Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.


  Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Enjigiriza ya Tirininti.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.

Okubikkulirwa 1:5,
“Era ebiva eri Yesu Kristo, Omujulirwa Omwesigwa Omubereberye w’Abafu, era Afuga Bakabaka b’omu Nsi. Atwagala era Eyatusumulula mu bibi byaffe olw’omusaayi Gwe.”

Okubikkulirwa 1:8,
“Nze ndi Alufa ne Omega bw’Ayogera Mukama Katonda Abaawo era Eyabaawo era Ajja Okubaawo, Omuyinza w’ebintu byonna.”

Emyoyo omusanvu mu maaso g’entebe gwe Mwoyo ogwali mu buli omu ku babaka omusanvu, nga gubawa obuweereza bwabwe eri omulembe buli omu gwe yalimu. Kati enjogera zino zonna ESU KRISTO nti, ‘Oyo Aliwo’, ne ‘Oyo Eyaliwo’, era ‘Ow’okujja’, ‘Omujulirwa Omwesigwa’, ‘Omubereberye okuva mu Bafu’, ‘Omulangira wa Bakabaka b’oku Nsi’, era ‘Alufa ne Omega’, ne ‘Ayinza Byonna’, mitwe oba bitiibwa ebinnyonnyola ku MUNTU OYO OMU, nga ye Mukama Yesu Kristo, Eyatunaazaako ebibi byaffe mu musaayi Gwe.

Omwoyo wa Katonda mu Yokaana bw’Atyo bw’Annyonnyola okusobola okulaga Obwakatonda obw’oku Ntikko obwa Yesu Kristo n’okubikkula Obulamba bwa Katonda nga Katonda OMU. Ennaku zino waliwo ensobi ennene. Eri nti Bakatonda bali basatu so si omu. Okubikkulirwa kuno nga Yesu Kristo Yennyini bwe Yakuwa Yokaana, kugolola ensobi eyo. Tekiri nti waliwo Bakatonda basatu wabula waliwo Katonda omu ne wofiisi ssatu. Waliwo Katonda OMU n’ebitiibwa oba emitwe esatu, Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Okubikkulirwa kuno okw’ekitalo kwekwo ekkanisa eyasooka kwe yalina, era kuteekwa okuzaawulwa leero awamu n’engeri entuufu ey’okubatiza mu mazzi.

Kati abayizi ab’ennaku zino abasomerera eby’eddiini tebajja kukkiriziganya nange kubanga waliwo wano ekyawandiikibwa mu katabo k’Ekikristâayo. “Enjigiriza eya Tirininti (obusatu) eri ddala ku mutima oba omulamwa gw’Endagaano Empya. Endagaano Empya ewakanyizibwa mu ngeri y’emu ddala ng’Endagaano Enkadde mu kulowooza nti Katonda Tali omu Yekka. Ate ng’Endagaano Empya n’obutangaavu bwe bumu eyigiriza nti Kitaffe ye Katonda, n’Omwana ye Katonda era n’Omwoyo Omutukuvu ye Katonda nti era abasatu bano si bitundu bya njawulo eby’omuntu omu, wabula abantu (abaperesona) abasatu abayimiridde nga bakolaganira wamu. Awo we tubeerera n’enjigiriza ey’ekitalo ey’Abaperesona Abasatu naye Katonda omu.”

Bongera ne bagamba nti, “Katonda, okusinziira ku Bayibuli, si muntu omu, wabula abantu abasatu abali mu Katonda omu. Ekyo kye kyama kya Tirininti eky’ekitalo.”

Ddala bwe kiri. Abantu abasatu basobola batya okuba mu Katonda omu? Nga ojjeeko obutaba na Bayibuli ekiwagira, kiraga n’obutaba n’amagezi mu kulowooza. Abantu bano abasatu aba nnamaddala, wadde balimu ekintu kimu, baba bakola bakatonda basatu, oba si bwe kityo awo olulimi luba luggweereddemu ddala amakulu.

Ddamu nate owulirize ebigambo bino, “Nze Alufa era Omega, ow’Oluberyeberye era Asembayo, bw’Ayogera Mukama Abaawo, era Eyabaawo, era Ajja okubaawo, Omuyinza w’ebintu byonna.” Ono ye Katonda. Ono si nnabbi bunabbi omuntu. Ono Katonda. Era si kubikkulirwa kwa Bakatonda abasatu, wabula Katonda OMU Omuyinza w’ebintu byonna.

