Akabonero Akoomusanvu.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Obubonero Omusanvu series.

Akasiriikiriro mu Ggulu.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akoomusanvu.

Era kati tukiraba nti ekyo, nakyo, tu... Mukama Yatuganyizza okulaba Ekyawandiikibwa, Ekyawandiikibwa Ekitukuvu, Yesu kye Yagamba nti kiribaawo. Kati ekyo twandikizudde tutya? Era wano, kijja ne kibikkula, ne kikireetera ddala bulungi. Okubuulira Kwe awo, ekyo okukyanukula, kikireetera ddala awo, Obubonero mukaaga, naye Akoomusanvu Yakaleka. Kati olwo Obubonero bwe bwabikkulwa, Katonda, wano yakiraba, n'atabaako kintu kyonna ky'Abikkula ku Koomusanvu. Olaba? Kyama kyennyini ne Katonda. Mwetegereze. Kati tugenda kusoma mu Bayibuli, mu - Akabonero Akoomusanvu. Ako kasangibwa mu Okubikkulirwa essuula 8.

Bwe Yabembula akabonero akoomusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa.
By'ebyo bye tululinako.

Kati, tewali n'omu ku ffe amanyi. Naye, nze - nngenda kubabuulira, mu- kubikkulirwa kwange ku kyo. Era, kati, tekiri nti nngenda kugwa ddalu. Bwe kiba bwe kityo, sikimanyi, olaba. Si - sigendera ku bintu bifaanana bwe bityo ng'okuteebereza. Njogedde ebintu ebimu, ebiyinza okuba nga bipya eri abantu abamu. Naye Katonda bw'Ajja, emabega waakyo, n'Akyoleka n'Agamba nti ge Mazima, olwo ekyo kiba nga kye Kigambo kya Katonda. Olaba? Kiyinza okulabika ng'ekipya, mu ngeri bw'etyo. Mukiraba? Era kati, ddala nga bwe nnyimiridde wano ku kituuti olunaku lwaleero, nafunye okubikkulirwa okwabikkuddwa. Kiri mu ngeri ssatu. Nsobole okwogera gye muli, nga nnyambibwako Katonda, okukyanjuluza. Kati olwo mu... ka tusooke tugende, ku ekyo. Okubikkulirwa kuukuno wano okusobola okutandika kye njagala okubabuulira, kye kiri. Ekyabaawo, kwe... Ebibwatuka ebyo omusanvu bye yawulira nga bibwatuka, n'agaanibwa okubiwandiika; ekyo ekyama kye kiri, ekiri emabega w'ebibwatuka ebiddirinngana omusanvu ebyo nga byeyanjuluza.

Kati, lwaki? Leka tukikakase. Lwaki? Kyama ekitamanyiddwa muntu yenna. Yokaana yagaanibwa okukiwandiikako, wadde - wadde okukiwandiikako akabonero konna. Lwaki? Eno y'ensonga lwaki tewaaliwo ki - kintu kyonna kikolebwa mu Ggulu: kiyinza okufulumya ekyama. Kati mukiraba? Bwe kiba nga kikulu nnyo, kiteekwa okuteekebwamu, kubanga kirina okubaawo. Naye ebibwatuka omusanvu bwe... Kati mwetegereze. Bamalayika omusanvu bwe bavaayo okufuuwa amakondeere gaabwe, waaliwo okubwatuka kwa mulundi gumu. [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti omulundi gumu -Omuk.] Isiraeri buli lwe yakunngaananga, waabangawo ekkondeere. “Ekiseera bwe kiriba nga kiweddeyo,” ekkondeere erisembayo, okubwatuka kwa mulundi gumu. Naye biibino ebibwatuka musanvu ebirambululiddwa, butereevu: kimu, bibiri, bisatu, bina, bitaano, mukaaga, musanvu, omuwendo ogwo ogutuukiridde. Ebibwatuka musanvu mu lunyiriri, byata, si... kukola bukozi - nga kimu, bibiri, bisatu, bina, bitaano, mukaaga, musanvu, butereevu. [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti emirundi musanvu -Omuk.] Olwo, Eggulu ekyo teryasobola kukiwandiika. Eggulu terisobola kukimanyaako, tewali kirala kyonna, kubanga tewaaliwo kigenda mu maaso. Kyali kiseera kya kuwummula. Kyali kikulu nnyo, n'okutuusa, lwe kyakuumibwa nga ne Bamalayika tebakimanyiiko. Kati, lwaki? Osanga singa Setaani yakikwatako, yandikyonoonye. Waliwo ekintu kimu ky'atamanyi. Kati, asobola okuvvuunula ekintu kyonna ky'ayagala, n'ageegeenya ekirabo kyonna, (nsuubira muyiga), naye kino tayinza kukimanya. Tekyawandiikibwa wadde ne mu Kigambo. Kyama ddala ddala.Bamalayika, na buli kintu, byasirika. Singa baakolako ekintu kimu, osanga kyandikifulumizza, bwe kityo baasirika busirisi, ne basirisa ennanga zaabwe. Buli kimu kyayimirizibwa.

