Akabonero Akookusatu.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Obubonero Omusanvu series.

Embalaasi enzirugavu.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akookusatu.

Oh, Katonda Tuyambe! Oh! Tujja kukoma wano. Naye, Katonda Atuyambe okukiraba kaakano, y'essaala yange, nga bwe tusembera. Kubanga, saagala kubalwisa kiyitiridde. Katonda Tuyambe tulabe. Nzikiriza oba oli awo, nti Omwoyo ali ku ffe anaaba mutuufu n'asobbola okutuyamba okubikkula Akabonero kano. Ka tusome. Nga bwe tulaba embeera ekkanisa gy'erimu, Tulaba gy'evudde, tulabye kye baakola, ne tulaba gye kyalina okuva, ne tukirabayo eyo, era ne tulaba kye baali bateekwa okukola. Ekyo kye baakola. Kati mulaba wa we tuli? Mmwe musaleewo. Sisobola kusalawo. Nze kye nvunaanyizibwa kyokka kuleeta Kigambo kino. Nga bwe kimpeereddwa, bwe ntyo bwe nkifulumya. Okutuusa nga kimpeereddwa, siyinza kukiwa; Teri n'omu asobola.

Bwe yabembula akabonero akookusatu, ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, Jjangu olabe. Ne ndaba, era laba embalaasi enzirugavu; n'eyali agituddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe.
Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga byogera nti, Ekiyi ky'enngaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; naye amafuta n'omwenge so tobyonoona.

-----
Kati, weetegereze we tuli, leero, omulembe ogwo ogw'ekkanisa omulala. Olaba? Tutuuse ku mulembe gw'ekkanisa ogwokusatu kati. Olaba? Ddala ku mulembe gw'ekkanisa ogwokusatu, nga y'embalaasi yennyini eyookusatu. Olaba? Kati, omulembe gw'ekkanisa omubereberye, gwali ki? Banikolayiti baalina enjigiriza, olaba, ekyo kye kyasooka. Kale. Era olwo ekintu ekisooka, enjigiriza eno ey'Abanikolayiti, yakkirizibwa nga ntuufu, yateekebwa mu nkola. Omuntu ono ne bamutikkira engule. Olwo, omwoyo guno, omulabe wa Kristo, gwayingira mu muntu. Olaba? Era tukiraba, oluvannyumako, nti naye, era yafuuka setaani mu mubiri; omwoyo omubi guvaawo, setaani n'ayingira.

Mu ngeri y'emu, nga ekkanisa eyo omulabe wa Kristo, bw'egenda mu maaso; bw'atyo n'Omugole bw'azze ng'ayita mu bintu eby'enjawulo; okuyita mu kuggyibwako musango, okutukuzibwa, n'Okubatizibwa okw'Omwoyo Omutukuvu, nga era agendera ddala mu maaso, olaba, mu ngeri eyo. Wabula, bo be baasooka okwezza obuggya, ate Ekkanisa n'esembayo. Emyaka gyabwe esatu egyasooka... Emitendera gyayo esatu gyali mu Mirembe gy'Ekizikiza; olwo esatu, emitendera esatu, gifulumya ekkanisa; okuva ku kuggyibwako musango, okutukuzibwa, n'okubatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu, ne gigireeta mu Katonda Ayambadde omubiri Alabisiddwa mu ffe.

Wano ayingira, ng'omulabe wa Kristo, nga nnabbi ow'obulimba, olwo ekiramu, ne kiddako, ate Emirembe gy'Ekizikiza ne giddawo. Era Ekkanisa eva mu Mirembe gy'Enzikiza; okuggyibwako omusango, okutukuzibwa, Okubatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu, Ekigambo ekiri mu mubiri, engeri eyo. Era ne yeeyongerayo. Uh-huh. Ekyo okiraba? Akkirira. Ekkanisa n'esitulibwa. Olaba? Ekyo kikwataganira ddala nga bwe kirina okuba. Oh, nga kirungi. Nga nkyagala. Omuvuzi ono y'omu, naye ali mu kitundu kirala eky'omulimu gwe. Ekitundu ekisooka, mbalaasi njeru, olaba, yali akyali musomesa kyokka, omusomesa omulabe wa Kristo kyokka. Awakanya Ekigambo kya Katonda.

-----
Kati, wano we wali ekyama kya kino. Era kati, Kyo, Kyakimbikkulidde ku nkya, nga tebunnakya. Olwo nagenze mangu okusoma Ebyawandiikibwa ne ntandika okutunula, okukyekebejja. Nga kiri awo. Byonsatule, okutwaliza awamu, kati bimaze okubikkulwa, mu ngeri ya kyewuunyo. Ddala. Kati kino kye kyama ky'embalaasi enzirugavu, okusinziira ku kyambikkulidwa. Yatandika okugyebagala mu kiseera ky'Omulembe gw'Ekizikiza. Ky'ekyo embalaasi enzirugavu kyetegeeza, gy'Emirembe gy'ekizikiza, kubanga kyali kiseera kya ttumbi eri abakkiriza abatuufu abaali basigaddewo. Wekkaanye kati mu mulembe ogwo, omulembe ogwo ogwa wakati, omulembe gw'ekkanisa ogw'ekizikiza. Wekkaanye engeri gy'ayogeramu, “Osigazza amaanyi matono.” Eri abakkiriza abatuufu, bwali budde bwa ttumbi.

