Okweroboza Omugole.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Okutambula kw’Ekikristaayo series.

Okweroboza kintu kikulu nnyo.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okweroboza Omugole.

Kati mu lunyiriri olw'o 9 olw'essuula ey'a 21 mu Kubikkulirwa.
Ne wajja omu ow'oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyobonyo omusanvu eby'enkomerero; n'ayogera nange, ng'agamba nti, Jjangu, era nnaakulaga omugole, mukazi w'Omwana gw'Endiga.

Mu bintu bingi mu bulamu tuweebwa okwerobozaako. Engeri y'obulamu, yennyini, kuba kweroboza bweroboza. Tulina eddembe okwekolerawo engeri eyaffe, ne tweroboza engeri eyaffe gye twagala okutambuzaamu obulamu. Okusoma kuba kulondawo. Tuyinza okusalawo oba tunaaba bayivu, oba tetuubeere bayivu. Okwo kusalawo kwaffe. Ekituufu n'ekikyamu kuba kulondako. Buli musajja yenna, buli mukazi yenna, omulenzi n'omuwala, balina okusalawo oba obulamu bwabwe banaabutambuza mu ngeri ntuufu oba nedda. Kweroboza. Okweroboza kintu kikulu nnyo. Ekifo gy'olibeera emirembe Egitaggwaawo kuba kulondako. Era, oboolyawo, ekiro kino, abamu ku mmwe mujja ku-kulondawo ku ekyo, wa gy'olibeera obulamu Obutaggwaawo, nga olukuŋŋaana luno terunnaggwa akawungeezi kano. Wajja kubaawo ekiseera kimu, nga, Katonda Tomufuddeeko emirundi mingi, lujja kuba lumu omukube amabega omulundi ogusembayo. Waliwo omusittale wakati w'okusaasira n'okusalirwa omusango. Era kintu kya kabi nnyo eri omusajja oba omukazi, omulenzi oba omuwala, okubuuka omusittale ogwo, kubanga waba tewakyali kudda mabega ng'omaze okubuuka okuyita ku nsalesale oyo. Kale nno, akawungeezi kano, kiyinza okuba nga kye kiseera abangi we bana- banaasalirawo wa gye balibeera obulamu Obutaggwaawo obutakoma.

Waliwo okweroboza okulala kwe tulina mu bulamu, okwo, ye mubeezi gwe tubeera naye mu bulamu. Omuvubuka omulenzi oba omuwala atandika obulamu, awe-aweebwa eddembe okweroboza. Omulenzi omuvubuka yeeroboza. Omuwala omuvubuka aba wa ddembe okumukkiriza oyo oba obutamukkiriza. Era kuba kukyali kweroboza, ku njuuyi zombi. Bombi omusajja n'omukazi, balina eddembe okulondawo. Naawe nno, bw'otyo ng'Omukristaayo, olina okulondawo. We tutuuse, ffe, wano mu America, olina okweroboza ekkanisa, gy'osobola okugendamu. Ogwo mukisa gwo ng'omunnansi Omumerica, okweroboza ekkanisa yonna gy'oyagala obeeremu. Okwo kweroboza. Bw'oba tolina gy'oyagala kugenda, togendayo. Naye bw'oba oyagala okukyusa okuva mu Methodist okudda mu Baptist, oba okuva mu Bukatuliki okudda mu Bupulotesitante, oba ebirala, tewali n'omu ayinza kukugamba oba akuwaliriza okujja mu kkanisa gundi. Eryo lye-eryo lye ddembe lyaffe. Demookulasiya waffe bw'atyo bw'afaanana. Buli muntu asobola okweroderawo. Eddembe mu by'ensinza, era ekyo-ekyo kintu kikulu nnyo. Katonda Atuyambe tusobole okukikuuma nga bwe tusobola.