Omusanvu, muwendo gwa Katonda ogutuukiridde. Musanvu, [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti emirundi musanvu -Omuk.] Butereevu ddala. Ebibwatuka omusanvu byabwatukira wamu butereevu, nga biringa ebirina ekintu kye byatula. Mwetegereze, mu kiseera ekyo, Yokaana yatandika okukiwandiika. n'Agamba, “Tokiwandiika.” Yesu Teyakyogerako. Yokaana teyakiwandiika. Bamalayika tebalina kye bakimanyiiko. Eki? Kye kintu, Yesu kye Yagamba nti, “Ne Bamalayika ab'omu Ggulu,” tebalina kye bakimanyaako. Okiraba? Okiraba? Naye Mwennyini, Teyakimanyaako. Yagamba nti, “Katonda Yekka” Y'akimanyi. Naye Yatugamba, nti bwe “tutandika okulaba obubonero buno nga bubeerawo.” Kati, muliko we mutuuse? Kale. Weetegereze, bwe “tutandika okulaba obubonero buno nga bubaawo.” Olaba? Singa Setaani yakikwatako...

Bw'obaako ky'oyagala kibeewo... Kati ku kino kijja kubeetaagisa okukwata ekigambo kyange. Bwe mbaako kye nteekateeka okukola, kye nkola sikibuulirako muntu yenna. Si kuba nti omuntu oyo ajja kukyogera, naye Setaani ajja kukiwulira. Okiraba? Tayinza kukiggya mu mutima gwange, Katonda bw'Aba ng'Aguggaddewo n'Omwoyo Omutukuvu, n'olw'ekyo kiba wakati wange ne Katonda. Okiraba? Abeera takimanyiiko okutuusa ng'okyogedde, olwo n'akiwulira. Era ngezaako... Mbabuulira nti nngenda kukola ekintu gundi, ne ndaba Setaani bw'asalako nnamuziga zonna nga bwasobola, anziyize okukituukako, olaba, akinsookeko. Naye bwe nfuna okubikkulirwa okuva eri Katonda, ne sibaako kye nkyogerako, olwo kiba kyanjawulo. Jjukira, Setaani ajja kugezaako okukigeegeenya. Ajja kugezaako okugeegeenya ebintu byonna Ekkanisa by'enaakola. Ajja kukigezaako okukikola. Tukiraba, mu mulabe wa Kristo.Naye ekintu kimu kiikino ky'atayinza kugeegeenya. Ku kino tewajja kuba kwegeegeenya, olaba, kubanga takimanyi! Era tewaliiwo ngeri yonna gy'asobola kukimanya. Kwe Kusika Okwokusatu. Talina ky'akimanyiiko. Okiraba? Takitegeera.

Naye waliwo ekyama wansi w'ekyo! [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti omulundi gumu -Omuk.] Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali waggulu ennyo! Sisobola kuddamu kulowooza kye kimu, obulamu bwange bwonna, bwe nnalabye. Kati, simanyi ki... ekiddako nkimanyi, naye ekyo, simanyi kukivvuunula. Tekigenda kulwawo. Nakiwandiise wano, bwe kyabaddeewo, oba musobola okulaba wano, “Yimirira. Wano wennyini tosukkawo.” Siri ng'anaagwa eddalu. Kye njogera ge Mazima. Naye mujjukira akagatto, bulijjo ke ngezezzaako okunnyonnyola, nti emmeeme ekifo ky'erimu y'eddirira kino, n'okulumirizibwa okw'omunda, n'ebintu ebyo byonna? Ekyakola obukozi okugeegeenya, oluvannyuma lwakyo. Engeri gye walina okuleeta omukono, n'okwata abantu, n'owulira okukankana? Buli muntu yafuna okukankana mu mukono gwe. Naye mujjukire, bwe Yantwala eyo, n'Anngamba, “Kuno kwe Kusika okwo Okwokusatu, era tewali ajja kukumanya.” Ekyo mukijjukira? Okwolesebwa tekulemererwa. Ge Mazima gennyini.

