Omwoyo Omutukuvu Kye ki?

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Okumufuukira abaana series.

Nvumbo yo.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Omwoyo Omutukuvu Kye ki?.

Kati, Nsabye ekkuaaniro lino... Kati, tetugenda kukiyingiramu kino, olw'olukuaana oluwanvu. Njagala okuyingira mu kino, era mbeetaaga, mbasabye, mwokye buli lutindo olubali ennyuma wammwe, na buli kibi mukirongoose mutereeze, nga bwe tujja mu kino na buli kintu kyonna ekiri mu mitima n'obulamu bwaffe. Tuteekeddwa okujja wano olw'ekigendererwa kyaffe ekimu kiti, kwe kweteekerateekera okudda kwa Mukama waffe era nga tewali kirala kyonna. Nga bwe njogedde era nga bwe ambye, nti oba oli awo olumu nsobola okusomesa oba ne njogera ekintu ekimu ekiyinza okwawukanako ku ky'omuntu omulala, ng'engeri gye bakikkirizaamu. Ssazze ku- okuwakana, Mukiraba ndowooza, Nn- Nnazze...Tuli wano kuteekateeka kujja kwa Mukama.

-----
Mu kifo kino, twagala okutuuka ku ky'okuyigako, kye ndowooza eky'enjawulo eky'okuyigako ekya leero ekya... Omwoyo Omutukuvu Kye Ki? Kye ki ekyo? Era kati ensonga endeesezza eky'okuyigako mu ngeri eno, tosobola kufuna Mwoyo Mutukuvu okutuusa ng'omanyi kiki ky'Ali. Ate era tosobola ku mufuna, bw'oba ng'omanyi ky'Ali, okutuusa ng'okkiriza nti yakuweebwa, era nti wuwo. Kale olwo tosobola kumanya oba omulina oba nedda, okutuusa ng'omanyi by'aleeta ng'omulina. N'olwekyo bw'omumanya ky'Ali, era nga waani era na bikolwa ki by'aleeta bw'ajja, kati olwo ojja kumanya ky'olina bw'onoomufuna. Olaba? Ekyo kiba kimala bumazi.

Kaakati, waliwo enjawulo nnene wakati w'Omukristaayo obukristaayo n'Omukristaayo eyajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu. Era kati tugenda kufuna kino mu Kyawandiikibwa, era tukirambike bulungi mu Kyawandiikibwa. Mu kusookera ddala, waliwo omukristaayo eyayatula nti Mukristaayo. Naye Omukristaayo ono tanajjuzibwa na Mwoyo Mutukuvu, ali bubeezi mu mutendera ogw'okufuuka Omukristaayo. Mulaba? Ayatudde okukikkiriza; akolerera kukituukako, naye Katonda tannaba kumuwa Mwoyo ono ow'Omwoyo Omutukuvu. Tannatuuka ku kigendererwa ekyo ne Katonda, nti nga Katonda akikakasizza.

-----
Okukomola kabonero ka Mwoyo Mutukuvu. Awo Katonda n'Awa Ibulayimu a- akabonero ak'okukomola bwe yamala okukkiriza Katonda ku kisuubizo Kye, n'alyoka afuluma okugenda mu nsi engenyi. Mulaba? Kaali kabonero. Era abaana be bonna n'ezzadde lye eririddawo, balina okubeera n'akabonero kano mu mibiri gyabwe, kubanga ke kaali kabaawula. Kaali ka kubaawula okuva ku bantu abalala bonna, akabonero kano ak'okukomola. Era ako Katonda k'Akozesa olwa leero. Ke kabonero k'okukomola kw'omu mutima, Omwoyo Omutukuvu, afuula Ekkanisa ya Katonda Ekkanisa enjawufu ku bikwate byonna, enzikiriza n'ebibiina by'amadiini. Bali mu bibiina bya madiini eby'engeri ez'enjawulo naye nga bantu ba njawulo.

-----
Obeera wa njawulo Omwoyo Omutukuvu bw'ajja ku ggwe, okutuusa nga ne ndowooza y'ensi eno tekwagala, ate era nga bakulwanyisa, nga tebalina na kye bakwetaagako, yadde. Obeera ozaaliddwa mu nsi endala. Obeera mugwira nnyo, emirundi kkumi okusinga bwe Wandibadde, singa obadde oserengese eyo aweesudde ebibira by'Africa. Obeera wa njawulo Omwoyo Omutukuvu bw'Ajja era kabonero. Kalambe mu bantu. Kati, olwo ogamba nti “Ow'oluganda Branham, akabonero ako ak'okukomola kaweebwa Ibulayimu?” Ekyo kituufu. “N'eri Ezzadde lye?” Yee. Kirungi.

