Okubikkulirwa kwa Yokaana.


  Series -Ekitabo ky'Okubikkulirwa.

Ekitabo ky'Okubikkulirwa.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.

Okubikkulirwa 1:1-3,
1. Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe Yamuwa okulaga abaddu Be ebigwanira okubaawo amangu: n'Abuulirira mu malayika We ng'Amutuma eri omuddu We Yokaana.
2. Eyategeeza Ekigambo kya Katonda n'okutegeeza kwa Yesu Kristo, byon- na bye yalaba.
3. Alina omukisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunnabbi buno, era n'abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.

Omuwandiisi (si nnannyini) w'ekitabo kino ye Yokaana omutukuvu. Bannabyafaayo bakkiriza nti obulamu bwe obwasembayo yali mu Efeso, wadde we yawandiikira ekitabo kino yali ku kizinga Patumo. Si byafaayo bya bulamu bwa Yokaana, wabula kwe Kubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu mirembe gy'ekkanisa egy'omu maaso. Mu lunyiriri olwokusatu kiyitibwa bunnabbi era ddala bwe kityo bwe kiri.

Ekitabo kino kitera okuyitibwa Okubikkulirwa kwa Yokaana Omutukuvu, naye ekyo kikyamu. Kubikkulirwa kwa Yesu Kristo okwaweebwa Yokaana ku lw'Abakulisitaayo ab'emirembe gyonna.

Ky'ekitabo kyokka mu Bayibuli yonna ekyawandiikibwa Yesu Yennyini, nga Ye Yennyini Alabikira omuwandiisi. Ky'ekitabo ekisembayo mu Bayibuli, so nga kyogera ku ntandikwa n'enkomerero y'entegeka ya Katonda ey'Enjiri.

Kati ekigambo ky'Oluyonaani ekikozesebwa ku kubikkulirwa kiyitibwa “apocalypse” ekitegeeza “okubikkulako”. Okubikkula kuno kunnyonnyolwa bulungi n'eky'okulabirako ky'omwozi w'ebifaananyi (sculptor) ng'abikkula ku mulimu gwe egw'ebyole, okubyoleka eri abalabi. Kwe kusaanukula, okubikkula ekyo ekibadde kikwekeddwa. Kati okubikkulwa kuno si kwe kubikkulwa kw'Obwa-Kristo kwokka, naye kwe KUBIKKULWA KW'EMIRIMU GYE EGY'OMU MAASO MU MIREMBE OMUSANVU EGY'EKKANISA EGIJJA. Obukulu bw'okubikkulirwa nga kukolebwa Omwoyo eri omukkiriza omutuufu tekubaako kkomo. Okubikkulirwa kulina amakulu mangi gy'oli mpozzi okusinga bw'okiraba. Kaakano soogera ku ggwe ne ku Kitabo kino eky'Okubikkulirwa. Njogera ku kubikkulirwa KWONNA. Kw'amakulu may- itirivu eri ekkanisa.

Ojjukira mu Matayo 16 Yesu we Yabuuliza abayigirizwa ekibuuzo kino,
“Omwana w'Omuntu abantu bamuyita batya?
Ne bagamba nti Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya; abalala nti Yer- emiya, oba omu ku bannabbi.
N'Abagamba nti naye mmwe mumpita mutya?
Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.
Yesu n'Addamu n'Agamba nti olina Omukisa, Simooni Ba-Yona; kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange Ali mu ggulu.
Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, Nange Ndizimba ekkanisa Yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.”

Abakatoliki Aba- ruumi bagamba nti ekkanisa yazimbibwa ku Peetero. Naye ddala ekyo kya mu- biri. Katonda Yandiyinzizza Atya okuzimba ekkanisa ku muntu asagaasagana n'okutuuka okwegaana Mukama Yesu era n'akolima n'okukolima ng'akikola? Katonda Tayinza kuzimba kkanisa Ye ku muntu yenna azaalibwa mu kibi. Era Kristo terwali lwazi olwali awo nga kiringa agamba nti Katonda Yali Atukuzza ettaka mu kifo ekyo. Era tekiri ng'Abapulotesitanti bwe bagamba, nti ekkanisa ezimbiddwa ku Yesu. Kwali OKUBIKKULIRWA. Kisome nga bwe kiwandi- ikiddwa: “Omubiri n'Omusaayi TEBYAKUBIKKULIDDE, ekyo, WABULA KITANGE Y'AKIKUBIKKULIDDE, era KU LWAZI KUNO (OKUBIKKU- LIRWA) NDIZIMBA EKKANISA YANGE:” Ekkanisa ezimbiddwa ku Kubik- kulirwa, ku “Bw'Atyo Bw'Ayogera Mukama”.