Naawe olina okweronderawo. Oba...Bw'olondawo ekkanisa eno, osobola okulondawo oba mu kkanisa eno, oba ggwe onaalondawo ekkanisa enaakulungamya okukutuusa gy'olibeera emirembe Egitaggwaawo. Osobola okulondawo ekkanisa erina ekiyiiye ky'egoberera, ky'oyinza okulowooza nti ekiyiiye ekyo kye kyokka ky'oyagala. Oba, ekkanisa eri erina ekiyiiye kyayo. Ate ne wabaawo n'Ekigambo kya Katonda, ky'olina okulondako. Olina okulondawo. Mu ffe, mulimu etteeka eritali liwandiike, lye ly'okulondawo. Nzikiriza nga yali Eriya, olumu, ng'ali waggulu ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma lw'okuwolekanya obwanga kuli, mu saawa eya kazigizigi gye tunaatera okuyingiramu mu kiseera kino kyennyini. Oboolyawo kyandiba nga kikwata ku ggwe oba ku nze, akawungeezi kano, tulondewo, nga ebyali ku Lusozi Kalumeeri. Mazima gennyini, ndowooza kye kigenda mu maaso, kaakati, wonna mu nsi. Naye wanaatera okubeerawo ekiseera w'ojja okuba ng'olina okulondako.

Era mmwe wano, ab'ebibiina by'amakanisa ebigunje, kino mukikkirize bukkiriza, nti essaawa ebatuukiddeko ddala, mulondeko. Ku bibiri mugenda kuyingira mu Kakiiko Akagatta Amakanisa Mu Nsi Yonna (World Council Of Churches), oba si ekyo temugenda kuddamu kuba na kibiina kya ddiini. Ekyo mugenda kukikola, era okulondako okwo kunaatera okujja. Ate n'ekirala, kintu kya kabi okulinda okutuusa essaawa eyo esembayo, kubanga oyinza okwambala ekintu ky'otasobola kweyambulamu. Okimanyi nti, waliwo ekiseera w'oyinza okulabulwa, oluvannyuma, bw'obuuka omusittale ogwo ogw'okulabulwa, awo oba omaze okulambibwa ku ludda luli, nga oteereddwaako akabonero.

Jjukira, omwaka ogw'ekijaguzo eky'okuteebwa bwe gwatuukanga, olwo nga ka-kabona yayitaayitanga ng'afuuwa ekkondeere lye, nti buli muddu yenna ateebwe. Naye bwe baagaananga okukkiriza eddembe lyabwe, olwo baatwalibwanga mu Yeekaalu, ku nkondo, ne baddira olukato ne babawummulamu ekituli mu kutu. Olwo n'aweerezanga mukama we ebbanga lyonna. Kyakolebwanga ku kutu kwe nga akabonero, ak'okuwulira. “Okukkiriza kujja nga kuyita mu kuwulira.” Yawulira ekkondeere eryo, naye n'atayagala kuliwuliriza. Era emirundi mingi, abasajja n'abakazi bawulira Amazima ga Katonda, ne bagalaba nga gakakasibwa era ne ganyweezebwa, Amazima, wabula ate ne bataagala kugawuliriza. Waliwo ensonga endala. Waliwo okulonda okulala kwe balina, mu kifo ky'okwolekera Amazima n'ensonga, n'olwekyo amatu gaabwe gasobola okuggalwa obutawulira Njiri. Tebaliddamu kugiwulira. Amagezi ge nkuwa, gali nti, Katonda bw'Ayogera eri omutima gwo, kolerawo mu kiseera ekyo kyennyini. Eriya yabawa okulondako kwe baalina okukola. “Mulondeeko olwa leero gwe munaaweereza. Oba Katonda ye Katonda, mumuweereze. Naye oba Bayaali ye Katonda, oyo gwe muba muweereza.”