Kati mwetegereze. Mujjukira okwolesebwa kw'ekibinja eky'emmunyeenye? Charlie, nze... Ky'ekyo. Waliwo ekigenda mu maaso, nnabagambye, nti wiiki eno mu... Kibadde kibeetoolooledde ddala, naye simanyi oba mukirabye. Mujjukira, okwolesebwa kw'emmunyeenye za Bamalayika, bwe nnava wano okugenda mu Arizona? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.”] Mujjukira, “Bassebo, Kati Kiseera Ki?” Ekyo mukijjukira? Mwetegereze, waaliwo okubwatuka okunene kwa mulundi gumu gwokka, Bamalayika omusanvu ne balabika. Ekyo bwe kiri? Okubwatuka kwa mulundi gumu, Bamalayika omusanvu ne balabika. Ne ndaba Omwana gw'Endiga bwe Yabembula Akabonero Akasooka, ne mpulira, nga liringa eddoboozi ery'okubwatuka, ekimu ku biramu ebina nga kyogera nti, Jjangu olabe. Mwetegereze, ekibwatuka kimu, Obubaka musanvu obwali busibiddwako, era nga tebuyinza kubikkulwa okutuusa mu nnaku ezisembayo, ez'omulembe guno. Mulaba kye ntegeeza?

Kati, mwetegerezza ekitundu eky'ekyama ekya wiiki eno? Ekyo kye kiri. Ekyo kye kibaddenga. Tabaddenga muntu, o - omuntu. Babaddenga Bamalayika ba Mukama. Mwetegereze. Waliwo obujulizi, obwabasatu, abatudde wano, wiiki ng'emu eyise, nnali engulu eyo, mu nsozi, kumpi nga ne Mexico, n'abooluganda babiri abali wano. Bwe baali nga bankongolako muwugula ne ssere, ku mpale yange; ne wabaawo okubwatuka, kyenkana, okwayinza, n'okwanyeenya ensozi kumpi kuzisuula wansi. Kati, ekyo bwe kiri. Ab'oluganda ssaababuulira, naye baalabawo enjawulo. N'Anngamba, “Kati, weetegeke. Genda buvanjuba.” Amakulu g'okwolesebwa okwo gaagano. Mukiraba? Kati, okubamanyisa, Ow'oluganda Sothman yali tannaba kufuna ekyo kye yali agenderedde. Twali tugezaako okukimufunira. N'Agamba, “Kati leero, olw'akabonero gy'oli, tagenda kukikola. Mu kiseera kino oteekwa okwetukuza olw'okukyalirwa kwa Bamalayika bano.” Ne sseetegera, nga bwe mujjukira. Kati nnali bugwanjuba. Bamalayika baali bajja buvanjuba. Era bwe baali bajja, nasitulibwa nabo. (Ekyo mukijjukira?) Nga bajja ebuvanjuba.

-----
Kati mwali mwetegerezza? “Malayika Oyo,” gwe nnayogerako nti, “munda omwo, mwalimu Malayika ataali wa bulijjo.” Yantunuulira nnyo, okusinga abalala. Ekyo mukijjukira? Baali mu kibinja eky'emmunyeenye; basatu basatu erudda n'erudda, n'omu waggulu. Oyo eyandi okumpi ennyo, bwe tubala okuva ku kkono nga tudda ku ddyo, ye yandibadde Malayika owoomusanvu. Yali ayakaayakana, okusinga abalala. Mukijjukira? Ne nngamba, ekifuba kye nga kivuddeyo, bwe kityo, era yali abuuka ng'adda ebugwanjuba“ (Mujjukira) “bw'ati”? Nagamba, “Ne kinnyimusa; ne nsitulibwa.” Ekyo mukijjukira?