Abiri yamanya atya eky'okukola alyoke aweeyo ssaddaaka entuufu eri Katonda? Okuyita mu kukkiriza yafuna okubikkulirwa okw'omusaayi. Kayini teyafuna kubikkulirwa ng'okwo (wadde yalina ekiragiro) kale teyasobola kuwaayo saddaaka ntuufu. Kwali kubikkulirwa okuva eri Katonda okwakola enjawulo ne kuwa Abiri obulamu obutaggwaawo. Kati oyinza okutwala omusumba ky'agamba, oba seminariyo ky'eyigiriza, wadde nga kikuyigirizibwa n'obukujjukujju bw'ebigambo, okutuusa Katonda lw'Akikubikkulira nti Yesu ye Kristo, era nti omusaayi gwe gukunaaza, era nti Katonda Ye Mulokozi wo, togenda kuba na bulamu butaggwaawo. Okubikkulirwa okw'omu Mwoyo kwe kubikola.

Kati nngambye nti Ekitabo kino eky'Okubikkulirwa kwe kubikkulirwa kwa Yesu ne by'Akola mu makanisa mu mirembe egyo omusanvu. Kubikkulirwa lwa kubanga abatume, bo bennyini, tebaamanya mazima gano agaawandiikibwa. Gaali tegannabikkulwa gye bali. Ojjukira nti bajja eri Yesu mu Kitabo ky'Ebikolwa ne bamubuuza, “Mu biro bino mw'onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri?” N'Addamu, “Si kwammwe okumanya entuuko newankubadde ebiro:” Abasajja abo baali bakyalowooleza Yesu okubeera n'obwakabaka obw'oku nsi. Naye bwali bwakabaka bwa mwoyo bwe Yali Agenda okuzimba. Wadde Yali Tayinza na kubabuulira na kifo Kye mu bwo, kubanga Kitaffe Yali tannakimubikkulira. Naye kati oluvannyuma lw'okufa n'okuzuukira Kwe, era mu kiseera kino kyennyini mu buweereza bwe obw'okutabaganya, Asobola kati okulaga wano mu kubikkulirwa okumukwatako eri Yokaana ekitiibwa Kye n'okuberaawo Kwe mu kkanisa kye kutegeeza era kye kukola.

Mu kubikkulirwa kuno Atubuulira enkomerero ya Setaani bw'eri. Atubuulira engeri gy'Alikolamu Setaani era n'okumusuula mu nnyanja ey'omuliro. Abikkula enkomerero y'ababi abagoberera Setaani. Era Setaani ekyo akikyawa.

Wali otegedde nti Setaani kyawa ebitabo ebibiri ebya Bayibuli okusinga ebirala byonna? Bulijjo alumba Ekitabo ky'Olubereberye n'eky'Okubikkulirwa ng'ayita mu bannaddiini abayigiriza enjiri nga bagonzaamu n'abeeyita bannasaayansi. Mu bitabo bino byombi tusangamu entandikwa ya Setaani, amakubo ge amabi n'okuzikirizibwa kwe. Eyo y'ensonga lwaki abirumba. Akyawa okuwemuukirizibwa, era mu bitabo ebyo alagibwa ddala kiki ky'ali. Yesu Yayogera ku Setaani, “Talina mugabo gye Ndi Nange Sirina mugabo gy'ali.” Setaani ayagala okwoleka nti ekyo si bwe kiri; naye tasobola, kale akola kyonna ky'asobola okuzikiriza obwesigwa mu Kigambo. Naye ekkanisa bw'etakkiriza Setaani n'ekkiriza okubikkulirwa okw'Ekigambo nga kuyita mu Mwoyo, emiryango gy'emagombe tegisobola kugiwangula.