Kati nga bwe tulaba nti obutonde bwonna kifaananyi kya bintu bya mwoyo nga bwe twayise mu ssomo lyaffe enkya ya leero, okufaanana ng'enjuba n'obutonde bwayo. Eyo ye yali Baibuli yange eyasooka. Nga sinnasoma na lupapula lwonna mu Baibuli, Katonda nnali mmumanyi. Kubanga, Baibuli ewandiikiddwa buli wamu mu butonde, era ekwataganira ddala n'Ekigambo kya Katonda: engeri okufa, okuziikibwa, okuzuukira kw'obutonde; n'okuvaayo kw'enjuba, okuyitawo, okugwa, okufa, okuddamu okuzuukira. Waliwo ebintu bingi nnyo bye tuyinza okugeraageranya. Katonda mu butonde, ebyo tulina okubibuuka olw'Obubaka buno.

Kati, oba eby'omwoyo manyanga... Eby'obutonde kifaananyi kya bya mwoyo. Olwo nno, okulonda omugole, mu by'obutonde, kifaananyi ekyoleka okulonda Omugole, Omugole, mu bintu eby'omwoyo. Kaakati, kintu kikulu nnyo bwe tutuuka ku kweroboza omukazi ow'okuwasa, omusajja, kubanga wano ebirayiro bibeerawo okutuusa okufa lwe kutwawukanya. Bwe tutyo bwe tulina okukikuuma. Era olayira mu maaso ga Katonda, nti okufa kwokka kwe kulibaawukanya. Era ndowooza tuteekwa. Omuntu ng'ategeera bulungi, oyo ateekateeka eby'omu maaso, asaanye okulonda omukazi oyo n'obwegendereza. Weegendereze kiki ky'okola. N'omukazi aba alonda omusajja ow'okufumbirwa, oba bw'aba akkiriza omusajja okumuwasa, asaanye okwegendereza ennyo ekyo ky'aba akola, naddala mu nnaku zino. Omusajja asaanye okulowooza n'okusaba nga tanneeroboza mukazi.

Ndowooza, ennaku zino, kati tulina enkaayana nnyingi nnyo ez'okwawukana mu bufumbo, mu nsi zonna America ffe tusingayo, mu misango gy'okwawukana mu bufumbo. Mu nsi yonna ffe tukulembera. Wano, eggwanga lino, lye lisingirayo ddala, ate nga lye liteekeddwa okuba, era nga lirowoozebwa okuba nti ggwanga Kristaayo. Embuga zaffe eziwozesa emisango gy'okwawukana mu bufumbo, nga kivumo! Nze ndowooza nti, ekireeta ekyo, lwa kubanga abasajja bavudde ku Katonda, n'abakazi bavudde ku Katonda. Naye tusanga nti, omusajja bw'aba yasaba n'omukazi nga naye nga yasaba ku nsonga eyo; nga si kumala gatunuulira bulungi bw'amaaso, oba ekibegabega ekinene eky'amaanyi, oba ebifaanana bwe bityo, oba ebintu ebirala eby'ensi; naye n'asooka kutunuulira Katonda, n'abuuza nti, “Ayi Katonda, eno y'entegeka Yo?”

-----
Era singa twekenneenya kye tuba tukola bwe tuba tugenda okufumbiriganwa, bwe tulonda abakazi baffe, abasajja baffe, singa tukyekenneenya! Omusajja ateekwa okusabira ddala ennyo n'obwesimbu, kubanga ayinza okwonoona obulamu bwe bwonna. Jjukira, ekirayiro kiri nti “Okutuusa okufa lwe kulitwawukanya,” kale asobola okwonoona obulamu bwe olw'okulonda okukyamu. Naye bw'aba akimanyi, n'alondawo ekikyamu n'awasa omukazi atasaanidde kuba mukyala we, n'amala awaliriza n'akikola, olwo guba musango gwe. Omukazi singa atwala omusajja ate ng'omanyi nti tasaana kuba balo, awo ogwo guba musango gwo, ng'omaze okumanya ekituufu n'ekikyamu. N'olwekyo tosaanye kukikola okutuusa ng'omaze kusabira ddala nnyo.