-----
Kati Abaefeso 4:30 esoma bw'eti:
So temunakuwanzanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku lw'okununulibwakwo.
Wano enda kumyumyulamukko ku kino, kkakkanako. Kati mmwe baganda bange abatambulira ku mateeka, musirikeeko katono. Mulaba? Mwetegerezza ebbanga envumbo eyo lyemala? Si okutuusa okudda obuggya okuddako, okutuusa nga waliwo ekisobyo. “Okutuusa olunaku lw'okununulibwakwo,” bw'onunulibwa okubeera ne Katonda, eryo ly'ebbanga Omwoyo Omutukuvu ly'akuteekako envumbo. Ssi kuva mu kudda buggya okutuusa ku kudda obuggya; naye kuva mu Butaggwaawo okutuuka mu Butaggwaawo, obeera oteekeddwaako envumbo n'Omwoyo Omutukuvu.

Ekyo Omwoyo Omutukuvu ky'ali, y'envumbo ya Katonda, eri ekyo ky'azudde... Ofunye ekisa mu maaso Ge era Akwagala, ng'Akukkiririzaamu, olwo n'Akuteekako envumbo Ye. envumbo kye ki? omuntu yenna.. Lwaki, envumbo ekiikirira oba kitegeeza “omulimu oguwedde.” Amiina. Katonda akulokodde, n'akutukuzza, n'akulongoosa, n'akukwatirwa okuganja, n'akussaako envumbo. Akumalirizza. Oli mulimu gwe okutuusa olunaku lw'okununulibwakwo. Ekiteekeddwako envumbo, gubeera mulimu oguwedde. Omwoyo Omutukuvu kye ki? Kabonero. Tugenda kukituukako mu kaseera katono, mu bubaka obulala, akabonero Pawulo ke yayogerako. Ennimi kaali kabonero eri abakkiriza... oba abatakkiriza.

Kati weetegereze, naye,mu kino, Omwoyo Omutukuvu kabonero. Kye ntegeeza... Era Omwoyo Omutukuvu nvumbo. Kabonero Katonda ke Yawa abaana be abalonde. Okukagaana, kubeera kusalibwa ku bantu; okukakkiriza kubeera kumala na nsi n'ebintu by'ensi byonna, n'obeera omulimu Katonda gw'Ataddeko envumbo ng'obukakafu.

Nnateranga okukola ku luguudo lw'eggaali y'omukka ne Harry Waterberry, era twakkiriranga okugenda okuttikka emmotoka. Muganda wange Doc, ayimiridde emabega awo, ayambako okuttika emmotoka. Emmotoka bw'etikkibwa, ng'omukebezi ayingira, singa asanga ekintu kyonna ekiragaya, nga kisobola n'okugwa ne kimenyeka, oba ekintu kyonna ekisobola okwonooneka; emmotoka eyo tagissaako nvumbo okutuusa ng'ewedde okupakirwa, nga bagipakidde okuviira ddala wansi ate bulungi, ng'okwesuukunda kwayo ng'evugibwa tekujja kukosa bintu ebiri munda.

Eyo y'ensonga lwaki oba olyawo tetuteekebwako nvumbo; tulagaya nnyo n'ebintu. Omukebezi bw'ayitamu, okukebera obulamu bwo, okulaba oba nga tolina by'olagayaamu, okulagayaamu mu bulamu obw'okusaba, okulagayamu mu busungu obwo, okulagayamu mu nkozesa y'olulimi, ng'oyogera ku balala, emmotoka tajja kugiteekako nvumbo. Olw'emize emibi, ebintu eby'obugwagwa, endowooza ennyonoonefu, Tasobola kussaako nvumbo ku mmotoka.

Naye Omukebezi bw'asanga nga buli kimu kiri mu kifo kyakyo, emmotoka eyo agiteekako envumbo. Nga tewali na muntu yenna eyeetantala okubikkula envumbo eyo okutuusa nga emmotoka eyo etuuse gy'eraga eyo ewali ekyagiteekesezzaako envumbo! Kiikyo awo. “Tokwata ku bange abaafukibwako amafuta; temukola bulabe bwonna ku bannabi bange. Kubanga mbagamba nti, ky'ekirungi ggwe okusibibwa olubengo mu bulago n'osuulibwa mu buziba bw'ennyanja, okusinga okugezaako okwesittaza oba okunyeenya omu ku bano abato bamaze okuteekebwako envumbo.” Olaba kiki kye kitegeeza?

