Olutalo olukyasinzeeyo mu zaali zirwaniddwa.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Okutambula kw’Ekikristaayo series.

Awalwanirwa olutalo. Ndowooza ya muntu.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Olutalo Olukyasinzeeyo mu Zaali Zirwaniddwa.

Kaakati, nga olutalo lwonna terunnaba kutegekebwa bulungi, balina okusooka okulonda aw'okusisinkaniramu oba ekifo olutalo we lugenda okulwanirwa, ekifo ekirondeddwa. Mu Ssematalo Eyasooka, era waateekebwawo, ebifo ebitaliiko bwannanyini n'ebifo awo we baalwanira. Era ebifo ebyo birina kuba bifo ebirondeddwa. Nga Israeri bwe yagenda mu lutalo n'Abafirisuuti, waaliwo a-a-akasozi ku buli luuyi eyo gye baakuŋŋaanira. Era eyo Goliyaasi gye yafuluma n'ayita amagye ga Israeri. Eyo Dawudi gye yamusisinkanira, mu kiwonvu, awo bwe yayita mu kagga akatono akakulukutira wakati w'obusozi obubiri, n'alonda amayinja Walina okubeerawo ekifo ekirondeddwa.

Era mu kino, waliwo e-ekifo abantu ab'emirundi ebiri we basobola okulwanira, ettaka eritaliiko bwannanyini, balwanire wano mu kifo ekyo. Tebamala ga, omu alwanire wano, era n'omulala wansi wali n'omulala n'addikira wano. Waliwo ekifo awalwanirwa olutalo eyo gye basisinkana ne bagezesa amaanyi gaabwe, awo buli ggye gye bagezesereza amaanyi gaabwe, ekifo. Kaakati, to(subwa) kino. Olutalo luno olw'amaanyi bwe lwatandika ku nsi, waalina okubeerawo ekifo we lulwanirwa. Waalina okubeerawo ekifo ekirondeddwa olw'olutalo okusobola okutandika, era olutalo okusobola okugenda mu maaso. Era ebifo awalwanirwa olutalo bitandikira mu ndowooza ya muntu. Awo olutalo we lutandikira. Endowooza y'omuntu yalondebwa okubeera ekifo ky'olutalo, awo we lwatandikira, era kiri nti lwakuba nti okusalawo kukolebwa kuva mu ndowooza, omutwe. Kaakati, tebalutandikirangako mu kibiina ekimu. Tebalutandikirangako mu kintu kyonna ekikwatagana ku kukanika. Ekifo ekyo tekyatandikira eyo. N'olwekyo, ekibiina ekyo tekisobola, kukolala mirimu gya Katonda, kubanga ebifo awalwanirwa olutalo, w'olina okusisinkanira omulabe wo, kiri mu ndowooza. Olina okukola okusalawo kwo. Kukusisinkana. Njagala omuwala omuto wano, oyo omulwadde ennyo, abeere mukakafu okuwuliriza kino, bulungi ddala.

Okusalawo kukolebwa mu ndowooza, mu mutwe. Awo Setaani w'akusisinkanira, era okusalawo bwe kuli, kubanga Katonda omuntu oyo yamukola bw'atyo. Kaakati, nnina (bw'oba ng'obadde otuunuulira bye mpandiise wano) maapu gye nnakubye. Nnagirina wano ebbanga ssi ddene eriyise, ku... yakozesebwa ku lubaawo. Omuntu yakolebwa ng'empeke y'eŋŋano. Ensigo yaayo. Era omuntu nsigo. Mu buliwo, oli nsigo ya kitaawo ne nnyoko; era ng'obulamu buva mu taata, eggi liva mu maama. N'olwekyo, ebibiri, wamu, eggi n'omusaayi byegatta wamu. Era mu butoffaali bw'omusaayi mulimu obulamu. Era awo we kitandikira, okukula, n'okukola omwana.