Wuuno wano, oyo eyalina Akabonero Akoomusanvu, ekintu ekintawaanyizzanga obulamu bwange bwonna. Amiina! Obubonero buli obulala bwalina amakulu mangi gye ndi, mazima, naye, oh, temumanyi kino kye kitegeezezza, omulundi ogumu bwe guti mu bulamu bwange! [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti emirundi egiwerako -Omuk.] Nali nsabye, nali nkaabiridde Katonda. Nze- nze- nze... Oluvannyuma lw'olukunngaana lw'omu Phoenix olwo... Omuntu yenna, abaali nange, bamanyi; nnagalamira ku lusozi. Amakya agamu, nasituka ne nngenda mu Sabino Canyon, ensozi ezo ennene, engulumivu, ez'ebinnyannya. Ne nnyambuka eyo. Era waaliyo akakubo, kookyamiramu, okugenda waggulu ku Lemmon Mountain, olugendo lwa mmayiro asatu, ebigere ng'asatu mu muzira, waggulu eyo.

Kati, eyo waggulu ku lusozi, ku makya nnyo, nga tuyita mu kakubo kano, nga tusomoka ensozi. Nawulira okukulemberwa okudda eno. Ne nkyuka ne nnyambuka mu byaziyazi ebinene ennyo, oh, abange, ffuuti bikumi na bikumi obugulumivu. Nafukamira mu njazi ezo. Ne nteeka wansi Bayibuli eno, n'ekitabo kino... ekipande kino. [Ow'oluganda Branham alaga Bayibuli ye n'ekipande - Omuk.] Ne nngamba, “Mukama Katonda, okwolesebwa kuno kutegeeza ki?” Nze- ndi- ndi... Nti era, “Mukama, ku... kutegeeza kufa kwange?” Mujjukira, nnabagamba nti, “Nnalowooza nti osanga kutegeeza kufa kwange, kubanga ekintu kyabwatuka okutuusa lwe kyannyenjebula.” Mukijjukira. Bameka abakimanyi, abaali bakiwuliddeko? Kale, mazima, olaba, mwenna. Kati nnalowooza nti kiyinza okutegeeza okufa kwange. Kati olwo nga ndi mu kisenge, ne nngamba, “Ki... Ki- ki- Mukama, kibadde ki. Ki- kitegeeza ki? Kitegeeza nti nngenda kufa? Bwe kiba bwe kityo, kale, sijja kugamba ba maka gange. Ndeka nngende bugenzi, omulimu gwange bwe guba guwedde,” olaba. Era ne nngamba... Kati, kyali ki? Naye edda Yatuma omujulizi, mujjukira bwe nnabagamba, nti tekyali ekyo. Kwali kwongezebwayo kwa kukola kwange.

Oh, oh, oh! Mukifuna? Okiraba? nga ndi eyo mu Sabino Canyon... Kino Kitaffe ow'omu Ggulu Akimanyi. Kya mazima ddala ng'ekyo kye mwalaba nga kituukirira, Bamalayika abo bwe bajja ne banyweza buli Bubaka okuba nti buli kye kimu. Olwo ne mumanya oba bwava eri Katonda oba nedda. Kyalagulwa, gye muli, mu kwolesebwa. Ssaakibagamba okutuusa ng'obuweereza buwedde, kubanga nnagaanibwa. Mu Sabino Canyon, nga ndi eyo ku makya ago, nga mpanise emikono gyange. Era e... Embuyaga yali entikkuddeko enkufiira yange enzirugavu enkadde. Bwe... Nnali nnyimiridde awo, nga mpanise emikono gyange, nga nsaba. Ne nngamba, “Mukama Katonda, kino kitegeeza ki? Mukama, sisobola kukitegeera. Nkole ki? Bwe kiba nga ky'ekiseera kyange eky'okugenda Eka, leka nngendere wano, we batalindabira. Ssaagala muntu yenna kukaaba, nga nngenda. Nze - njagala ab'omu maka gange balowooze nti ntambuddemuuko. Era baleme okundaba. Baako wonkweka. Bwe mba wa kugenda, kale, ka nngende. Osanga lumu, Joseph alisanga Bayibuli yange ng'eri awo, era leka agikozese. Labayo, Mukama, bwe mba wa kugenda, ka nngende.”