Ekyo Omwoyo Omutukuvu ky'Ali. Bukakafu bwo. Bukuumi bwo. Mujulizi wo. Nvumbo yo. Kabonero ko, nti “Ndi wa mu Ggulu. Sifaayo na ku kiki Setaani ky'agamba! Nze Ndi wa mu Ggulu. Lwaki? Yanteekako envumbo. Yagimpa. Yansibira mu Bwakabaka Bwe, era ndi wa mu Kitiibwa! Empewo leka zikunte, leka ne Setaani akole kyonna ky'ayagala okukola. Katonda amaze okunteekako envumbo okutuusa ku lunaku olw'okununulibwa kwange.” Amiina! Ekyo Omwoyo Omutukuvu ky'Ali. Oo, Oteekwa okumwetaaga. Sisobola kugenda nga simulina. Bingi ebisobola okwogerwa awo, naye Nkakasa mumanyi kye njogerako wano.

Era kati, ka tukyukireko mu Yokaana 14 mu kaseera katono. Ekigambo nkyagala nnyo! Ge mazima. Kati Omwoyo wa Katonda, Omwoyo Omutukuvu, Omwoyo Omutukuvu kye ki? Ye Mwoyo wa Kristo mu ggwe. Kati, nga tetunnaba kusoma, njagala kubaako bye njogera wano. Omwoyo Omutukuvu kye ki? Nvumbo. Omwoyo Omutukuvu kye ki? Ndagaano. Omwoyo Omutukuvu kye ki? Kabonero. Kati olwo Omwoyo Omutukuvu kye ki? Yee... Mwoyo wa Yesu Kristo mu ggwe. Mulaba? “Akaseera katono,” bwe yagamba Yesu, “ensi obutandaba nate; naye nga mmwe mulindaba, kubanga naabeeranga nammwe, era mu mmwe okutuusa ku nkomerero y'ensi.”

Omwoyo wa Katonda mu kkanisa Ye! Yaweebwa ku lwaki? Yakikola lwaki? Kano katono nnyo ku ssomo ly'enkya ekiro. Naye Yakikolera ki? Lwaki Ye, lwaki Omwoyo Omutukuvu.... Kiki, Yajjirira ki? Yajjirira ki mu ggwe, Yajjirira ki mu nze? Kwali kwongerayo mirimu gya Katonda. “Bulijjo nkola ekyo ekisiimibwa Kitange. Ssajja kukola kwagala kwange nze, wabula okwa Kitange eyantuma. Ne Kitange eyantuma Ali Nange; nga Kitange bwe Yantuma, Nange Mbatuma mmwe,” oh, owange! [Ow'oluganda Branham akuba mu ngalo emirundi ebiri -Omuk.] Taata Eyamutuma yagenderanga mu Ye. Taata Yamutuma, n'Agenda mu Ye. Taata eyatuma Yesu Yajja mu Ye, n'Akolera mu Ye. Yesu oyo akutuma, agenda naawe ate n'abeera mu ggwe. Era obanga Omwoyo oyo, abeera mu Yesu Kristo, yamuleetera okukola n'okweyisa mu ngeri gye yeeyisaamu, kijja kukuwa okutegeera okw'awamu okumanya bwe kinaaba ng'ali mu ggwe, 'kubanga Obulamu obwo tebusobola kukyuka. Buva mu mubiri ne buyingira omubiri omulala, naye tebusobola kukyusa butonde, kubanga Ye Katonda.

-----
Era tugenda kusaba kati... Yatusuubizibwa mu nnaku ez'oluvannyuma! Omuwolereza ono, envumbo, ekisuubizo, na buli kye tumwogeddeko ekiro kya leero, n'emirundi egisukka mu mutwalo, yatusuubizibwa mu nnaku ez'oluvannyuma. Tebaamulina mu lunaku olwo. Bo baalina envumbo mu mubiri gwabwe, ng'omusingo era akabonero, nga bakkiriza nti yali ajja era baatambuliranga mu kisiikirize ky'amateeka. Omwo mwe baali bakomoleddwa omubiri. Leero tetutambulira mu kisiikirize ky'amateeka. Tutambula na maanyi ag'okuzuukira. Tutambula na maanyi ga Mwoyo, oyo nga ye nvumbo yaffe eya nnaammaddala, Omuwolereza waffe omutuufu, Omubeezi waffe omutuufu, akabonero kaffe akatuufu nti tuzaaliddwa Waggulu; tuli banjawulo, abatali ba bulijjo, abeeyisa obulala, nga tutwala Katonda ku Kigambo Kye, ng'ebisigadde byonna tubiyita bikyamu. Ekigambo kya Katonda kituufu. Ekyo bwe... Oo, owange! Omwoyo Omutukuvu ekyo ky'Ali.