Ku ntandikwa y’ekkanisa tebakkiririzanga mu Bakatonda basatu. Toyinza kusanga nzikiriza efaanana bw’etyo mu batume. Kyajjawo luvannyuma lw’emirembe gy’abatume endowooza eno n’efuuka ensonga era n’efuuka enjigiriza enkulu mu Lukiiko lwe Nikyeya, (Nicene Council). Era Enjigiriza y’Obulamba bwa Katonda yaleeta okuyulikamu ebitundu bibiri e Nikyeya. Era okuva mu kukutukamu okwo enjuuyi zombi zaayawukanira ddala. Olumu lwakitwalira ddala nti Katonda Tali omu bumu ate abalala nti Katonda Ali omu. Weewaawo ekyo kyatwala akabanga okujja naye kyajja era leero tukirina. Naye Okubikkulirwa Omwoyo kwe Yayisa mu Yokaana eri amakanisa kwali nti, “Nze Mukama Yesu Kristo era Nze BYONNA. Tewali Katonda mulala.” Era Okubikkulirwa kuno Yakusibako envumbo Ye. Kino kirowoozeeko: Ani yali Kitaawe wa Yesu? Mat 1:18 kigamba nti ‘Yasangibwa n’omwana ow’Omwoyo Omutukuvu.’’ Naye Yesu, Yennyini, Yagamba nti Katonda Ye Yali Kitaawe. Katonda Kitaffe ne Katonda Omwoyo Omutukuvu nga bwe twogera bulijjo, kifuula Kitaffe n’Omwoyo okuba nti bali OMU. Ddala bwe bali, bwe kitaba bwe kityo Yesu Yalina Bakitaawe babiri. Naye tegeera nti Yesu Yagamba nti Ye ne Kitaawe bali Omu-si babiri. Ekyo kikola Katonda OMU.

Kino okuva bwe kiri ekituufu okusinziira mu Byafaayo n’Ebyawandiikibwa, abantu beebuuza wa abasatu gye baava. Yafuuka omusinji gw’enjigiriza mu Lukiiko lw'e Nikyeya mu mwaka 325 oluvannyuma lw’okujja kwa Yesu. Tirininti (ekigambo ekitasangibwa na mu Byawandiikibwa) kyazimbibwa ku bakatonda ba Roma abangi. Abaruumi baalina bakatonda bangi be baasabanga. Baasabanga nga bayita ne mu bajjajjaabwe nga abatabaganya. Lyali ddaala lya kutuuma bakatonda abakadde amannya amapya, kwe kuba n’abatukuvu kyongere okulabika nga kyefaananyiriza ku bya Bayibuli. Kale mu kifo kya Jupiter, Venice, Mars n’amalala tulina Pawulo, Peetero, Fatima, Christopher, n’amalala. Eddiini yaabwe ey’ekikaafiiri yali tesobola kukola nga erina Katonda omu, kwe kumwawulamu ebitundu bisatu abatukuvu ne babafuula abawolereza nga bwe baakola bajjajjaabwe.

Okuviira ddala ku olwo abantu baalemwa okutegeera nti waliwo Katonda Omu bumu nga alina ziwoofiisi ssatu (obuweereza) oba okweyoleka kwa ngeri ssatu. Bamanyi nti waliwo Katonda Omu okusinziira ku Byawandiikibwa naye bagezaako okukifuula ekintu ekitategeerekeka nti Katonda Alinga ekirimba ky’ebibala; abaperesona basatu n’obutukuvu bwe bumu nga babugabanira wamu kyenkanyi. Naye wano mu Kubikkulirwa kyogera butereevu nti Yesu “Ye Oyo Aliwo”, “Oyo Eyabaawo”, era “Oyo Ajja okubaawo”. Ye Alufa ne Omega”, ekitegeeza nti ye “A okutuuka ku Z” oba BYONNA. Ye byonna - Ayinza byonna. Ye kye kimuli kya roozi, Eddanga ly’omu kiwonvu, Emmunyeenye y’oku Nkya Emasamasa, Ettabi Ettuukirivu, Kitaffe, Mwana n’Omwoyo Omutukuvu. Ye Katonda, Katonda Ayinza byonna. KATONDA OMU.