Oba tekibakosa, ka mbaweeko ku bujulizi okuva mu buweereza bwange. Mwenna mukimanyi nti ekirabo kino mu bulamu bwange kyamagero. Ky'ekirabo Omwoyo Omutukuvu mw'Asobolera okutegeera endwadde n'ebirowoozo by'omu mitima gy'abantu, n'ebintu ebirala ebikwekeddwa Katonda Yekka by'Asobola okumanya olwo n'Abimbikkulira. Nandyagadde singa kisoboka muyimirire nange mulabe amaaso g'abantu Setaani bw'aba ng'agenda okuwemuukirizibwa. Kati abantu si be njogerako. Kiri nti Setaani anywezezza obulamu bwabwe ng'ayita mu kibi, mu bulagajjavu n'endwadde. Naye mwandirabye amaaso gaabwe. Setaani amanyi nti agenda kuwemuukirizibwa, era enkyukakyuka ezisingayo okuba ez'ekitalo zijja ku maaso g'abantu. Setaani atidde. Amanyi nti Omwoyo wa Katonda Anaatera okumanyisa abantu emirimu Gye. Eyo y'ensonga lwaki akyayira ddala enkungaana zino. Amannya bwe gayitibwa n'endwadde ne zibikkulwa, Setaani akikyawa. Kaakati kino kiki? Si kusoma birowoozo by'abantu, wadde eddogo. KUBIKKULIRWA nga kukolebwa Omwoyo Omutukuvu. Eyo y'engeri yokka gye nsobola okumanyaamu. Kwo okuba omuntu ow'omubiri ajja kukiyitamu ekintu ekirala kyonna nti si Mwoyo Omutukuvu.

Ka mbalage ensonga endala lwaki Setaani akyawa ekitabo kino eky'Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu kkanisa. Amanyi nti Yesu Kristo y'Omu jjo, ne leero, n'emirembe gyonna, era Takyuka. Ekyo akimanyidde ddala okusinga kyenda ku kikumi eky'abaasomerera eby'eddiini. Amanyi nti okuva Katonda lw'Atakyukakyuka mu mbeera Ye, olwo mu ngeri y'emu Takyukakyuka mu nkola Ze. Kale Setaani amanyidde ddala nti ekkanisa eyasooka ku lunaku lwa Pentekoote n'amaanyi ga Katonda (Makko 16 mu bikolwa) y'Ekkanisa Entuufu Yesu gy'Abala okuba nga y'eyiye. Endala zonna nkyamu. Bwe kiteekwa okuba.

Kaakati jjukira kino. Kristo mu Kkanisa Entuufu kwe kugenda mu maaso okw'Ekitabo ky'Ebikolwa. Naye Ekitabo ky'Okubikkulirwa kiraga ng'omwoyo omulabe wa Kristo bw'alijja mu kkanisa n'agyonoona, agifuule ey'ekibuguumirize, ey'emikolo obukolo etalina maanyi. Kiwemuukiriza Setaani, nga kiraga emirimu gye (okugezaako okuzikiriza abantu ba Katonda, n'okuggyamu obwesige mu Kigambo kya Katonda) okutuusiza ddala ku kiseera ng'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Ekyo akirwanyisa. Tayinza kukigumira. Amanyi nti singa abantu bafuna OKUBIKKULIRWA OKUTUUFU okw'EKKANISA ENTUUFU, era n'ekyo ky'eri, ky'eyimiriridde, era nti EYINZA OKUKOLA EMIRIMU EGY'EKITALO, ejja kuba eggye eritawangulwa. Singa bafuna okubikkulirwa kwennyini okw'emyoyo ebiri egiri mu kuzimbibwa kw'ekkanisa Enkulisitaayo era n'Omwoyo wa Katonda ne baawula era ne baziyiza omwoyo gw'omulabe wa Kristo, Setaani ajja kuggwaamu amaanyi mu maaso ge. Ajja kuba nga ddala ataayiziddwa leero nga Kristo bwe yaziyiza okufuba kwe kwonna okumuwangula mu ddungu. Ddala, Setaani akyawa okubikkulirwa. Naye ffe tukwagala. Nga tulina okubikkulirwa okutuufu mu bulamu bwaffe, emiryango gy'emagombe tegiyinza kutuwangula naye ffe tujja kugiwangula.