Kati wekkaanye. Essuubi lyonna lyali liweddewo eri ekkansia ey'amazima, kubanga omusajja ono yali afuga byombi ekkanisa n'eggwanga. Bandikoze ki? Olaba, obukatoliki bwali bumaze o kumaamira, ekkanisa awamu n'eggwanga. Era abo bonna, abatakkiriziganya na Bukatoliki, battibwa. Eyo ye nsonga lwaki yali ali ku mbalaasi ey'ekizikiza. Era wekkaanye ekintu eky'ekizikiza kye yakola, olaba, olwo ojja kulaba. Bw'ogezaako oku... Oba omanyi ebyafaayo byo, kyekkaanye, olwo ojja... Kale, tekikwetaagisa na kubimanya, oku - okumanya kino.

Kati wekkaanye. Essuubi lyonna lyali liweddewo. Eyo y'embalaasi ye enzirugavu. Kati, yayingira ali ku mbalaasi ye enjeru, mu bukalabakalaba. Olwo yaweebwa obuyinza; n'aggyawo emirembe, n'atirimbula obukadde na bukadde. Ekyo kye yali agenda okukola ng'agenda avuga. era akyakikola. Olaba? Kaakati, wuuno ali ku mbalaasi ye enzirugavu kati, avaayo. Omulembe gw'Ekizikiza, kye kyali ekiseera ekyo. Mangu ddala ng'ekkanisa yaaketegeka, ne bafuna obuyinza, baasaanyaawo buli kintu kyonna ekirala. ne bayita mu bikumi n'ebikumi, n'ebikumi n'ebikumi eby'emyaka, nga buli musomi bw'amanyi nti egyo gye gyali emirembe gy'ekizikiza. Bameka ekyo abakimanyi? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.” - Omuk.] Ddala, gy'emyaka gy'ekizikiza. Eyo y'embalaasi enzirugavu, eraga kifaananyi kya mirembe egy'ekizikiza.

Kati, essuubi lyonna liweddewo; tekyali ssuubi lyonna, buli kintu kiddugadde eri abakkiriza abatono. Kati, eyo y'ensonga egiyisa bw'etyo, okulaga, embalaasi ey'ekizikiza. “Ekigera kye, oba minzaani ye, eri mu mikono gye,” olaba, ayita “Ekigera ky'enngaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali.” Olaba, mu butuufu, kitegeeza, enngaano ne sayiri byetaagibwa mu bulamu. Ebyo omugaati n'ebirala mwe biva. Naye olaba, yali abisasuza. Kye kitegeeza, nti, yali asasuza abantu be olw'ekika ky'essuubi ly'obulamu bwe yali abaweereza, nga akola... Yatandikirawo mu kiseera ekyo, okubasasuza olw'essaala, okusasulira essaala. Bakyakikola; zinnooveena. Kubanga, yali akola ki? Ng'awamba obugagga bw'ensi yonna. Minzaani, epima, “Ekiyi ky'enngaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali.” Omuvuzi ali ku mbalaasi enzirugavu, laba, yali akola... Abantu be abaggyako ssente zaabwe. Bayibuli yalagula nti, akutte obugagga bw'ensi yonna. Nga bwe twayogedde eggulo ku Russia n'abalala, ssente zonna, bazitwala abantu ne babambula buli konna ke balina, na buli kimu. Kale ky'ekyo.

-----
Weetegereze. Wano we wali akatundu akalungi. Weetegereze... amafuta n'omwenge bino so tobyonoona. “Wasigadde matono nnyo, naye togakwatako!” Kaakati, amafuta ge... Kabonero akalaga Omwoyo, gwe Mwoyo Omutukuvu. Nja kubawaayo ennyiriri ntono oba mwagala. Waliwo Ebyawandiikibwa bibiri. Mu Eby'Abaleevi, 8:12, omanyi, Alooni, nga tannayingira, yalina okufukibwako amafuta. Era Zekkaliya 4:12, ku mafuta ago agajja, gaayitanga mu midumu, n'agamba, “Guno gwe Mwoyo Gwange, amafuta.” Ekirala, bw'oba oyagala soma mu Matayo, 14... 25, waaliwo embeerera abasirusiru, manyanga 25:3, embeerera abasirusiru tebaalina mafuta, tebaalina Mwoyo. Era Matayo 25:4, embeerera abagezi baalina amafuta mu ttabaaza zaabwe, bajjula Omwoyo. Omwoyo! Amafuta gategeeza Mwoyo. Oh, Agulumizibwe! [Ow'oluganda Branham akuba mu ngalo omulundi gumu-omuk.] Kale. Mukifunye? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.”] Kale.