Kintu ky'ekimu ne ku kweroboza ekkanisa. Kati, oteekwa okusaba oluŋŋamizibwe kkanisa ki gy'onokuŋŋaanirangamu. Jjukira, amakanisa gabeeramu emyoyo. Kaakati, saagala kukolokota. Wabula ndaba nti ndi musajja mukulu, era nnina okuva wano, mu lumu ku nnaku zino. Nnina okwanukula ku Lunaku lw'Omusango bye njogera akawungeezi kano oba omulundi omulala. Kale, n'olwekyo, nnina okubeerera ddala omwesimbu era nga ssibusabuusa n'akatono. Naye, ojja n'ogenda mu kkanisa, bwe weetegereza empisa z'ekkanisa eyo, twala akabanga weetegereze omusumba, ojja kukizuula nti emirundi mingi ekkanisa yeeyisa nga omusumba. Oluusi, simanyi oba tetufuna myoyo gya bannaffe ffekka na ffekka mu kifo ky'okufuna Omwoyo Omutukuvu. Waliwo w'osanga ng'omusumba mukalubo ogenda okukizuula nga n'ekibiina bwe bwe kityo bwe kiri. Nja kukutwala mu kkanisa ng'omusumba bw'ayimirira, n'anyenya omutwe ng'aguzza mu maaso n'emabega. Ggwe tunulira ekibiina, bakola ekintu ky'ekimu. Ggwe ddira omusumba, amala gamira buli kyasanze, bulijjo n'ekkanisa ejja kukola ekintu ky'ekimu. Kale nno singa mbadde nnonda kkanisa, nnandironzeewo ekkanisa entuufu, eri ku musingi gw'ennono, ey'Enjiri Enzijuvu, ekkiririza mu Baibuli mu bujjuvu, singa mbadde nnonda kkanisa ey'okukuŋŋanirangamu n'ab'amaka gange. Londawo.

-----
Ate era, omusajja ekika ky'omukazi gw'aba alonze, kijja kwoleka ebiruubirirwa bye n'omusajja kiki ky'ali. Omusajja bw'alonda omukazi omukyamu, kyoleka omusajja kiki ky'ali. N'ebyo bye yeesibako, biragira ddala kiki ekimulimu. Omukazi ayoleka kiki ekiri mu musajja omusajja bw'amulonda okuba mukyala we. Kiba kiraga kiki ekiri munda mu ye. Ku ngulu ne bw'ayogera biki, ggwe tunuulira kiki kye yawasa. Ŋŋenda mu wofiisi y'omusajja, agamba mbu nno Mukristaayo; ng'atimbyetimbye agantuntu ku bisenge kwonna, agayimba ago ag'ensi ag'okwetigoonyola g'owulira mu nju ye. Sifaayo biki by'ayogera. Sikkiriza bujulizi bwe, kubanga omwoyo guba gulya ku bintu ebyo eby'ensi. Watya, kale leka tugeze, singa awasa omuwala omuyimbi ow'ensi, oba singa awasa nnaabakyala w'abenzi, oba omulungi ennyo, enkucwa ey'omulembe? Kyoleka. Kiba kiraga kiki ekiri mu mutima gwe amaka ge ag'omu maaso gagenda kufaanana gatya, kubanga oyo gw'aba atutte okukuza abaana abo. N'olwekyo, kiba kiraga kiki ekiri mu musajja. Omusajja atwala omukazi afaanana bw'atyo, kiba kiraga kiki ky'alowooza ku by'omu maaso. Oyinza okukuba akafaananyi nga Omukristaayo akola ekintu ekifaanana bwe kityo? Nedda, ssebo. Sisobola. Omukristaayo omutuufu ye tajja kutunuulira bannalulungi ba ngeri eyo, bamansuzi, na bakafulu mu bwenzi. Ye ajja kunoonya mpisa za Kikristaayo.