Munajjukira nga ku ntandikwa y'obubaka buno nnagambye nti Ekitabo kino kye tuyigako kwe kubikkulirwa kwennyini okwa Yesu, Mwene, mu kkanisa n'omulimu gwe mu mirembe egy'omu maaso. Era nnagambye nti kyetaagisa Omwoyo Omutukuvu okutuwa okubikkulirwa oba si ekyo tetujja kukufuna. Bw'oteeka ebirowoozo bino ebibiri awamu ojja kulaba nga tekijja kwetaagisa kuyiga buyizi okwa bulijjo n'okulowooza, okufuula Ekitabo kino ekyannamaddala. Kijja kwetaagisa okukola okw'Omwoyo Omutukuvu. Ekyo kitegeeza nti Ekitabo kino tekiyinza kubikkulirwa muntu yenna okuggyako eri ekibiina ky'abantu eky'enjawulo. Kijja kwetaagisa oyo alina okutegeera kw'obunnabbi. Kijja kwetaagisa obusobozi okuwulira okuva ewa Katonda. Kijja kwetaagisa okulagirirwa kwa Katonda, so si muyizi okugeraageranya olunyiriri ku lunyiriri, newankubadde kirungi. Naye ekyama kyetaagisa okuyigirizibwa okw'Omwoyo bwe kitaba bwe kityo tekitegeerekeka. So nga twetaaga okuwulira okuva eri Katonda n'okweteeka mu maaso Ge, n'okwewaayo eri Omwoyo okuwulira n'okumanya.

Nga bwe nnagambye edda, Ekitabo kino (Okubikkulirwa) y'entikko y'Ebyawandiikibwa. Era kyateekebwa ddala ku ntikko y'Ebyawandiikibwa; ku nkomerero. Kati osobola okumanya lwaki kigamba nti buli omu akisoma oba akiwulira wa mukisa. Okubikkulirwa kwa Katonda kwe kujja okukuwa obuyinza ku Setaani. Era osobola okulaba lwaki abo abongerako oba abatoolako ku kyo ba kukolimirwa. Kiteekwa okuba bwe kityo kubanga ani ayinza okugatta oba okutoolako ku kubikkulirwa kwa Katonda okutuukiridde n'awangula omulabe? Bwe kityo bwe kiri ekyangu. Tewali kintu kirina maanyi ng'okubikkulirwa kw'Ekigambo. Laba, mu lunyiriri olwokusatu omukisa gulangiriddwa ku abo abafaayo ennyo ku Kitabo kino. Ndowooza kino kikwatagana n'akalombolombo k'Endagaano Enkadde bakabona bwe baasomanga Ekigambo eri ekibiina ku makya. Mulaba, bangi tebaasobolanga kusoma, kabona yalinanga okubasomera. Kasita kyabanga Ekigambo, omukisa gwabeerangawo. Si nsonga oba kyasomebwanga busomebwa oba kyawulirwanga buwulirwa.

“Ekiseera kituuse.” Emabegako ekiseera kyali tekinnatuuka. Mu magezi ne mu mbalirira ya Katonda okubikkulirwa kuno okw'amaanyi (wadde Katonda Yakumanya kwonna) kwali tekuyinza kujja okutuusa ekiseera kino. Kale tuyigirawo enkola — okubikkulirwa kwa Katonda eri buli mulembe kujjira mu mulembe ogwo gwokka, era mu kiseera eky'enjawulo. Laba ebyafaayo bya Isiraeri. Okubikkulirwa kwa Katonda eri Musa kwajjira mu kiseera kyokka ekituufu, ate n'okusingira ddala kwajjira mu kiseera abantu we baakaabirira Katonda. Yesu, Mwene, Yajjira mu ntuuko z'ebiseera, nga Ye, Mwene kwe Kubikkulirwa okujjuvu okw'Obulamba bwa Katonda. Era mu mulembe guno (Lawodikiya) okubikkulirwa kwa Katonda kujja kujjira mu ntuuko zaakwo. Tekujja kukyukako, wadde okujja ng'ekiseera kyakwo tekunnaba. Kino kirowoozeeko era okiteekeko bulungi omwoyo, kubanga leero tuli mu biro bya nkomerero.

Soma akawunti mu...
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.



 


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala enva ezibasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda:

naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesiimibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa.

Abaebbulaniya 6:7-8



Ekitabo ky'Okubikkulirwa.
Continues on next page.
(Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo.)


Click on an image to download PDFs or fullsize picture.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Okufumbiriganwa N’okwawukana.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF English)

How the Angel came
to me.

(PDF English)