Era nali mpanise emikono gyange. Kati, omulundi gumu, ekintu ne kigwa mu mukono gwange. Simanyi. Simanyi. Nali nneebase? Simanyi. Nnawaanyisibwa? Simanyi. Kwali kwolesebwa? Simanyi. Kye nnyinza okugamba ky'ekyo kye... Ekintu kye kimu ddala nga Bamalayika abo bwe baali! Ne kigwa mu mukono gwange. Ne ntunula, nga kitala. Kyalina ekikwatibwako nga kya luulu, nga kirungi nnyo; era kyalina enngango nga za zaabu, n'ekyuma ekisala nga kiringa chrome, nga ffeeza, wabula nga kimasamasa nnyo. Kyalina obwogi buyitirivu, oh, abange! Muli ne ndowooza nti, “Ekyo si ky'ekintu ekisingayo obulungi!” Kyagyira ddala mu mukono gwange! Ne ndowooza, “Ekyo kirungi nnyo.” Naye, ne nngamba, “Hey, bulijjo ntya ebintu ebyo, ekitala.” Ne nneebuuza, “Nngenda kukikozesa ki?” Mu kiseera ekyo Eddoboozi ne liyuugumya wano, eryanyeenya ensozi. Ne ligamba, “Kye Kitala ekya Kabaka!” Kati olwo ne nkivaamu. “Ekitala ekya Kabaka.” Kati, singa lyagamba nti, “Ekitala kya kabaka...” Naye lyagamba, “Ekitala ekya Kabaka,” era waliwo “Kabaka,” omu Yekka, era Oyo Ye Katonda. Alina Ekitala kimu, ng'ekyo kye Ekigambo Kye, ekimbeezaawo. Kale, Katonda, Nnyamba; nga ndi wano ku mmeeza Ye entukuvu, n'Ekigambo Ekitukuvu nga kiri wano! Ekigambo! Amiina!

Oh, nga lunaku lwa kitalo lwe tulimu! Nga kintu kikulu nnyo! Olaba ekikwekeddwa n'ekyama? Okwokusatu... Nga ndi awo kino nga kinvuddeko, ne wabaawo ekyajja ne kinngamba, “Totya.” Kati, ssaawulira ddoboozi lyonna. Nga lyayogerera, mu nze. Nnina okubabuulira amazima, ekyo kyennyini ekyabaawo. Ekintu kyankuba, ne kigamba, “Totya. Kuno kwe Kusika Okwokusatu.” Okusika Okwokusatu! Mukujjukira? Yagamba, “Bakugeegeenyezza nnyo ku kino, ky'ogezezzangako okunnyonnyola. Naye,” Nti era, “Ku kino, tebajja kugezaako.” Mukijjukira? Bameka abajjukira okwolesebwa okwo? Kubanga, kiwedde. Kiri ku ntambi, buli wamu. Ekyo kyaliwo emyaka nga mukaaga egiyise, emyaka musanvu egiyise. Kyaliwo emyaka musanvu egiyise. Yagamba, “Ekyo togezaako okukinnyonnyola.” Era, “Kuno kwe Kusika Okwokusatu, naye Nja kukusanga omwo.” Ekyo bwe kiri? Yagamba, “Togezaako...”

Nnali nnyimiridde ne - n'akagatto k'omwana omuto, we Yanngambira. Yagamba, “Kati weekolere Okusika okusooka. Kati bw'onookikola, ekyennyanja kijja kugoberera akamere akali ku ddobo.” Era, “Olwo otunuulire Okusika kwo Okwokubiri, nti era, “kubanga kajja kuba akennyanja akatono kokka.” Era Yagamba, “Olwo Okusika Okwokusatu kujja kukakwata.” Abaweereza bonna ne bankunngaanirako, ne bagamba, “Ow'oluganda Branham, tumanyi nti osobola okukikola! Aleruuya! Ow'oluganda Branham!” Awo bulijjo we nsobererwa, n'abubuulizi. Okiraba? Njagala abantu. Baagala buli kintu okinnyonnyole, kino, kiri.