Kaakati, ensigo yonna erina ekikuta wabweru; munda mu ggi mulimu akawulungwa k'obulamu. Kale, yeeyo engeri gye twakolebwamu. Tuli mubiri, mmeeme n'omwoyo. Wabweru, omubiri, ekikuta; munda w'ekyo, entegeera n'ebirala, y'emmeeme; ne munda w'emmeeme, gwe mwoyo. N'omyoyo gufuga ebirala byonna.

Kaakati, bw'onaatuula wansi ng'otuuse eka, kuba enkulungo ssatu. Ojja kukizuula nti omubiri ogw'ebweru gulina obusimu butaano gwe bukwatagana nabwo, era kwe kulaba, okulega, okuwulira, okuwunyiriza, okukwatako. Obwo bwe busimu obutaano obufuga omubiri. Munda mu mubiri mulimu emmeeme, era emmeeme eyo efugibwa na kulowooza, enneewulira, okujjukira, okukubaganya ebirowoozo, n'obwagazi. By'ebyo ebintu ebifuga emmeeme. Naye, omwoyo, gwo gulina akasimu kamu. Omwoyo... Oh, leka tukifune. Omwoyo gulina akasimu kamu, era akasimu ako kiri nti, ekimu kikafuga, kwe kukkiriza oba okubuusabuusa. Ky'ekyo ddala. Era waliwo enkola emu ku kko, kwe kwesalirawo. Osobola okutwala okubuusabuusa oba okutwala okukkiriza, ekimu ku byo ky'oyagala okukolerako. N'olwekyo, Setaani atandikira ku kitundu ekikulu ddala, okuleetera omwoyo gw'omuntu okubuusabuusa Ekigambo kya Katonda. Katonda atandikira ku kitundu ekikulu ddala, okuteeka Ekigambo Kye mu mwoyo ogwo. Awo w'oli. Ekyo kye kikola.

Singa ekkanisa eno, katikati abeera eteekeddwa wamu, era n'etungibwa wamu n'ekyo nti buli muntu ajja kubeera mu bumu, ewatali yadde ekisiikirize kyonna eky'okubuusabuusa awantu wonna, tewandibaddewo muntu munafu mu masekkati gaffe, mu ddakiika ettaano eziddako. Tewandibaddewo muntu wano ayaayaanira Omwoyo Omutukuvu naye abo abandimufunye, singa ekintu ekyo musobola okukikola.

Kaakati awo olutalo we lutandikira, butereevu mu ndowooza yo, oba okyagala. Kaakati jjukira, ssi ssaayansi wa Bukristaayo, kaakati, endowooza ku nsonga. Ekyo te... Endowooza ekkiriza Obulamu, nga kye Kigambo kya Katonda, era awo kireeta Obulamu. Ekirowoozo kyo tekikikola. Naye, Ekigambo kya Katonda, nga kireeteddwa mu mukutu gw'ekirowoozo kyo. Mulaba? Si kirowoozo, nga ssaayansi w'Ekikristaayo kikikola, endowooza ku bintu. Nedda. Si kyekyo. Naye, endowooza yo ekikkiriza. Ekikwatira ddala. Endowooza yo efugibwa kiki? Omwoyo gwo. Era omwoyo gwo gukwata Ekigambo kya Katonda, era ekyo ky'ekintu ekirina obulamu mu kyo. Kikuleetera Obulamu. Oh, ow'oluganda! Ekyo bwe kibeerawo, ng'Obulamu bujja mu mukutu ogwo, mu ggwe, Ekigambo kya Katonda kirabisibwa mu ggwe. “Bwe mubeera mu Nze, n'Ebigambo byange ne bibeera mu mmwe, awo musabe kyonna kye mwagala era kijja kubakolerwa.”