Kati, oyinza muli okukuba akafaananyi, omusajja ajjudde Omwoyo Omutukuvu, okutwala ekintu ekifaanana bwe kityo okubeera mukazi we? [Ekibiina kiddamu nti, “Nedda.”-Omuk.] Nze si-sikiraba n'akatono, Ow'oluganda. Oboolyawo nze nkaddiye. Naye, mumanyi, ekyo sikitegeera butegeezi, mulaba, laba, kubanga kigenda kwoleka kiki ekimulimu. Omukazi agenda kuyamba bba okutegeka amaka ge ag'omu maaso. Kaakati, olwo, bwe tuddako emabega katono, ku luuyi olw'omwoyo. Kale bw'olaba ekkanisa eri mu nsi, eyeeyisa ng'ensi, esuubirira mu nsi, yeenyigira mu bya nsi, nga Amateeka ga Katonda bo bagatwala nti si Ye yagawandiika, awo w'omanyira nti Kristo tagenda kutwala Mugole afaanana bw'atyo. Oyinza okuteebereza ekkanisa y'ennaku zino ey'omulembe okuba nga ye Mugole? Si Mukama wange. Sikiraba... sikiraba n'akatono. Nedda. Jjukira, kaakati, omusajja ne mukazi we bali omu. Oyinza okwegatta n'omuntu afaanana bw'atyo? Bw'okikola, nze awatali kubuusabuusa mba nkuggyamu obwesige.

Kati, olwo, Katonda Ye yeegatta atya ku kintu ekifaanana bwe kityo, eddiini malaaya obulaaya owa bulijjo? Mulowooza nti Ayinza okukikola, “Nga balina ekifaananyi eky'okutya Katonda naye nga beegaana amaanyi gaakyo”? Talikikola n'akatono. Omugole ateekwa okuba n'empisa mu bulamu bwe. Ekkanisa yennyini entuufu, eyazaalibwa omulundi ogw'okubiri eteekwa okuba n'e-n'empisa ezaali mu Kristo, kubanga omwami n'omukyala baba omu. Kale oba Yesu Yakola ebyo byokka ebyasanyusanga Katonda, n'Akuuma Ekigambo Kye era n'Ayolesa Ekigambo Kye, Omugole We naye ajja kuba ng'alina empisa ze zimu. Tasobola busobozi, n'akamu, kuba ddiini ŋŋunje. Kubanga, awo, ne bw'oba oyagala otya okugamba nti, “nedda,” waliwo akakiiko akamufuga, akamulagira eby'okukola, ne by'atalina kukola, n'ekirala, emirundi mingi, Ekigambo ky'amazima akiri wala mmayiro bukadde na bukadde.

Kibi nnyo okuba nti twava ku Mukulembeze yennyini Katonda gwe Yatulekera okukulembera Ekkanisa. Ye tatumanga bakadde ba kkanisa ab'oku ntikko mu ggwanga ab'ekimpatiira. Tatumanga, balabirizi, bakalidinaali, bakabona, bapaapa. Ekkanisa yagitumira Mwoyo Mutukuvu, y'Aba Akulembera Ekkanisa. “Omwoyo Omutukuvu bw'Alijja, Alibiyingiza mu Mazima gonna, Ababikkulire ebintu bino, bye Mbagambye, Abibajjukize, era abalage ebintu ebigenda okujja.” Omwoyo Omutukuvu ye Yali ow'okukola ekyo. Kati nno, ekkanisa ey'omulembe Ekyo tekyagala. Tebakyagala Ekyo, kale olwo baba batya Omugole wa Kristo? Abantu ab'ennaku zino bali mu kwerobozaako ddiini ya mulembe. Ekyo, kiraga bulazi entegeera yaabwe ku Kigambo nga bw'eri enkyamu. Sigenderera kulumya bulumya, wabula kye ndiko kwe kukiyingiriza ddala osobole okukiraba.

Soma akawunti mu... Okweroboza Omugole.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo:

Ekyamateeka 30:19


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Okufumbiriganwa
N’okwawukana

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.