1 Tim. 3:16 kigamba nti, “Era awatali kubuusabuusa ekyama eky’okutya Katonda kye kikulu: Katonda Yalabisibwa mu mubiri, n’Atukuzibwa mu mwoyo, n’Alabibwa bamalayika, n’Abuulirwa mu mawanga, ab'omu nsi ne bamukkiririzaamu n’Atwalibwa mu Kitiibwa.” Bayibuli kino ky’egamba. Wano terina ky’egamba ku muntu asooka ow’okubiri oba ow’okusatu. Katonda Omu. KATONDA Oyo OMU Yalabisibwa mu mubiri. Ekyo kisaanye kimalewo empaka. Katonda Yajjira mu kifaananyi ky’omuntu. Ekyo tekyamufuula KATONDA MULALA. YALI KATONDA, KATONDA OMU. Mu kiseera ekyo kwali kubikkulirwa, era ne kaakano kubikkulirwa. Katonda Omu.

Leka tuddeyo mu Bayibuli tulabe kiki kye Yali ku ntandikwa okusinziira ku kubikkulirwa kwe Yawa nga kumwogerako. Yakuwa Ow’ekitalo Yalabikira Israeri mu mpagi ey’omuliro. Nga malayika ow’Endagaano, Yabeeranga mu mpagi ey’omuliro n’Akulembera Israeri buli lunaku. Ku yeekaalu yalanga okujja Kwe n’ekire eky’ekitalo. Olunaku lumu n’Ayolesebwa mu mubiri ogutamanyi musajja ogwamutegekerwa. Katonda Oyo Eyasula waggulu w’ensiisira za Israeri kaakano Yayambala omubiri n’Abeera nga omuntu mu bantu. Naye yali KATONDA YE OMU. Bayibuli eyigiriza nti KATONDA YALI MU KRISTO. Omubiri gwali Yesu. Mu Ye mwe mwali obujjuvu bwonna obwa Katonda mu MUBIRI. Tewali kiyinza kweraga kyokka kusinga ku ekyo. Yee, kye kyama. Naye amazima gennyini - toyinza kunnyonnyola kusukka awo. Kale oba nga teyali bantu basatu, olwo ne kati tasobola kuba. KATONDA OMU: Era kaakati Ono ye Omu Yafuulibwa omubiri.

Yesu Yagamba nti, “Nava wa Katonda era Nzirayo eri Katonda.” Yokaana 16:27-28. Ekyo kyennyini kye kyabeerawo. Yabulawo okuva mu nsi ng’Ayita mu kufa, okuziikibwa, okuzuukira n’okulinnya mu ggulu. Ate Pawulo n’amusanga ku Luguudo olugenda e Damasiko n’Ayogera ne Pawulo ng’Agamba nti: “Saulo, Saulo, lwaki onjigganya?” Pawulo n’addamu nti: “Ggwe ani Mukama?” N’addamu nti, “Nze Yesu.” Yali mpagi ya muliro, ekitangaala ekiziba amaaso. Yali Akyukidde ddala ng’Azzeeyo mu ngeri y’emu nga bwe Yali Agambye. Ng’Azzeeyo nga bwe Yali nga tannaba kwambala mubiri. Bw’atyo Yokaana bwe yakirabira ddala. Yok. 1:18: “Tewali yali alabye Katonda wonna wonna, Omwana Eyazaalibwa omu Yekka Ali mu kifuba kya Kitaffe, oyo y’amutegeeza”. Weetegereze Yokaana w’agamba nti Yesu Ali. Ali mu kifuba kya Kitaffe.

Lukka 2:11 kigamba nti, “Kubanga leero Azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi ye Kristo Mukama.” Yazaalibwa nga ye Kristo era nga wayiseewo ennaku munaana yakomolebwa. Yatuumibwa Yesu era nga Malayika bwe yali abagambye. Nnazaalibwa nga ndi Branham. Bwe nnazaalibwa bantuuma erinnya William. Yali KRISTO naye Yaweebwa erinnya wano wansi mu bantu. Olusiisira olwo olw’okungulu abantu lwe baalabanga lwayitibwa Yesu. Ye Yali Mukama ow’Ekitiibwa, Ayinza byonna ng’Ayoleseddwa mu mubïri. Ye Katonda Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Ebyo byonna ye Ye.

Soma akawunti mu...
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.

Download   Godhead Explained (English)


   Bayibuli egamba...

Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu:

Ekyamateeka 6:4



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Egenda mu maaso ku lupapula oluddako.
(Okwolesebwa okw’oku kizinga Patumo.)




 


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Two Babylons

by Rev Alexander Hislop.
(PDF Olungereeza)

Olusozi n’ekisaka
kya rosebush mu
muzira mu China.

Ebimuli by’omuliro.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950.

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.