Awo ekyo kikola ki? Okuva mu makkati g'omutima, nga ye mmeeme, eyo wava, okuliisa buli mukutu. Omutawaana gwakyo, tuyimiridde wano n'okubuusabuusa okungi, nga tugezaako okukkiriza ekiri ebweru eyo. Mulina ekyo okukikomya; era mufulume omukutu ogwo n'Ekigambo kya Katonda ekya ddala, olwo ne kifuluma, kyo kyennyini kyokka na kyokka. Ky'ekyo ekiri munda. Ky'ekyo ekintu ekikola, ky'ekyo eky'omunda. Okukola kwa Setaani kuva munda.

Kaakati, ogamba nti, “Ssibba. Sinywa. Sikola bintu bino.” Ekyo tekirina kye kikikolako. Mulaba, ky'eky'omunda. Sinsonga oli mulungi kyenkana kitya, olina mpisa zenkana wa, oli w'amazima kyenkana ki, ebintu ebyo biweebwa ekitiibwa. Naye Yesu yagamba nti, “Okuggyako omuntu ng'azaaliddwa omulundi ogw'okubiri.” Mulaba? Walina okubeerawo ekintu ekibeerawo munda. Bw'otakikola, ekyo kubeera kuteekako ekikolerere, eyo wansi w'omutima gwo oyaayaana okumala gakikola.

Tekiyinza kubeera kikolerere. Kirina okubeera ekyannamaddala. Era waliwo enkola emu yokka nti ekyo mwe kisobolera okukka wansi, era ng'ekyo kirina kuyita mu kwesalirawo, okujja mu mmeeme, okuyita mu birowoozo byo. “Omuntu nga bw'alowooza mu mutima, bw'ali.” “Bwe muligamba olusozi luno, nti 'siguka' ne mutabuusabuusa mu mutima gwammwe, naye ne mukkiriza nti kye mwogedde kijja kutuukirira, musobola okuba ne kye musabye.” Mukifuna? [Ekibiina kigamba nti, “Amiina.” -Omuk.] Awo w'oli. Mulaba? Waawo awalwanirwa olutalo.

Singa musobola okutandika n'ekyo okusooka. Tulina amaddu mangi okulaba ebintu bino. Tulina amaddu mangi okubaako kye tukolera Katonda. Omukyala ono tali... maddu, tewali kubuusabuusa, alina okuyaayaana okubeera omulamu. Ayagala okubeera obulungi. Abalala bali wano, baagala okubeera obulungi. Era bwe tuwulira ku nsonga eno, ng'omusawo, okuzuukira kw'abafu, ekintu ekikulu eky'amaanyi ekyo Katonda ky'akoze, olwo tuba n'okuyaayaana. Era ekikiriko kiri nti, tugezaako okukituukako nga tuyita mu busimu buno, okukwata ku kintu ekimu wano, ng'enneewulira eri ekituufu n'ekikyamu.

Kale nno abantu bangi, ebiseera bingi, bavvuunudde bubi Ekigambo. Era ntegeereddwa bubi olwa kino, nga nkola okuyitayo abalokose. Nnagamba nti, “Ssaakibaddeko nnyo eky'okuyita kw'abalokose,” ssitegeeza ekyo nti toteekeddwa kukola kuyita balokose. Naye omu afuna omukono ogw'omulala, n'agamba nti, “Oh, Ow'oluganda John, omanyi ki? Nze naawe tubadde balirwana okumala ekiseera kino kyonna. Jjangu wano waggulu ku kituuti, kkako wansi.” Kiki ky'akola? Singa mbadde n'olubaawo wano, nnandibalaze kiki ky'akola. Agezaako okukolera mu mmeeme ye, ku bwagazi. Ekyo tekikola ekyo si nkola. Ddala, si bwe kiri. Oba oli awo akolera mu (ekiki?) kujjukira, okuyita mu busimu obw'emmeeme ye. “Oh, ow'Oluganda John, walina maama omulungi. Yafa ekiseera kiwanvu ekiyise.” Okujjukira! Mulaba? Tosobola kukola ekyo. Kiteekeddwa okujja mu musittale ogw'okwesalirawo. Gwe, gwe kennyini, leka Ekigambo kya Katonda... Tojja kubanga maama wo yali mukazi mulungi. Tojja kubanga oli mulirwana mulungi. Ojja kubanga Katonda akuyita okujja, era n'omukkiriza Ye okusinziira ku Kigambo Kye. Ekigambo ekyo ky'ekitegeeza buli kimu. Ekigambo ekyo! Singa osobola okuggya buli kimu mu kkubo, enneewulira zonna ku kituufu n'ekikyamu, obusimu bwonna, era leka bulesi Ekigambo kiyingire, Ekigambo ekyo kijja kuzaalira ddala ekyo.