-----
Kaakati,kaakati, tugenda kuzuula, bwe baali bamaze okujjuzibwa, baatekebwako envumbo okutuusa ddi? Bameka wano abalina Omwoyo Omutukuvu? Ka tulabeko ku mikono gyammwe. Abalina Omwoyo Omutukuvu basinga abatalina Mwoyo Mutukuvu. Twagala obeere omu ku ffe Mwannyinaffe, muganda waffe. Ng'otegeera kiki kye kye kiri, Ye... Ye Mwoyo wa Katonda ng'Ali mu ggwe, okukola emirimu gya Katonda.

Katonda bwe yatumanga Omwoyo Omutukuvu mu yenna ku baweereza Be, mu yenna ku bannabbi Be, mu yenna ku basomesa Be, mu yenna ku batume Be, bulijjo bagaanibwanga ensi. Batwalibwanga abatabufu b'emitwe, mu buli mulembe mwalimu. Ne Paul bwe yayimirira mu maaso ga Agulipa, yagamba nti, “Mu kkubo eriyitibwa ekkyamu....” Ekkubo ekkyamu kye ki? “Obulalu”. “Mu kkubo lye bayita ery'ekiralu, abantu abatabufu b'emitwe, eryo ly'ekkubo mwe nsinziza Katonda wa ba Kitaffe.” Nsanyuse nnyo kubanga nsobola okugamba nti ndi omu ku abo. Yee, ssebo. Ekyo bwe kiri. Nsanyuse nnyo kubanga nsobola okugamba nti ndi omu ku abo.

Kale, Omwoyo Omutukuvu ng'amaze okubagwako, yabalongoosa emitima n'abafuula abaagalwa ennyo okutuusa lwe batuuka mu bumu mu buli kimu. Ssi bwe kiri? owange, owange, nga kwali kussa kimu! Olumu oluyimba olwo tutera okuluyimba, nti “Nga kussa kimu! Oo, nga ssannyu ery'obwa Katonda! Ekyo bwe kiri. Baali nga tebafaayo, nga tebafaayo oba omusana gwase oba tegwase. Tebasaba bya ku kakeeka.

“Kaakano, nja kufuna Omwoyo Omutukuvu,” abantu abamu bwe baamba, “Mw. Branham, singa onkakas;a nti ngenda kufuuka mugagga bifeekera, bw'onkakasa nti nja kufuna enzizi z'amafuta, era nzuule n'ebirombe bya zzaabu, era Nze- Nze...” Labayo, abantu basomesa ebyo, ate nga basomesa bulimba. Katonda tasuubizangako bintu ebyo.

Omuntu bw'afuna Omwoyo Omutukuvu, tafaayo oba ng'anaasabiriza mugaati oba nedda. Ekyo tekikola njawulo gy'ali. Ye kitonde eky'omu Ggulu. Ye ta... talina na bimusiba wano,n'akamu. Ekyo bwe kiri. Teyeefiirayo. Ka kibe kiki ekijja oba ekigenda. Ka bankolokote, bajerege. Ofaayo ki bw'ofiirwa ettutumu lyo? Oli mu lugendo okutuuka mu Kitiibwa! Aleruuya! Amaaso go gali ku Kristo, era oli ku lugendo lwo. Ggwe tofaayo ku nsi by'eyogera.

Ekyo Omwoyo Omutukuvu ky'Ali. Ye Maanyi. Ye nvumbo, Ye Mubeezi, Ye Muwolereza, ate kabonero. Oo, Owange! Bukakafu nti Katonda akufunye. Budde ki bwe ntutte? Nsigazzaawo eddakiika munaana. Kale. Leka nze... Nninawo wano ebyawandiikibwa bingi. Sirowooza nti nsobola okuzikozesa obulungi, naye tugenda kugezaako nga- nga bwe tusobola.

Kati, omuntu bw'amala okujjuzibwa n'Omwoyo Omutukuvu, kisoboka okuyigganyizibwa n'ebintu ng'ebyo bimuzza ennyuma era.... Kati, tasobola kufiirwa, akyali mwana wa Katonda, era ajja kubeera ekyo, kubanga envumbo eyakuteekebwako yali ekoma ddi? [Ekibiina kiddamu nti “Okutuusa okununulibwa kwo. -Omuk.] Ekyo kituufu. Ekyo Baibuli kye yagambye.

Soma akawunti mu...
Omwoyo Omutukuvu Kye ki?.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Ebiseera
by’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika gye kyalabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.

Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.

Siribaleka bamulekwa; nkomawo gye muli.

Yokaana 14:16-18


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

Mpagi y'omuliro.

Bire eby'eggulu.

Tuteekeddwa okujja wano
olw'ekigendererwa kyaffe
ekimu kiti, kwe
kweteekerateekera okudda
kwa Mukama waffe
era nga tewali
kirala kyonna.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.