Kati, amafuta kitegeeza Mwoyo. Kati omwenge kitegeeza okukyamuka okw'okubikkulirwa. Oh, nze - njagala kudduka nga nsattira. Kyewuunyisa, baliraanwa ssaabazuukusizza, ekyo Mukama bwe Yakindaze, olaba, “okukyamuka okw'okubikkulirwa.” Olaba? Amafuta n'Omwenge, mu Bayibuli, bulijjo, bigendera wamu. Nakebera enkuluze ne nkiraba. Era erimu olukalala lw'ebiringa ebyo - ebiringa ebyo, omwenge n'amafuta nga bigendera wamu, bulijjo. Olaba?

Amazima g'Ekigambo kya Katonda ekyasuubizibwa nga gamaze okubikkulwa bulambirira eri abatukuvu Be abajjudde amafuta, bonna bakyamuka. Omwenge kwe kikyamuukiriza. Aweebwe ekitiibwa! Nkiwulira ddala kati. Aba akyamuukiridde n'essanyu, n'okuleekaana! Olaba? Kati, bwe kibaawo, kibakolako mu ngeri y'emu nga - ng'omwenge kye gukola ku muntu ow'omubiri. Kubanga, okubikkulirwa nga kuweereddwa, Amazima ga Katonda, n'omukkiriza yennyini n'ajjula amafuta, n'akufuna, okukyamuka kuba kwa maanyi nnyo n'okweyisa ne yeeyisa mu ngeri etali ya bulijjo. Ddala. Agulumizibwe! [Ekibiina kijaganya - omuk.] Olaba, oba oli awo ekyo kye kibatuuseeko kati. Ekyo bwe kir, kubaleetera okweyisa mu ngeri etasanyusa balala.

-----
Bwe ndaba nga waliwo Katonda kye Yasuubiza okukola mu nnaku zino, nga Yasuubiza okubembula Obubonero buno mu nnaku zino ezisembayo! Era tomanyi ssanyu, na kujaguza, bye nalina, bwe namulaba ng'Abikkula kino, nnayimirira ne nkiraba nga kituu kirira! era mmanyi nditwala omuntu yenna oba ne mmuvunaana, nti Alina kye Yatukolera ekitaayita mu nkola eyo. Era bw'otegeera essanyu lye nnina mu mutima gwange, okulaba bw'Atuukiriza ebisuubizo Bye eby'ennaku ezisembayo, nga bwe Yasuubiza okukikola. Era wano nkiraba kituukirizibwa era nga kituukiridde.

Bw'owulira nga nngamba, “kinnyongera okukikkiriza.” eyo y'ensonga. Okukyamuka kuba kususse, nga - nga - nze nga - omanyi, nga njagala nngende nkusaleko, okukyamuka okuva mu kubikkulirwa! Ky'ekyo. Baakyamuka nnyo, olwa oku - olw'okubikkulirwa, okwo okwabalagibwa, ekisuubizo, kale. Kati, oh, owange! Awo kyatuukiriza essanyu erikyamula, okutuusa abantu lwe baagamba, “Batamidde omwenge omusu,” Katonda bwe Yababikkulira ekisuubizo Kye. Era teyakibabikkulira bubikkulizi kyokka, naye Yakikakasa.Ekyo kye njogera bulijjo. Omuntu asobola okwogera ekintu kyonna, ddala, ayinza okugezaako okwogera ekintu kyonna; naye ekyo Katonda Aba Alina kujja n'Akikakasa!

Kati, Bayibuli egamba, “Omu ku mmwe bwe yeeyita ow'omwoyo, oba nnabbi, bw'alagula ne bitatuukirira, temumukkiriza. Tomutiira ddala. Omuntu oyo tomutya; naye bw'akiragula ne kituukirira; oyo ye Nze, olaba. Nze, Nkirimu. Ekyo kiraga nti ye Nze.” Kaakati, olwo, bambi omukazi oyo Omusamaliya. Ebyawandiikibwa bigamba nti Masiya Alikola ebintu bino, era wano Wuuno Ayimiridde Akolera ddala ekyo Ebyawandiikibwa kye bigamba, omukazi n'agamba, “Wuuyo. Mujje mulabe omusajja! Kino si ky'ekyo ddala Ebyawandiikibwa kye bigamba ekiribaawo?” Olaba, Omukazi yakyamuka olw'okubikkulirwa. Si bwe kiri?

Soma akawunti mu...
Akabonero Akookusatu.


  Bayibuli egamba...

Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka.

Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,

2 Peetero 3:10-11



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Mpagi y'omuliro.
-Amabegaabega

Ebimuli by’omuliro.

 

Amagaali g’Omuliro.

Eriya ng’atwalibwa
waggulu.

Mpagi y'omuliro.
- Houston 1950

Ekitangaala ku lwazi
olwa piramidi.