bwereere, njala, kitala, bulamu oba kufa. Baali beeweereddeyo ddala gy’Ali era ne bakuuma obuyinza bwe bwonna. Baali tebafaayo ku kuyigganyizibwa kwe baasanganga. Obulumi n’okusekererwa byabatuukako Katonda Aweebwe ekitiibwa nti baabalibwa okuba nti basaanidde okubonaabona ku Lulwe. Era mu kwebaza olw’obulokozi Bwe baayaka n’omusana gw’obulamu Bwe era ne balaga okwagala Kwe, obugumiikiriza, obuwombeefu, okufuga obusungu, obukkakkamu n’obwesigwa. Era Katonda n’Abawagira n’ebyewuunyo, obubonero n’ebyamagero. Baavunaanibwa mbu baali kajanja era abatukuvu - abeevulungula. Ebibiina by’amadiini byabalangirira mbu nno baali bakyamu era ne basekererwa wabula baali ba mazima eri Ekigambo.

Era obutebenkevu buno si bwa babaka ba mirembe gy’ekkanisa omusanvu bokka. Buli mukkiriza omutuufu ali mu mukono gwa Katonda era asobola okutoola okuva mu kwagala Kwe n’amaanyi Ge, era n’afuna emigaso gyonna egy’ekyo kyonna Katonda ky’Ali eri omukkiriza. Katonda ky’Awa omubaka, engeri gy’Amuwa omukisa era gy’Amukozesa, kyakulabirako eri abakkiriza bonna ab’obulungi bwe n’okulabirirwa eri BONNA abali mu mubiri Gwe. Amiina.

6. Ekitala eky’Obwogi Obubiri.

“Ne mu kamwa Ke ne muvaamu ekitala ekisala eky’obwogi obubirï.” Mu Baebulanyia 4:12 “Kubanga Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiiiiriza okw’omu mutima.” Okuva mu kamwa Ke mwavaamu ekitala eky’obwogi obubiri nga ekyo kye KIGAMBO KYA KATONDA.

Kati Pawulo yagamba nti Ekigambo n’eddoboozi byajjira mu maanyi. Ekigambo ekyabuulirwa ddala kyeyoleka kyokka. Okufaananako nga ekitala ekyakaayakana ekisala, kyagenda mu mitima gy’abantu, era nga akambe k’omusawo alongoosa, kyasalamu endwadde ne kisumulula abasibe. Buli wonna abakkiriza bano abaasooka we baagenda, “baagendanga nga babuulira Enjiri (Ekigambo) Katonda n’Akakasa Ekigambo ekyo mu bubonero nga bugoberera.” Abalwadde baawonyezebwa, emizimu gyagobebwa, ne boogera mu nnimi empya. Ekyo kye kyali Ekigambo mu bikolwa. Ekigambo ekyo tekiremererwangako mu kamwa k’Abakristaayo abakkiriza. Era mu mulembe guno ogusembayo kiri wano nga kya maanyi era kya kitalo okusinga bwe kyali kibadde mu mugole omutuufu ow’Ekigambo. Oo, ekisibo ekitono, mwe abasingayo obutono, mwekwate ku Kigambo, mukijjuze emimwa gyammwe n’emitima gyammwe, luliba lumu Katonda Alibawa obwakabaka.

7. Amaaso Agafaanana nga Enjuba.

Mu Kubik. 21:23, “So ekibuga tekyetaaga njuba, newakubadde omwezi okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n’ettabaaza yaakyo ye Mwana gw’endiga.” Kino ye Yerusaalemi Ekiggya. Omwana gw’Endiga Aliba mu kibuga ekyo, era olw’okubeerawo Kwe, tewalibaawo musana gwetaagisa: Enjuba terivaayo na kugwa eyo kubanga Ye Yennyini, ye Njuba n’Omusana gwayo. Amawanga agajja mu kibuga ekyo galitambulira mu musana Gwe. Temuli basanyufu nti olunaku olwo lututuuseko? Yokaana yalaba olunaku olwo nga lujja. Weewaawo, Mukama Yesu, jjangu mangu!

Malaki 4:1-3, “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya nga ekikoomi; n’abamalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala bw’ayogera Mukama ow’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi. Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo nga erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita nga ennyana ez’omu kisibo. Era mulirinnyirira ababi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw’Ayogera Mukama ow’eggye.” Kiikyo awo nate. ENJUBA nga eyaka mu maanyi gaayo gonna. Ha, amaanyi g’Omwana wa Katonda gaaka wakati mu bikondo by’ettabaaza omusanvu. Ayimiridde awo, Omulamuzi, Oyo eyatubonaabonera n’Atufiirira. Yeetikka obusungu bw’okulamula Okutukuvu Mwene. Yalinnyirira Yekka essogolero ly’obukambwe bw’obusungu bwa Katonda. Nga bwe twagambye edda, eri omwonoonyi eddoboozi Lye liringa ery’ekiyiriro oba ejjovu ebiyiika mu mayengo g’okufa ku lubalama olw’enjazi. Naye eri omutukuvu, eddoboozi liringa ery’akagga akayimba oluyimba oluwoomerevu, nga owummudde, omatidde mu Kristo. Nga Atwakako n’okumasamasa Kwe okw’okwagala Agamba nti, “Temutya Nze Nzuuyo Eyabaawo, Abaawo era Ajja Okubaawo; Nze Ayinza Byonna. Tewali mulala Nze wendi. Nze Alufa ne Omega, BYONNA awamu. “Lye Eddanga ery’omu Kiwonvu, Emmunyeenye y’oku Nkya Ye Asingayo mu mutwalo eri emmeeme yange. Weewaawo, olunaku olwo olw’ekitalo lunaatera okukya n’Enjuba ey’Obutuukirivu erivaayo n’okuwonya mu biwaawaatiro byayo.”

Soma akawunti mu...
Okwolesebwa okw’oku kizinga Patumo.



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.)


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.


 
   Bayibuli egamba...

Bwe nnamulaba ne ngwa ku bigere bye nga afudde. N’Anteekako omukono Gwe ogwa ddyo, nga Ayogera nti Totya; Nze w’olubereberye era ow’enkomerero,

era Omulamu; Nnali Nfudde, era laba, Ndi mulamu emirembe n’emirembe, era Nnina ebisumuluzo eby’okufa n’ebyEmagombe.

Okubikkulirwa 1:17,18


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


He is the I am.

 

Christ. In the golden
candlestick.

Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF Olungereeza)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Ebimuli by’omuliro.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950.

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.