Wano, mulaba kiki kye kibikiddwa nakyo? Ogamba nti, “Kale, kaakati,” ogamba nti, “kale, bino enneewulira ku kituufu n'ekikyamu n'obusimu, n'ebirala, tebirina kye bikikolako, ow'Oluganda Branham?” Ddala, birina. Naye singa oleka Ekigambo okukuyingira, n'okibikka, awo tekiyinza kukula, kijja kubeera kigambo ekitalina kikula. Wali olabyeko empeke ennungi eya kasooli ng'esimbiddwa mu ttaka, era n'oleka akati ne akagigwako? Ejja kukula nga si ntereevu. Ezzabibu yonna, ekintu kyonna ekikula, kijja kuba kityo, kubanga wabeerawo ekikiziyizizza.

Kale, eyo y'ensonga n'okukkiriza kwaffe okw'Ekipentekoote olwa leero. Tulese ebintu bingi ne bigiziyiza, Okukkiriza kwe twasomesebwa, Omwoyo Omutukuvu abadde abeera mu ffe. Tuganyizza ebintu bingi, nga tutunuulira omuntu omulala. Era Setaani bulijjo agezaako okukusongera ku kulemererwa kw'omuntu omu, naye agezaako okukuggya ku bujulizi obutuufu obwo obwannamaddala. Ajja kukusongera ku munnanfuusi, ekiseera ekimu eyagenda ng'ageegeenya ekintu ekimu. Teyakikola, kubanga yali ageegeenya. Naye bwe kiva ku nsibuko entuufu ey'Ekigambo kya Katonda, “Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye Ekigambo Kyange tekiyinza kuggwaawo,” kirina okusigalawo. Okiraba, Mwannyinaze?

Kiteekeddwa okukkirizibwa mu ndowooza, awo ne kikkirizibwa n'omutima. Olwo Ekigambo kya Katonda ne kifuuka ekyannamaddala, awo buli kasimu ka mmeeme n'omubiri ne kabeera nga kalongosebwa n'Omwoyo Omutukuvu. Awo akasimu ko aka Katonda, enneewulira yo ku Katonda, buli kimu eky'Obwakatonda, ne kikulukutira mu ggwe. Tewaliiwo kubuusabuusa wantu wonna. Tewaliiwo kiyinza kugolokoka. Tewaliiwo kiyinja kujja mu kujjukira, ne kigamba nti, “Kale, nzijukira Muky. Jones yagezaako okwesiga Katonda, era Mukyala gundi ne gundi. Muky. Doe yagezaako okwesiga Katonda olw'okuwonyezebwa, ekiseera ekimu, n'alemererwa.” Mulaba? Naye singa omukutu ogwo guggyibwawo ne gusalibwako, munda ne wajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, ekyo tekijja na kujja mu kujjukira, sinsonga ku Muky. Jones na kiki kye yakola. Ye ggwe ne Katonda, wamu, era tewaliiwo mulala wabula mmwe ababiri. Awo w'oli. Luulwo olutalo lwo.

Soma akawunti mu...
Olutalo Olukyasinzeeyo mu Zaali Zirwaniddwa.


  Bayibuli egamba...

Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo:

Ekyamateeka 30:19



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Okufumbiriganwa
N’okwawukana

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereza)

As the Eagle
Stireth her nest.

(PDF Olungereza)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)