Ne nngamba, “Kale, uh, uh, uh,” nti, “Simanyi.” Nti era, “Bwe kiri. Okuvuba nkutegeera.” Era, “kati, ky'olina okusooka okukola... Yiino engeri gye bakikola. Bw'olaba ebyennyanja byonna; olina okunyeenyaamu ku kagwa okuli ak'okulya.” Kale, obwo bwe bukodyo bwennyini obw'okuvuba. Bwe ntyo ne nngamba, “Nyeenya akagwa okuli ak'okulya.” Kati, laba, bw'onyeenya akagwa okuli ak'okulya, omulundi ogusooka, olwo ekyennyanja kikagoberera.“ Naye bwali obwo obuto. Era obwo nga bulinga bwe baali bakwata. Kati olwo ne - ne nngamba, “Olwo mujja - mujja kuteekawo...” Ne nkasikayo, ne nkaleeka kulubalama. Era kwaliko ekyennyanja, naye kyali kifaanana ng'eddiba erisigadde ku ddobo, kyali ki... kaali kato nnyo. Nali nkyali awo, ekintu ne kigamba, ”Ekyo nnakugambye obutakikola!“ Ne ntandika okukaaba.

Omutego gwonna nga gunneezingiridde, bwe guti. Era nnali... nnali nnyimiridde awo, nga nkaaba, nga nkotese omutwe gwange bwe ntyo. Nagamba, “Ayi Katonda! Oh, nze... Nsonyiwa! Nze - Ndi muntu omusiru. Mukama, si... Nsonyiwa.” Era nze - mbadde n'omutego guno. Era ekyo, kye nnali nkutte mu mukono gwange, kaali kagatto ak'omwana omuto, nga kenkana awo obuwanvu. Era nalina akagwa ako, kaali kenkana ng'okwetooloola engalo yange obunene, nga kitundu kya yinsi, bwe katyo. N'akatuli k'akagatto kano awayisibwa akagwa akagisiba obunene kaali kenkana nga... nga katonoko o - kimu kya kkumi-na-mukaaga, akatuli, osanga, nga yinsi emu. Era nnali ngezaako okuyisaamu akagwa mu kagatto kano, n'akantu kano akanene akaweza yinsi ennamba. Huh! Eddoboozi ne lijja, ne ligamba, “Abaana abawere Abapentekoote toyinza kubayigiriza bintu bya mwoyo.” Era, “Kati, baveeko!”

Awo wennyini n'Ansitula. N'Antwala, n'Antuuza waggulu, awaali olukunngaana. Yalabika nga weema oba lutikko, bwe kityo. Ne ndaba, akantu akafaanana, nga waliwo akabokisi, mu kafo awo ku bbali. Ne ndaba Ekitangaala ekyo nga waliwo gwe kyogera nakyo, waggulu wange, Ekitangaala ekyo kye mulaba mu kifaananyi. Kyanvaako, bwe kiti, ne Kigenda mu weema eyo. Ne Kigamba, “Nja kukusisinkana eyo.” Nti era, “Kuno kwe kujja okuba Okusika Okwokusatu, era tolikubuulirako muntu yenna.” Eyo mu Sabino Canyon, gye Yagambira, “Kuno kwe Kusika Okwokusatu.” Era waliwo ebintu ebikulu bisatu ebikugenderako. Ekimu kyanjuluziddwa olwaleero... manyanga jjo; ekirala kyanjuluziddwa leero; era waliwo ekintu kimu kye sisobola kuvvuunula, kubanga kiri mu lulimi olutamanyiddwa. Bwe nnayimiririra ddala awo ne nkitunuulira nga nkyekaliriza. Era kuno kwe Kusika Okwokusatu nga kujja. [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti emirundi esatu -Omuk.] Omwoyo Omutukuvu wa Katonda... Oh, abange! Eyo y'ensonga lwaki Eggulu lyonna lyasiriikirira.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akoomusanvu.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjuba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro;

era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi;

n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo.

Okubikkulirwa 10:1-3


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

Kano Ke Kabonero
K’Enkomerero, Ssebo?

(PDF)
Olusozi Enjuba Egwa.
Ekire gye kyalabika.

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

Chapter 14
- Sabino Canyon

(PDF Olungereeza)

Chapter 9
- The Third Pull

(PDF Olungereeza)

Ekyo ekyama kye
kiri, ekiri emabega
w'ebibwatuka ebiddirinngana
omusanvu ebyo
nga byeyanjuluza.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.